Revised Common Lectionary (Complementary)
Abantu ba Katonda Baliva mu Mawanga Gonna
56 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Mukolenga obwenkanya era ebituufu,
kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja,
n’obutuukirivu bwange
bunatera okubikkulibwa.
6 (A)N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama,
okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama
era n’okubeera abaweereza be,
abakwata ssabbiiti
ne batagyonoona
era ne banyweza endagaano yange,
7 (B)bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu
era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu.
Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe
birikkirizibwa ku kyoto kyange.
Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu
eri amawanga gonna.”
8 (C)Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,
akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti,
“Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalala
ng’oggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza.”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.
67 (A)Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,
era otwakize amaaso go.
2 (B)Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,
n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.
3 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
4 (C)Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.
Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,
n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
5 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
11 (A)Kale ka mbuuze: Katonda yeegoberako ddala abantu be? Kikafuuwe. Kubanga nange ndi Muyisirayiri, era muzzukulu wa Ibulayimu, ow’omu kika kya Benyamini. 2 (B)Katonda tasuulanga bantu be, be yalonda okuva ku lubereberye. Oba temumanyi ekyawandiikibwa ekyogera ku Eriya bwe yeegayirira Katonda nga yeemulugunya olwa Isirayiri?
29 (A)Kubanga Katonda bw’agabira abantu ebirabo oba bw’abayita, teyejjusa. 30 (B)Kuba nga mmwe edda bwe mwajeemera Katonda, kyokka kaakano nga musaasiddwa olw’obujeemu bw’Abayudaaya, 31 bwe batyo nabo kaakano bajeemu, eri ekyo ekyali okusaasira gye muli, balyoke basaasirwe. 32 (C)Kubanga Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu alyoke abakwatirwe ekisa.
10 Yesu n’ayita ekibiina n’abagamba nti, “Mumpulirize era mutegeere. 11 (A)Omuntu ky’alya si kye kimwonoonyesa, wabula ekyo ekiva mu kamwa ke, kye kimwonoonyesa.”
12 Abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Omanyi ebigambo byo nga bwe binyiizizza Abafalisaayo?”
13 (B)Naye Yesu n’addamu nti, “Buli kisimbe Kitange ali mu ggulu ky’ataasimba kigenda kusimbulwa. 14 (C)Noolwekyo mubaleke. Bakulembeze abazibe b’amaaso. Bafaanana omuzibe w’amaaso akulembera muzibe munne, kubanga bombi bagenda kugwa mu kinnya.”
15 (D)Peetero n’amugamba nti, “Tunnyonnyole olugero olwo.”
16 (E)Yesu n’abagamba nti, “Nammwe era temunnategeera? 17 Temumanyi nti buli muntu ky’alya kigenda mu lubuto mwe kiva n’akifulumiza mu kiyigo? 18 (F)Naye ebintu ebiva mu kamwa, biva mu mutima ne byonoona omuntu. 19 (G)Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, n’obwenzi, eby’obukaba, n’obubbi, n’okuwaayiriza, n’okuvvoola. 20 (H)Ebyo bye byonoona omuntu, naye okulya nga tonaabye mu ngalo, tekwonoona muntu.”
Okukkiriza kw’Omukanani
21 (A)Yesu n’ava mu kifo ekyo, n’agenda mu kitundu omuli ebibuga Ttuulo ne Sidoni. 22 (B)Awo omukazi Omukanani eyali abeera mu bitundu ebyo, n’ajja eri Yesu n’amwegayirira nti, “Onsaasire Mukama wange, Omwana wa Dawudi! Muwala wange aliko dayimooni amubonyaabonya nnyo.”
23 Naye Yesu n’asirika n’atamuddamu kigambo na kimu. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti, “Bw’omugoba n’agenda. Ng’ayitirizza okutukaabirira.”
24 (C)Naye Yesu n’addamu omukazi nti, “Nze saatumibwa walala wonna, wabula eri endiga za Isirayiri ezaabula.”
25 (D)Naye omukazi n’asembera awali Yesu n’amusinza, n’amwegayirira ng’agamba nti, “Mukama wange, nnyamba.”
26 Yesu n’amuddamu nti, “Si kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”
27 Omukazi n’addamu nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye n’embwa nazo zirya ku bukunkumuka obugwa wansi okuva ku mmeeza ya mukama waazo.”
28 (E)Awo Yesu n’amugamba nti, “Mukazi watu, ng’okukkiriza kwo kunene! Kale kikukolerwe nga bw’oyagala.” Amangwago muwala we n’awonera mu kiseera ekyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.