Revised Common Lectionary (Complementary)
7 (A)“Muwulirize, mmwe abantu bange, nange nnaayogera.
Ggwe Isirayiri bino bye nkuvunaana:
Nze Katonda, Katonda wo.
8 (B)Sikunenya lwa ssaddaaka zo,
oba ebiweebwayo ebyokebwa by’ossa mu maaso gange bulijjo.
9 (C)Sikyakkiriza nte nnume n’emu evudde mu kiralo kyo,
wadde embuzi ennume ezivudde mu bisibo byo.
10 (D)Kubanga buli nsolo ey’omu kibira yange,
awamu n’ente eziri ku nsozi olukumi.
11 Ennyonyi zonna ez’oku nsozi nzimanyi,
n’ebiramu byonna eby’omu nsiko byange.
12 (E)Singa nnumwa enjala sandikubuulidde:
kubanga ensi n’ebigirimu byonna byange.
13 Ndya ennyama y’ente ennume,
wadde okunywa omusaayi gw’embuzi?
40 (A)Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze,
tudde eri Mukama.
41 (B)Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffe
eri Katonda mu ggulu, twogere nti,
42 (C)“Twayonoona ne tujeema,
tokyerabiranga era tonatusonyiwa.
43 (D)“Ojjudde obusungu n’otugobaganya,
n’otutta awatali kutusaasira.
44 (E)Weebisseeko ekire,
waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli.
45 (F)Otufudde obusa n’ebisasiro
mu mawanga.
46 (G)“Abalabe baffe bonna batwogerako
ebigambo ebibi.
47 (H)Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitego
n’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.”
48 (I)Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga
olw’okuzikirira kw’abantu bange.
49 (J)Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga
awatali kusirika,
50 (K)okutuusa Mukama lw’alisinzira
mu ggulu n’alaba.
51 Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange,
olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange.
52 (L)Abalabe bange banjigganya olutata
ne baba ng’abayigga ennyonyi.
53 (M)Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya,
ne bankasuukirira amayinja;
54 (N)amazzi gaabikka omutwe gwange,
ne ndowooza nti, nsanyeewo.
55 (O)“Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama,
nga ndi mu bunnya wansi ennyo;
56 (P)wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go
eri okukaaba kwange.”
57 (Q)Bwe nakukoowoola wansemberera
n’oyogera nti, “Totya!”
58 (R)Mukama watunula mu nsonga yange,
era n’onunula obulamu bwange.
Pawulo mu Merita
28 (A)Awo bwe twamala okutuuka obulungi ku lukalu ne tulyoka tutegeera nti tuli ku kizinga Merita. 2 Bannansi b’oku kizinga baatulaga ekisa kingi ekitali kya bulijjo, ne bakuma omuliro ne twota, kubanga obudde bwali bwa butiti nga n’enkuba etandise okutonnya. 3 Pawulo yali akuŋŋaanyizza akaganda k’obuku, naye yali akassa ku muliro, omusota ogw’obutwa ennyo ne guva mu buku obwo ne gweripa ku mukono gwe. 4 (B)Bwe baalaba ekintu ekireebeeta ku mukono gwa Pawulo ne bagambagana nti, “Ddala oyo mutemu. Newaakubadde ng’ennyanja yagiwonye, naye era omusango gukyamulondoola teguumuganye kulama!” 5 (C)Naye Pawulo omusota n’agukunkumulira mu muliro n’atabaako kabi konna. 6 (D)Abantu ne balindirira balabe bw’atandika okuzimba oba okugwa eri afiirewo, naye bwe baalindiririra ebbanga eddene nga tebamulabako kamogo, ne baddamu okwerowooza, ne bagamba nti, “Oyo katonda!”
7 Waaliwo ennimiro okuliraana n’olubalama lw’ennyanja we twali, nga ya Pabuliyo eyali omukulu w’ekizinga ekyo. Awo n’atwaniriza mu maka ge n’atusembeza n’atulabirira okumala ennaku ssatu. 8 (E)Mu kiseera ekyo kitaawe yali mulwadde omusujja ng’alimu ekiddukano ky’omusaayi. Pawulo n’agenda gy’ali n’amusabira, n’amussaako emikono n’amuwonya! 9 Ekyo bwe kyabaawo, n’abalwadde abalala bonna ku kizinga abaalina endwadde ne bajja gy’ali ne bawonyezebwa. 10 Ne batuwa ebirabo bingi, era ekiseera kyaffe eky’okusaabala ku nnyanja bwe kyatuuka, ne batuleetera ebintu bingi ku kyombo bye twali twetaaga okukozesa mu lugendo lwaffe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.