Revised Common Lectionary (Complementary)
106 (A)Mumutendereze Mukama!
Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.
2 (B)Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo,
oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?
3 (C)Balina omukisa abalina obwenkanya,
era abakola ebituufu bulijjo.
4 (D)Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi;
nange onnyambe bw’olibalokola,
5 (E)ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi,
nsanyukire wamu n’eggwanga lyo,
era ntendererezenga mu bantu bo.
6 (F)Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;
tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
13 (A)Waayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola;
ne batawulirizanga kubuulirira kwe.
14 (B)Bwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira;
ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo.
15 (C)Bw’atyo n’abawa kye baasaba,
kyokka n’abaleetera n’olumbe olw’amaanyi.
16 (D)Nga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musa
ne Alooni abalonde ba Mukama.
17 (E)Ettaka ne lyasama ne limira Dasani;
Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo.
18 (F)Omuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe;
ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi.
19 (G)Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana;
ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.
20 (H)Ekitiibwa kya Katonda
ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.
21 (I)Ne beerabira Katonda eyabanunula,
eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,
22 (J)ebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu,
n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu.
23 (K)N’agamba nti,
Ajja kubazikiriza.
Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge
n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.
Okusinza Bakatonda abalala Kuwerebwa
15 (A)“Ku lunaku olwo Mukama Katonda bwe yayogera gye muli ng’asinziira wakati mu muliro ku lusozi Kolebu, temwalaba kikula kye kya ngeri yonna. Noolwekyo mwekuumenga nnyo, 16 (B)mulemenga okweyonoona nga mwekolera bakatonda abalala, aba buli ngeri, abali mu bifaananyi ebiri ng’omusajja oba ng’omukazi, 17 oba ebifaanana ng’ensolo ez’oku nsi, oba ng’ennyonyi ezibuuka mu bbanga, 18 oba ebifaanana ng’ebiramu byonna ebitambulira wansi oba ebyekulula ku ttaka; oba ebifaanana ng’ebyennyanja ebiri mu mazzi agali wansi w’ettaka. 19 (C)Era weekuumenga nnyo bw’onooyimusanga amaaso go okutunula waggulu ku ggulu, n’olaba enjuba, n’omwezi n’emmunyeenye, n’ebitiibwa byabyo, n’osendebwasendebwa n’obiweereza, era n’obivuunamira n’obisinza; songa ebyo byonna bye bintu Mukama Katonda wo bye yawa amawanga gonna agali wansi w’eggulu. 20 (D)Naye mmwe, Mukama yabaggya mu Misiri, mu mbiga esaanuusa ebyuma, mubeerenga bantu be ab’obusika bwe, nga bwe muli leero.
19 (A)Kubanga kya mukisa omuntu bw’abonyaabonyezebwa awatali nsonga, n’agumiikiriza olw’okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala. 20 (B)Kale kitiibwa ki kye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonaabona olw’okukola ekibi? Naye Katonda abasiima bwe mugumiikiriza nga mubonyaabonyezebwa olw’okukola obulungi. 21 (C)Ekyo kye mwayitirwa kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako kye musaana okugoberera.
22 (D)“Kristo teyakola kibi
wadde okwogera ebyobukuusa.”
23 Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Era abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda alamula awatali kusaliriza. 24 (E)Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olw’ebiwundu bye, muwonyezebbwa. 25 Kubanga mwali muwabye ng’endiga, naye kaakano mukomezebbwaawo eri Omusumba era alabirira obulamu bwammwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.