Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:73-80

י Yoodi

73 (A)Emikono gyo gye gyankola ne gimmumba,
    mpa okutegeera ndyoke njige amateeka go.
74 (B)Abo abakutya banandabanga ne basanyuka,
    kubanga essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
75 (C)Mmanyi, Ayi Mukama, ng’amateeka go matukuvu,
    era wali mutuufu okumbonereza.
76 Kale okwagala kwo okutaggwaawo kumbeere kumpi kunsanyuse,
    nga bwe wansuubiza, nze omuddu wo.
77 (D)Kkiriza okusaasira kwo kuntuukeko ndyoke mbeere mulamu;
    kubanga mu mateeka go mwe nsanyukira.
78 (E)Ab’amalala baswazibwe, kubanga bampisizza bubi nga siriiko kye nkoze.
    Naye nze nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
79 Abo abakutya bajje gye ndi,
    abategeera amateeka go.
80 Mbeera, omutima gwange guleme kubaako kya kunenyezebwa mu mateeka go,
    nneme kuswazibwa!

Yeremiya 6:10-19

10 (A)Ndyogera eri ani gwe ndirabula?
    Ani alimpuliriza?
Amatu gaabwe gagaddwa
    ne batasobola kuwulira.
Ekigambo kya Mukama kiri nga kyakusesa gye bali,
    tebakisanyukira n’akamu.
11 (B)Kyenva nzijula ekiruyi
    sikyasobola kukizibiikiriza.

“Kiyiwe ku baana abali mu luguudo,
    ne ku bavubuka abakuŋŋaanye;
abaami awamu n’abakazi n’abakadde
    abo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa.
12 (C)Enju zaabwe
    ziritwalibwa abalala,
n’ennimiro zaabwe awamu ne bakazi baabwe;
    kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi,”
    bw’ayogera Mukama.
13 (D)“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu,
    buli omu alulunkanira kufuna.
Nnabbi ne kabona bonna
    boogera eby’obulimba.
14 (E)Ekiwundu ky’abantu bange
    bakijjanjaba ng’ekitali ky’amaanyi.
Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’
    So nga tewali mirembe.
15 (F)Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo?
    Nedda.
    Tebakwatibwa nsonyi n’akatono.
Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa;
    balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,”
    bw’ayogera Mukama.

16 (G)Kino Mukama ky’agamba nti,

“Yimirira mu masaŋŋanzira otunule.
    Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri,
era otambulire omwo,
    emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo.
    Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’
17 (H)Nabateerawo abakuumi babategeeze nti,
    Muwulirize eddoboozi ly’ekkondeere,
    naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kuwuliriza.’
18 Kale muwulire,
    mmwe amawanga
    era mulabe mmwe ab’ekkuŋŋaaniro ekyo ekiribatuukako.
19 (I)Wuliriza, ggwe ensi:
laba, ndeeta akabi ku bantu bano,
    by’ebibala by’enkwe zaabwe,
kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange
    n’etteeka lyange baligaanye.

Ebikolwa by’Abatume 19:21-27

Akasasamalo mu Efeso

21 (A)Oluvannyuma lw’ebyo okutuukirira Pawulo n’alowooza mu mutima okugenda e Yerusaalemi ng’ayitira mu Makedoniya ne mu Akaya. N’agamba nti, “Bwe ndiva eyo kinsaanira nkyaleko ne mu Ruumi.” 22 (B)N’asindika babiri ku baamuyambanga, Timoseewo ne Erasuto e Makedoniya, ye n’asigala mu kitundu kya Asiya okumala ebbanga.

23 (C)Mu kiseera ekyo ne wabaawo akasasamalo ak’amaanyi ku bigambo by’ekkubo. 24 Waaliwo omusajja erinnya lye Demeteriyo, yali muweesi wa bintu bya ffeeza, era nga y’akola obusabo obwa ffeeza obwa Atemi obwaleetanga amagoba mangi. 25 (D)Awo Demeteriyo n’ayita abakozi be bonna wamu n’abo abakola emirimu egikwatagana n’egigye, ne bakuba olukuŋŋaana. N’alyoka ayogera nabo nti, “Mumanyi nti mu mulimu guno mwe tuggya obugagga. 26 (E)Kale kaakano, nga mwenna bwe mulabye ne bwe muwulidde, omusajja ono Pawulo asenzesenze abantu bangi nnyo wano mu Efeso ne mu Asiya, okubakkirizisa nti bakatonda abakolebwa n’emikono si bakatonda. 27 Kino kya kabi gye tuli naye si mu Efeso mwokka naye ne mu kitundu kyonna ekya Asiya ne ku yeekaalu ya Atemi ne ku mukazi Oweekitiibwa Atemi. Kubanga ettutumu ly’alina lijja kumuggwaako, mu bitundu byonna ebya Asiya ne mu nsi gy’asinzibwa.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.