Old/New Testament
Yeremiya asibibwa mu Kkomera
37 (A)Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’afuula Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda okuba kabaka wa Yuda mu kifo kya Koniya mutabani wa Yekoyakimu. 2 (B)Wabula ye wadde abakungu be wadde abantu ab’omu nsi tebaafaayo ku bigambo Mukama bye yali ayogedde ng’ayita mu nnabbi Yeremiya.
3 (C)Wabula kabaka Zeddekiya n’atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, bamutegeeze nti, “Tusabire eri Mukama Katonda waffe.”
4 (D)Awo Yeremiya yali alina eddembe okujja nga bw’ayagala mu bantu, kubanga yali tannaba kuteekebwa mu kkomera. 5 (E)Eggye lya Falaawo lyali livudde e Misiri era Abakaludaaya abaali balumbye Yerusaalemi bwe baakiwulira, ne bava e Yerusaalemi.
6 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Yeremiya nga kigamba nti, 7 (F)“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okunnebuuzako nti, ‘Eggye lya Falaawo erizze okubayambako, lijja kuddayo mu nsi yaalyo e Misiri. 8 (G)Abakaludaaya bakomewo balumbe ekibuga kino; bajja kukiwamba bakyokye.’
9 (H)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temwerimbarimba nga mulowooza nti, ‘Abakaludaaya ddala baakutuleka.’ Tebajja kubaleka. 10 Wadde nga mwandiwangudde, eggye lyonna erya Babulooni eribalumbye, abatuusiddwako ebisago bokka nga be basigadde mu weema zaabwe, bandivuddeyo ne bookya ekibuga kino.”
11 (I)Awo eggye ly’Abakaludaaya nga livudde mu Yerusaalemi olw’eggye lya Falaawo, 12 (J)Yeremiya n’ava mu kibuga agende mu bitundu bya Benyamini afune omugabo gwe ogw’ebintu mu bantu eyo. 13 Naye bwe yatuuka ku mulyango gwa Benyamini, Omukulu w’abaserikale eyali ayitibwa Iriya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kananiya n’amukwata n’agamba nti, “Ogenda kwegatta ku Bakaludaaya!”
14 (K)Yeremiya n’amuddamu nti, “Ompayiriza! Sigenda kusenga Bakaludaaya.” Naye Iriya n’atamuwuliriza; n’akwata Yeremiya n’amutwala eri abakungu. 15 (L)Baanyiigira Yeremiya ne bamukuba ne bamusibira mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, gye baali bafudde ekkomera.
16 Yeremiya yateekebwa mu kasenge akaali mu kkomera mwe yamala ebbanga eddene. 17 (M)Awo kabaka Zeddekiya n’amutumya n’amuleeta mu lubiri gye yamubuuliza mu kyama nti, “Olinayo ekigambo kyonna okuva eri Mukama?” Yeremiya n’addamu nti, “Weewaawo, ojja kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni.”
18 (N)Awo Yeremiya n’agamba Kabaka Zeddekiya nti, “Musango ki gwe nzizizza gy’oli oba eri abakungu bo oba abantu bano; mulyoke munteeke mu kkomera? 19 Bannabbi bo baluwa abakulagula nti, ‘Kabaka w’e Babulooni tajja kukulumba ggwe wadde ensi eno? 20 Naye kaakano mukama wange kabaka nsaba owulirize, nkwegayirira, tonzizaayo mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, kuba nandifiira eyo.’ ”
21 (O)Kabaka Zeddekiya n’alyoka alagira Yeremiya okuteekebwa mu luggya lw’abakuumi n’aweebwanga omugaati buli lunaku okuva ew’omufumbi waagyo mu Yerusaalemi, okutuusa emigaati lwe gyaggwa mu kibuga. Awo Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abaserikale abakuumi.
Yeremiya Asuulibwa mu Kinnya
38 (P)Awo Sefatiya mutabani wa Mattani ne Gedaliya mutabani wa Pasukuli ne Yukali mutabani wa Malukiya ne bawulira ebigambo Yeremiya bye yali agamba abantu bonna nti, 2 (Q)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Buli muntu anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, enjala oba kawumpuli, naye buli afuluma n’agenda eri Abakaludaaya ajja kuba mulamu.’ 3 (R)Era bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ekyamazima ekibuga kino kya kuweebwayo eri eggye lya kabaka w’e Babulooni; anaakiwamba.’ ”
4 (S)Awo abakungu ne bagamba kabaka nti, “Omusajja ono asaana kuttibwa. Amalamu abaserikale abasigadde mu kibuga amaanyi, era n’abantu bonna, olw’ebintu by’abagamba. Omuntu ono tanoonya bulungi bw’abantu naye kuzikirizibwa kwabwe.”
5 Kabaka Zeddekiya n’addamu nti, “Ali mu mikono gyammwe, siyinza kubawakanya.”
6 (T)Awo ne batwala Yeremiya ne bamuteeka mu kinnya kya Malukiya mutabani wa kabaka ekyali mu luggya lw’abakuumi. Yeremiya ne baamussaayo n’emiguwa mu kinnya. Tekyalimu mazzi wabula ebitosi, era omwo Yeremiya mwe yabbika.
7 (U)Naye Ebedumeleki Omuwesiyopya omu ku balaawe b’omu lubiri lwa kabaka bwe yawulira nga batadde Yeremiya mu kinnya, nga ne kabaka atudde ku mulyango gwa Benyamini, 8 Ebedumeleki n’ava mu lubiri n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, 9 (V)“Mukama wange kabaka, abantu bano bakoze bubi mu byonna bye bakoze nnabbi Yeremiya okumusuula mu kinnya, gy’anafiira enjala nga tekyali mugaati gwonna mu kibuga.”
10 Awo kabaka n’alagira Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, “Twala abasajja amakumi asatu okuva wano musitule nnabbi Yeremiya okuva mu kinnya nga tannafa.”
11 Awo Ebedumeleki n’atwala abasajja ne bagenda mu kisenge wansi w’etterekero ly’ensimbi mu lubiri. Nakwata ebigoye ebimu ebikadde n’engoye enziinaziina n’abissa awamu n’emiguwa eri Yeremiya mu kinnya. 12 Ebedumeleki Omuwesiyopya n’agamba Yeremiya nti, “Teeka ebigoye bino ebikadde wansi w’enkwawa zo okunyweza emiguwa wansi w’emikono gyo.” Yeremiya n’akola bw’atyo. 13 (W)Ne bamusikayo n’emiguwa ne bamuggya mu kinnya. Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abakuumi.
Zeddekiya Addamu Okubuuza Yeremiya
14 (X)Kabaka Zeddekiya n’atumya nnabbi Yeremiya bamuleete ku mulyango ogwokusatu ogwa yeekaalu ya Mukama. Kabaka n’agamba Yeremiya nti, “Nnina kye ŋŋenda okukubuuza. Tobaako ky’onkweka.”
15 Yeremiya n’agamba Zeddekiya nti, “Bwe nnaakuddamu tonzite? Ne bwe nnaakuwa amagezi tojja kumpuliriza.”
16 (Y)Naye kabaka Zeddekiya n’alayira ekirayiro mu kyama eri Yeremiya nti, “Nga Katonda bw’ali omulamu, eyatuwa omukka gwe tussa, sijja kukutta wadde okukuwaayo eri abo abanoonya okukutta.”
17 (Z)Awo Yeremiya n’agamba Zeddekiya nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Singa weewaayo eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, ojja kukuumibwa bulungi tootuukibweko kabi konna, n’ekibuga kino tekijja kwokebwa; ggwe n’ab’omu maka go munaabeera balamu. 18 (AA)Naye bw’oteweeyo eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, ekibuga kino kijja kuweebwayo eri Abakaludaaya bakyokye; nawe wennyini tojja kubawona.’ ”
19 (AB)Kabaka Zeddekiya n’agamba Yeremiya nti, “Ntya Abayudaaya abaddukidde mu Babulooni, kubanga Abakaludaaya bayinza okumpaayo gye bali ne bambonyaabonya.”
20 (AC)Yeremiya n’amuddamu nti, “Tebaakuweeyo. Ggwe gondera Mukama Katonda ng’okola kye nkugamba. Olwo binaakugendera bulungi, nawe tojja kuttibwa. 21 Naye bwonoogaana okwewaayo, kino Mukama kyandaze: 22 (AD)Abakazi bonna abasigadde mu lubiri lwa kabaka wa Yuda bajja kuleetebwa eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, bakugambe nti,
“ ‘Mikwano gyo gye weesiga
baakubuzaabuza ne bakuwangula.
Kaakano otubidde mu ttosi.
Mikwano gyo gikudduseeko.’
23 (AE)“Bakazi bo n’abaana bo bonna balireetebwa eri Abakaludaaya. Ggwe kennyini tojja kubasumattuka ojja kukwatibwa kabaka w’e Babulooni; n’ekibuga kino kijja kwokebwa.”
24 Awo Zeddekiya n’agamba Yeremiya nti, “Tobuulirako muntu n’omu ku bye twogedde, bw’onookikola ojja kufa. 25 Abakungu bwe banaawulira nti wayogeddeko nange ne bajja ne bakubuuza nti, ‘Tubuulire kye wagambye kabaka ne kabaka kye yakuzeemu, totukweka kintu kyonna sikulwa nga tukutta,’ 26 (AF)bagambe nti, ‘Mbadde neegayirira kabaka aleme kunzizaayo eri mu nnyumba ya Yonasaani okufiira eyo.’ ”
27 Abakungu bonna ne bajja eri Yeremiya okumubuuza, n’abaddamu byonna nga kabaka bye yamulagira okwogera. Ne bataddayo ku mubuuza kintu kyonna, kubanga tewaali n’omu eyali awulidde bye yali ayogedde ne kabaka.
28 (AG)Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abakuumi okutuusa olunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa.
Okugwa kwa Yerusaalemi
Yerusaalemi bwe kiti bwe kyawambibwa: 39 1 (AH)Mu mwaka ogwomwenda ogw’obufuzi kwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’alumba Yerusaalemi, n’eggye lye lyonna, n’akizingiza. 2 Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi kwa Zeddekiya, ekisenge ky’ekibuga kyabotolwa. 3 (AI)Awo Nerugalusalezeeri, ne Samugaluneebo, ne Salusekimu, ne Labusalisi, ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, n’abakungu abalala bonna aba kabaka w’e Babulooni ne bajja ne batuula mu mulyango ogwa wakati ogwa Yerusaalemi. 4 Awo Zeddekiya kabaka wa Yuda n’abaserikale be bonna bwe babalaba ne bava mu kibuga kiro ne badduka; ne bayita mu nnimiro ya kabaka, nga bayita mu mulyango wakati w’ebisenge ebibiri, ne boolekera Alaba.
5 (AJ)Naye eggye ly’Abakaludaaya ne libagoba ne lisanga Zeddekiya mu nsenyi ez’e Yeriko, ne bamuwamba, ne bamuleeta eri kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni e Libuna mu nsi y’e Kamasi; n’amusalira eyo omusango. 6 Kabaka w’e Babulooni n’attira batabani ba Zeddekiya mu maaso ga kitaabwe e Libuna, era kabaka w’e Babulooni n’atta abakungu ba Yuda bonna. 7 (AK)Nebukadduneeza n’aggyamu Zeddekiya amaaso, n’amusiba mu masamba n’amutwala e Babulooni.
8 (AL)Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka n’ennyumba z’abantu, ne bamenya n’ebisenge bya Yerusaalemi. 9 (AM)Awo Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye n’atwala abantu abaali basigaddewo mu kibuga, n’abo abaali bamwegasseeko, n’abo abaali basigaddewo mu bifo ebirala, e Babulooni. 10 Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, n’aleka abamu ku bantu abaavu abaali batalina kantu, mu nsi ya Yuda; n’abawa ebibanja n’ennimiro z’emizabbibu.
11 Awo Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yali awadde Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Babulooni, ebiragiro bino ebikwata ku Yeremiya ng’amugamba nti, 12 (AN)“Mmutwale omulabirire: tomubonyaabonya wabula mukolere byonna by’ayagala.” 13 Awo Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, ne Nebusazibaani omukungu ow’oku ntikko ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, n’abakungu bonna aba kabaka w’e Babulooni, 14 (AO)ne batumya ne baggya Yeremiya mu luggya lw’abaserikale. Ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, amuzzeeyo ewaabwe. Olwo n’asigala n’abantu be.
15 Yeremiya bwe yali asibiddwa mu luggya lw’abaserikale abakuumi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, 16 (AP)“Genda ogambe Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okutuukiriza ebigambo byange eri ekibuga kino nga nkozesa ebibonoobono, si kukulaakulana. Mu biseera ebyo birituukirizibwa nga mulaba n’amaaso gammwe. 17 (AQ)Naye ndikuwonya ku lunaku olwo,’ bw’ayogera Mukama; ‘toliweebwayo eri abo b’otya. 18 (AR)Ndikuwonya; tolittibwa, olisigala ng’oli mulamu, kubanga onneesiga, bw’ayogera Mukama.’ ”
Yesu Mukulu okusinga Musa
3 (A)Kale abooluganda abatukuvu, Katonda b’ayise, mulowoozenga ku Yesu, Omutume Omukulu era Kabona Asinga Obukulu, gwe twatula. 2 (B)Yali mwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna. 3 Kubanga ng’omuzimbi bw’aweebwa ekitiibwa okusinga ennyumba gy’azimbye, bw’atyo Yesu wa kitiibwa okusinga Musa. 4 Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba, naye Katonda ye y’azimba buli kintu. 5 (C)Musa yali muweereza mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna, eyayogera eby’obunnabbi ku bintu ebyali bigenda okwogerwa mu biro eby’omu maaso. 6 (D)Naye ate Kristo ye Mwana omwesigwa, akulira ennyumba ya Katonda; ate ffe tuli nnyumba y’oyo bwe tunywera ne tuba bavumu ne twenyumiririza mu ssuubi lye tunywezezza.
Ekiwummulo ky’Abaana ba Katonda
7 (E)Noolwekyo nga Mwoyo Mutukuvu bw’agamba nti,
“Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
8 temukakanyaza mitima gyammwe,
nga bali bwe baajeema,
ku lunaku lwe bagezesaako Katonda mu ddungu.
9 (F)Bajjajjammwe bangezesa,
ne balaba bye nakola mu myaka amakumi ana.
10 Kyennava nsunguwalira omulembe ogwo, ne njogera nti bulijjo baba bakyamu mu mitima gyabwe,
era tebamanyi makubo gange.
11 (G)Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”
12 Mwekuume abooluganda, omutima omubi ogw’obutakkiriza gulemenga kuba mu muntu yenna ku mmwe, ne gubaggya ku Katonda omulamu. 13 (H)Mubuuliraganenga mwekka na mwekka bulijjo ng’ekiseera kikyaliwo, waleme okubaawo n’omu ku mmwe akakanyazibwa obulimba bw’ekibi. 14 (I)Olw’okubanga tussa kimu mu Kristo, tunywereze ddala obwesige bwaffe bwe twatandika nabwo, era tubunywereze ddala okutuusa ku nkomerero. 15 (J)Kyogerwako nti,
“Leero bwe munaawulira eddoboozi lye
temukakanyaza mitima gyammwe
nga bwe mwakola bwe mwajeema.”
16 (K)Be baani abaawulira, naye ne bajeema? Si abo bonna abaava mu Misiri ne Musa? 17 (L)Era baani be yanyiigira okumala emyaka amakumi ana? Si abo abaayonoona ne bafiira mu ddungu? 18 (M)Era baani abo Katonda be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye? Si abo abataagonda? 19 (N)Era tulaba nga baalemwa okuyingira olw’obutakkiriza bwabwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.