Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 30-31

Zirisanze Eggwanga Ejjeemu

30 (A)“Zibasanze abaana abajeemu,
    Abakola enteekateeka ezitali zange ne bazituukiriza
ne batta omukago[a] awatali Mwoyo wange
    ne bongera ekibi ku kibi,” bw’ayogera Mukama.
(B)“Baserengeta e Misiri nga tebanneebuuzizzaako,
    ne banoonya obuyambi ewa Falaawo,
n’okuva eri ekisiikirize kya Misiri
    okuba obuddukiro.
(C)Naye obukuumi bwa Falaawo buliswazibwa,
    n’ekisiikirize kya Misiri kirikuswaza.
(D)Newaakubadde nga balina abakungu mu Zowani
    n’ababaka baabwe batuuse e Kanesi,
(E)buli muntu aliswazibwa
    olw’eggwanga eritabagasa,
abataleeta buyambi newaakubadde okuba ab’omugaso,
    okuggyako ensonyi n’ekivume,” bw’ayogera Mukama.

(F)Obunnabbi obukwata ku nsolo za Negevu bwe buno:

Ababaka bayita mu nsi nga balaba ennaku
    ne batawaanyizibwa
mu nsi erimu empologoma ensajja n’enkazi,
    erimu essalambwa n’omusota ogw’obusagwa
nga batadde eby’obugagga byabwe ku ndogoyi,
    n’ebintu byabwe eby’omuwendo ku mabango g’eŋŋamira
nga boolekedde ensi etaliimu magoba.
    Bagenda e Misiri, eterina kyeyinza kubayamba n’akatono.
Kyenva muyita Lakabu
    ataliiko kyayinza kukola.

(G)Genda kaakano, okibawandiikire ku kipande,
    okiwandiike ku mizingo,
kibabeererenga obujulizi
    obw’emirembe n’emirembe mu nnaku ezigenda okujja.
(H)Weewaawo bano bantu bajeemu,
    baana balimba, baana abateetegese kuwulira biragiro bya Mukama.
10 (I)Bagamba abalabi nti,
    “Temuddayo kufuna kwolesebwa,”
N’eri bannabbi boogera nti,
    “Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu.
Mututegeeze ebitusanyusa,
    mulagule ebituwabya.
11 (J)Muve mu kkubo lino,
    mukyame muve ku luguudo luno,
mulekeraawo okututegeeza
    ku Mutukuvu wa Isirayiri.”

12 (K)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti,

“Olw’okugaana obubaka buno,
    ne mwesiga okunyigirizibwa,
    ne mwesiga omulimba,
13 (L)ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu,
    alimu enjatika era azimbye,
    okutemya n’okuzibula ng’agudde.
14 (M)Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,
    n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira,
era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika
    okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto,
    oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”

15 (N)Weewaawo bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti,

“Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe,
    mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli amaanyi gammwe,
    naye temufuddeeyo.
16 (O)Wayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’
    Kyoliva odduka.
Wayogera nti, ‘Tuliddukira ku mbalaasi ezidduka ennyo.’
    Ababagoba kyebaliva bawenyuka emisinde.
17 (P)Abantu olukumi balidduka
    olw’okutiisibwatiisibwa kw’omuntu omu;
Olw’okutiisibwatiisibwa kw’abataano,
    olidduka,
Okutuusa lw’olisigala ng’omulongooti okuwanikibwa bbendera oguli ku ntikko y’olusozi,
    ng’ebendera eri ku kasozi.”

18 (Q)Songa Mukama ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli;
    era agolokoka okukulaga okusaasira.
Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya,
    balina omukisa bonna abamulindirira.

19 (R)Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula. 20 (S)Newaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogw’okulaba ennaku, n’amazzi ag’okubonaabona,[b] abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba n’amaaso go. 21 (T)Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.” 22 (U)Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.”

23 (V)Alibaweereza n’enkuba olw’ensigo z’osiga mu ttaka, n’emmere eva mu ttaka eggimu nga nnyingi. Mu biro ebyo ente zo ziririira mu ddundiro eggazi. 24 (W)Ente n’endogoyi ezirima ettaka zirirya omuddo ogwaterekebwa n’emmere ensotte, eyawewebwa n’ekitiiyo eky’amannyo. 25 (X)Mu biro eby’okuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gy’amazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu. 26 (Y)Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.

27 (Z)Laba, erinnya lya Mukama liva wala
    n’obusungu obubuubuuka n’omukka ogukutte ng’ekire;
emimwa gye gijjudde ekiruyi,
    n’olulimi lwe muliro ogusaanyaawo.
28 (AA)Omukka gwe guli ng’omugga gw’amazzi
    agakulukuta n’amaanyi, agabimba okutuuka mu bulago.
Anyeenyanyeenya amawanga mu kakuŋŋunta ak’okuzikirizibwa
    era mu mba z’abantu ateekamu eddobo ery’okubawabya.
29 (AB)Oluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu;
omutima gwo gulijaguza ng’abantu bwe bajaguza nga bafuuwa endere
ku lusozi lwa Mukama, ku lwazi lwa Isirayiri.
30 Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa,
    alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira.
31 (AC)Weewaawo eddoboozi lya Mukama lirisesebbula Bwasuli,
    alibakuba n’omuggo gwe ogw’obwakabaka.
32 (AD)Buli muggo Mukama gw’anakukubanga
    n’oluga lwe olubonereza,
guliba ng’ebivuga by’ebitaasa n’entongooli,
    ng’abalwanyisa n’omukono gwe mu ntalo.
33 (AE)Weewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka;
    ky’ateekebwateekebwa kabaka.
Ekinnya kyakyo eky’omuliro
    kiwanvu era kigazi,
kijjudde omuliro n’enku;
    omukka gwa Mukama
    gugukoleeza ng’omugga gwa salufa.

Zibasanze abo Abeesiga Misiri

31 (AF)Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa,
    abeesiga embalaasi,
abeesiga amagaali gaabwe amangi,
    abeesiga amaanyi amangi ag’abeebagala embalaasi
ne batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiri
    wadde okunoonya obuyambi bwa Mukama.
(AG)Kyokka Mukama mugezi era asobola okuleeta akabi;
    tajjulula bigambo bye.
Aligolokokera ku nnyumba y’abatali batuukirivu,
    ne ku abo abayamba abakozi b’ebibi.
(AH)Naye Abamisiri bantu buntu si Katonda
    n’embalaasi zaabwe mibiri bubiri.
Katonda bw’agolola omukono gwe
    oyo ayamba, alyesittala,
    n’oyo ayambibwa aligwa
    era bombi balizikiririra wamu.
(AI)Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama gye ndi nti,
“Ng’empologoma bwe wuluguma,
    empologoma ey’amaanyi bwe wulugumira ku muyiggo gwayo
era newaakubadde ng’ekibinja ky’abasumba
    kiyitibwa awamu okugirumba,
tetiisibwatiisibwa kuwowogana kwabwe,
    newaakubadde oluyoogaano lwabwe.
Bw’atyo ne Mukama Katonda ow’Eggye bw’aliserengeta,
    okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku busozi bwa lwo.
(AJ)Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu,
    bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye bw’alisaanikira Yerusaalemi;
alikikuuma, n’akiwonya,
    alikiyitamu n’akirokola.”

Mudde eri oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isirayiri. (AK)Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola.

(AL)“Bwasuli kirigwa n’ekitala ekitali kya muntu;
    ekitala ekitali ky’abo abafa kirimusaanyaawo.
Alidduka ekitala,
    n’abavubuka be balikozesebwa emirimu egy’amaanyi n’obuwaze.
(AM)Ekigo kyabwe kirigwa olw’okutya,
    n’abaduumizi baabwe balitekemuka omutima olw’okulaba ebbendera ey’olutalo,”
bw’ayogera Mukama
    nannyini muliro oguli mu Sayuuni,
    era nannyini kikoomi ekiri mu Yerusaalemi.

Abafiripi 4

Okuyigiriza

(A)Kale, baganda bange abaagalwa, era be nnumirirwa omwoyo, mmwe ssanyu lyange era mmwe ngule yange; noolwekyo abaagalwa, muyimirire mu Mukama waffe.

(B)Ewudiya ne Sintuke mbeegayirira mukkiriziganye mu Mukama waffe. Era ggwe mukozi munnange, nkusaba oyambenga abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw’okubunyisa Enjiri. Abo awamu ne Kerementi, era ne bakozi bannange abalala, amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu.

(C)Musanyukirenga mu Mukama waffe bulijjo. Nziramu okubagamba nti musanyukenga. (D)Era mubeere n’okuzibiikiriza eri abantu bonna. Mukama waffe, ali kumpi. (E)Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga. (F)N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.

Eky’enkomerero, abooluganda, mulowoozenga ku buli kya mazima, na buli ekisiimibwa na buli kya butuukirivu, na buli kirongoofu, na buli kyagalibwa, na buli kyogerwako obulungi, era bwe wabangawo ekirungi oba bwe wabangawo ettendo, ebyo mubirowoozengako. (G)Ebyo bye mwayiga, n’ebyo bye mwafuna ne muwulira, ebyo mubirowoozengako.

Okwebaza

10 (H)Nasanyuka nnyo mu Mukama waffe, kubanga kaakano oluvannyuma lw’ebbanga muzzeemu okundowoozaako buggya, kubanga mwali munzisaako nnyo omwoyo, naye temwalina mukisa ku kiraga. 11 (I)Soogera kino olwokubanga Ndiko kye nneetaaga, kubanga mu buli mbeera gye mbaamu nayiga okumalibwanga. 12 (J)Mmanyi okubeera nga sirina kantu, era mmanyi okuba nga nnina buli kimu. Mu buli ngeri ne mu bintu byonna nayiga ekyama ekiri mu kukkusibwa ne mu kuba omuyala, mu kuba n’ebingi ne mu bwetaavu. 13 (K)Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.

14 (L)Kyokka mukola bulungi okulumirirwa awamu nange mu kubonaabona kwange. 15 (M)Mmwe, Abafiripi, mumanyi nti bwe nava e Makedoniya nga nakatandika okubuulira Enjiri, tewali Kkanisa n’emu eyampaayo akantu olw’ebyo bye yafuna okuggyako mmwe mwekka. 16 (N)Kubanga ddala ddala bwe nnali mu Sessaloniika mwampeereza emirundi ebiri. 17 (O)Soogera kino lwa kubanga njagala okufuna ekirabo, wabula kye njagala kwe kulaba ng’ekibala kyeyongera ku lwammwe. 18 (P)Naye kaakano nfunye bingi okusinga bye neetaaga, kino kisinzidde mu ebyo bye mwampeereza, Epafuladito bye yandeetera. Biri ng’akaloosa akalungi ennyo aka ssaddaaka esanyusa era esiimibwa Katonda. 19 (Q)Kale ne Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga ng’obugagga bwe obungi obuli mu Kristo Yesu bwe buli.

20 (R)Katonda Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

21 (S)Munnamusize buli mutukuvu mu Kristo Yesu; era n’abooluganda abali wano nange babalamusizza.

22 (T)Era n’abatukuvu bonna babatumidde, naye okusingira ddala abo abali mu lubiri lwa Kayisaali.

23 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.

Amiina.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.