Old/New Testament
Keezeekiya Atukuza Embaga ey’Okuyitako
30 (A)Awo Keezeekiya n’aweereza obubaka eri Isirayiri yonna ne Yuda, n’awandiikira ne Efulayimu ne Manase amabaluwa, ng’abayita okujja e Yerusaalemi mu yeekaalu ya Mukama, okukwata Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isirayiri. 2 (B)Kabaka n’abakungu be, n’ekibiina kyonna mu Yerusaalemi baasalawo okukwata Embaga ey’Okuyitako mu mwezi ogwokubiri; 3 (C)baali tebasobola kukwata mbaga eyo mu kiseera kyayo kubanga bakabona abaali beetukuzizza, baali batono ate nga n’abantu tebanakuŋŋaanira mu Yerusaalemi. 4 Enteekateeka eyo n’erabika nga nnungi eri kabaka n’ekibiina kyonna. 5 (D)Ne basalawo okulangirira mu Isirayiri yenna, okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, nga bategeeza abantu okujja e Yerusaalemi okukwata Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isirayiri; baali batutte ebbanga nga tebagikwata ng’ekibiina ekinene eky’awamu, nga bwe kyawandiikibwa.
6 Awo ababaka ne batwala amabaluwa mu Isirayiri yonna ne mu Yuda okuva ewa kabaka n’abakungu be, ng’ekiragiro kya kabaka bwe kyali nti,
“Abantu ba Isirayiri, mudde eri Mukama Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, Katonda alyoke adde gye muli, mmwe ekitundu ekisigaddewo, ekiwonye omukono gwa bakabaka b’e Bwasuli. 7 (E)Temuba nga bajjajjammwe ne baganda bammwe abataali beesigwa eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’abafuula ekyelolerwa, nga bwe mulaba. 8 (F)So temuba ba nsingo nkakanyavu nga bajjajjammwe bwe baali, naye mukkakkane eri Mukama, mujje mu watukuvu we, we yatukuza emirembe gyonna, muweereze Mukama Katonda wammwe, obusungu bwe bubaveeko. 9 (G)Bwe munadda eri Mukama, olwo ne baganda bammwe n’abaana bammwe banaalaba ekisa mu maaso g’abo abaabawamba, ne bakomawo mu nsi eno. Mukama Katonda wammwe wa kisa era ajjudde okusaasira, so taakyuse maaso ge, okubavaako bwe munadda gyali.”
10 (H)Ababaka ne bagenda mu buli kibuga mu nsi ya Efulayimu ne Manase, ne batuuka ne mu Zebbulooni, naye abasinga obungi ne babasekerera, ne babaduulira. 11 (I)Kyokka abamu ku bantu ab’e Aseri, ne Manase ne Zebbulooni ne beetoowaza ne bagenda e Yerusaalemi. 12 (J)Ne mu Yuda, omukono gwa Katonda ne gukwata ku bantu ne bakkiriziganya ku ekyo kabaka n’abakungu kye baalagira, nga bagoberera ekigambo kya Mukama.
13 (K)Awo abantu bangi ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi mu mwezi ogwokubiri okukwata Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse. 14 (L)Ne baggyawo ebyoto ebyali mu Yerusaalemi, n’ebyoto byonna eby’okwoterezaako obubaane, ne babisuula mu Kiwonvu Kidulooni.
15 (M)Ne batta Endiga Ento ey’Embaga ey’Okuyitako ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogwokubiri. Bakabona n’Abaleevi ne baswala, ne beetukuza, ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa mu yeekaalu ya Mukama. 16 (N)Ne bayimirira mu bifo byabwe ng’etteeka lya Musa omusajja wa Katonda bwe lyali libalagira. Bakabona ne bamansira omusaayi ogwabaweerezebwa Abaleevi. 17 (O)Bangi ku bo, baali tebeetukuzizza nga tebasobola kuwaayo ndiga zaabwe; Abaleevi kyebaava battira buli muntu ataali mulongoofu Endiga Ento ey’Embaga ey’Okuyitako, okubatukuza eri Mukama. 18 (P)Newaakubadde ng’abantu abasinga abaava mu Efulayimu, ne Manase, ne Isakaali, ne Zebbulooni baali tebeetukuzizza, baalya Embaga ey’Okuyitako, ekyali tekikkiriziganya na biwandiike. Naye Keezeekiya n’abasabira ng’agamba nti, “Mukama omulungi asonyiwe buli muntu 19 amaliridde mu mutima gwe okunoonya Katonda, Mukama Katonda wa bajjajjaabe, newaakubadde nga tabadde mulongoofu okusinziira ku mateeka g’awatukuvu.” 20 (Q)Mukama n’awulira okusaba kwa Keezeekiya, n’atabazikiriza.
21 (R)Abayisirayiri abaali mu Yerusaalemi ne bakwata Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse okumala ennaku musanvu nga bajjudde essanyu lingi; Abaleevi ne bakabona ne batenderezanga Mukama buli lunaku, nga bakuba n’ebivuga eby’okumutendereza.
22 Keezeekiya n’ayogera ebigambo eby’okugumya Abaleevi bonna abaalaga nga bategeera obuweereza bwa Mukama. Abantu ne balya emmere ey’embaga okumala ennaku musanvu, ne bawaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe, ne batendereza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
23 (S)Ekibiina kyonna ne bakkiriziganya okweyongerayo ennaku endala musanvu nga bali ku mbaga; bwe batyo ne bamala ennaku endala musanvu nga bajaguza. 24 (T)Keezeekiya kabaka wa Yuda n’awa ekibiina ente ennume nga nto lukumi n’endiga kasanvu okuba ebiweebwayo, ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza. 25 (U)Ekibiina kyonna ekya Yuda, ne bakabona, n’Abaleevi, n’ekibiina kyonna ekyava mu Isirayiri, n’abagenyi abaali bavudde mu nsi ya Isirayiri, n’abagenyi abaabeeranga mu Yuda ne bajaguliza wamu. 26 (V)Ne waba essanyu lingi mu Yerusaalemi kubanga okuva mu biro bya Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isirayiri, waali tewabangawo kintu kifaanana bwe kityo mu Yerusaalemi. 27 (W)Awo bakabona n’Abaleevi ne bayimirira ne basabira abantu omukisa, Katonda n’abawulira; kubanga okusaba kwabwe kwatuuka mu kifo kye ekitukuvu gy’abeera, mu ggulu.
31 (X)Ebyo byonna bwe byaggwa, Abayisirayiri bonna abaaliyo ne bagenda mu bibuga bya Yuda, ne baasaayasa amayinja agaasinzibwanga, ne bamenyaamenya n’empagi za Baasera. Ne basaanyizaawo ddala ebifo ebigulumivu n’ebyoto ebyali mu Yuda, ne mu Benyamini, ne mu Efulayimu ne mu Manase. Awo Abayisirayiri bwe baamala okubisaanyaawo byonna, ne baddayo mu bibuga byabwe, ku butaka bwabwe.
Ebirabo eby’Okusinza
2 (Y)Keezeekiya n’addira bakabona n’Abaleevi n’abassa mu bibinja, buli omu ng’obuweereza bwe bwali, oba kabona oba muleevi, okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe okuweerezanga, n’okwebazanga, n’okutenderezanga ku nzigi eza yeekaalu ya Mukama. 3 (Z)Kabaka n’awaayo ku byobugagga bwe ebiweebwayo ebyokebwa eby’enkya n’eby’akawungeezi, n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya ssabbiiti, n’eby’emyezi egyakaboneka, n’assaawo n’embaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka lya Mukama. 4 (AA)N’alagira abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi okuwangayo omugabo nga bwe kyali kibagwanira eri bakabona n’Abaleevi, nabo beeweerengayo ddala nga bwe kyalagirwa mu tteeka lya Mukama. 5 (AB)Awo ekiragiro ekyo bwe kyabuna wonna, amangwago Abayisirayiri ne bawaayo ku bibala byabwe ebibereberye bingi eby’eŋŋaano, n’ebya wayini omusu, n’eby’amafuta, n’eby’omubisi gw’enjuki ne ku ebyo byonna ebyava mu nnimiro. Ne baleeta bingi nnyo, ekitundu eky’ekkumi ku buli kintu. 6 (AC)Abantu ba Isirayiri ne Yuda abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, nabo ne baleeta ekimu eky’ekkumi ku nte n’endiga, n’ekimu eky’ekkumi eky’ebintu ebyatukuzibwa ebyayawulirwa Mukama Katonda waabwe, ne babituuma entuumo. 7 (AD)Baatandika okutuuma ebintu ebyo entuumo mu mwezi ogwokusatu ne bamaliriza mu mwezi ogw’omusanvu. 8 (AE)Awo Keezeekiya n’abakungu be, bwe bajja ne balaba entuumo ne beebaza Mukama, ne basabira n’abantu be, Isirayiri, omukisa.
9 Keezeekiya n’abuuza bakabona n’Abaleevi ebikwata ku ntuumu. 10 (AF)Azaliya kabona asinga obukulu ow’omu nnyumba ya Zadooki n’amuddamu nti, “Okuva abantu lwe baatandika okuleeta ebirabo byabwe mu yeekaalu ya Mukama, tubadde n’ebyokulya ebiwera n’ebirala ne bifikkawo, kubanga Mukama awadde abantu be omukisa, n’ebifisseewo bye bino obungi.”
11 Awo Keezeekiya n’alagira bateeketeeke amaterekero mu yeekaalu ya Mukama, ne bagateekateeka. 12 (AG)Ne balyoka baleeta ebirabo, ebintu eby’ekimu eky’ekkumi, n’ebintu ebyatukuzibwa. Konaniya Omuleevi ye yavunaanyizibwanga ebintu ebyo, ate nga Simeeyi muganda we ye mumyuka we. 13 (AH)Yekyeri, ne Azaziya, ne Nakasi, ne Asakeri, ne Yerimosi, Yozabadi, ne Eryeri, ne Isumakiya, ne Makasi ne Benaya be baabayambangako. Konaniya ne Simeeyi muganda we, baalondebwa Kabaka Keezeekiya ne Azaliya omukungu omukulu eyavunaanyizibwanga yeekaalu ya Katonda.
14 Kole mutabani wa Imuna Omuleevi, omuggazi w’omulyango ogw’ebuvanjuba, ye yavunaanyizibwanga ebyo bye baawangayo eri Katonda ku bwabwe awatali kuwalirizibwa, ng’agabanyamu ebyatonebwanga eri Mukama, n’ebirabo ebyayawulibwanga. 15 (AI)Edene, ne Miniyamini, ne Yesuwa, ne Semaaya, ne Amaliya ne Sekaniya, be baamuyambangako n’obwesigwa mu bibuga bya bakabona okugabiranga bakabona bannaabwe ng’ebibinja byabwe bwe byali, abakulu n’abato. 16 (AJ)Ate era baagabiranga n’abalenzi ab’emyaka esatu n’okukirawo abaali babalibbwa ng’okuzaalibwa kwe mbala bwe kwalinga, abo bonna abayingiranga mu yeekaalu ya Mukama okutuukirizanga emirimu gyabwe nga bwe kyabagwaniranga, mu bibinja byabwe. 17 Ne bagabiranga ne bakabona abaabalibwa ng’enzaalwa mu kubala okw’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’Abaleevi abaali ab’emyaka amakumi abiri n’okukirawo ne babagabira ng’eby’obuvunaanyizibwa bwabwe mu bibinja byabwe bwe byali.
18 Omwo mwe mwali abaana abato, n’abakyala, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe ng’ebitundu byabwe bwe byali biwandiikiddwa mu byafaayo eby’okuzaalibwa. Ne babeera beesigwa mu kwekuuma nga batukuvu.
19 (AK)Bazzukulu ba Alooni, bakabona abaabeeranga ku ttaka okwalimibwanga, eryabanga ery’ebibuga byabwe, mu buli kibuga, buli musajja mu bo yaweebwa omugabo, n’abo bonna abaali bawandiikiddwa mu byafaayo eby’okuzaalibwa kw’Abaleevi, nabo ne bagabana.
20 (AL)Bw’atyo Keezeekiya bwe yakola ne mu Yuda yonna, n’akola ebirungi era ebituufu n’obwesigwa mu maaso ga Mukama Katonda we. 21 (AM)Buli mulimu gwe yatandika mu buweereza mu yeekaalu ya Katonda, ng’agoberera amateeka n’ebiragiro, yanoonyanga Katonda we, era n’akolanga n’omutima gwe gwonna, n’alaba omukisa.
Yesu Akwatibwa
18 (A)Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’afuluma n’abayigirizwa be, ne balaga emitala w’akagga Kidulooni. Mu kifo ekyo mwalimu ennimiro y’emizeeyituuni, Yesu n’abayigirizwa be ne bayingira omwo.
2 (B)Yuda, eyamulyamu olukwe, ekifo ekyo yali akimanyi, kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi ng’ali n’abayigirizwa be. 3 (C)Awo Yuda n’ajja mu kifo ekyo ng’ali n’ekibinja ky’abaserikale, n’abaweereza ba Bakabona abakulu n’ab’Abafalisaayo. Bajja nga balina ettaala n’emimuli n’ebyokulwanyisa.
4 (D)Yesu bwe yamanya byonna ebyali bigenda okumubaako, n’avaayo n’ababuuza nti, “Munoonya ani?” 5 Ne baddamu nti, “Tunoonya Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu n’abaddamu nti, “Ye Nze,” Yuda, eyamulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo. 6 Yesu bwe yabagamba nti, “Ye Nze” ne badda emabega ne bagwa wansi. 7 (E)Yesu n’ababuuza omulundi ogwokubiri nti, “Munoonya ani?” Ne baddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi.” 8 Yesu n’abaddamu nti, “Mbabuulidde nti, Ye Nze. Kale obanga munoonya Nze, bano mubaleke bagende.” 9 (F)Yakola kino, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti, “Abo be wampa saabuzaako n’omu.”
10 Awo Simooni Peetero, eyalina ekitala, n’akisowolayo, n’atema omuddu wa Kabona Asinga Obukulu n’amusalako okutu okwa ddyo. Erinnya ly’omuddu oyo nga ye Maluko. 11 (G)Yesu n’alagira Peetero nti, “Zza ekitala mu kiraato kyakyo. Ekikompe Kitange ky’ampadde, siikinywe?”
12 (H)Awo ekibinja ky’abaserikale n’omuduumizi waabwe n’abaweereza b’Abayudaaya, ne bakwata Yesu ne bamusiba. 13 (I)Ne bamutwala ewa Ana, eyali mukoddomi wa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo.[a] 14 (J)Kayaafa oyo, y’oli eyawa Abayudaaya amagezi nti, “Kirungi omuntu omu afiirire bonna.”
Peetero Yeegaana Yesu Omulundi Ogusooka
15 (K)Simooni Peetero n’omuyigirizwa omulala eyali amanyiddwa Kabona Asinga Obukulu, ne bagoberera Yesu. Omuyigirizwa oyo eyali amanyiddwa n’agoberera Yesu mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, 16 nga Peetero ye ayimiridde wabweru ku mulyango; omuyigirizwa oyo omulala bwe yayogera n’omuggazi w’oluggi n’ayingiza Peetero.
17 (L)Omuwala omuggazi n’abuuza Peetero nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa b’omuntu oyo?”
Peetero n’addamu nti, “Nedda.”
18 (M)Obudde bwali bwa mpewo, abaddu n’abaweereza baali bakumye omuliro nga boota, ne Peetero naye ng’ayimiridde nabo ng’ayota omuliro.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.