Old/New Testament
14 (A)“Omuntu azaalibwa omukazi,
abeera ku nsi akaseera katono era abeera mu kutegana.
2 (B)Amulisa ng’ekimuli n’awotoka;
abulawo mangu ng’ekisiikirize, tabeerera.
3 (C)Otunuulira omuntu afaanana bw’atyo?
Olimuleeta gy’oli asalirwe omusango?
4 (D)Ani ayinza okuggya ekirongoofu mu kitali kirongoofu?
Tewali n’omu!
5 (E)Ennaku z’omuntu zaagererwa,
wagera obungi bw’emyezi gye
era n’oteekawo ekkomo ly’atasobola kusukka.
6 (F)Kale tomufaako muleke yekka,
okutuusa lw’alimala okutuukiriza emirimu gye ng’omupakasi.
7 “Wakiri waliwo essuubi ng’omuti guloka:
Bwe gutemebwa, guloka nate,
era ekikolo kyagwo ekiggya tekifa.
8 Emirandira gyagwo gyandikaddiyidde mu ttaka
era n’ekikonge ne kifiira mu ttaka,
9 naye olw’emirandira okutambula ne ginoonya amazzi kimulisa
ne kireeta amatabi ng’ekisimbe.
10 (G)Naye omuntu afa era n’agalamizibwa,
assa ogw’enkomerero n’akoma.
11 (H)Ng’amazzi bwe gaggwa mu nnyanja
oba omugga bwe gukalira ne guggwaawo,
12 (I)bw’atyo omuntu bw’agalamira,
era n’atasituka okutuusa eggulu bwe linaggwaawo,
abantu tebajja kuzuukuka oba kuggyibwa mu tulo twabwe.
13 (J)“Singa kale onkweka emagombe
era n’onziika okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo!
Singa ongerera ekiseera
n’onzijukira!
14 Omuntu bw’afa, addamu n’abeera omulamu?
Ennaku zange zonna ez’okuweereza
nnaalindanga okuwona kwange kujje.
15 (K)Olimpita nange ndikuyitaba;
olyegomba ekitonde emikono gyo kye gyatonda.
16 (L)Ddala ku olwo bw’olibala ebigere byange,
naye tolyekaliriza bibi byange.
17 (M)Ebisobyo byange biriba bisibiddwa mu kisawo;
olibikka ku kibi kyange.
18 “Naye ng’olusozi bwe luseebengerera ne luggwaawo,
era ng’ejjinja bwe liva mu kifo kyalyo,
19 (N)ng’amazzi bwe gaggwereeza amayinja
era ng’okwanjaala kwago bwe kutwala ettaka ly’oku nsi;
bw’atyo bw’azikiriza essuubi ly’omuntu.
20 Omumalamu amaanyi omuwangula lumu n’aggweerawo ddala;
okyusa enfaanana ye n’omugoba.
21 (O)Abaana be bwe bafuna ekitiibwa, takimanya,
bwe bagwa, takiraba.
22 Obulamu bw’omubiri gwe bwokka bw’awulira
ne yeekungubagira yekka.”
Erifaazi Ayogera
15 Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,
2 (P)“Omuntu ow’amagezi yandizzeemu n’amagezi agataliimu,
oba n’ajjuza olubuto lwe embuyaga ez’ebuvanjuba?
3 Yandiwakanye n’ebigambo ebitaliiko kye bigasa,
oba okwogera ebigambo ebitalina kye bikola?
4 Naye onyooma Katonda
n’oziyiza okwewaayo eri Katonda.
5 (Q)Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko,
era olonzeewo okukozesa olulimi lw’abalimba.
6 (R)Akamwa ko kennyini ke kakusalira omusango si nze,
emimwa gyo gyennyini gye gikulumiriza.
7 (S)“Gwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa?
Oba ggwe wazaalibwa ensozi nga tezinnabaawo?
8 (T)Ofaayo okuwuliriza okuteesa kwa Katonda?
Olowooza gwe mugezi wekka?
9 (U)Kiki ky’omanyi kye tutamanyi?
Kubikkulirwa ki kw’olina ffe kwe tutalina?
10 (V)Ab’envi abakaddiye bali ku ludda lwaffe,
abasajja abakulu n’okusinga kitaawo.
11 (W)Katonda by’akugambye ebikuzzaamu amaanyi bitono nnyo tebikumala,
ebigambo ebikubuuliddwa mu bukkakkamu?
12 (X)Lwaki omutima gwo gukubuzizza,
amaaso go ne gatemereza
13 n’olyoka ofuka obusungu bwo eri Katonda,
n’ofukumula ebigambo bwe bityo okuva mu kamwa ko?
14 (Y)“Omuntu ye ani, alyoke abeere omutukuvu,
oba oyo azaalibwa omukazi nti ayinza okuba omutuukirivu?
15 (Z)Katonda bw’aba tassa bwesige mu batukuvu be,
n’eggulu ne liba nga si ttukuvu mu maaso ge,
16 (AA)oba oleeta otya omuntu obuntu, omugwagwa era omuvundu,
anywa obutali butuukirivu nga amazzi!
17 “Mpuliriza nnaakunnyonnyola,
leka nkubuulire kye ndabye:
18 (AB)abasajja ab’amagezi kye bagambye
nga tebalina kye bakwese ku kye baafuna okuva eri bakadde baabwe
19 abo bokka abaweebwa ensi
nga tewali mugwira agiyitamu.
20 (AC)Omuntu omukozi w’ebibi, aba mu kubonaabona ennaku ze zonna,
n’anyigirizibwa emyaka gyonna egyamutegekerwa.
21 (AD)Amaloboozi agatiisa gajjuza amatu ge;
byonna bwe biba ng’ebiteredde, abanyazi ne bamulumba.
22 (AE)Atya okuva mu kizikiza adde,
ekitala kiba kimulinze okumusala.
23 (AF)Adda eno n’eri ng’anoonya ky’anaalya,
amanyi ng’olunaku olw’ekizikiza lumutuukiridde.
24 Okweraliikirira n’obubalagaze bimubuutikira,
bimujjula nga kabaka eyetegekedde olutalo.
25 (AG)Kubanga anyeenyerezza Katonda ekikonde,
ne yeegereegeranya ku oyo Ayinzabyonna,
26 n’agenda n’ekyejo amulumbe,
n’engabo ennene enzito.
27 (AH)“Wadde nga yenna yagejja amaaso
ng’ajjudde amasavu mu mbiriizi,
28 (AI)wakubeera mu bibuga eby’amatongo,
ne mu bifulukwa,
ennyumba ezigwa okufuuka ebifunfugu.
29 (AJ)Taddeyo kugaggawala,
n’obugagga bwe tebulirwawo,
n’ebintu by’alina tebirifuna mirandira mu ttaka.
30 (AK)Taliwona kizikiza,
olulimi lw’omuliro lunaakazanga amatabi ge,
era omukka gw’omu kamwa gulimugobera wala.
31 (AL)Alemenga okwerimba nga yeesiga ebitaliimu,
kubanga talina ky’ajja kuganyulwa.
32 (AM)Wa kusasulwa byonna ng’obudde tebunnatuuka,
n’amatabi ge tegalikula.
33 (AN)Aliba ng’omuzabbibu ogugiddwako emizabbibu egitannaba kwengera,
ng’omuzeyituuni ogukunkumula ebikoola byagwo.
34 (AO)Kubanga ekibiina ky’abatatya Katonda kinaabeeranga kigumba,
era omuliro gunaayokyanga weema ezinaabangamu enguzi.
35 (AP)Baba embuto ez’ekibi ne bazaala obutali butuukirivu,
embuto zaabwe zizaala obulimba.”
Yobu Ayanukula
16 Yobu n’addamu nti,
2 (AQ)“Mpulidde ebintu bingi ebiri nga bino;
mwenna muli mikwano gyange egitagasa.
3 (AR)Ebigambo byammwe bingi, tebiikome?
Kiki ekibaluma ne mutalekeraawo kuwakana?
4 (AS)Nange nandyogedde nga mmwe, singa mmwe mubadde mu kifo kyange;
nandyogedde ebigambo ebisengeke obulungi ebibanyiga, ne mbanyeenyeza n’omutwe[a] gwange.
5 Naye akamwa kange kandibazizzaamu amaanyi;
ebigambo eby’essuubi okuva mu kamwa kange byandibaleetedde eddembe.
6 “Ate bwe njogera, obulumi bwange tebuwona,
bwe nsirika era busigalawo.
7 (AT)Mazima ddala, Ayi Katonda, ommazeemu amaanyi;
osaanyiririzzaawo ddala ennyumba yange yonna.
8 (AU)Onsibye n’onyweza ekinnumiririza ddala,
obukovvu bwange bwe bukulaga bwe ndi, kirabika ne ku maaso.
9 (AV)Katonda annumba n’obusungu bwe n’anjuzaayuza,
annumira emba;
omulabe wange antunuulira nkaliriza n’amaaso ge agafumita.
10 (AW)Abantu bayasamya emimwa gyabwe ne bansekerera;
bankuŋŋaanirako ne bankuba empi ku matama.
11 (AX)Katonda ampaddeyo eri omukozi w’ebibi,
era n’ansuula mu mikono gy’ababi.
12 (AY)Nnali bulungi, n’anjuzaamu wakati;
yankwata ku nsingo n’ammenyamu.
Anfudde ssabbaawa,
13 (AZ)abakubi b’obusaale banneetoolodde.
Awatali kusaasira, afumita ensigo zange,
omususa gwange ne guyiika ku ttaka.
14 (BA)Annumba, emirundi n’emirundi,
n’anfubutukirako ng’omulwanyi omuzira.
15 (BB)“Neetungidde ebikutiya eby’okukungubagiramu,
ne nkweka obwenyi bwange mu nfuufu.
16 Nzenna mmyuse amaaso olw’okukaaba,
ekisiikirize ekikwafu ennyo kyetoolodde amaaso gange,
17 (BC)newaakubadde ng’emikono gyange tegirina bibi bye gikoze,
n’okusaba kwange nga kutukuvu.
18 (BD)“Ggwe ensi, tobikka ku musaayi gwange;
nneme okusirisibwa!
19 (BE)Era kaakano omujulirwa wange ali mu ggulu;
omuwolereza wange ali waggulu nnyo ddala.
20 (BF)Mikwano gyange bansekerera,
amaaso gange nga gakulukusa amaziga eri Katonda.
21 (BG)Ku lw’omuntu, yeegayirira eri Katonda
ng’omuntu bwe yeegayiririra mukwano gwe.
22 (BH)“Emyaka mitono eginaayitawo
nga sinnakwata lugendo olw’obutadda.”
22 (A)Sawulo ne yeeyongera okubuulira n’amaanyi n’asirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko ng’akakasa nti Yesu ye Kristo.
23 Bwe waayitawo ebbanga, abakulembeze b’Abayudaaya ne basala olukwe okumutta. 24 (B)Sawulo n’abaako amubuulira ku lukwe lwabwe nga bwe baali bamuteega ku miryango gy’ekibuga emisana n’ekiro bamutemule. 25 (C)Awo abayigirizwa ne bamufulumya ebweru w’ekibuga mu kiro nga bamuyisa mu bbugwe, nga bamusizza mu kisero.
26 (D)Bwe yatuuka e Yerusaalemi n’agezaako okwegatta ku bayigirizwa naye bonna nga bamutya, nga tebakkiriza nti mukkiriza. 27 (E)Naye Balunabba n’amuleeta eri abatume n’abategeeza nga Sawulo bwe yalaba Mukama mu kkubo era n’ayogera nga bwe yabuulira n’obuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yesu. 28 Ne balyoka bamukkiriza n’abeeranga nabo, n’ayitanga nabo era ng’alya nabo mu Yerusaalemi. N’abuuliranga n’obuvumu erinnya lya Mukama waffe. 29 (F)Naye ne wabaawo okuwakana n’okukubaganya ebirowoozo wakati we n’Abakerenisiti, ne bagezaako okumutta. 30 (G)Kyokka abooluganda bwe baawulira nga Sawulo ali mu kabi bwe katyo ne bamutwala e Kayisaliya ne bamuweereza e Taluso.
31 (H)Mu kiseera ekyo Ekkanisa n’eba n’emirembe mu Buyudaaya, ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya; ne yeeyongera mu maanyi ne mu muwendo gw’abantu abakkiriza. Ne bayiga okutya Mukama, era Mwoyo Mutukuvu n’abasanyusanga.
Ayineya ne Doluka
32 (I)Peetero n’atambulanga mu bifo bingi; era bwe yali ng’atambula n’asanga abakkiriza mu kibuga ekiyitibwa Luda. 33 Eyo yasangayo omuntu erinnya lye Ayineya eyali akoozimbye ng’amaze ku kitanda emyaka munaana nga mulwadde. 34 (J)Peetero n’amugamba nti, “Ayineya! Yesu Kristo akuwonya. Golokoka weeyalire!” Amangwago n’awonyezebwa. 35 (K)Awo abantu bonna abaabeeranga mu Luda ne mu Saloni ne bakyukira Mukama, bwe baalaba nga Ayineya atambula.
36 (L)Mu kibuga Yopa mwalimu omuyigirizwa ayitibwa Tabbiisa, mu Luyonaani ng’ayitibwa Doluka. Yali mukkiriza, bulijjo eyakoleranga abalala ebyekisa n’okusingira ddala abaavu. 37 (M)Mu kiseera ekyo n’alwala nnyo era n’afa. Ne bateekateeka omulambo gwe ne bagugalamiza mu kisenge ekya waggulu. 38 (N)Naye bwe baawulira nga Peetero ali kumpi awo mu kibuga Luda ne bamutumira abasajja babiri ne bamwegayirira ajje e Yopa.
39 (O)N’akkiriza. Amangu ddala nga yaakatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu omulambo gwa Doluka gye gwali gugalamizibbwa. Ekisenge kyali kijjudde bannamwandu abaali bakaaba nga bwe balagaŋŋana ebyambalo Doluka bye yali abakoledde.
40 (P)Peetero n’abasaba bonna bafulume, n’afukamira n’asaba. N’akyukira omulambo n’ayogera nti, “Tabbiisa golokoka.” Tabbiisa n’azibula amaaso, era bwe yalaba Peetero n’atuula. 41 Peetero n’amukwata ku mukono amuyambe okuyimuka, n’alyoka ayita abakkiriza ne bannamwandu, n’abamukwasa nga mulamu. 42 Amawulire ago ne gayitiŋŋana mu kibuga Yopa kyonna era bangi ne bakkiriza Mukama. 43 (Q)Peetero n’abeera e Yopa okumala ebbanga ddene, ng’asula ewa Simooni omuwazi w’amaliba.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.