Old/New Testament
Amaziga g’Abanyigirizibwa
4 (A)Ate nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi w’enjuba.
Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa,
era nga tebalina wakugabasangulako!
Ababanyigiriza baalina obuyinza,
kyokka nga tewali asobola kubagambako.
2 (B)Ne ndowooza ku abo abaafa,
nga baali ba mukisa okusinga
abo abakyali abalamu;
3 (C)naye abasinga abo,
y’oyo atannaba kuzaalibwa,
atannalaba bibi
obukolebwa wansi w’enjuba.
4 (D)Awo ne ndaba ng’okutegana, n’okutuukiriza mu bikolebwa, kuva mu kukwatirwa obuggya muliraanwa. Na kino butaliimu na kugoberera mpewo.
5 (E)Omusirusiru awumba emikono gye,
ne yeezikiriza yekka.
6 (F)Kirungi okuba n’emirembe emijjuvu
okusinga okujjula okubonaabona
n’okugoberera empewo.
7 Ate era ne ndaba obutaliimu wansi w’enjuba:
8 (G)nalaba omuntu ng’ali bwannamunigina,
nga talina mwana wabulenzi wadde muganda we, naye ng’ategana okukamala, nga tamatira na bugagga bwe,
ne yeebuuza nti, “Nteganira ani
ne neefiiriza essanyu?
Kino nakyo butaliimu,
era tekiriiko kye kigasa.”
9 Ababiri basinga omu,
kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.
10 Kubanga singa omu agwa,
munne amuyimusa.
Naye zimusanze oyo ali obw’omu,
bw’agwa tabaako amuyimusa.
11 Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma;
naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma?
12 Omu awangulwa mangu,
kyokka ababiri bayinza okwerwanako.
Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.
13 Omuvubuka omwavu nga mugezi, akira kabaka amusinga emyaka nga musirusiru, atafaayo ku kubuulirirwa. 14 Omuvubuka ayinza okuba ng’avudde mu kkomera n’alya obwakabaka, oba okulya obwakabaka ng’abadde mwavu. 15 Nalaba abalamu bonna abatambula wansi w’enjuba nga bagoberera omuvubuka oyo ow’okulya obwakabaka. 16 Abantu be yafuganga baali bangi nnyo. Naye abo abajja oluvannyuma lwe tebaamusiima. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.
Mutye Katonda
5 Weekuume ng’oyingira mu nnyumba ya Katonda; okumusemberera n’okumuwuliriza, kisinga okuwaayo ssaddaaka ng’ez’abasirusiru abatamanyi nga bakola ebibi.
2 (H)Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo,
wadde omutima gwo ogwanguyiriza,
okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda.
Katonda ali mu ggulu
ng’ate ggwe oli ku nsi;
kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
3 (I)Ng’okutawaana ennyo bwe kuleetera omuntu ebirooto,
n’ebigambo by’omusirusiru bwe bityo bwe biba nga bingi.
4 (J)Bwe weeyamanga obweyamo eri Katonda tolwanga kubutuukiriza, kubanga tasanyukira basirusiru. Tuukirizanga obweyamo bwo. 5 (K)Obuteyama kisinga okweyama n’ototuukiriza kye weeyamye. 6 Akamwa ko kaleme ku kwonoonyesa, n’ogamba oyo atumiddwa gy’oli nti, “Nakola kisobyo okweyama.” Kale lwaki weeretako okusunguwalirwa Katonda olw’ebigambo byo, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo? 7 (L)Ebirooto entoko n’ebigambo ebingi temuli makulu; noolwekyo otyanga Katonda.
Obugagga ku Bwabwo Bwokka Butaliimu Bwereere
8 (M)Bw’olabanga ng’omwavu anyigirizibwa mu ssaza, amazima n’obwenkanya nga tewali, teweewuunyanga! Kubanga omukungu waalyo alinako amusinga, ate nga bombi balina ababatwala. 9 Bonna balya ku bibala bya nsi eyo; kabaka yennyini mu nnimiro zaayo mw’afuna.
10 Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala;
wadde oyo alulunkanira obugagga n’amagoba:
na kino nakyo butaliimu.
11 Ebintu nga bwe byeyongera obungi,
n’ababirya gye bakoma okweyongera.
Kale nnyini byo agasibwa ki,
okuggyako okusanyusa amaaso ge?
12 (N)Otulo tuwoomera omupakasi
ne bw’aba agabana bitono oba bingi.
Naye obugagga bw’omugagga obuyitiridde,
tebumuganya kwebaka.
Okukola n’Essanyu
13 (O)Waliwo ekibi ekinene kye nalaba wansi w’enjuba:
nannyini bugagga abuterekera mu kwerumya,
14 ebyembi bw’ebigwawo eby’obugagga ebyo bibula,
kale bw’aba ne mutabani
tewabaawo mutabani we ky’asigaza.
15 (P)Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina n’ajja mu nsi nga talina kintu,
bw’atyo bw’aliddayo nga mwereere ng’ava mu nsi.
Tewali ky’aggya mu mirimu gye,
wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.
16 (Q)Na kino kya bulumi bwereere:
nga bwe yajja era bw’atyo bw’aligenda;
mugaso ki gwe yafuna mu kugoberera empewo?
17 Era yamala obulamu bwe bwonna mu kizikiza ne mu buyinike,
ne mu kweraliikirira, ne mu bulumi ne mu kunyiiga.
18 (R)Ne ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya n’okunywa n’okulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi w’enjuba, mu nnaku ze entono Katonda z’amuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. 19 (S)Ate Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda. 20 (T)Emirundi giba mitono gy’alowoolezaamu ekiseera ky’obulamu ky’amaze, kubanga Katonda ajjuza omutima gw’omuntu oyo essanyu.
Obutaliimu bw’Obugagga n’Ettiibwatiibwa
6 Waliwo ekibi ekirala kye ndabye wansi w’enjuba era kibuutikidde abantu. 2 (U)Katonda awa omuntu obugagga, n’amuwa ebintu ebingi awamu n’ekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga n’akifuna; naye Katonda n’amumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira n’ajja n’abisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!
3 (V)Omuntu ayinza okuba n’abaana kikumi, n’awangaala; bw’atasanyukira mu bugagga bwe, era n’ataziikwa mu kitiibwa, ne bw’aba ng’awangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ng’agenda okuzaalibwa amusingira wala. 4 Omwana oyo ajja nga taliiko ky’amanyi n’agendera mu butamanya era n’erinnya lye ne libulira mu butamanya. 5 Newaakubadde talabye njuba, wadde okubaako ky’amanya, kyokka awummula bulungi okusinga omusajja oyo: 6 omusajja oyo ne bw’awangaala emyaka enkumi bbiri, naye n’atasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?
7 (W)Buli muntu ateganira mumwa gwe,
naye tasobola kukkuta by’alina.
8 (X)Kale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru?
Omwavu bw’amanya okwefuga mu maaso g’abalala,
agasibwa ki?
9 (Y)Amaaso kye galaba
kisinga olufulube lw’ebirowoozo.
Era na kino nakyo butaliimu,
na kugoberera mpewo.
10 Buli ekibaawo ky’ateekebwateekebwa dda,
n’omuntu kyali kyamanyibwa,
tewali muntu ayinza kulwana n’oyo amusinza amaanyi,
n’amusobola.
11 Ebigambo gye bikoma obungi,
gye bikoma n’obutabaamu makulu;
kale ekyo kigasa kitya omuntu?
12 (Z)Kale ani amanyi ekirungi eri omuntu, mu nnaku ezo entono z’amala mu bulamu bwe obutaliimu, obuli ng’ekisiikirize? Ani wansi w’enjuba ayinza okutegeeza ekirimubaako ng’avudde mu bulamu buno?
Okwolesebwa ate n’eriggwa mu bulamu bwa Pawulo
12 (A)Kiŋŋwanidde okwenyumiriza, newaakubadde nga tekugasa. Naye ka njogere ku kwolesebwa n’okubikkulirwa kwa Mukama waffe. 2 (B)Waliwo omusajja wa Kristo gwe mmanyi, emyaka kkumi n’ena egiyise yatwalibwa mu ggulu eryokusatu. Naye oba yatwalibwa ng’ali mu mubiri, oba nga tali mu mubiri, nange simanyi, wabula Katonda ye amanyi. 3 Era mmanyi ng’omuntu oyo, oba mu mubiri oba ng’aggiddwa mu mubiri nange simanyi, wabula Katonda ye amanyi, 4 (C)nga yatwalibwa mu nnimiro lwa Katonda n’awulira ebintu bingi eby’ekyewuunyo omuntu by’atakkirizibwa kwatula. 5 Ku bw’omuntu oyo nzija kwenyumiriza naye ku bwange siryenyumiriza, okuggyako mu bunafu bwange. 6 (D)Naye ne bwe nandiyagadde okwenyumiriza, sandibadde musirusiru kubanga nandibadde njogera mazima, naye saagala muntu yenna andowoozeeko nti ndi wa waggulu nnyo okusinga we yandintadde ng’asinziira ku ebyo by’andabamu oba by’ampulirako, 7 (E)okusingira ddala okubikkulirwa kwe nafuna. Noolwekyo olw’obutagulumizibwa nnyo, kyenava nfumitibwa eriggwa mu mubiri, ye mubaka wa Setaani, ankube nneme okugulumizibwa ennyo.
8 (F)Emirundi esatu egy’enjawulo nga nsaba Mukama amponye eriggwa eryo. 9 (G)Buli mulundi ng’aŋŋamba nti, “Ekisa kyange kikumala, kubanga amaanyi gange gatuukirira mu bunafu.” Noolwekyo kyennaavanga nneegulumiza n’essanyu lingi olw’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke galabisibwe. 10 (H)Kyenva nsanyukira mu bunafu, mu kuvumibwa, mu bizibu, mu kuyigganyizibwa, mu binzitoowerera, ku lwa Kristo, kubanga buli bwe mba omunafu, olwo nga ndi wa maanyi.
Pawulo alumirwa Abakkolinso
11 (I)Naye mwampaliriza okufuuka omusirusiru. Noolwekyo mmwe musaana okunjogerako kubanga abatume abakulu abawagulu tebalina na kimu kye bansinza, newaakubadde nga nze siri kintu. 12 (J)Eky’amazima obubonero obw’omutume bwakolerwa mu mmwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero ne mu byewuunyo, ne mu bikolwa eby’amaanyi. 13 (K)Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingira, wabula nze kennyini obutabazitoowereranga. Munsonyiwe ekyonoono ekyo.
14 (L)Laba guno mulundi gwa kusatu nga nneeteeseteese okujja gye muli, era sijja kubazitoowerera, kubanga ebyammwe si bye njagala, wabula njagala mmwe. N’ekirala, mmwe muli baana bange; abaana si be baterekera bazadde baabwe eby’obugagga, wabula abazadde be baterekera abaana baabwe. 15 (M)Naye nzija kusanyuka nnyo okwewaayo gye muli, nze ne byonna bye nnina olw’emyoyo gyammwe, newaakubadde nga nze gye nkoma okubaagala ennyo, ate mmwe okwagala kwammwe gye ndi gye kukoma okukendeera. 16 (N)Naye mukkirize nti ssabazitoowerera; naye ne ngerengetanya ne mbatega mu lukwe. 17 Mu abo be nabatumira, ani gwe nakozesa okubafunamu amagoba? 18 (O)Nakuutira Tito okujja, ne ntuma n’owooluganda omulala awamu naye; Tito yeeyabafunako amagoba? Tetwatambulira mu mwoyo gumu? Tetwatambulira mu kisinde kimu?
Okutya kwa Pawulo n’okweraliikirira
19 (P)Obw’edda mwalowooza nga mwetoowaza mu maaso ga Katonda. Naye abaagalwa ebintu byonna tubyogerera mu Kristo olw’okubazimba. 20 (Q)Kubanga kye ntya oboolyawo kwe kubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; oboolyawo nga waliwo okuyomba, n’obuggya, n’obusungu, n’okwawukana, n’okugeyaŋŋana, n’olugambo, n’okwekuluntaza, n’okutabukatabuka; 21 (R)bwe ndijja nate, Katonda wange aleme kuntoowaza mu maaso gammwe, ne nkaabira abo bonna abaayonoona edda, ne bateenenya obutali bulongoofu, n’obwenzi, n’obugwagwa bye baakola.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.