Old/New Testament
30 (A)“Naye kaakano bansekerera;
abantu abansinga obuto,
bakitaabwe be nnandibadde nteeka
wamu n’embwa ezikuuma endiga zange.
2 Amaanyi g’emikono gyabwe gaali gangasa ki?
Abantu abaali baweddemu amaanyi ag’obuvubuka bwabwe,
3 abakoozimbye abaali mu bwetaavu era abayala,
bameketa ettaka ekkalu mu nsi enjereere mu budde obw’ekiro.
4 Banoga ebiragala ebiwoomerera ng’omunnyo mu bisaka,
enkolokolo ez’omwoloola y’emmere yaabwe.
5 Baagobebwa bave mu bantu bannaabwe,
ne babaleekaanira gy’obeera nti, baali babbi.
6 Baawalirizibwa okubeera mu migga egyakalira,
mu njazi ne mu binnya wansi mu ttaka.
7 Baakaabira mu bisaka ng’ensolo
ne beekweka mu bikoola by’emiti.
8 Ezzadde ly’abasirusiru abatalina bwe bayitibwa,
baagobebwa mu nsi.
9 (B)Naye kaakano abaana baabwe bansekerera nga bannyimba;
nfuuse ekyenyinyalwa gye bali,
10 (C)abatanjagala abanneesalako,
banguwa okunfujjira amalusu mu maaso.
11 (D)Kaakano Katonda nga bw’atagguludde akasaale kange, ammazeemu amaanyi;
beeyisizza nga bwe balaba mu maaso gange.
12 (E)Abantu bano bannumba ku mukono gwange ogwa ddyo;
bategera ebigere byange emitego,
ne baziba amakubo banzikirize.
13 (F)Banzingiza
ne banzikiriza,
nga tewali n’omu abayambye.
14 Banzingiza ng’abayita mu kituli ekigazi,
bayingira nga bayita mu muwaatwa.
15 (G)Nnumbiddwa ebitiisa eby’amaanyi;
ekitiibwa kyange kifuumuuse ng’ekifuuyiddwa empewo,
era n’obukuumi bwange ne bubulawo ng’ekire.”
Okubonaabona kwa Yobu
16 (H)“Era kaakano obulamu bwange buseebengerera buggwaawo,
ennaku ez’okubonaabona zinzijjidde.
17 Ekiro kifumita amagumba gange
era obulumi bwe nnina tebukoma.
18 Mu maanyi ge amangi Katonda abeera ng’olugoye lwe nneebikka,
n’ensibibwa ng’ekitogi ky’ekyambalo kyange.
19 (I)Ansuula mu bitosi,
ne nfuuka ng’enfuufu n’evvu.
20 (J)“Nkukaabirira nti, Ayi Katonda, naye toddamu;
nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi.
21 (K)Onkyukira n’obusungu;
onnumba n’omukono gwo ogw’amaanyi.
22 (L)Onsitula mu bbanga n’ongobesa empewo,
n’onziza eno n’eri mu muyaga.
23 (M)Mmanyi nga olintuusa mu kufa,
mu kifo kye wateekerawo abalamu bonna.
24 (N)“Ddala tewali ayamba muntu anyigirizibwa
ng’akaaba mu kunyigirizibwa kwe.
25 (O)Saakaabira abo abaali mu buzibu?
Emmeeme yange teyalumirirwa abaavu?
26 (P)Naye bwe nanoonya obulungi, ekibi kye kyajja;
bwe nanoonya ekitangaala, ekizikiza kye kyajja.
27 (Q)Olubuto lwange lutokota, terusirika;
ennaku ez’okubonaabona kwange zinjolekedde.
28 (R)Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana;
nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi.
29 (S)Nfuuse muganda w’ebibe,
munne w’ebiwuugulu.
30 (T)Olususu lwange luddugadde, era lususumbuka;
n’omubiri gwange gwokerera.
31 (U)Ettendo lyange lifuuseemu kukaaba
n’akalere kange ne kavaamu eddoboozi ery’ebiwoobe.”
Obutukuvu bwa Yobu
31 (V)“Nakola endagaano n’amaaso gange;
obutatunuulira muwala n’amaaso ag’obukaba.
2 (W)Kiki Katonda kye yandinsasudde okuva waggulu,
omugabo ogwandivudde eri oyo Ayinzabyonna ali waggulu?
3 (X)Emitawaana tegijjira abo abatali batukuvu,
n’okulaba ennaku ne kujjira abakola eby’obujeemu?
4 (Y)Amakubo gange gonna tagalaba,
era tamanyi ntambula yange?
5 (Z)Obanga natambulira mu bulimba
era nga n’ekigere kyange kyayanguyiriza okukola obukuusa;
6 (AA)leka mpimibwe ku minzaani ya Katonda
amanye obutuukirivu bwange.
7 (AB)Obanga ekigere kyange kyali kikyamye okuva mu kkubo,
n’omutima gwange ne gugoberera amaaso gange,
engalo zange ne zibaako ebbala lyonna;
8 (AC)kale nsige, omulala abirye,
weewaawo ebirime byange bikuulibwe.
9 (AD)Obanga omutima gwange gwali gusendeddwasendeddwa omukazi,
oba ne mmuteegera ku mulyango gwa muliraanwa,
10 (AE)kale omukazi wange ase eŋŋaano y’omusajja omulala,
n’abasajja abalala beebake naye.
11 (AF)Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve,
ekibi ekiŋŋwanira okubonerezebwa.
12 (AG)Ogwo gwandibadde muliro ogwokya okutuusa mu kuzikirira,
ogwandyokezza ebyange byonna bye nasimba.”
Abaddu n’Abaavu Okubassaako Omwoyo
13 (AH)“Obanga nnali nnyoomye ensonga y’omuddu wange oba omuddu wange omukazi,
bwe banninaako ensonga,
14 kale ndikola ntya Katonda bw’alinnyimukiramu?
Era bw’alimbuuza, ndimuddamu ki?
15 (AI)Eyantonda mu lubuto nabo si ye yabatonda?
Ffenna si ye yatukola mu mbuto za bannyaffe?
16 (AJ)“Obanga nnamma omwavu ekintu kyonna,
era obanga nakaabya nnamwandu;
17 (AK)obanga nnali ndidde akamere kange nzekka
atalina kitaawe n’atalyako,
18 kubanga okuva mu buto bwange namulera nga kitaawe,
era okuva mu lubuto lwa mmange nayamba nnamwandu.
19 (AL)Obanga nnali ndabye omuntu yenna ng’afa olw’okubulwa ebyambalo,
oba ali mu kwetaaga atalina kye yeebikka;
20 mpozzi omutima gwe, gwe gutansiima,
olw’okumubugumya n’ebyoya by’endiga zange;
21 (AM)obanga nayimusa omukono gwange eri abatalina bakitaabwe,
kubanga mmanyi nti, mmanyiganye n’ab’obuyinza,
22 (AN)kale omukono gwange gukutuke ku kibegabega kyange,
leka gukutukireyo mu kinywa we guyungira.
23 (AO)Olw’okutya okuzikirizibwa Katonda n’olw’obukulu bwe,
nnali sisobola kukola bintu ng’ebyo.
24 (AP)“Obanga nateeka obweyamo bwange mu zaabu
oba ne ŋŋamba zaabu ennongoose nti, ‘Ggwe bwesige bwange;’
25 (AQ)obanga neeyagala olw’okuba n’obugagga obungi,
oba olw’okuba emikono gyange gy’ali ginfunyisizza bingi;
26 (AR)obanga nnali ntunuulidde enjuba,
oba omwezi nga byaka mu kitiibwa,
27 omutima gwange ne gusendebwasendebwa mu kyama,
ne mbinywegera nga mbisaamu ekitiibwa,
28 (AS)era n’ekyo kyandibadde kibi ekiŋŋwanyiza okusalirwa omusango
olw’obutaba mwesigwa eri Katonda ali waggulu.”
Abalabe n’abagwira Okubassaako Omwoyo
29 (AT)“Obanga nasanyuka ng’omulabe wange afunye emitawaana
oba ne njaguza olw’ebizibu ebyamutuukako,
30 sakkiriza kamwa kange kwonoona
nga nkolimira obulamu bwe.
31 (AU)Abantu b’omu nnyumba yange bwe baba tebabuuzanga nti,
‘Ani atakkuse nnyama?’
32 (AV)Tewali mutambuze yasula ku kkubo,
kubanga oluggi lwange lwali luggule eri buli muyise.
33 (AW)Obanga nakweka ekibi kyange ng’abantu bwe bakola,
nga nkweka obutali butuukirivu bwange mu mutima gwange,
34 (AX)olw’okutya ekibiina,
nga ntya okuswala mu kika,
ne nsirika ne ntya n’okufuluma ebweru,
35 (AY)so nga waliwo ayinza okumpulira,
leka nteekeko omukono ku mpoza yange, leka Ayinzabyonna anziremu;
n’oyo ampawaabira abiteeke mu buwandiike.
36 “Ddala ddala nandibyambadde ku kibegabega kyange,
nandibyambadde ku mutwe ng’engule.
37 (AZ)Nandimunnyonnyodde buli kifo we nalinnya ekigere,
nandimusemberedde ng’omulangira.
38 (BA)“Singa ettaka lyange linkaabirira,
n’ebinnya byalyo bye nsimye ne bitotobala n’amaziga;
39 (BB)obanga ndiddemu ebibala awatali kusasula,
era ne ndeetera bannannyini lyo okufa,
40 (BC)leka omwennyango gumere mu kifo ky’eŋŋaano,
n’omuddo oguwunya gumere mu kifo kya sayiri.”
Ebigambo bya Yobu byakoma wano.
26 (A)“Abasajja abooluganda mmwe bazzukulu ba Ibulayimu, nammwe abatya Katonda, obubaka buno obw’obulokozi, bwaffe ffenna wamu. 27 (B)Ababeera mu Yerusaalemi n’abakulembeze baabwe ne batamumanya oyo newaakubadde ebigambo bya bannabbi, ebyasomebwanga buli Ssabbiiti. Baamusalira omusango, ne batuukiriza ebigambo bino. 28 (C)Tebaalina nsonga emussa, naye era ne basaba Piraato amutte. 29 (D)Bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako, n’awanulwayo ku musaalaba n’agalamizibwa mu ntaana. 30 (E)Naye Katonda n’amuzuukiza mu bafu. 31 (F)Era abo be yajja nabo e Yerusaalemi ng’ava e Ggaliraaya n’abalabikiranga okumala ennaku nnyingi. Era be bajulirwa be eri abantu.
32 “Ne kaakano tubategeeza nti, Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe 33 yakituukiriza mu ffe ne mu baana baffe, bwe yazuukiza Yesu mu bafu. Nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti,
“ ‘Mwana wange,
leero nfuuse Kitaawo.’
34 (G)Kubanga Katonda yasuubiza okumuzuukiza abeere mulamu nate, era nga takyaddayo kuvunda. Ekyawandiikibwa nga bwe kyogera nti:
“ ‘Ndikuwa emikisa egy’olubeerera era emitukuvu gye nasuubiza Dawudi.’
35 (H)Ne mu kyawandiikibwa ekirala agamba nti,
“ ‘Toliganya Mutukuvu wo kuvunda.’
36 (I)“Kino kyali tekyogera ku Dawudi, kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza omulembe gwe nga Katonda bwe yayagala, n’afa, n’aziikibwa, era omubiri gwe ne guvunda. 37 Noolwekyo, oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda.
38 (J)“Abooluganda, mumpulirize! Mu muntu ono Yesu okusonyiyibwa ebibi mwe kubuuliddwa. Kino nga tekiyinzika mu mateeka ga Musa. 39 (K)Buli amukkiriza n’amwesiga aggyibwako omusango gw’ekibi, n’aweebwa obutuukirivu. 40 Mwegendereze, ebigambo bya bannabbi bireme kutuukirira ku mmwe, bwe baagamba nti:
41 (L)“ ‘Mulabe, mmwe abanyoomi,
musamaalirire era muzikirire!
Kubanga nnina omulimu gwe nkola mu kiseera,
gwe mutagenda kukkiriza newaakubadde omuntu
ne bw’aligubannyonnyola atya temuligukkiriza.’ ”
42 (M)Awo Pawulo ne Balunabba bwe baali bafuluma mu kkuŋŋaaniro, abantu ne babasaba bakomewo ku Ssabbiiti eddirira bongere okubabuulira ku bigambo ebyo. 43 (N)Abayudaaya bangi awamu n’abatya Katonda abaaliwo mu kusinza okwo mu kkuŋŋaaniro, ne babagoberera. Pawulo ne Balunabba ne banyumya nabo nga bwe batambula mu kkubo, nga babasendasenda banywerere mu kukkiriza ne mu kisa kya Katonda.
44 Ku Ssabbiiti eyaddirira kumpi buli muntu eyali mu kibuga n’ajja okuwulira ekigambo kya Katonda. 45 (O)Naye Abayudaaya bwe baalaba ebibiina ebinene nga bizze, ne bakwatibwa obuggya, ne batandika okuwakanya n’okujolonga byonna Pawulo bye yayogeranga. 46 (P)Awo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula n’obuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga. 47 (Q)Kubanga bw’atyo Mukama bwe yatulagira bwe yagamba nti,
“ ‘Mbafudde omusana okwakira Abaamawanga,
olw’obulokozi okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ ”
48 Abaamawanga bwe baawulira ebyo ne bajjula essanyu; era bangi ne bakkiriza, abo Katonda be yalonda okuwa obulamu obutaggwaawo.
49 Awo ekigambo kya Katonda ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna. 50 (R)Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakazi abaasinzanga Katonda ab’ebitiibwa, n’abakulembeze mu kibuga, ne batandika akeegugungo mu kibiina ky’abantu nga koolekedde Pawulo ne Balunabba, okutuusa lwe baabagoba mu kitundu kyabwe. 51 (S)Abatume ne babakunkumulira enfuufu ey’omu bigere byabwe, ne babaviira ne balaga mu Ikoniya. 52 Abayigirizwa ne bajjula essanyu ne Mwoyo Mutukuvu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.