Old/New Testament
Abeesigwa Bagambibwa Okudduka
6 (A)Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini!
Mmudduke muve mu Yerusaalemi.
Fuuwa ekkondeere mu Tekowa,
era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu:
kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono,
okuzikirira okw’entiisa.
2 Ndizikiriza omuwala wa Sayuuni,
omulungi oyo omubalagavu.
3 (B)Abasumba balimulumba n’ebisibo byabwe.
Balimwetoolooza weema zaabwe zimwolekere enjuuyi zonna,
buli omu yeezimbire w’ayagala.
4 (C)“Mwetegeke mumulwanyise!
Muyimuke, tumulumbe mu ttuntu!
Naye, nedda, omusana gugenda guggwaayo,
n’ebisiikirize by’akawungeezi biwanvuye!
5 Tugende, tulumbe kiro
tuzikirize amayumba ge.”
6 (D)Bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’agamba nti,
“Muteme emiti mukole entuumo
muzingize Yerusaalemi.
Ekibuga kino kiteekwa okubonerezebwa kyonna,
kubanga kijjudde bujoozi bwerere.
7 (E)Ng’oluzzi bwe lukulukusa amazzi, bwe kityo bwe kikulukusa ebibi byakyo,
entalo era n’okuzikirira biwulirwa munda waakyo.
Obulwadde n’ebiwundu
bye ndaba buli bbanga.
8 (F)Nkulabula,
ggwe Yerusaalemi,
emmeeme yange ereme okwawukana naawe,
si kulwa ng’ofuuka amatongo.”
9 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Balisusumbulira ddala n’abo abatono
abaliba basigaddewo mu Isirayiri.
Ddamu oyise omukono mu matabi
ng’omunozi we zabbibu bw’akola.”
10 (G)Ndyogera eri ani gwe ndirabula?
Ani alimpuliriza?
Amatu gaabwe gagaddwa
ne batasobola kuwulira.
Ekigambo kya Mukama kiri nga kyakusesa gye bali,
tebakisanyukira n’akamu.
11 (H)Kyenva nzijula ekiruyi
sikyasobola kukizibiikiriza.
“Kiyiwe ku baana abali mu luguudo,
ne ku bavubuka abakuŋŋaanye;
abaami awamu n’abakazi n’abakadde
abo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa.
12 (I)Enju zaabwe
ziritwalibwa abalala,
n’ennimiro zaabwe awamu ne bakazi baabwe;
kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi,”
bw’ayogera Mukama.
13 (J)“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu,
buli omu alulunkanira kufuna.
Nnabbi ne kabona bonna
boogera eby’obulimba.
14 (K)Ekiwundu ky’abantu bange
bakijjanjaba ng’ekitali ky’amaanyi.
Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’
So nga tewali mirembe.
15 (L)Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo?
Nedda.
Tebakwatibwa nsonyi n’akatono.
Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa;
balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,”
bw’ayogera Mukama.
16 (M)Kino Mukama ky’agamba nti,
“Yimirira mu masaŋŋanzira otunule.
Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri,
era otambulire omwo,
emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo.
Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’
17 (N)Nabateerawo abakuumi babategeeze nti,
Muwulirize eddoboozi ly’ekkondeere,
naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kuwuliriza.’
18 Kale muwulire,
mmwe amawanga
era mulabe mmwe ab’ekkuŋŋaaniro ekyo ekiribatuukako.
19 (O)Wuliriza, ggwe ensi:
laba, ndeeta akabi ku bantu bano,
by’ebibala by’enkwe zaabwe,
kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange
n’etteeka lyange baligaanye.
20 (P)Omugavu oguva e Seeba bampa gwa ki?
Oba zino emmuli ezakaloosa eziva mu nsi ey’ewala?
Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa sijja kubikkiriza,
n’essaddaaka zammwe tezinsanyusa.”
21 (Q)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Laba nditeeka enkonge mu maaso g’abantu bano;
bakitaabwe ne batabani baabwe bonna bazesittaleko.
Muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.”
22 (R)Bw’ati bw’ayogera Mukama, nti,
“Laba, eggye lijja
eriva mu nsi ey’omu bukiikakkono,
eggwanga ery’amaanyi
liyimusibwa okuva ku nkomerero z’ensi.
23 (S)Bakutte omutego n’effumu,
abakambwe abatalina kusaasira.
Bawulikika ng’ennyanja ewuuma,
nga beebagadde embalaasi zaabwe:
bajja ng’abalwanyi mu byambalo by’olutalo
okulumba ggwe Muwala wa Sayuuni!”
24 (T)Tuwulidde ettutumu lyabwe;
era emikono gyaffe giweddemu amaanyi
okulumwa okunene kutukutte
n’okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.
25 (U)Togeza kugenda mu nnimiro
newaakubadde okutambulira mu kkubo;
kubanga omulabe abunye wonna wonna
n’entiisa ejjudde mu bantu.
26 (V)Kale nno mmwe abantu,
mwambale ebibukutu era mwevulunge mu vvu;
mukungubage ng’abakaabira
omwana owoobulenzi omu yekka.
Kubanga oyo agenda okuzikiriza
ajja kutugwako mavumbavumba.
27 (W)“Nkufudde ekigezesa
abantu bange n’ekyuma,
osobole okulaba n’okugezesa
amakubo gaabwe.
28 (X)Bonna bakyewaggula
abakakanyavu abagenda bawaayiriza,
bikomo era kyuma,
bonna boonoonefu.
29 Emivubo bagifukuta n’amaanyi,
omuliro gumalawo essasi,
naye balongoosereza bwereere
kubanga ababi tebaggyibwamu.
30 (Y)Baliyitibwa masengere ga ffeeza,
kubanga Mukama abalese.”
Yeremiya Abuulira mu Yeekaalu
7 Kino kye kigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama. 2 (Z)Yimirira ku mulyango gw’ennyumba ya Mukama otegeeze abantu obubaka buno.
Muwuliriza ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abantu ba Yuda abayita mu miryango gino okusinza Mukama. 3 (AA)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Mulongoose amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe, nange ndibalekera ekifo kino ne mubeeramu. 4 (AB)Teweesiga bigambo bino ebibuzaabuza ne mwogera nti, ‘Eno ye yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama, yeekaalu ya Mukama!’ 5 (AC)Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe; era bwe munaalaganga obwenkanya eri omuntu ne munne, 6 (AD)ne mulekayo okunyigiriza omugwira, ne mulekwa, ne nnamwandu, ne mulekayo n’okutta abataliiko musango mu kifo ekyo, era ne mutasinza bakatonda abalala okwereetera emisango mmwe bennyini, 7 (AE)kale ndibatuuza mu kifo ekyo mu nsi gye nawa bajjajjammwe ebeere yammwe emirembe n’emirembe. 8 Kale laba, mwesiga ebigambo ebitaliimu, ebitagasa.
9 (AF)“Munabba ne mutta, ne mukola obwenzi ne mulayira eby’obulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga; 10 (AG)ne mulyoka mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno, eyitibwa Erinnya lyange, ne mugamba nti, ‘Tuli bulungi, tuli bulungi,’ ne mulyoka mukola eby’emizizo byonna? 11 (AH)Mulowooza nti ennyumba eno eyitibwa ennyumba yange, mpuku y’abanyazi? Laba, nze kennyini nkirabye,” bw’ayogera Mukama.
12 (AI)“Mugende kaakano mu kifo kyange ekyali e Siiro ekifo gye nasooka okuteeka essinzizo ly’erinnya lyange, mulabe kye nakikola olw’ekibi ky’abantu bange Isirayiri. 13 (AJ)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Bwe mwali mukola ebintu bino byonna, nayogera nammwe emirundi mingi naye ne mutampulira; nabakoowoola ne mutampitaba. 14 (AK)Noolwekyo, ekyo kye nakola e Siiro nzija kukikola kaakano ku nnyumba eyitibwa Erinnya lyange, era gye mwesiga, era n’ebifo bye nabawa mmwe ne bakitammwe. 15 (AL)Ndibagoba ne mu maaso gange, nga bwe nagoba baganda bammwe bonna, ezzadde lya Efulayimu lyonna.
16 (AM)“Noolwekyo tosabira bantu abo wadde okubegayiririra newaakubadde okubasabira oba okubawolereza, kubanga siikuwulire. 17 Tolaba bye bakola mu bibuga bya Yuda era ne mu nguudo za Yerusaalemi? 18 (AN)Abaana balonda enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, olwo abakazi ne bakanda eŋŋaano ne bakolera kabaka w’eggulu omukazi emigaati. Bafuka ekiweebwayo ekyokunywa eri bakatonda abalala okunkwasa obusungu. 19 (AO)Naye nze gwe balumya?” bw’ayogera Mukama. “Tebeerumya bokka, ne beeswazaswaza?”
20 (AP)Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Laba obusungu bwange n’ekiruyi kyange bijja kufukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo, ku miti egy’omu ttale era ne ku bibala eby’omu ttaka; bujja kubuubuuka era tebujja kukoma.”
Okugaana Okuwulira Bannabbi
21 (AQ)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mugatte ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, ennyama mugyeriire. 22 (AR)Kubanga ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri saayogera eri bakitammwe wadde okubalagira ebikwata ku biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka. 23 (AS)Naye etteeka lino lye nabawa ligamba nti, ‘Muŋŋondere, nange nnaabeera Katonda wammwe, nammwe munaabeera bantu bange. Mutambulire mu makubo gonna ge mbalagira, mulyoke mubeere bulungi.’ 24 (AT)Naye tebampulira wadde okunzisaako omwoyo, wabula bagoberera okuteesa kw’emitima gyabwe egijjudde ebibi. Badda emabega so tebaalaga mu maaso. 25 (AU)Okuva mu biseera bajjajjammwe bye baaviiramu e Misiri okutuusa kaakano, mbadde mpeereza abaddu bange bannabbi emirundi n’emirundi. 26 (AV)Naye tebampuliriza wadde okunzisaako omwoyo, bakakanyaza ensingo zaabwe era ne bakola ebibi ne basinga ne bajjajjaabwe.
27 (AW)“Kale ojja kubagamba bino byonna naye tebajja kukuwuliriza, bw’onoobayita tebajja kukwanukula. 28 Noolwekyo bagambe nti, ‘Lino ly’eggwanga eritagondera Mukama Katonda waalyo oba okufaayo ku kugololwa. Amazima gabulawo, tegali ku mimwa gyabwe. 29 (AX)Salako enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala ddala okaabire ku ntikko z’ensozi, kubanga Mukama alese abantu be era n’asuula ab’omu mulembe guno mw’asunguwalidde ennyo.’ ”
Ekiwonvu eky’Okufiiramu
30 (AY)“Abantu ba Yuda bakoze ekintu eky’ekivve mu maaso gange, bw’ayogera Mukama. Batadde bakatonda abalala mu nnyumba yange eyitibwa erinnya lyange ne bagyonoona. 31 (AZ)Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Tofesi mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ne bassaddaakiramu batabani baabwe be bazaala n’abawala, kye saalowoozaako wadde okukibalagira. 32 (BA)Laba, ennaku zijja,” bw’atyo bw’ayogera Mukama, bwe kitariyitibwa Kiwonvu kya Tofesi oba ekya Kinnomu ne kiyitibwa Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziikamu Tofesi okutuusa we wataliba bbanga lya kuziikamu. 33 (BB)Era emirambo gy’abantu bano gifuuke emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga era n’ensolo ez’omu nsiko, era waleme kubaawo muntu wakuzigoba; 34 (BC)olwo nga nkomezza amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza, n’eddoboozi ly’omusajja awasa n’ery’omugole we mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, olwo ensi ng’efuuse matongo.
8 “Mu kiseera ekyo, bw’ayogera Mukama, amagumba ga bakabaka ba Yuda, n’amagumba g’abalangira, n’amagumba ga bakabona, n’amagumba ga bannabbi, n’amagumba g’abatuuze b’omu Yerusaalemi galiggyibwa mu ntaana zaago. 2 (BD)Kale galyanikibwa mu musana, eri omwezi n’emmunyeenye ez’omu ggulu, ze baayagala era ne baaweereza era ze baagoberera ne beebuuzaako ne basinza. Tebalikuŋŋaanyizibwa wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisasiro wansi ku ttaka. 3 (BE)N’abantu b’ensi eno ennyonoonyi bw’etyo abalisigalawo, be ndiba nsasaanyizza mu mawanga, balyegomba okufa okusinga okuba abalamu,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
Ekibi n’Okubonerezebwa
4 (BF)“Bategeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omuntu bw’agwa, tayimuka?
Oba omuntu bw’ava mu kkubo ettuufu, takyusa n’adda?
5 (BG)Kale lwaki abantu bange bano
banvaako ne bagendera ddala?
6 (BH)Nawuliriza n’obwegendereza
naye tebayogera mazima;
tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze n’okwebuuza nti,
‘Kiki kino kye nkoze?’
Buli muntu akwata kkubo lye
ng’embalaasi efubutuka ng’etwalibwa mu lutalo.
7 (BI)Ebinyonyi ebibuukira mu bbanga
bimanyi ebiseera mwe bitambulira;
ne kaamukuukulu n’akataayi ne ssekanyolya
bimanyi ebiseera mwe bikomerawo,
naye abantu bange
tebamanyi biragiro bya Mukama.”
8 (BJ)Muyinza mutya okwogera nti,
“Tuli bagezi nnyo, n’amateeka ga Mukama tugalina,
ate nga ekkalaamu y’abawandiisi ey’obulimba
yeebikyusizza.
9 (BK)Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa
era balitwalibwa.
Bagaanyi ekigambo kya Mukama,
magezi ki ge balina?
10 (BL)Noolwekyo bakazi baabwe
ndibagabira abasajja abalala
n’ennimiro zaabwe
zitwalibwe abantu abalala.
Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,
nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.
11 (BM)Ebiwundu by’abantu bange babijjanjaba nga tebafaayo,
babikomya kungulu nga boogera nti,
Mirembe, Mirembe, ate nga teri mirembe.
12 (BN)Baakwatibwa ensonyi bwe baakola ebivve?
Nedda tebakwatibwa nsonyi wadde,
so tebamanyi wadde okulimbalimba.
Noolwekyo baligwira mu bagudde,
balikka lwe balibonerezebwa,”
bw’ayogera Mukama.
13 (BO)“Ndimalirawo ddala amakungula gaabwe,”
bw’ayogera Mukama.
Tewaliba zabbibu,
na mutiini,
n’ebikoola byabwe biriwotoka.
Bye mbawadde
biribaggyibwako.
14 (BP)Kiki ekitutuuzizza wano obutuuza?
Mukuŋŋaane.
Tuddukire mu bibuga ebiriko bbugwe
tuzikiririre eyo.
Mukama Katonda atuwaddeyo tuzikirire
era atuwadde amazzi agalimu obutwa tuganywe,
kubanga twonoonye mu maaso ge.
15 (BQ)Twasuubira mirembe
naye tewali bulungi bwajja;
twasuubira ekiseera eky’okuwonyezebwa
naye waaliwo ntiisa.
16 (BR)Okukaaba kw’embalaasi z’omulabe kuwulirwa mu Ddaani;
ensi yonna yakankana olw’okukaaba kw’embalaasi.
Bajja okuzikiriza
ensi ne byonna ebigirimu,
ekibuga ne bonna abakibeeramu.
17 (BS)“Laba, ndikusindikira emisota egy’obusagwa,
amasalambwa g’otasobola kufuga,
emisota egyo girikuluma,”
bwayogera Mukama.
18 (BT)Nnina ennaku etewonyezeka,
omutima gwange gwennyise.
19 (BU)Wuliriza okukaaba kw’abantu bange
okuva mu nsi ey’ewala.
“Mukama taliimu mu Sayuuni?
Kabaka we takyalimu?”
“Lwaki bansunguwaza n’ebifaananyi byabwe,
bakatonda abalala abatagasa?”
20 “Amakungula gayise,
n’ekyeya kiyise,
tetulokolebbwa.”
Obuvunaanyizibwa bw’abakkiriza
5 (A)Tokambuwaliranga musajja mukulu, wabula omubuuliriranga nga kitaawo. Abavubuka bayisenga nga baganda bo, 2 abakazi abakadde bayisenga ng’abazadde bo, abato nga bannyoko, ng’omutima gwo mulongoofu ddala.
3 (B)Bannamwandu ddala, bassengamu ekitiibwa. 4 (C)Nnamwandu bw’abanga n’abaana oba abazzukulu basookenga okuyiga ebyo ebikolebwa mu maka ge waabwe, nga bassaayo omwoyo ku bazadde baabwe era n’okubalabirira. Kubanga ekyo kisanyusa Katonda. 5 (D)Oyo aba nnamwandu ddala, asigadde yekka, essuubi lye aba alitadde mu Katonda, era anyiikire okwegayirira n’okusaba Katonda emisana n’ekiro. 6 (E)Kyokka oyo nnamwandu eyeemalira mu masanyu, aba ng’afudde, newaakubadde ng’akyali mulamu. 7 (F)Ebyo bibalagire, baleme kubaako kya kunenyezebwa. 8 (G)Naye omuntu yenna bw’atalabirira bantu be, na ddala ab’omu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.
9 Nnamwandu awezezza emyaka enkaaga ye yekka anaawandiikibwanga ku lukalala lwa bannamwandu. Era ateekwa kuba nga yafumbirwa omusajja omu, 10 (H)nga yakolanga ebikolwa ebirungi, oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yayambanga abanyigirizibwa, era oba nga yeewangayo nnyo okukola obulungi mu buli ngeri.
11 Naye bannamwandu abakyali abato, tokkirizanga okubateeka ku lukalala lwa bannamwandu, kubanga omubiri bwe gulibalemesa okweweerayo ddala eri Kristo, balyagala okufumbirwa, 12 bwe batyo ne bessaako omusango olw’obutatuukiriza ekyo kye baasooka okusuubiza. 13 (I)N’ekirala bayiga okubeera abagayaavu ne batambulatambula mu buli nnyumba, so si bugayaavu kyokka, naye era balina olugambo, era beeyingiza mu bitali byabwe ne boogera n’ebitasaana. 14 (J)Kyenva njagala bannamwandu abato bafumbirwenga, bazaale abaana, era balabirire amaka gaabwe, baleme kuwa mulabe kkubo lya kutwogerako kibi. 15 (K)Kubanga bannamwandu abamu bakyamye ne bagoberera Setaani.
16 (L)Naye bwe wabaawo omukkiriza alina bannamwandu ab’olulyo lwe abalabirirenga, Ekkanisa ereme okuzitoowererwa, kiryoke kisoboke okulabirira bannamwandu abataliiko abayamba.
17 (M)Abakulembeze abafuga basaanidde okuweebwanga ekitiibwa kingi, na ddala abo abanyiikira ennyo mu kubuulira n’okuyigiriza ekigambo kya Katonda. 18 (N)Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Ente ng’ewuula eŋŋaano, togisibanga mumwa.” Era nti, “Omukozi asaanira okusasulwa empeera ye.” 19 (O)Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu. 20 (P)Kyokka abo aboonoona banenyezenga mu lwatu, abalala balyoke batye. 21 (Q)Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde okugobereranga ebyo, nga teweekubira wadde okusaliriza.
22 (R)Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by’abalala; weekuumenga ng’oli mulongoofu.
23 (S)Lekeraawo okunywanga amazzi gokka, naye nywanga ne ku wayini mutono olw’olubuto lwo, n’olw’okulwalalwala kwo.
24 Ebibi by’abantu abamu birabika lwatu nga tebannasalirwa musango kubasinga, naye eby’abalala birabika luvannyuma. 25 N’ebikolwa ebirungi nabyo bwe bityo birabika lwatu; ne bwe biba tebirabise lwatu, tebiyinza kukwekebwa bbanga lyonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.