Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yobu 36-37

36 Eriku ne yeeyongera okwogera nti,

“Yongera okuŋŋumiikirizaako katono nkulage,
    nkyalina bye nnina okwogera ebifa ku Katonda.
(A)Amagezi ge nnina gava wala,
    era mmanyi nga Omutonzi wange alamula mu bwenkanya.
(B)Eky’amazima ebigambo byange si bikyamu,
    oyo akakasa by’amanyi y’ayogera naawe.

(C)“Laba, Katonda wa buyinza, tanyooma bantu;
    w’amaanyi, anywerera ku bigendererwa bye.
(D)Talamya bakozi ba bibi,
    era awa ababonyaabonyezebwa ebibasaanira.
(E)Taggya maaso ge ku batuukirivu,
    abatuuza ku ntebe ey’obwakabaka
    n’abagulumiza emirembe n’emirembe.
(F)Naye abantu bwe baba basibiddwa enjegere
    nga banywezeddwa n’emiguwa egy’okulumwa
(G)n’abategeeza ensobi zaabwe, n’okwonoona kwabwe,
    nti, beewaggudde,
10 (H)aggula amatu gaabwe bawulirize okunenyezebwa
    n’abalagira beenenye ekibi kyabwe.
11 (I)Bwe bamugondera ne bamuweereza,
    ennaku zaabwe zonna balizimala mu kwesiima,
    era n’emyaka gyabwe mu kusanyuka.
12 (J)Naye bwe batamugondera,
    baalizikirizibwa n’ekitala,
    bafe nga tebalina magezi.

13 (K)“Ab’emitima egitatya Katonda baba n’obukyayi.
    Ne bw’abasiba, tebamukaabirira abasumulule.
14 (L)Bafiira mu buvubuka bwabwe
    era obulamu bwabwe buzikiririra mu basajja abenzi.
15 Anunula anyigirizibwa mu kubonaabona kwe,
    n’aggula okutu kwe mu kujoogebwa kwe.

16 (M)“Akusendasenda okukuggya mu kamwa k’okubonaabona,
    akuteeke mu kifo ekigazi ekitaliimu kuziyizibwa,
    omanye emirembe gy’emeeza yo ejjudde emmere ennungi.
17 (N)Naye kaakano weetisse omugugu ogw’okusalirwa omusango abakozi b’ebibi gwe basaanira;
    okusalirwa omusango n’obwenkanya byakunyweza.
18 (O)Weegendereze oleme kukkiriza kusendebwasendebwa;
    obunene bw’enguzi buleme okukukyamya.
19 Obugagga bwo
    oba okufuba kwo kwonna
    binaakuyamba okukuggya mu buyinike?
20 (P)Teweegomba budde bwa kiro
    olyoke owalule abantu okuva mu bifo byabwe.
21 (Q)Weegendereze oleme kukola bitali bya butuukirivu,
    by’osinga okwagala okukira okubonyaabonyezebwa.

22 (R)“Laba Katonda yagulumira mu maanyi ge;
    ani ayigiriza nga ye?
23 (S)Ani eyali amukubidde amakubo,
    oba okumugamba nti, ‘Ky’okoze si kituufu?’
24 (T)Jjukira ng’oteekwa okugulumizanga emirimu gye,
    abantu gye bayimba mu nnyimba.
25 Abantu bonna baagiraba,
    omuntu agirengerera wala.
26 (U)Laba, Katonda agulumizibwe! Assukiridde okutegeera kwaffe;
    obungi bw’emyaka gye tebunoonyezeka.

27 (V)“Kubanga akuŋŋaanya amatondo g’amazzi,
    agafuuka enkuba etonnya mu bugga;
28 (W)ebire bivaamu amazzi gaabyo,
    enkuba n’ekuba abantu.
29 (X)Ani ayinza okutegeera engeri gy’asaasaanyamu ebire,
    okubwatuka okuva ku kituuti kye?
30 Laba, asaasaanya okumyansa kw’eggulu,
    era n’abikka obuziba bw’ennyanja.
31 (Y)Eyo y’engeri gy’afugamu amawanga,
    n’agawa emmere mu bungi.
32 (Z)Emikono gye agijjuza eraddu,
    n’agiragira ekube ebifo bye yeerondeddemu.
33 Okubwatuka kwayo kulangirira kibuyaga ajja,
    n’ente ne zirangirira okujja kwayo.”
37 “Kino kikankanya omutima gwange,
    ne gubuuka okuva mu kifo kyagwo.
(AA)Wuliriza okubwatuka kw’eddoboozi lye,
    n’okuwuluguma okuva mu kamwa ke.
Asumulula eggulu ne limyansa wansi w’eggulu wonna,
    n’aliragira ligende ku nkomerero y’ensi.
Kino oluggwa, okuwuluguma kw’eddoboozi lye kwe kuddako,
    abwatuka n’eddoboozi lye ery’omwanguka,
era eddoboozi lye bwe liwulirwa,
    tewabaawo kisigala nga bwe kibadde.
(AB)Eddoboozi lya Katonda libwatuka mu ngeri ey’ekitalo;
    akola ebintu ebikulu ebisukka okutegeera kwaffe.
(AC)Agamba omuzira nti, ‘Ggwa ku nsi,’
    ate eri enkuba etonnya nti, ‘Ttonnya nnyo.’
(AD)Emirimu gya buli muntu giyimirira,
    buli omu n’alyoka amanya amaanyi ga Katonda.
(AE)Ensolo ne ziryoka zessogga empuku zaazo,
    ne zigenda zeekukuma.
Omuyaga ne gulyoka guva mu nnyumba yaagwo,
    n’obunnyogovu ne buva mu mpewo ekuŋŋunta.
10 (AF)Omuzira ne guva mu mukka gwa Katonda
    n’amazzi amangi ne gekwata kitole.
11 (AG)Ebire abijjuza amatondo g’amazzi,
    n’asaasaanya okumyansa kw’eggulu.
12 (AH)Byetooloolatooloola nga y’abiragira,
    ne bituukiriza byonna by’abiragira,
    ku nsi yonna okubeera abantu.
13 (AI)Bwe kuba kubonereza, oba okufukirira ensi
    oba okulaga okwagala kwe, atonnyesa enkuba.

14 “Wuliriza kino Yobu;
    sooka oyimirire olowooze ku bikolwa bya Katonda eby’ettendo.
15 Omanyi Katonda engeri gy’alagiramu ebire,
    n’aleetera eggulu okumyansa?
16 (AJ)Omanyi engeri ebire gye bituulamu mu bbanga,
amakula g’emirimu gy’oyo eyatuukirira mu kumanya?
17 Ggwe alina ebyambalo ebibuguma,
    ensi bw’eba ng’ekkakkanyizibbwa embuyaga ez’obukiikaddyo,
18 (AK)oyinza okumwegattako ne mubamba eggulu,
    eryaguma ne libeera ng’endabirwamu ensanuuse?

19 “Tubuulire kye tunaamugamba;
    tetusobola kuwoza nsonga zaffe gy’ali olw’ekizikiza kye tulimu.
20 Asaanidde okubuulirwa kye njagala okwogera?
    Eriyo omuntu yenna ayinza okusaba okumalibwawo?
21 Kaakano tewali n’omu ayinza kutunula mu njuba,
    olw’engeri gy’eyakamu ku ggulu,
    ng’empewo emaze okuyita, n’eyelula ebire.
22 Mu bukiikakkono evaayo zaabu;
    Katonda ajja mu kitiibwa eky’amaanyi.
23 (AL)Ayinzabyonna tatuukikako era agulumidde mu maanyi,
    mu bwenkanya bwe era ne butuukirivu bwe, tawaliriza muntu yenna.
24 (AM)Noolwekyo abantu bamutya,
    takitwala ng’ekikulu olw’abo abeerowooza okuba abagezi mu mitima gyabwe.”

Ebikolwa by’Abatume 15:22-41

Ebbaluwa y’Olukiiko eri Abaamawanga Abakkiriza

22 (A)Awo abatume n’abakadde b’Ekkanisa n’abooluganda bonna mu Kkanisa ne bateesa okutuma ababaka bagende ne Pawulo ne Balunabba mu Antiyokiya okubategeeza kye basazeewo. Abasajja abaalondebwa nga bakulembeze mu Kkanisa baali: Yuda (era gwe bayita Balusaba) ne Siira. 23 (B)Ne baweebwa ebbaluwa gye baatwala ng’esoma bw’eti:

Ffe abatume, n’abakadde b’ekkanisa,

Eri abooluganda, mu Antiyokiya yonna ne Siriya ne Kirukiya:

Abooluganda tubalamusizza.

24 (C)Tuwulidde nti abamu ku booluganda baava wano ne bajja eyo nga si ffe tubatumye, ne boogera nammwe ebigambo ebyabatabulatabula mu kukkiriza kwammwe ne bibakeŋŋentereza emitima. 25 Kyetuvudde tuteesa ffenna, era ne tukkiriziganya bumu, okubatumira ababaka baffe bajjire wamu n’abaagalwa baffe, Balunabba ne Pawulo, 26 (D)abasajja abeewaddeyo okuweereza Mukama waffe Yesu Kristo nga tebabalirira bulamu bwabwe. 27 Tubatumidde Yuda ne Siira bongere okubannyonnyola n’akamwa ebyo ebiri mu bbaluwa eno. 28 (E)Kubanga kwe kuteesa kwa Mwoyo Mutukuvu, era naffe, nga tekisaanira kubatikka migugu gya bwereere egiteetaagibwa, wabula musaana okugoberera bino: 29 (F)Mwewalenga ennyama ettiddwa olw’okuweebwayo eri bakatonda abalala, mwewalenga n’okulya omusaayi, era n’ennyama ey’ebisolo ebitugiddwa, era mwewalenga obwenzi. Bwe muneegendereza ne mwewala ebintu ebyo, munaaba mukoze bulungi.

Mweraba.

30 Awo abaatumibwa ne basitula ne bagenda mu Antiyokiya, ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abakkiriza ne babakwasa ebbaluwa eyo. 31 Bwe baagisoma, essanyu ne liba jjitirivu mu Kkanisa yonna olw’ebyo ebyagirimu. 32 Awo Yuda ne Siira, olwokubanga baali bannabbi, ne boogerera ebbanga ggwanvu nga bakubiriza abooluganda okunyweza okukkiriza kwabwe. 33 (G)Awo Yuda ne Siira ne bamalayo ennaku ntonotono ne basiibula okuddayo eri abaabatuma. Abooluganda ne babatuma okulamusa abali mu Yerusaalemi n’okubeebaza olw’obubaka bwe baabaweereza. 34 Naye Siira n’asalawo okusigalayo. 35 (H)Pawulo ne Balunabba ne babeera mu Antiyokiya okumala ebbanga nga bakolera wamu n’abalala nga babuuliira Enjiri era n’okuyigiriza.

Pawulo ne Balunabba Baawukana

36 (I)Awo nga wayiseewo ennaku Pawulo n’agamba Balunabba baddeyo mu bibuga gye baabuulira Enjiri, bagende nga bakyalira abooluganda, balabe nga bwe bali. 37 (J)Balunabba n’akkiriza, wabula n’ayagala ne Yokaana Makko agende nabo. 38 (K)Naye Pawulo ekyo n’atakyagala, kubanga Makko yabaawukanako n’abaleka e Panfuliya ng’omulimu ogwabatwala tebannagumaliriza. 39 Ne balemwa okukkiriziganya mu nsonga eyo, n’ekyavaamu kwe kwawukana. Balunabba n’atwala Makko ne basaabala ku nnyanja okulaga mu Kupulo. 40 (L)Pawulo n’alonda Siira, abooluganda ne bamusabira ekisa kya Mukama mu lugendo lwe. 41 Ne bayita mu Siriya ne mu Kirukiya nga bagenda bagumya ekkanisa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.