Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:33-40

ה Eh

33 (A)Njigiriza, Ayi Mukama, okugonderanga ebiragiro byo;
    ndyoke mbinywezenga ennaku zonna ez’obulamu bwange.
34 Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go
    era ngakwate n’omutima gwange gwonna.
35 Ntambuliza mu mateeka go,
    kubanga mwe nsanyukira.
36 (B)Okyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira;
    so si eri eby’okufuna ebitaliimu.
37 (C)Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu;
    obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.
38 (D)Tuukiriza kye wasuubiza omuddu wo,
    kubanga ekyo kye wasuubiza abo abakutya.
39 Nziggyako okunyoomebwa kuno kwe ntya,
    kubanga ebiragiro byo birungi.
40 (E)Laba, njayaanira ebiragiro byo;
    onkomyewo mu butuukirivu bwo.

Ezeekyeri 24:1-14

Entamu Efumba

24 (A)Awo olwatuuka mu mwaka ogw’omwenda, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (B)“Omwana w’omuntu wandiika ennaku z’omwezi eza leero, kubanga kabaka w’e Babulooni azingizza Yerusaalemi olwa leero. (C)Gerera ennyumba eyo enjeemu olugero obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Muteeke entamu ku kyoto,
    musseemu amazzi.
Mugiteekemu ebifi eby’ennyama,
    ebifi byonna ebirungi, ekisambi n’omukono.
Mugijjuze n’amagumba agasinga obulungi,
    (D)mulonde endiga esinga obulungi okuva mu kisibo,
Oteeke ebisiki wansi w’entamu,
    mweseze ebigirimu,
    era ofumbe n’amagumba agalimu.

(E)“ ‘Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi,
    ggwe entamu eriko enziro,
    eteereddwamu ebintu ebitaaveemu.
Gyamu ekifi kimu kimu
    awatali kukuba kalulu.

(F)“ ‘Omusaayi gwe yayiwa guli wakati mu ye,
    yaguyiwa ku lwazi olwereere;
teyaguyiwa wansi
    enfuufu ereme okugubikka.
Okusiikula ekiruyi kyange nsobole okuwalana eggwanga
    n’ateeka omusaayi gwe ku lwazi olwereere,
    guleme okubikkibwako.

“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera nti,

“ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi!
    Nange ndituuma enku nnyingi ddala.
10 Mutuume ebisiki,
    mukume omuliro,
ennyama mugifumbe bulungi,
    mugiteekemu ebirungo,
    n’amagumba gasiriire.
11 (G)Oluvannyuma muddire entamu enkalu mugiteeke ku masiga,
    okutuusa lw’eneeyokya ennyo n’ekikomo mwe yakolebwa ne kyengerera,
ebitali birongoofu ebigirimu ne bisaanuuka,
    n’ebyateekebbwamu ne byokebwa.
12 Okufuba kwonna kubadde kwa bwereere,
    kubanga ebyateekebbwamu ebingi tebiggiddwamu,
    n’omuliro nagwo tegubyokeza.

13 (H)“ ‘Kaakano mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga nagezaako okukutukuza ggwe, naye ne kitasoboka kukutukuza, era tolitukuzibwa okutuusa ekiruyi kyange bwe kirikkakkana.

14 (I)“ ‘Nze Mukama njogedde. Ekiseera kituuse okubaako ne kye nkola. Siritunula butunuzi so sirisaasira newaakubadde okwejjusa. Ndikusalira omusango nga nsinziira ku neeyisaayo ne ku bikolwa byo, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

2 Abakkolinso 12:11-21

Pawulo alumirwa Abakkolinso

11 (A)Naye mwampaliriza okufuuka omusirusiru. Noolwekyo mmwe musaana okunjogerako kubanga abatume abakulu abawagulu tebalina na kimu kye bansinza, newaakubadde nga nze siri kintu. 12 (B)Eky’amazima obubonero obw’omutume bwakolerwa mu mmwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero ne mu byewuunyo, ne mu bikolwa eby’amaanyi. 13 (C)Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingira, wabula nze kennyini obutabazitoowereranga. Munsonyiwe ekyonoono ekyo.

14 (D)Laba guno mulundi gwa kusatu nga nneeteeseteese okujja gye muli, era sijja kubazitoowerera, kubanga ebyammwe si bye njagala, wabula njagala mmwe. N’ekirala, mmwe muli baana bange; abaana si be baterekera bazadde baabwe eby’obugagga, wabula abazadde be baterekera abaana baabwe. 15 (E)Naye nzija kusanyuka nnyo okwewaayo gye muli, nze ne byonna bye nnina olw’emyoyo gyammwe, newaakubadde nga nze gye nkoma okubaagala ennyo, ate mmwe okwagala kwammwe gye ndi gye kukoma okukendeera. 16 (F)Naye mukkirize nti ssabazitoowerera; naye ne ngerengetanya ne mbatega mu lukwe. 17 Mu abo be nabatumira, ani gwe nakozesa okubafunamu amagoba? 18 (G)Nakuutira Tito okujja, ne ntuma n’owooluganda omulala awamu naye; Tito yeeyabafunako amagoba? Tetwatambulira mu mwoyo gumu? Tetwatambulira mu kisinde kimu?

Okutya kwa Pawulo n’okweraliikirira

19 (H)Obw’edda mwalowooza nga mwetoowaza mu maaso ga Katonda. Naye abaagalwa ebintu byonna tubyogerera mu Kristo olw’okubazimba. 20 (I)Kubanga kye ntya oboolyawo kwe kubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; oboolyawo nga waliwo okuyomba, n’obuggya, n’obusungu, n’okwawukana, n’okugeyaŋŋana, n’olugambo, n’okwekuluntaza, n’okutabukatabuka; 21 (J)bwe ndijja nate, Katonda wange aleme kuntoowaza mu maaso gammwe, ne nkaabira abo bonna abaayonoona edda, ne bateenenya obutali bulongoofu, n’obwenzi, n’obugwagwa bye baakola.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.