Old/New Testament
Babulooni Esalirwa Omusango
47 (A)“Omuwala wa Babulooni embeerera,
kakkana wansi otuule mu nfuufu,
tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka,
ggwe omuwala w’Abakaludaaya.
Ekibuga ekitawangulwangako.
Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi.
2 (B)Ddira olubengo ose obutta.
Ggyako akatimba ku maaso,
situla ku ngoye z’oku magulu
oyite mu mazzi.
3 (C)Obwereere bwo bulibikkulwa;
obusungu bwo bulyeraga.
Nzija kuwoolera eggwanga;
tewali muntu yenna gwe ndirekawo.”
4 (D)Omununuzi waffe Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye,
ye Mutukuvu wa Isirayiri.
5 (E)“Tuula mu kasirise
yingira mu kizikiza ggwe omuwala w’Abakaludaaya,
tebakyakuyita kabaka omukazi
afuga obwakabaka obungi.
6 (F)Nnali nsunguwalidde abantu bange,
ne nyonoonesa omugabo gwange.
Nabawaayo mu mikono gyo,
n’otobasaasira n’akatono.
N’abakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo.
7 (G)Wayogera nti,
‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’
naye n’otolowooza ku bintu bino
wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.
8 (H)“Kale nno kaakano wuliriza kino,
ggwe awoomerwa amasanyu
ggwe ateredde mu mirembe gyo,
ng’oyogera mu mutima gwo nti,
‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze.
Siribeera nnamwandu
wadde okufiirwa abaana.’
9 (I)Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu,
eky’okufiirwa abaana
n’okufuuka nnamwandu.
Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu,
newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira,
n’eby’obufumu byo nga bigenze wala.
10 (J)Weesiga obutali butuukirivu bwo,
n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’
Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya,
bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’
11 (K)Kyokka ensasagge erikujjira
era tolimanya ngeri yakugyeggyako;
n’okuzikirira kw’otoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi;
akabi k’otolirabirawo kalikutuukako amangu ddala.
12 (L)“Weeyongere nno n’obulogo bwo
n’obufumu bwo obwayinga obungi,
bwe wanyiikiriramu okuva mu buto bwo.
Oboolyawo olibaako kyoggyamu,
oboolyawo olikolawo ekyobulabe.
13 (M)Amagezi ago g’ofuna gakukooya bukooya.
Abalagulira ku munyeenye basembera,
n’abo abakebera emmunyeenye,
era aboogera ebiribaawo buli mwezi, babadduukirire mu bigenda okubatuukako.
14 (N)Laba, bali ng’ebisusunku
era omuliro gulibookya!
Tebalyewonya
maanyi ga muliro.
Tewaliiwo manda ga kukubugumya
wadde omuliro ogw’okwota!
15 (O)Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka;
b’obonyeebonye nabo
b’oteganidde okuva mu buto bwo.
Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi bye
era tewali n’omu ayinza okukulokola.”
Katonda bye Yayogera Bituukirira
48 (P)“Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo,
abayitibwa erinnya lya Isirayiri,
era abaava mu nda ya Yuda.
Mmwe abalayirira mu linnya lya Mukama,
era abaatula Katonda wa Isirayiri,
naye si mu mazima wadde mu butuukirivu.
2 (Q)Kubanga beeyita ab’ekibuga ekitukuvu,
abeesiga Katonda wa Isirayiri,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
3 (R)Okuva ku ntandikwa, nayasanguza ebyali bigenda okubaawo;
byava mu kamwa kange ne mbyogera.
Amangwago ne tubikola ne bituukirira.”
4 (S)Kubanga namanya obukakanyavu bwammwe;
ebinywa by’ensingo nga bikakanyavu ng’ekyuma;
ekyenyi ng’ekikomo.
5 (T)Nabamanyisizaawo edda ebyali bigenda okujja nga tebinnabaawo,
muleme kugamba nti,
“Bakatonda bange be baabikola:
Ekifaananyi kyange ekyole
n’ekifaananyi ekisaanuuse bye byakikola.”
6 Mulabe ebintu bino nabibagamba dda,
era temubikkirize?
“Okuva leero nzija kubabuulira ku bintu ebiggya ebigenda okujja,
eby’ekyama bye mutawulirangako.
7 Mbikola kaakano,
so si ekiseera ekyayita:
mwali temubiwulirangako mu biseera eby’emabega
si kulwa nga mugamba nti, ‘Laba nnali mbimanyi.’
8 (U)Towulirangako wadde okutegeera.
Okuva edda n’edda okutu kwo tekuggukanga.
Kubanga namanya nti wali kyewaggula,
okuva ku kuzaalibwa kwo wayitibwa mujeemu.
9 (V)Olw’erinnya lyange
ndwawo okusunguwala. Olw’ettendo lyange
ndwawo okukusunguwalira nneme okukuzikiriza.
10 (W)Laba nkugezesezza naye si nga ffeeza.
Nkugezesezza mu kirombe ky’okubonaabona.
11 (X)Ku lwange nze,
ku lwange nze ndikikola. Erinnya lyange nga livumiddwa.
Ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.
Isirayiri Enunulibwa
12 (Y)“Mpuliriza ggwe Yakobo.
Isirayiri gwe nalonda.
Nze Nzuuyo.
Nze ow’olubereberye era nze ow’enkomerero.
13 (Z)Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw’ensi,
era omukono gwange ogwa ddyo ne gwanjuluza eggulu.
Bwe mbiyita
byombi bijja.
14 (AA)“Mwekuŋŋaanye mwenna
mujje muwulire!
Ani ku bo eyali alangiridde ebintu bino?
Mukama amwagala; ajja kutuukiriza ekigendererwa kye e Babulooni,
era omukono gwe gwolekere Abakaludaaya.[a]
15 (AB)Nze; Nze nzennyini nze njogedde.
Nze namuyita.
Ndimuleeta
era alituukiriza omulimu gwe.
16 (AC)“Munsemberere muwulirize bino.
“Okuva ku lubereberye saayogera mu kyama.
Nze mbaddewo okuviira ddala ku ntandikwa.”
Era kaakano Mukama Ayinzabyonna
n’Omwoyo we antumye.
17 (AD)Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe,
Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Nze Mukama Katonda wo
akuyigiriza okukulaakulana,
akukulembera mu kkubo ly’oteekwa okutambuliramu.
18 (AE)Singa kale wali owulirizza ebiragiro byange!
Wandibadde n’emirembe egikulukuta ng’omugga!
Era n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja,
19 (AF)ezzadde lyo lyandibadde ng’omusenyu
abaana bo ng’obuweke bwagwo.
Erinnya lyabwe teryandivuddewo
wadde okuzikirira nga wendi.”
20 (AG)Muve mu Babulooni,
mudduke Abakaludaaya.
Mugende nga mutegeeza amawulire gano n’essanyu.
Mugalangirire wonna wonna
n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.
Mugambe nti, “Mukama anunudde omuddu we Yakobo!”
21 (AH)So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu.
Yabakulukusiza amazzi mu lwazi:
yayasa olwazi
amazzi ne gavaamu.
22 (AI)“Tewali mirembe eri aboonoonyi,” bw’ayogera Mukama.
Omuweereza wa Mukama
49 (AJ)Mumpulirize mmwe ebizinga,
mmwe muwulire kino amawanga agali ewala.
Nnali sinazaalibwa Mukama n’ampita.
Bwe nnali nkyali mu lubuto lwa mmange n’ayatula erinnya lyange.
2 (AK)Yakola akamwa kange ng’ekitala eky’obwogi,
nankweka mu kisiikirize ky’omukono gwe.
Yanfuula akasaale akazigule
era nankweka mu mufuko gwe.
3 (AL)Era n’aŋŋamba nti, “Ggwe muweereza wange, Isirayiri,
mu ggwe mwe ndiweerwa ekitiibwa.”
4 (AM)Naye ne njogera nti, “Nteganidde bwereere,
amaanyi gange ng’amalidde bwereere era gafudde busa.
Kyokka ate Mukama yannamula,
n’empeera yange eri ne Katonda wange!”
5 (AN)Era kaakano Mukama ayogera,
oyo eyammumba mu lubuto okubeera omuweereza we,
okukomyawo Yakobo gy’ali
era n’okukuŋŋaanya Isirayiri gy’ali.
Kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama
era Katonda wange afuuse amaanyi gange.
6 (AO)Mukama agamba nti,
“Eky’okubeera omuweereza wange
n’okuzza amawanga ga Yakobo
era n’okukomyawo abantu ba Isirayiri kintu kitono nnyo.
Nzija kukufuula ekitangaala eri abamawanga,
olyoke oleete obulokozi bwange eri ensi yonna.”
7 (AP)Bw’ati bw’ayogera Mukama,
Omununuzi era Omutukuvu wa Isirayiri,
eri oyo eyanyoomebwa n’akyayibwa amawanga,
eri omuweereza w’abafuzi nti,
“Bakabaka baliyimirira ne bakuwa ekitiibwa,
abalangira balikulaba ne bakuvuunamira.
Kino kiribaawo ku lwa Mukama, omwesigwa Omutukuvu wa Isirayiri,
oyo akulonze.”
Isirayiri Azzibwawo
8 (AQ)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Ndikwanukula mu biro mwe ndisiimira,
ku lunaku olw’obulokozi ndikuyamba.
Ndikukuuma ne nkufuula endagaano eri abantu,
muliddayo ku ttaka lyammwe ne muddizibwa ebitundu byammwe ebyazika,
9 (AR)nga mugamba abasibe nti, ‘Muveemu,’
n’abo abali mu kizikiza nti, ‘Mube n’eddembe!’
“Banaaliranga ku mabbali g’ekkubo,
ne ku ntikko z’obusozi bwonna obwereere banasangangako omuddo.
10 (AS)Tebaalumwenga njala newaakubadde ennyonta,
ebbugumu ly’omu ddungu teriibakwatenga newaakubadde omusana okubookya.
Oyo abakwatirwa ekisa alibakulembera,
anaabatwalanga awali enzizi z’amazzi.
11 (AT)Era ndifuula ensozi zange zonna okuba amakubo
era enguudo zange ennene zirigulumizibwa.
12 (AU)Laba, abantu bange balidda okuva ewala,
abamu, baliva mu bukiikakkono
n’abalala ebuvanjuba, n’abalala bave mu nsi ye Sinimu.”
13 (AV)Yogerera waggulu n’essanyu, era jjaguza ggwe ensi.
Muyimbe mmwe ensozi!
Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.
14 Naye Sayuuni n’ayogera nti, “Mukama andese,
era Mukama wange anneerabidde.”
15 (AW)“Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa,
n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe?
Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira
naye nze sirikwerabira.
16 (AX)Laba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange;
ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.
17 (AY)Abaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza
era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende.
18 (AZ)Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe.
Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli.
Nga bwe ndi Katonda omulamu,
balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi
ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.
19 (BA)“Wadde nga wazika n’olekebwa awo ensi yo n’ezikirizibwa,
kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo,
era abo abakuteganya
banaakubeeranga wala.
20 (BB)Abantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse
lumu balyogera ng’owulira nti,
‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala;
tuwe ekifo aw’okubeera.’
21 (BC)N’olyoka oyogera mu mutima gwo nti,
‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna?
Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba.
Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka.
Bano baava ludda wa?
Nasigala nzekka,
naye ate bano, baava wa?’ ”
Okuzzibwawo kwa Isirayiri mu Kitiibwa
22 (BD)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero
era ndiyimusiza abantu ebbendera yange:
era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba
ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe.
23 (BE)Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire,
ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa.
Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi;
balikomba enfuufu y’omu bigere byo.
Olwo lw’olimanya nti nze Mukama,
abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”
24 (BF)Omunyago guyinza okuggyibwa ku mutabaazi,
oba omuwambe omutuukirivu okuwona omutabaazi?
25 (BG)Naye bw’ati bw’ayogera Mukama:
“N’oyo eyawambibwa omutabaazi alisumululwa ateebwe,
n’omunyago guggyibwe ku mulabe wo,
kubanga ndiyomba n’oyo ayomba naawe,
era ndirokola mponye abaana bo.
26 (BH)Ndiriisa abakujooga ennyama yaabwe bo.
Era balittiŋŋana batamiire omusaayi gwabwe, nga wayini.
Olwo abalina omubiri bonna bamanye nti nze Mukama Omulokozi wo,
Omununuzi wo,
ow’Amaanyi owa Yakobo.”
Obulamu obusanyusa Katonda
4 (A)Noolwekyo abooluganda, ekisembayo, tubeegayirira nga tubazzaamu amaanyi mu Mukama waffe Yesu, nti nga bwe twababuulirira bwe kibagwanira okutambula n’okusanyusa Katonda, era nga bwe mukola bwe mutyo, mugende mu maaso okukolanga bwe mutyo n’okusingawo. 2 Kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa mu Mukama waffe Yesu.
3 (B)Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi, 4 (C)buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa, 5 (D)so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola. 6 (E)Mu nsonga eyo walemenga okubaawo ayingirira muganda we, newaakubadde amusobyako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga mu nsonga zino. Ebintu bino byonna twabibagamba dda era ne tubawa n’obujulirwa. 7 (F)Kubanga Katonda teyatuyitira bugwenyufu wabula yatuyitira kutukuzibwa. 8 (G)Noolwekyo anyooma bino aba tanyoomye muntu wabula Katonda, atuwa Omwoyo we Omutukuvu.
9 (H)Kaakano ku bikwata ku kwagalana kw’abooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga. 10 (I)Kubanga ddala bwe mutyo bwe mwagala abooluganda bonna ab’omu Makedoniya, naye era abooluganda, tubakuutira mweyongere okubaagalanga. 11 (J)Mubeerenga bakkakkamu, nga temweyingiza mu by’abalala, era mukolenga emirimu gyammwe nga bwe twabakuutira, 12 mutambule nga mwegendereza eri abatakkiriza, mube nga mwemalirira mu buli nsonga.
Okujja kwa Mukama waffe
13 Kaakano, abooluganda tetwagala mmwe obutategeera eby’abo abafu, ne munakuwala ng’abalala abatalina ssuubi. 14 (K)Kubanga bwe tukkiriza nti Yesu yafa era n’azuukira mu bafu bwe tutyo tukkiriza nti Katonda alikomyawo wamu naye abo abaafira mu Yesu. 15 (L)Kubanga ekyo kye tubategeeza mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu, abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abaafa. 16 (M)Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’eddoboozi ery’omwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, n’ekkondeere lya Katonda, n’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira, 17 (N)naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna. 18 Kale buli omu agumyenga munne n’ebigambo ebyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.