Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 4-6

Mukama Awa Musa Obuyinza Okukola Ebyamagero

(A)Musa n’addamu nti, “Tebagenda kunzikiriza, wadde okuwuliriza ebyo bye mbagamba: kubanga bagenda kwogera nti, Mukama takulabikiranga.”

(B)Awo Mukama n’amubuuza nti, “Ekyo kiki ekiri mu ngalo zo?”

N’addamu nti, “Muggo.”

Mukama Katonda n’amugamba nti, “Gusuule wansi.”

Musa n’agusuula wansi; ne gufuuka omusota, n’agudduka! Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ogukwate akawuuwo ogusitule.” N’agolola omukono gwe n’agukwata, ne gufuuka omuggo mu mukono gwe. (C)Mukama n’amugamba nti, “Bw’olikola bw’otyo bagenda kukukkiriza, era balitegeera nga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yakulabikira.”

(D)Mukama n’amugamba nate nti, “Yingiza omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” N’ayingiza omukono gwe munda mu kyambalo kye: bwe yaguggyaayo, laba, nga gujjudde ebigenge nga gutukula ng’omuzira.

(E)Ate n’amugamba nti, “Zzaayo omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” Musa n’azzaayo omukono gwe mu kyambalo kye. Bwe yaguggyaayo, laba nga gufuuse mulamu ng’omubiri gwe ogwa bulijjo.

Mukama n’agamba Musa nti, “Bwe batalikukkiririza ku kabonero akasoose, balikukkiririza ku kabonero akookubiri. (F)Bwe bagaananga okukukkiriza nga bamaze okulaba obubonero obwo bwombi, osenanga amazzi mu mugga n’ogayiwa ku lukalu; amazzi ago g’olisena mu mugga, galifuuka omusaayi ng’ogayiye ku lukalu.”

10 (G)Awo Musa n’agamba Mukama nti, “Ayi Mukama wange, siri mwogezi mulungi okuva edda n’edda, wadde ne mu kiseera kino ggwe kaayogerera nange, omuddu wo; njogera nnembeggerera ate nga bwe nnaanaagira.” 11 (H)Mukama n’amuddamu nti, “Ani yakola akamwa k’omuntu? Ani yatonda bakasiru, ne bakiggala, n’abatunula, ne bamuzibe? Si nze, Mukama? 12 (I)Kaakano, genda! Nnaakuyambanga ng’oyogera, era nnaakuyigirizanga by’onooyogeranga.”

13 Naye Musa n’agamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde tuma omuntu omulala.” 14 (J)Mukama n’asunguwalira nnyo Musa, n’amugamba nti, “Muganda wo Alooni Omuleevi, taliiwo? Mmanyi nga mwogezi mulungi; era, laba, ajja gy’oli, era bw’anaakulabako ajja kusanyuka mu mutima gwe. 15 (K)Ggwe ojja kwogeranga naye, nze nnaakutegeezanga ky’onoomugambanga, nange n’abayambanga mwembi, ne mbayigiriza eky’okukola. 16 (L)Y’anaakwogereranga eri abantu, ng’abategeeza bye wandiyogedde; ggwe n’oba nga Katonda gy’ali, ng’omutegeezanga by’anaayogeranga. 17 (M)Era oligenda n’omuggo guno, ng’ogukutte mu mukono gwo; gw’onookozesanga ebyamagero.”

18 Awo Musa n’addayo eri Yesero, kitaawe wa mukazi we n’amugamba nti, “Nkusaba onzikirize ŋŋende ndabe obanga baganda bange e Misiri bakyali balamu.” Yesero n’addamu Musa nti, “Genda mirembe.”

Musa Addayoko e Misiri

19 (N)Awo Mukama n’ayogera ne Musa e Midiyaani nti, “Genda, oddeyo e Misiri kubanga abantu bonna abaali baagala okukutta, baafa.” 20 (O)Musa n’addira mukyala we n’abaana be, n’abassa ku ndogoyi, n’asitula okuddayo mu nsi y’e Misiri, ng’akutte omuggo gwa Katonda mu ngalo ze.

21 (P)Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oddangayo e Misiri, okoleranga ebyamagero ebyo byonna bye nkulaze, awali Falaawo. Nze ndikakanyaza omutima gwe, abantu bange aleme okubakkiriza okugenda. 22 (Q)Falaawo omugambanga bw’oti nti, Mukama agambye nti, ‘Isirayiri mutabani wange, ye mwana wange omubereberye; 23 (R)era nkulagira oleke omwana wange agende ampeereze; naye singa ogaana okumuleka okugenda, laba, nditta mutabani wo omubereberye.’ ”

24 (S)Awo bwe baali bagenda nga batuuse ku nnyumba y’abagenyi, Mukama n’amulabikira, n’ayagala okumutta. 25 (T)Naye Zipola n’addira ejjinja eryogi, n’akomola omwana we, ekikuta n’akisuula ku bigere bya Musa, n’amugamba nti, “Oli baze wa musaayi!” 26 Awo Mukama n’amuleka. Mu kaseera ako Zipola we yayogerera ku kukomola nti, “Baze wange ng’osaabye omusaayi!”

27 (U)Awo Mukama n’agamba Alooni nti, “Genda mu ddungu, osisinkane Musa. N’agenda, n’amusanga ku lusozi lwa Katonda, ne bagwaŋŋana mu bifuba.” 28 (V)Musa n’abuulira Alooni ebigambo byonna Mukama bye yali amutumye okwogera, n’obubonero bwonna obw’ebyamagero bwe yamulagira okukola.

29 (W)Musa ne Alooni ne bagenda, ne bakuŋŋaanya abakulu abakulembeze b’abaana ba Isirayiri; 30 Alooni n’abategeeza byonna Mukama bye yagamba Musa; era n’abakolera n’obubonero, 31 (X)ne bakkiriza. Era bwe baawulira nga Mukama yakyalira abaana ba Isirayiri, n’alaba okubonaabona kwabwe, ne bakoteka emitwe gyabwe ne basinza.

Falaawo Aziyiza Abayisirayiri Okuva mu Misiri

(Y)Oluvannyuma lw’ebyo, Musa ne Alooni ne bajja eri Falaawo, ne bamugamba nti, “Tutumiddwa Mukama Katonda wa Isirayiri ng’akugamba nti, ‘Leka abantu bange bagende, bankolere embaga mu ddungu.’ ”

(Z)Naye Falaawo n’abaddamu nti, “Mukama ye ani, mmugondere, nzikirize Abayisirayiri, sijja kubakkiriza kugenda.”

(AA)Ne bamugamba nti, “Katonda w’Abaebbulaniya yatulabikira. Tukusaba otuleke tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe;[a] aleme kututta ne kawumpuli, oba n’ekitala.”

(AB)Naye kabaka w’e Misiri n’abagamba nti, “Mmwe Musa ne Alooni, lwaki mwagala okuggya abantu ku mirimu gyabwe? Muddeeyo mangu ku mirimu gyammwe.” (AC)Falaawo n’ayongera n’agamba nti, “Kale, mulabe abantu nga bwe beeyongedde obungi mu ggwanga ate mmwe mubaziyiza kukola.”

Ku lunaku olwo lwennyini Falaawo n’alagira abagabi b’emirimu ne bannampala b’abantu[b] nti, “Mulekeraawo okuwanga abantu essubi ery’okukozesa mu kubumba amatoffaali; mubaleke bagende beenoonyezenga essubi lyabwe.[c] Naye mubalagire babumbenga obungi bw’amatoffaali bwe bumu nga ge babadde babumba; temukendeezanga ku muwendo ogwabasalirwa. Bagayaavu; era kyebava bankaabirira nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’ Abasajja mubongereko ku mirimu gye mubasalira, bakole nnyo, balyoke baleme na kufa ku ebyo bye babalimbalimba.”

Abakozesa Bongera ku Mirimu gy’Abayisirayiri

10 Awo abakozesa ne bannampala ne bagenda ne bategeeza abantu nti, “Falaawo agambye bw’ati nti, ‘Sijja kwongera kubawanga ssubi. 11 Mugende mwenoonyeze essubi yonna gye musobola okuliraba; kyokka emirimu gyammwe tegijja kukendeezebwako n’akatono.’ ” 12 Bwe batyo abantu ne basaasaanira Misiri yonna okukuŋŋaanya obukonge bw’essubi ly’eŋŋaano bakozese obwo mu kifo ky’essubi. 13 Abakozesa ne babakuluusanyanga nga babalagira nti, “Emirimu gyammwe egibasalirwa buli lunaku, mugituukirize nga bwe mwakolanga ng’essubi likyabaweebwa.” 14 (AD)Bannampala Abayisirayiri, abaalondebwa abakozesa ba Falaawo, ne bakubibwanga nga bwe babuuzibwa nti, “Lwaki omuwendo gw’amatoffaali ogwa jjo n’ogwa leero ogwabasalirwa temugutuukirizza nga bwe mwakolanga edda?”

15 Awo bannampala Abayisirayiri ne bajja ne bajulira ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Ffe abaddu bo, lwaki otuyisizza bw’oti? 16 Abaddu bo tetuweebwa ssubi, kyokka tulagirwa nti, ‘Mubumbe amatoffaali!’ Abaddu bo tukubibwa, so ng’omusango guli mu bantu bo.” 17 (AE)Falaawo n’abaddamu nti, “Muli bagayaavu bugayaavu kyokka. Kyemuva mundeeberera nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Mukama.’ 18 Kale, mugende mukole! Temujja kuweebwa ssubi, naye muteekwa okubumba omuwendo gw’amatoffaali omujjuvu nga bwe gwabasalirwa.”

19 Bannampala Abayisirayiri ne bategeera ng’akacwano kabatuukiridde, bwe baagambibwa nti, “Omuwendo gw’amatoffaali ogwabasalirwa okubumbanga buli lunaku tegujja kukendeezebwako.” 20 Bwe baava ewa Falaawo, baasanga Musa ne Alooni nga babalindiridde. 21 (AF)Bannampala ne babagamba nti, “Mukama abatunuulire era asalewo; kubanga mutufudde ekyenyinyalwa ewa Falaawo n’abaweereza be, era mubakwasizza ekitala okututta.”

Katonda Asuubiza Okununula Abayisirayiri

22 (AG)Awo Musa n’akomawo awali Mukama, n’ayogera nti, “Ayi Mukama, abantu bano lwaki obaleetedde emitawaana? Eyo y’ensonga kyewava ontuma? 23 (AH)Kubanga kasookedde ŋŋenda ne njogera ne Falaawo mu linnya lyo, abantu bo abataddeko ebizibu bingi; era abantu bo tobawonyezza n’akatono.”

(AI)Awo Mukama n’addamu Musa nti, “Kaakano ojja kulaba kye nnaakola Falaawo. Kubanga alibaleka ne bagenda olw’amaanyi, era olw’amaanyi alibagoba mu nsi ye.”

Katonda n’agamba Musa nti, “Nze Mukama. (AJ)Nalabikira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo nga Katonda Ayinzabyonna; kyokka saabategeeza linnya lyange nti Nze Mukama. (AK)Era nabasuubiza mu ndagaano yange okubawa ensi ya Kanani, gye baabeerangamu ng’abagwira abatambuze. (AL)Kaakano mpulidde okusinda kw’abaana ba Isirayiri abatuntuzibwa Abamisiri mu buddu, ne nzijukira endagaano yange.

(AM)“Noolwekyo tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze Mukama. Ndibatikkulako emigugu gy’Abamisiri, era ndibawonya obuddu, ne mbanunula n’omukono gwange ogw’amaanyi nga nsalira Abamisiri omusango. (AN)Ndibafuula abantu bange, era nnaabeeranga Katonda wammwe, era mulitegeera nga nze Mukama Katonda wammwe abawonyezza ebizibu by’Abamisiri. (AO)Ndibaleeta mu nsi gye nalayira okuwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigibawa n’efuuka yammwe. Nze Mukama.’ ”

Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri ebigambo ebyo. Naye tebaamuwuliriza, kubanga emitima gyali gibennyise, nga n’okutuntuzibwa kubayitiridde.

10 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 11 “Genda otegeeze Falaawo kabaka w’e Misiri aleke abaana ba Isirayiri bave mu nsi ye.”

12 (AP)Naye Musa n’addamu Mukama nti, “Laba, abaana ba Isirayiri bagaanyi okumpuliriza, kale Falaawo anampuliriza atya nze atayogera bulungi?” 13 Naye Mukama n’ayogera ne Musa ne Alooni, n’abalagira bategeeze abaana ba Isirayiri ne Falaawo nti, Mukama abalagidde okuggya abaana ba Isirayiri mu nsi y’e Misiri.

Obuzaale bwa Musa ne Alooni

14 (AQ)Gano ge mannya aga bajjajjaabwe ab’omu bika byabwe:

Batabani ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano:

Kanoki ne Palu, Kezulooni ne Kalumi.

15 (AR)Batabani ba Simyoni:

Yamweri ne Yamini, ne Okadi, Yakini ne Zokali, Sawuli (omwana w’omukyala Omukanani).

Abo be b’omu mu bika bya Simyoni.

16 (AS)Gano ge mannya ga batabani ba Leevi ng’emirembe bwe giri:

Gerusoni ne Kokasi ne Merali.

Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.

17 (AT)Batabani ba Gerusoni be bano mu bika byabwe:

Libuni ne Simeeyi.

18 (AU)Bano be batabani ba Kokasi:

Amulaani ne Izukali, Kebbulooni ne Wuziyeeri.

Kokasi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu.

19 (AV)Bano be batabani ba Merali:

Makuli ne Musi.

Abo be b’omu bika bya Leevi ng’emirembe gyabwe bwe gyali.

20 (AW)Amulaamu n’awasa senga we Yokebedi; n’amuzaalira: Alooni ne Musa.

Amulaamu n’awangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.

21 (AX)Bano be baana ba Izukali:

Koola ne Nefega ne Zikiri.

22 (AY)Abaana ba Wuziyeeri be bano:

Misayeri ne Erizafani ne Sisiri.

23 (AZ)Alooni n’awasa Eriseba, muwala wa Aminadaabu era nga ye mwannyina wa Nakayisoni. Yamuzaalira abaana bano: Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.

24 (BA)Bano be baana ba Koola:

Asira ne Erukaana, ne Abiyasaafu.

Abo be b’omu kika kya Abakoola.

25 (BB)Eriyazaali, mutabani wa Alooni, yawasa omu ku bawala ba Putiyeeri, n’amuzaalira Finekaasi.

Ago ge mannya g’abakulu b’ebika by’Abaleevi, n’ennyumba zaabwe mu bika ebyo.

26 (BC)Abo ye Alooni ne Musa Mukama be yalagira nti, “Muggyeeyo abaana ba Isirayiri bonna mu nsi y’e Misiri.” 27 Be bo abaayogera ne Falaawo, kabaka w’e Misiri, ku by’okuggyayo abaana ba Isirayiri mu Misiri. Ye Musa oyo, ne Alooni oyo.

28 Ku lunaku olwo Mukama kwe yayogerera ne Musa mu nsi y’e Misiri, 29 (BD)Mukama yagamba Musa nti, “Nze Mukama. Tegeeza Falaawo, kabaka w’e Misiri, buli kimu kyonna kye nkugamba.” 30 (BE)Naye Musa n’addamu Mukama nti, “Nze atamanyi kwogera bulungi, Falaawo anampuliriza atya?”

Matayo 14:22-36

Yesu Atambulira ku Mazzi

22 Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale eryato bagende emitala w’ennyanja, ye asigale ng’akyasiibula abantu. 23 (A)Bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayambuka ku lusozi yekka okusaba. Obudde ne buziba ng’ali eyo yekka. 24 Eryato abayigirizwa mwe baali bwe lyatuuka ebuziba, omuyaga mungi ne gubafuluma mu maaso eryato ne lyesunda.

25 Awo ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro, Yesu n’ajja gye bali ng’atambula ku nnyanja. 26 (B)Naye abayigirizwa bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne batya, nga balowooza nti muzimu.

27 (C)Awo amangwago Yesu n’abagamba nti, “Mugume, Nze nzuuno temutya.”

28 Peetero n’amugamba nti, “Obanga ye ggwe ddala Mukama waffe, ndagira nange nzije gy’oli nga ntambulira ku mazzi.”

29 Yesu n’amuddamu nti, “Kale jjangu.” Peetero n’ava mu lyato n’atambulira ku mazzi okugenda eri Yesu.

30 Naye Peetero bwe yalaba omuyaga ogw’amaanyi, n’atya n’atandika okusaanawo, n’akoowoola Yesu nti, “Mukama wange, ndokola!”

31 (D)Amangwago Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwata, n’amugamba nti, “Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?”

32 Bwe baalinnya mu lyato omuyaga gwonna ne guggwaawo. 33 (E)N’abo abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti, “Ddala ddala oli Mwana wa Katonda!”

34 Bwe baasomoka ne bagukkira ku lukalu e Genesaleeti. 35 Abantu b’omu kitundu ekyo bwe baamutegeera ne batumya abalwadde bonna ne babamuleetera. 36 (F)Ne bamwegayirira waakiri bakomeko bukomi ku lukugiro lw’ekyambalo kye, era buli eyakomako n’awonyezebwa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.