Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 69:7-10

(A)Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo,
    n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
(B)Nfuuse nga omugwira eri baganda bange,
    munnaggwanga eri abaana ba mmange.
(C)Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo,
    n’abo abakuvuma bavuma nze.
10 (D)Bwe nkaaba ne nsiiba,
    ekyo nakyo ne kinvumisa.

Zabbuli 69:11-15

11 (A)Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
12 (B)Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,
    era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.

13 (C)Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe,
    mu kiseera eky’ekisa kyo.
Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda,
    ondokole nga bwe wasuubiza.
14 (D)Onnyinyulule mu ttosi
    nneme okutubira;
omponye abankyawa,
    onzigye mu mazzi amangi;
15 (E)amataba galeme okumbuutikira
    n’obuziba okunsanyaawo,
    n’ennyanja ereme okummira.

Zabbuli 69:16-18

16 (A)Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo;
    onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.
17 (B)Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu,
    kubanga ndi mu kabi.
18 (C)Onsemberere onziruukirire,
    onnunule mu balabe bange.

Yeremiya 18:12-17

12 (A)Naye ne boogera nti, ‘Tekirina kye kigasa. Tujja kugenda mu maaso n’entegeka yaffe; buli omu ku ffe anaakolanga ng’obukakanyavu bw’omutima gwe bwe buli.’ ”

13 (B)Noolwekyo bw’ati Mukama ng’agamba nti,

“Mwebuuzeeko mu mawanga.
    Ani eyali awuliddeko ekintu bwe kiti?
Muwala wange Isirayiri
    akoze ekintu eky’ekivve.
14 Omuzira oguli ku Lebanooni
    gwali guwedde ku njazi zaakwo?
Amazzi gaakwo amannyogovu agava ewala
    gaali galeseeyoko okukulukuta?
15 (C)Naye ate abantu bange banneerabidde,
    banyookezza obubaane eri bakatonda abalala,
abaleetera okwesittala mu makubo gaabwe
    era ne mu makubo ag’edda
era ne balaga mu bukubokubo.
16 (D)Ensi yaabwe ya kusigala matongo,
    ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna,
abo bonna abayise balyewuunya
    era ne banyeenya emitwe gyabwe.
17 (E)Ndibasaasaanya mu maaso g’abalabe baabwe
    ng’empewo eva ebuvanjuba;
ndibalaga mabega
    so si maaso gange ku lunaku olw’okulabirako ennaku.”

Abaebbulaniya 2:5-9

Ensi empya gye twogerako si yakufugibwa bamalayika. (A)Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti,

“Omuntu kye ki ggwe okumujjukira?
    Oba Omwana w’Omuntu ye ani ggwe okumussaako omwoyo?
Wamussa obuteenkana nga bamalayika, okumala akaseera katono,
    wamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo,
    (B)n’oteeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye.”

Katonda atadde buli kintu wansi we. Kyokka kaakano tetulaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we. (C)Naye tulaba Yesu eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olw’ekisa kya Katonda, yabonaabona n’afa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, n’atikkirwa engule ey’ekitiibwa n’ettendo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.