Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 12-14

Okwemulugunya kwa Yeremiya

12 (A)Bulijjo oba mutuukirivu, Ayi Mukama Katonda,
    bwe nkuleetera ensonga yange.
Noolwekyo nnaaleeta ensonga yange gy’oli.
    Lwaki abakozi b’ebibi baba mu kwesiima?
    Lwaki abalimbalimba bonna baba mu bulamu obw’emirembe?
(B)Wabasimba, emirandira ne ginywera,
    bakula ne baleeta ebibala.
Tova ku mimwa gyabwe bulijjo
    wadde ng’oliwala n’emitima gyabwe.
(C)Ate ng’ommanyi Ayi Mukama Katonda,
    ondaba era otegeera bye nkulowoozaako.
Sika otwale abasajja bano ababi ng’endiga ezigenda okuttibwa.
    Bategekere olunaku lwe balisanjagirwako.
(D)Ensi erikoma ddi okwonooneka,
    n’omuddo mu buli nnimiro okukala?
Kubanga abo abali mu nsi bakozi ba bibi,
    ensolo n’ebinyonyi bizikiridde,
kubanga abantu bagamba nti,
    “Katonda taalabe binaatutuukako.”

Katonda Addamu

(E)“Bw’oba owakana n’abaddusi b’embiro
    n’oggwaamu amaanyi
    oyinza otya okudduka n’embalaasi?
Obanga mu nsi entereevu weesitadde n’ogwa bugwi,
    onoosobolayo otya mu nsiko y’oku Yoludaani?
(F)Ne baganda bo n’ab’omu nnyumba ya kitaawo
    nabo bennyini bakwefuukidde,
    beegasse ku abo abawowoggana nga bakulangiriza.
Tobeesiga
    wadde nga bakwogerako bulungi.”

Ennaku ya Mukama olw’Abantu be

(G)“Njabulidde ennyumba yange,
    ne ndeka omugabo gwange;
mpaddeyo abo emmeeme yange b’eyagala,
    mu mikono gy’abalabe baabwe.
(H)Abantu bange be nalonda
    banfuukidde ng’empologoma eri mu kibira;
empulugumira,
    noolwekyo mbakyaye.
(I)Abantu bange be nalonda
    tebanfuukidde ng’ennyonyi erya ginnaazo ey’amabala,
    ebinyonyi ebirala ebirya binaabyo gye bizingiza ne bigirumba?
Mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez’omu nsiko
    muzireete zirye.
10 (J)Abasumba bangi
    boonoonye ennimiro yange ey’emizabbibu,
balinnyiridde ennimiro yange,
    ensi yange ennungi bagirese njereere.
11 (K)Eyonooneddwa efuuse ddungu
    esigadde awo ng’enkaabirira.
Ensi yonna efuuse matongo
    kubanga tewali muntu n’omu agifaako.
12 (L)Abanyazi bazze
    batuuse ku nsozi zonna ez’omu ddungu,
kubanga ekitala kya Mukama kijja kulya
    okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala,
    awataliiwo n’omu kuwona.
13 (M)Basize eŋŋaano, ne bakungula amaggwa.
    Bakooyedde bwereere ne bataba na kebaggyamu.
Bakwatiddwa ensonyi olw’ebibala bye bakunguddeyo,
    kubanga ebyo Mukama y’abikoze olw’obusungu bwe obungi.”

14 (N)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebikwata ku baliraanwa bange ababi nga bifa ku mugabo gwe nawa abantu bange Isirayiri okuba ogwabwe, laba ndibasiguukulula okuva mu nsi yaabwe, era ndiggya ennyumba ya Yuda mu bo. 15 (O)Naye nga mmaze okubasiguukululamu, ndibakwatirwa ekisa ne mbakomyawo buli omu eri omugabo gwe mu nsi ye. 16 (P)Era nga bwe bayigiriza abantu bange okulayirira mu linnya lya Baali bwe batyo balikwatira ddala empisa z’abantu bange, okulayirira mu linnya lyange nga boogera nti, ‘Nga Mukama bw’ali omulamu,’ olwo balizimbibwa wakati mu bantu bange. 17 (Q)Naye eggwanga bwe litalissaayo mwoyo, ndirisiguukulula ne ndisaanyizaawo ddala,” bw’ayogera Mukama.

13 Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda ogule olukoba olwa linena olwesibe mu kiwato kyo, naye tolunnyikanga mu mazzi.” Bwe ntyo ne neegulira olukoba, nga Mukama bwe yandagira, ne ndwesiba mu kiwato kyange.

Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira omulundi ogwokubiri nti, “Ddira olukoba lwe wagula lwe weesibye mu kiwato kyo ogende ku mabbali g’omugga Fulaati olukweke eyo mu lwatika lw’olwazi.” (R)Bwe ntyo ne ŋŋenda ne ndukweka ku mabbali g’omugga Fulaati nga Mukama bwe yandagira.

Ennaku nnyingi nga ziyiseewo, ate Mukama nandagira nti, “Genda kaakano ku Fulaati oleete olukoba lwe nakulagira okukwekayo.” Awo ne ndyoka ŋŋenda ku mugga Fulaati, ne nsimulayo olukoba ne nduggya mu kifo we nnali ndukwese. Naye laba, olukoba lwali lwonoonese, nga terukyalina kye lugasa.

Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti, (S)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe ntyo bwe ndikkakkanya okwegulumiza kwa Yuda ne Yerusaalemi. 10 (T)Abantu bano aboonoonyi abagaana okukwata ebigambo byange, abagoberera obujeemu bw’emitima gyabwe ne bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n’okubasinza, bajja kuba ng’olukoba olwo olutaliiko kye lugasa. 11 (U)Ng’olukoba bwe lunywerera mu kiwato ky’omuntu, bwe ntyo bwe nzija okwagala ennyumba ya Isirayiri yonna n’eya Yuda zinneesibeko,’ bw’ayogera Mukama, ‘balyoke babeere abantu bange, bagulumize erinnya lyange n’ettendo; naye bo ne batawulira.’ ”

Olugero lw’Ekita

12 “Bagambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo.’ Nabo balikuddamu nti, ‘Tetumanyi nga buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo?’ 13 (V)Olwo olyoke obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Laba nditamiiza abantu bonna abatuula mu nsi eno, ne bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka, ne bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi. 14 (W)Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’ ”

Amalala n’Okuswazibwa kwa Yerusaalemi

15 Wuliriza ontegere okutu;
    toba na malala,
    Mukama y’akyogedde.
16 (X)Mukama Katonda wo
    mugulumize nga tannaleeta kizikiza,
nga ebigere byo tebinneesittala ku nsozi
    ezikutte ekizikiza.
Musuubira ekitangaala,
    naye ajja okukifuulamu ekisiikirize eky’okufa
    akikyuse kibe ekizikiza ekikutte ennyo.
17 (Y)Naye bwe mutaafeeyo,
    emmeeme yange eneekaabira mu kyama
    olw’amalala gammwe;
amaaso gange gajja kukaaba nnyo nnyini
    gakulukuse amaziga
    era ekisibo kya Mukama kijja kuwambibwa.

18 Gamba kabaka era ne namasole nti,
    “Mukke muve ku ntebe zammwe ez’obwakabaka,
kubanga engule zammwe ez’ebitiibwa
    zijja kugwa okuva ku mitwe gyammwe.”
19 (Z)Ebibuga by’e Negebu biggaddwawo,
    tewali n’omu anaabiggulawo;
Yuda yonna yaakutwalibwa mu buwaŋŋanguse,
    yonna yaakutwalibwa.

20 (AA)Muyimuse amaaso gammwe
    mulabe abo abava mu bukiikakkono.
Kiruwa ekisibo ekyabaweebwa,
    endiga ezaabeeyinuzanga?
21 (AB)Muligamba mutya Mukama
    bw’alibawaayo okufugibwa abo be mwali mutwala nga ab’omukago?
Temulirumwa
    ng’omukazi alumwa okuzaala?
22 (AC)Era bwe weebuuza nti,
    “Lwaki kino kintuseeko?”
Olw’ebibi byo ebingi
    engoye zo kyezivudde ziyuzibwa,
    era omubiri gwo ne gubonerezebwa.
23 Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw’omubiri gwe
    oba engo okukyusa amabala gaayo?
Bwe mutyo bwe mutasobola kukola birungi,
    mmwe abaamanyiira okukola ebibi.

24 (AD)“Ndibasaasaanya ng’ebisusunku
    ebifuuyibwa empewo eva mu ddungu.
25 (AE)Guno gwe mugabo gwo
    gwe nakupimira,” bw’ayogera Mukama,
“kubanga wanneerabira
    ne weesiga bakatonda ab’obulimba.
26 (AF)Nze kennyini ndibikkula engoye zammwe ne nzibikka ku mitwe gyammwe,
    obwereere bwammwe ne bulabika.
27 (AG)Ndabye obwenzi bwammwe
    n’obwamalaaya bwe mukoze.
Ndabye ebikolwa byo eby’ekivve ku busozi
    era ne mu nnimiro.
Zikusanze ggwe, ayi Yerusaalemi!
    Olituusa ddi obutaba mulongoofu?”

Ekyeya, Enjala, n’Ekitala

14 Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yerusaalemi ekikwata ku kyeya.

(AH)“Yuda ekungubaga n’ebibuga byayo bifaafaaganye,
    bakaabira ensi,
era omulanga
    gusimbuse mu Yerusaalemi.
(AI)Abakungu batuma abaddu baabwe okuleeta amazzi;
    bagenda mu ttanka ez’omu ttaka nga temuli kantu,
    bakomawo n’ebintu ebikalu;
ensonyi nga zibakutte
    n’essuubi nga libaweddemu;
    babikka amaaso gaabwe.
(AJ)Ettaka lyatise
    kubanga enkuba tekyatonnya,
abalimi baweddemu amaanyi,
    babikka ku mitwe gyabwe.
(AK)N’empeewo ku ttale ezaala
    n’ereka awo omwana gwayo
    kubanga tewali muddo.
(AL)N’ennyumbu ez’omu nsiko ziyimirira ku busozi obukalu
    nga ziwejjawejja ng’ebibe,
amaaso gaazo nga tegalaba bulungi
    kubanga tezirina kye zirya.”

(AM)Wadde obutali butuukirivu bwaffe butulumiriza, Ayi Mukama,
    baako ky’okola olw’erinnya lyo.
Kubanga tuzze ennyuma emirundi mingi,
    tukwonoonye nnyo.
(AN)Ayi ggwe essuubi lya Isirayiri,
    Omulokozi waalyo mu biseera eby’okulabiramu ennaku,
lwaki oli ng’omuyise mu nsi,
    ng’omutambuze asula ekiro ekimu?
(AO)Lwaki oli ng’omuntu gwe baguddeko obugwi,
    ng’omulwanyi ataliimu maanyi ganunula?
Ggwe, Ayi Mukama Katonda, oli wakati mu ffe,
    era tuyitibwa linnya lyo.
    Totuleka.

10 (AP)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku bantu be nti,

“Baagala nnyo okubula,
    tebaziyiza bigere byabwe.
Noolwekyo Mukama tabakkiriza
    era kaakano wakujjukira obutali butuukirivu bwabwe
    era ababonereze olw’ebibi byabwe.”

11 (AQ)Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Tosabira bantu bano kubeera bulungi. 12 (AR)Newaakubadde nga basiiba, sijja kuwulira kukaaba kwabwe, era wadde bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’empeke, sijja kubikkiriza. Naye nnaabazikiriza n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli.”

13 (AS)Naye ne njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda, bannabbi abalala babagamba nti, ‘Tewajja kubaawo lutalo wadde okulumwa enjala. Naye nzija kuleeta mirembe egitakoma mu kifo kino.’ ”

14 (AT)Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba mu linnya lyange, sibatumanga wadde okubalagira okwogera nabo. Babategeeza okwolesebwa okw’obulimba n’obunnabbi obutaliimu, n’obutaliimu bw’emitima gyabwe. 15 (AU)Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama, ebikwata ku bannabbi abategeeza ebyobunnabbi mu linnya lyange wadde nga sibatumanga, era abagamba nti, ‘Ekitala n’enjala tebijja kujja mu nsi eno.’ Bannabbi abo bennyini bajja kuzikirizibwa ekitala n’enjala. 16 (AV)N’abantu be bategeezezza obunnabbi balifa enjala n’ekitala ne bakasukibwa mu nguudo babulweko abaziika, bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’abawala. Kubanga ndibayiwako obusungu obubasaanira.

17 (AW)“Kino ky’oba obagamba nti,

“ ‘Leka amaaso gange gakulukute amaziga
    emisana n’ekiro awatali kukoma;
kubanga muwala wange embeerera, abantu bange,
    bafunye ekiwundu ekinene,
    ekintu eky’amaanyi.
18 (AX)Bwe ŋŋenda mu byalo
    ndaba abafumitiddwa n’ekitala!
Bwe ŋŋenda mu kibuga
    ndaba okutaagulwataagulwa okw’enjala.
Naye nnabbi ne kabona beeyongera okukola emirimu gyabwe mu ggwanga
    kyokka nga bye boogera bya bulimba.’ ”

19 (AY)Yuda ogigaanidde ddala?
    Sayuuni ogyetamiriddwa ddala?
Otufumitidde ddala awatali kuwonyezebwa?
    Twasuubira emirembe naye tewali kalungi ke tufunye,
ekiseera eky’okuwonyezebwa
    naye laba tufunye bulabe bwereere.
20 (AZ)Ayi Mukama tukkiriza ebibi byaffe
    era n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe,
    kubanga ddala twayonoona gy’oli.
21 (BA)Olw’erinnya lyo totugoba,
    tovumaganyisa ntebe yo ey’obwakabaka ey’ekitiibwa.
Jjukira endagaano gye wakola naffe,
    togimenya, gituukirize.
22 (BB)Waliwo ku bakatonda ababajje bannaggwanga asobola okutonnyesa enkuba?
    Eggulu ku bw’alyo lisobola okuleeta enkuba?
Nedda, wabula ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe.
    Noolwekyo essuubi lyaffe liri mu ggwe,
    kubanga ggwe okola bino byonna.

2 Timoseewo 1

(A)Nze, Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, ng’okusuubiza bwe kuli okw’obulamu obuli mu Kristo Yesu, (B)nkuwandiikira ggwe Timoseewo omwana wange omwagalwa, nga nkwagaliza ekisa n’okusaasirwa, n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Kristo Yesu Mukama waffe.

Okwebaza n’Okugumya

(C)Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi nga bajjajjange bwe baakola, nga nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana n’ekiro. (D)Bwe nzijukira amaziga go ne neegomba okukulaba ndyoke nzijule essanyu. (E)Nzijukira okukkiriza kwo okw’amazima olubereberye okwali mu jjajjaawo Looyi ne mukadde wo Ewuniike; era nga nkakasiza ddala nga naawe okulina. (F)Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe kye yakuwa, bwe nakussaako emikono gyange. (G)Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.

(H)Noolwekyo tokwatibwa nsonyi kwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we, wabula naawe bonaabona olw’Enjiri ng’oyambibwa amaanyi ga Katonda, (I)eyatulokola n’atuyita tubeere babe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku bikolwa byaffe, wabula ng’asinziira mu kuyitibwa okutukuvu, si ng’ebikolwa byaffe bwe biri, naye olw’ekigendererwa kye ye, n’ekisa kye, kye yatukwatirwa ng’ayita mu Kristo Yesu okuva edda n’edda Lyonna. 10 (J)Kaakano ekisa ekyo kyolesebbwa mu kulabika kw’Omulokozi waffe Kristo Yesu eyaggyawo okufa, n’aleeta obulamu obutazikirizibwa ng’ayita mu Njiri, 11 (K)gye nalonderwa okugisaasaanya, n’okuba omutume, era omuyigiriza, 12 (L)era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa okutuusa olunaku luli.

13 (M)Gobereranga ebigambo ebireeta obulamu bye wawulira njogera, mu kukkiriza ne mu kwagala mu Kristo Yesu. 14 (N)Ekintu ekirungi eky’omuwendo kye wateresebwa kikuumenga ng’oyambibwa Mwoyo Mutukuvu abeera mu ffe.

15 (O)Kino okimanyi, ng’ab’omu Asiya bonna banjabulira, mu abo mwe muli Fugero ne Kerumogene.

16 (P)Mukama akwatirwe ekisa ab’omu nnyumba ya Onesifolo, kubanga yambeesabeesa emirundi mingi era teyankwatirwa nsonyi kubanga ndi musibe; 17 bwe yatuuka e Ruumi, yafuba nnyo okunnoonya era n’anzuula. 18 (Q)Mukama amukwatirwe ekisa ku lunaku luli. Era gw’omanyi bulungi nnyo byonna bye yakola mu Efeso.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.