Old/New Testament
105 (A)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;
amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
2 (B)Mumuyimbire, mumutendereze;
muyimbe ku byamagero bye.
3 Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;
emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
4 (C)Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
mumunoonyenga ennaku zonna.
5 (D)Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,
ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;
6 (E)mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be
mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
7 Ye Mukama Katonda waffe;
ye alamula mu nsi yonna.
8 (F)Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,
9 (G)ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,
era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.
10 (H)Yakikakasa Yakobo ng’etteeka,
n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti,
11 (I)“Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani
okuba omugabo gwo.”
12 (J)Bwe baali bakyali batono,
nga si bangi n’akamu, era nga bagwira mu nsi omwo,
13 baatambulatambulanga okuva mu ggwanga erimu okulaga mu ddala,
ne bavanga mu bwakabaka obumu ne balaga mu bulala.
14 (K)Teyaganya muntu yenna kubayisa bubi;
n’alabulanga bakabaka ku lwabwe nti,
15 (L)“Abalonde bange,
ne bannabbi bange temubakolangako kabi.”
16 (M)Yaleeta enjala mu nsi,
emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.
17 (N)N’atuma omuntu okubeesooka mu maaso,
ye Yusufu eyatundibwa ng’omuddu,
18 (O)ebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya,
obulago bwe ne buteekebwa mu byuma,
19 (P)okutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira,
okutuusa ekigambo kya Mukama lwe kyamukakasa nti bye yayogera bya mazima.
20 (Q)Kabaka n’atuma ne bamusumulula;
omufuzi w’ensi eyo yamuggya mu kkomera.
21 Yamufuula omukulu w’eby’omu maka ge,
n’akulira byonna omufuzi oyo bye yalina;
22 (R)okukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga,
n’okuyigiriza abakulu eby’amagezi.
23 (S)Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri;
Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.
24 (T)Mukama n’ayaza nnyo abantu be;
ne baba bangi nnyo, n’abalabe baabwe ne beeraliikirira,
25 (U)n’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be,
ne basalira abaweereza be enkwe.
26 (V)Yatuma abaweereza be Musa
ne Alooni, be yalonda.
27 (W)Ne bakola obubonero bwe obw’ekitalo mu bantu abo;
ne bakolera ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu.
28 (X)Yaleeta ekizikiza ensi yonna n’ekwata,
kubanga baali bajeemedde ekigambo kye.
29 (Y)Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi,
ne kireetera ebyennyanja byabwe okufa.
30 (Z)Ensi yaabwe yajjula ebikere,
ebyatuukira ddala ne mu bisenge by’abafuzi baabwe.
31 (AA)Yalagira, ebiwuka ebya buli ngeri ne bijja,
n’ensekere ne zeeyiwa mu bitundu byonna eby’ensi yaabwe.
32 (AB)Yafuula enkuba okuba amayinja g’omuzira;
eggulu ne libwatuka mu nsi yaabwe yonna.
33 (AC)Yakuba emizeeyituuni n’emizabbibu,
n’azikiriza emiti gy’omu nsi yaabwe.
34 (AD)Yalagira, enzige ne zijja
ne bulusejjera obutabalika muwendo.
35 Ne birya buli kimera kyonna mu nsi yaabwe,
na buli kisimbe kyonna mu ttaka lyabwe ne kiriibwa.
36 (AE)N’azikiriza abaana ababereberye bonna mu nsi yaabwe,
nga bye bibala ebisooka eby’obuvubuka bwabwe.
37 (AF)Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu;
era bonna baali ba maanyi.
38 (AG)Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze,
kubanga baali batandise okubatiira ddala.
39 (AH)Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka,
n’omuliro ne gubamulisiza ekiro.
40 (AI)Baamusaba, n’abaweereza enkwale
era n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.
41 (AJ)Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,
ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.
42 (AK)Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu
kye yawa omuweereza we Ibulayimu.
43 (AL)Abantu be yabaggyayo nga bajaguza,
abalonde be nga bayimba olw’essanyu.
44 (AM)Yabawa ensi eyali ey’amawanga amalala,
ne basikira ebyo abalala bye baakolerera;
45 (AN)balyoke bakwatenga amateeka ge,
era bagonderenga ebiragiro bye.
Mumutendereze Mukama.
106 (AO)Mumutendereze Mukama!
Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.
2 (AP)Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo,
oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?
3 (AQ)Balina omukisa abalina obwenkanya,
era abakola ebituufu bulijjo.
4 (AR)Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi;
nange onnyambe bw’olibalokola,
5 (AS)ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi,
nsanyukire wamu n’eggwanga lyo,
era ntendererezenga mu bantu bo.
6 (AT)Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;
tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
7 (AU)Bakadde baffe
tebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri;
n’ebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira,
bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera.
8 (AV)Naye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye,
alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.
9 (AW)Yaboggolera Ennyanja Emyufu, n’ekalira;
n’abakulembera okubayisa mu buziba ng’abayita ku lukalu mu ddungu.
10 (AX)Yabawonya abalabe baabwe;
n’abanunula mu mikono gy’abo ababakyawa.
11 (AY)Amazzi ne gabuutikira abalabe baabwe;
ne wataba n’omu awona.
12 (AZ)Olwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza;
ne bayimba nga bamutendereza.
13 (BA)Waayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola;
ne batawulirizanga kubuulirira kwe.
14 (BB)Bwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira;
ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo.
15 (BC)Bw’atyo n’abawa kye baasaba,
kyokka n’abaleetera n’olumbe olw’amaanyi.
16 (BD)Nga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musa
ne Alooni abalonde ba Mukama.
17 (BE)Ettaka ne lyasama ne limira Dasani;
Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo.
18 (BF)Omuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe;
ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi.
19 (BG)Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana;
ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.
20 (BH)Ekitiibwa kya Katonda
ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.
21 (BI)Ne beerabira Katonda eyabanunula,
eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,
22 (BJ)ebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu,
n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu.
23 (BK)N’agamba nti,
Ajja kubazikiriza.
Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge
n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.
24 (BL)Baanyooma eby’ensi ennungi,
kubanga ekisuubizo kye tebaakirinaamu bwesige.
25 (BM)Beemulugunyiriza mu weema zaabwe,
ne batagondera ddoboozi lya Mukama.
26 (BN)Kyeyava yeerayirira
nti alibazikiririza mu ddungu,
27 (BO)era nga n’abaana baabwe
balisaasaanira mu mawanga ne bafiira eyo.
28 (BP)Baatandika okusinza Baali e Peoli;
ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu.
29 Ne banyiiza Katonda olw’ebikolwa byabwe ebibi;
kawumpuli kyeyava abagwamu.
30 (BQ)Naye Finekaasi n’ayimirira wakati waabwe ne Katonda,
kawumpuli n’agenda.
31 (BR)Ekyo ne kimubalirwa nga kya butuukirivu
emirembe gyonna.
32 (BS)Bwe baatuuka okumpi n’amazzi ag’e Meriba ne banyiiza Mukama,
ne baleetera Musa emitawaana;
33 (BT)kubanga baajeemera ebiragiro bye,
ne kimwogeza n’ebigambo ebitaali bya magezi.
34 (BU)Abantu be baalwanyisa tebaabazikiriza
nga Mukama bwe yali abalagidde,
35 (BV)naye beetabika n’abannaggwanga ago
ne bayiga empisa zaabwe.
36 (BW)Baasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago
ne bibafuukira omutego.
37 (BX)Baawaayo batabani baabwe
ne bawala baabwe eri bakatonda abo.
38 (BY)Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe
abataliiko musango,
be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola,
ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
39 (BZ)Beeyonoona olw’ebyo bye baakola,
ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.
40 (CA)Mukama kyeyava asunguwalira abantu be,
n’akyawa ezzadde lye.
41 (CB)N’abawaayo eri amawanga amalala,
abalabe ne babafuga.
42 Abalabe baabwe ne babanyigiriza,
ne babatuntuza nnyo ddala.
43 (CC)Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi,
naye obujeemu ne bubalemeramu,
ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.
44 (CD)Naye bwe yawulira okukaaba kwabwe,
n’abakwatirwa ekisa;
45 (CE)ku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye;
okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.
46 (CF)N’abaleetera okusaasirwa
abo abaabawambanga.
47 (CG)Ayi Mukama Katonda,
otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga,
tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu,
era tusanyukenga nga tukutendereza.
48 (CH)Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri,
emirembe n’emirembe.
Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!”
Mumutendereze Mukama.
Okwawukana mu Kkanisa
3 (A)Nange abooluganda ssaasobola kwogera nammwe ng’ab’omwoyo, naye nayogera nammwe ng’ab’omubiri era ng’abaana abawere mu Kristo. 2 (B)Nabanywesa mata so si mmere enkalubo, kubanga mwali temunnagisobola. Naye era ne kaakano temunnagisobola, 3 (C)kubanga mukyafugibwa mubiri. Naye obanga mukyalimu obuggya n’ennyombo, temufugibwa mubiri era temutambula ng’abalina empisa z’abantu obuntu? 4 (D)Kubanga omuntu yenna bw’agamba nti, “Nze ndi wa Pawulo,” n’omulala nti, “Nze ndi wa Apolo,” olwo temuba ng’abantu obuntu?
5 Kale Apolo ye ani? Ne Pawulo ye ani? Baweereza buweereza ababakkirizisa, nga Mukama bwe yawa buli omu. 6 (E)Nze nasiga, Apolo n’afukirira, kyokka Katonda ye yakuza. 7 Kale bwe kityo oyo asiga n’oyo afukirira si be bakulu wabula Katonda akuza. 8 (F)Oyo asiga kaakano n’oyo afukirira bali bumu, era buli omu aliweebwa empeera ye okusinziira ku mulimu gw’aliba akoze. 9 (G)Kubanga ffe tuli bakozi abakolera awamu ne Katonda, ate mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.
10 (H)Okusinziira ku kisa kya Katonda ekya mpeebwa, ng’omuzimbi ow’amagezi, nazimba omusingi, kaakano omulala aguzimbako. Naye buli aguzimbako yeegenderezenga bw’aguzimbako. 11 (I)Kubanga tewali n’omu ayinza kuteekawo musingi mulala okuggyako ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo. 12 Naye Omuntu bw’aguzimbisaako ezaabu, effeeza, n’amayinja ag’omuwendo n’emiti, n’essubi, oba ebisasiro; 13 (J)omulimu gwa buli omu gulirabibwa, kubanga omuliro guligwolesa ku lunaku olwo, era omuliro ogwo gwe gulyoreka omulimu gwa buli omu nga bwe guli. 14 Omuntu kye yazimba ku musingi ogwo bwe kirisigalawo, aliweebwa empeera. 15 (K)Naye omulimu gw’omuntu yenna bwe gulyokebwa omuliro, alifiirwa, kyokka ye yennyini alirokolebwa, naye ng’ayita mu muliro.
16 (L)Temumanyi nti mmwe muli yeekaalu ya Katonda era nga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe? 17 Omuntu yenna azikiriza Yeekaalu ya Katonda, Katonda alizikiriza omuntu oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu, ye mmwe.
18 (M)Omuntu yenna teyeerimbalimbanga; omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino afuukenga musirusiru alyoke abeere omugezi. 19 (N)Kubanga amagezi ag’ensi eno, bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Akwatira abagezi mu nkwe zaabwe.” 20 (O)Era kyawandiikibwa nti, “Mukama amanyi ng’ebirowoozo by’abagezi temuli nsa.” 21 (P)Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu yeenyumiririza mu bantu, kubanga byonna byammwe, 22 (Q)oba Pawulo oba Apolo oba Keefa oba nsi, oba bulamu, oba kufa, oba bintu ebya kaakano, oba ebijja, byonna byammwe, 23 (R)nammwe muli ba Kristo, ne Kristo wa Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.