Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 32-33

Obwakabaka obw’Obutuukirivu

32 (A)Laba, Kabaka alifuga mu butuukirivu,
    n’abafuzi balifuga mu bwenkanya.
(B)Buli muntu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu empewo,
    ng’ekiddukiro okuva eri kibuyaga,
ng’emigga gy’amazzi mu ddungu,
    ng’ekisiikirize eky’olwazi olunene mu nsi ey’ennyonta.

(C)Olwo amaaso gaabo abalaba tegaliziba,
    n’amatu g’abo abawulira galiwuliriza.
(D)Omutima gw’abatali bagumiikiriza gulimanya era gulitegeera,
    n’olulimi olw’abanaanaagira lulitereera ne boogera bulungi.
(E)Omusirusiru taliddayo kuyitibwa wa kitiibwa,
    newaakubadde omuntu omwonoonyi okuteekebwamu ekitiibwa.
(F)Omusirusiru ayogera bya busirusiru,
    n’omutima gwe gwemalira ku kukola ebitali bya butuukirivu.
Akola eby’obutatya Katonda,
    era ayogera bya bulimba ku Mukama,
n’abayala abaleka tebalina kintu,
    n’abalumwa ennyonta abamma amazzi.
(G)Empisa z’omwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu n’ebigambo eby’obulimba, ensonga y’abali mu kwetaaga ne bw’eba nga ntuufu.
(H)Naye omuntu ow’ekitiibwa akola entegeka za kitiibwa,
    era ku bikolwa bye eby’ekitiibwa kw’anywerera.
(I)Mmwe abakazi abateefiirayo,
    mugolokoke muwulirize eddoboozi lyange;
mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu,
    muwulire bye ŋŋamba.
10 (J)Mu mwaka gumu oba n’okusingawo,
    mmwe abawulira nga muli wanywevu, mulitya,
amakungula g’emizabbibu galifa,
    n’amakungula g’ebibala tegalijja.
11 (K)Mutye mmwe abakazi abateefiirayo,
    mukankane mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu.
Muggyeko engoye zammwe,
    mwesibe ebibukutu mu biwato byammwe.
12 (L)Munakuwalire ennimiro ezaali zisanyusa,
    olw’emizabbibu egyabalanga,
13 (M)n’olw’ensi ey’abantu bange,
    ensi eyamerangamu amaggwa ne katazamiti.
Weewaawo mukaabire ennyumba zonna ezaali ez’amasanyu,
    na kino ekibuga ekyali eky’amasanyu.
14 (N)Weewaawo ekigo kirirekebwawo,
    ekibuga ekirimu oluyoogaano kirifuuka kifulukwa.
Ebigo n’eminaala birifuuka ebitagasa ennaku zonna,
    ekifo ekisanyusa endogoyi, eddundiro ly’ebisibo,
15 (O)okutuusa Omwoyo lw’alitufukibwako okuva waggulu,
    n’eddungu ne lifuuka ennimiro engimu,
    n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira.
16 Obwenkanya bulituula mu ddungu,
    n’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro engimu.
17 (P)Ekibala ky’obutuukirivu kiriba mirembe,
    n’ekiriva mu butuukirivu kiriba kusiriikirira na bwesige emirembe gyonna.
18 (Q)Abantu bange balibeera mu bifo eby’emirembe,
    mu maka amateefu
    mu bifo eby’okuwummuliramu ebitatawaanyizibwa.
19 (R)Omuzira ne bwe guligwa ne gukuba ekibira okukimalawo,
    n’ekibuga ne kiggirwawo ddala,
20 (S)ggwe oliraba omukisa,
    ng’osiga ensigo y’oku migga gyonna,
    n’ente zo n’endogoyi zo ne zirya nga zeeyagala.
33 (T)Zikusanze ggwe omuzikiriza
    ggwe atazikirizibwanga.
Zikusanze ggwe alya olukwe mu balala,
    ggwe, gwe batalyangamu lukwe,
bw’olirekaraawo okuzikiriza,
    olizikirizibwa.
Bw’olirekeraawo okulya mu balala olukwe,
    balikulyamu olukwe.

(U)Ayi Mukama tusaasire,
    tukuyaayaanira.
Obeere amaanyi gaffe buli makya,
    obulokozi bwaffe mu biro eby’okulabiramu ennaku.
(V)Olw’eddoboozi ery’okubwatuka, abantu balidduka,
    bw’ogolokoka, amawanga gasaasaana.
Omunyago gwo, gukungulwa enzige ento,
    era abantu bagugwako ng’ekibinja ky’enzige.

(W)Mukama agulumizibwe, kubanga atuula waggulu,
    alijjuza Sayuuni n’obwenkanya n’obutuukirivu.
(X)Y’aliba omusingi omugumu mu biro byo,
    nga lye tterekero eggagga ery’obulokozi, n’amagezi n’okumanya.
    Okutya Mukama kye kisumuluzo kye tterekero ly’obugagga obwo.

(Y)Laba abasajja abazira ab’amaanyi bakaabira mu nguudo mu ddoboozi ery’omwanguka,
    n’ababaka ab’emirembe bakaaba nnyo.
(Z)Enguudo ennene tezitambulirwako,
    tewali azitambulirako.
Endagaano yamenyebwa,
    n’abajulizi baayo banyoomebwa,
    tewali assibwamu kitiibwa.
(AA)Ensi ekungubaga era eyongobera,
    Lebanooni aswadde era awotose;
Saloni ali ng’eddungu,
    ng’asuula Basani ne Kalumeeri.

10 (AB)Mukama agamba nti, “Kaakano nnaagolokoka,
    kaakano nnaagulumizibwa,
    kaakano nnaayimusibwa waggulu.
11 (AC)Ofuna olubuto olw’ebisusunku,
    ozaala ssubi,
    omukka gwo, muliro ogukusaanyaawo.
12 (AD)Abantu balyokebwa nga layimu bw’ayokebwa,
    balyokebwa omuliro ng’ebisaka by’amaggwa amasale.”
13 (AE)Mmwe abali ewala, mutegeere kye nkoze.
    Mmwe abali okumpi, mukkirize amaanyi gange.
14 (AF)Abakozi b’ebibi ab’omu Sayuuni batidde,
    okutya kujjidde abatalina Katonda.
“Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogusaanyaawo?
    Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogutaliggwaawo?”
15 (AG)Atambulira mu butuukirivu,
    n’ayogera ebituufu,
oyo atatwala magoba agava mu bubbi,
    n’akuuma emikono gye obutakkiriza nguzi,
aziba amatu ge n’atawulira ntegeka za kutta,
    n’aziba amaaso ge obutalaba nteekateeka ezitali za butuukirivu,
16 (AH)ye muntu alituula waggulu mu bifo ebya waggulu,
    n’obuddukiro bwe buliba ebigo eby’omu nsozi.
Aliweebwa emmere,
    n’amazzi tegalimuggwaako.

17 (AI)Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe,
    ne galaba ensi eyeewala.
18 (AJ)Omutima gwo gulifumiitiriza ku ntiisa ng’ogamba nti,
    “Omukungu omukulu ali ludda wa?
    Ali ludda wa eyasoloozanga omusolo?
    Omukungu avunaanyizibwa eminaala ali ludda wa?”
19 (AK)Toliddayo kulaba bantu abo ab’amalala,
    abantu ab’olulimi olutamanyiddwa,
    olulimi olutategeerekeka.

20 (AL)Tunuulira Sayuuni ekibuga eky’embaga zaffe,
    amaaso go galiraba Yerusaalemi,
    ekifo eky’emirembe, eweema etalisimbulwa
enkondo zaayo tezirisimbulwa,
    newaakubadde emiguwa gyayo okukutulwa.
21 (AM)Weewaawo Mukama aliba Amaanyi gaffe
    era aliba ekifo eky’emigga emigazi n’ensulo engazi.
Temuliyitamu lyato
    newaakubadde ekyombo ekinene tekiriseeyeeyeramu.
22 (AN)Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe,
    Mukama y’atuwa amateeka,
Mukama ye Kabaka waffe,
    y’alitulokola.

23 (AO)Emiguwa gyo gisumulukuse
    n’omulongooti si munywevu,
    n’ettanga si lyanjuluze.
Awo omugabo omungi guligabanyizibwamu,
    n’abalala balitwala eby’omunyago.
24 (AP)Tewali abeera mu Sayuuni alyogera nti, “Ndi mulwadde,”
    n’abo ababeeramu balisonyiyibwa ekibi kyabwe.

Abakkolosaayi 1

Okwebaza n’okusaba

(A)Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, wamu ne Timoseewo owooluganda, (B)tuwandiikira abantu ba Katonda, abatukuvu era abooluganda abeesigwa mu Kristo ab’e Kkolosaayi, nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe bibeerenga nammwe.

(C)Buli bwe tubasabira, twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo. (D)Twawulira okukkiriza kwe mulina mu Kristo Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, abatukuvu, (E)olw’essuubi eryabategekerwa mu ggulu, lye mwawulirako mu kigambo eky’amazima, ye Enjiri. (F)Enjiri yajja gye muli, era ebunye mu nsi yonna ng’ebala ebibala era nga yeeyongera okukula. Okuviira ddala lwe mwasooka okugiwulira, ne mutegeerera ddala amazima agali mu kisa kya Katonda, Enjiri ebadde yeeyongera okubuna mu mmwe. (G)Epafula muddu munnaffe omwagalwa omuweereza wa Kristo omwesigwa gye muli, eyabatuusaako Enjiri eyo, (H)ye yatubuulira okwagala kwe mulina mu Mwoyo.

(I)Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okw’omwoyo. 10 (J)Era tweyongera okubasabira, mutambulenga nga musiimibwa Mukama era nga mumusanyusa mu buli byonna bye mukola, era nga mubala ebibala mu buli mulimu omulungi, era nga mukula mu kutegeera Katonda. 11 (K)Amaanyi ag’ekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke, 12 (L)nga mwebaza Kitaffe eyatusaanyiza okugabana ku birungi bye yategekera abantu be abatukuvu ab’obwakabaka obw’ekitangaala. 13 (M)Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa, 14 atusonyiwa ebibi byaffe, n’atufuula ba ddembe.

Obulamu bwa Kristo

15 (N)Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo. 16 (O)Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba ab’obuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe. 17 (P)Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa. 18 (Q)Ye gwe mutwe gw’omubiri, n’omubiri ogwo ye Kkanisa. Ye mubereberye, era ye yasooka okuzuukira mu bafu, alyoke abeerenga omubereberye mu byonna. 19 (R)Katonda yasiima okutuukiriza byonna mu ye, 20 (S)era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gy’ali. Yaleetawo emirembe olw’omusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye eby’ensi n’eby’omu ggulu.

21 (T)Edda temwali kumpi ne Katonda, era ebirowoozo byammwe n’ebikolwa byammwe ebibi bye byabalabisa ng’abakyawa Katonda. 22 Naye kaakano mutabaganye ne Kristo olw’okufa kwe, abanjuleyo mu maaso ga Katonda nga muli batukuvu era abataliiko bbala wadde ekyokunenyezebwa. 23 Muteekwa okubeerera ddala mu kukkiriza nga munywedde era nga temusagaasagana okuva mu ssuubi ery’Enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa abantu bonna abali ku nsi, nze Pawulo gye nafuukira omuweereza waayo.

Okufuba kwa Pawulo ku lw’Ekkanisa

24 (U)Kaakano nsanyuka olw’okubonaabona kwe mbonaabona ku lwammwe. Era kindeetera essanyu, kubanga ntuukiriza okubonaabona kwa Kristo mu mubiri gwange, nga mbonaabona ku lw’omubiri gwe, ye Kkanisa. 25 (V)Katonda yateekateeka okunfuula omuweereza w’Ekkanisa ye ku lwammwe, ndyoke mbabuulire ekigambo kya Katonda mu bujjuvu. 26 (W)Ekyama ekyakwekebwa okuva edda n’edda lyonna, n’emirembe n’emirembe, kaakano kibikkuliddwa abantu be, be batukuvu be. 27 (X)Katonda bw’atyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obw’ekitiibwa ky’ekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era ly’essuubi ery’ekitiibwa.

28 (Y)Kristo oyo gwe tutegeeza nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna era nga tulabula buli omu, tulyoke twanjule buli muntu eri Katonda ng’atuukiridde mu Kristo. 29 (Z)Kyenva ntegana nga nfuba nga nkozesa obuyinza Katonda bw’ampa obw’amaanyi.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.