Old/New Testament
Ya Dawudi.
16 (A)Onkuume, Ayi Katonda,
kubanga ggwe buddukiro bwange.
2 (B)Nagamba Mukama nti, “Ggwe Mukama wange,
ebirungi byonna bye nnina biva gy’oli.”
3 (C)Abatukuvu abali mu nsi be njagala
era mu bo mwe nsanyukira.
4 (D)Ennaku y’abo abagoberera bakatonda abalala
yeeyongera.
Siriwaayo ssaddaaka zaabwe ez’omusaayi,[a]
wadde okusinza bakatonda baabwe.
5 (E)Mukama, ggwe mugabo gwange,
era ggw’oliisa obulamu bwange; era ggw’olabirira ebyange.
6 (F)Ensalo zange ziri mu bifo ebisanyusa,
ddala ddala omugabo omulungi.
7 (G)Nnaatenderezanga Mukama kubanga annuŋŋamya
ne mu kiro ayigiriza omutima gwange.
8 (H)Nkulembeza Mukama buli kiseera,
era ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
siinyeenyezebwenga.
9 (I)Noolwekyo omutima gwange gusanyuka, n’akamwa kange ne kajaguza;
era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe.
10 (J)Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe,
wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda.
11 (K)Olindaga ekkubo ery’obulamu;
w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu,
era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.
Okusaba kwa Dawudi.
17 (L)Wulira, Ayi Mukama, okukoowoola kwange nga nneegayirira,
wuliriza okukaaba kwange.
Tega okutu owulirize okukoowoola kwange,
kubanga tekuva ku mimwa gya bulimba.
2 Nzigyako omusango;
kubanga olaba ekituufu.
3 (M)Weekenneenyezza omutima gwange era n’onkebera n’ekiro.
Ne bw’onongezesa toobeeko kibi ky’onsangamu;
kubanga mmaliridde obutayogeranga bya bulimba.
4 Ggwe, gwe nkoowoola,
ngoberedde ebigambo by’akamwa ko,
ne neewala
ebikolwa by’abantu abakambwe.
5 (N)Nnyweredde mu makubo go,
era ebigere byange tebiigalekenga.
6 (O)Nkukoowoola, Ayi Katonda, kubanga mmanyi ng’onnyanukula;
ontegere okutu kwo owulire okusaba kwange.
7 (P)Ndaga okwagala kwo okutaggwaawo, okwewuunyisa,
ggwe alokola n’omukono gwo ogwa ddyo
abo bonna abakweyuna nga badduka abalabe baabwe.
8 (Q)Onkuume ng’emmunye ey’eriiso lyo; onkweke mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
9 (R)Omponye ababi abannumba,
n’abalabe bange abanneetoolodde.
10 (S)Omutima gwabwe mukakanyavu,
n’akamwa kaabwe koogera by’amalala.
11 (T)Banzingizza era banneetoolodde;
bansimbye amaaso nga beeteeseteese okunsuula wansi.
12 (U)Bali ng’empologoma enjala gy’eruma eyeeteeseteese okutaagula omuyiggo gwayo
era ng’empologoma enkulu eteeze.
13 (V)Golokoka n’ekitala kyo, Ayi Mukama,
oyolekere abalabe bange obawangule, omponye ababi abo.
14 (W)Ayi Mukama, mponya abantu,
abantu ab’ensi n’omukono gwo, kubanga balowooleza mu bya bulamu buno byokka, n’emigabo gyabwe giri mu nsi.
Embuto zaabwe zigezze,
obagaggawazizza ne baterekera n’abaana baabwe
ne bazzukulu baabwe.
15 (X)Nze ndikulaba n’amaaso mu butuukirivu
era ndimatira, bwe ndiraba obwenyi bwo nga nzuukuse.
Okuyita mu Makedoniya ne mu Buyonaani
20 (A)Awo akasasamalo bwe kakkakkana, Pawulo n’atumya abayigirizwa, ne bakuŋŋaana, n’ababuulira ekigambo kya Katonda ng’abasiibula n’okubagumya, n’alyoka asitula n’alaga mu Makedoniya. 2 N’agenda ng’ayitaayita mu bitundu ebyo ng’ayogera n’abantu ebigambo bingi eby’okubagumya n’okubanyiikiza mu kukkiriza kwabwe. Oluvannyuma n’atuuka mu Buyonaani, 3 (B)n’amalamu emyezi esatu. Bwe yali ateekateeka okusaabala ku nnyanja okulaga mu Siriya, n’avumbula olukwe Abayudaaya lwe baali basaze okumutta, kyeyava asalawo okuddayo mu Makedoniya gy’aba ayita. 4 (C)Abaamuwerekerako mu lugendo olwo okutuuka mu Asiya, be bano: Sopateri Omuberoya mutabani wa Puulo, ne Alisutaluuko ne Sekundo Abasessaloniika, ne Gaayo Omuderube, ne Timoseewo, n’Abasiya, Tukiko ne Tulofiimo. 5 (D)Oluvannyuma bano bonna ne batukulembera ne batulinda e Tulowa. 6 (E)Ne tusaabala ku nnyanja okuva e Firipi nga tumaze embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa, ne tumala ku nnyanja ennaku ttaano, bannaffe ne tubatuukako mu Tulowa ne tumalawo ennaku musanvu.
Pawulo Azuukiza Yutuko mu Tulowa
7 (F)Awo olumu ku nnaku za ssabbiiti, bwe twali tukuŋŋaanye okumenya omugaati, Pawulo n’abaako bye yali abayigiriza. Naye olwokubanga enkeera yali asitula, n’ayogerera ebbanga ddene nnyo, n’atuusa mu ttumbi ng’akyayogera! 8 (G)Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettaala nnyingi nga zaaka. 9 Waaliwo omuvubuka erinnya lye Yutuko, eyali atudde mu ddirisa, otulo ne tumukwata. Pawulo bwe yalwawo ng’akyayogera, omuvubuka ne yeebakira ddala, okutuusa lwe yasimattuka mu ddirisa ku mwaliiro ogwokusatu n’agwa ebweru n’afiirawo. 10 (H)Pawulo n’akka wansi n’amusitula n’amuwambaatira mu mikono gye. N’agamba nti, “Temweraliikirira, mulamu!” 11 (I)Awo bonna ne baddayo waggulu ne bamenya omugaati ne balya. Pawulo ne yeyongera okwogera okutuusiza ddala obudde okukya, n’alyoka asitula n’agenda. 12 Ne baddamu amaanyi, n’omuvubuka ne bamutwala eka nga mulamu.
13 Awo Pawulo ne tumukulembera ne tusaabala ku nnyanja okulaga mu Aso, Pawulo nga bwe yali ateeseteese, kubanga ye yali ateeseteese kuyita ku lukalu. 14 Bwe yatusisinkana mu Aso, ne tutuuka e Mituleene. 15 (J)Bwe twava eyo ne tuwunguka olunaku olwaddirira ne tutuuka mu kifo ekyolekedde Kiyo. Ne ku lunaku olwaddirira ne tusala ne tudda e Samo, ne ku lunaku olwaddirira ne tutuuka e Mireeto. 16 (K)Pawulo yali asazeewo obutayimirira mu Efeso nga yeewala okumala ekiseera ekinene mu Asiya, kubanga yali yeeyuna nti ssinga asobola, atuuke mu Yerusaalemi ng’olunaku lwa Pentekoote terunnatuuka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.