Old/New Testament
א Alefu
119 (A)Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;
abatambulira mu mateeka ga Mukama.
2 (B)Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
3 (C)Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
4 Ggwe wateekawo ebiragiro byo;
n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
5 Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;
nga nkuuma bye walagira.
6 Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga
ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
7 Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,
nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
8 Nnaakwatanga amateeka go;
Ayi Mukama, tonsuulira ddala.
ב Bessi
9 (D)Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?
Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
10 (E)Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
tonzikiriza kuva ku mateeka go.
11 (F)Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;
ndyoke nneme okwonoona.
12 (G)Ogulumizibwe, Ayi Mukama;
onjigirize amateeka go.
13 (H)Njatula n’akamwa kange
amateeka go gonna ge walagira.
14 Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,
ng’asanyukira eby’obugagga.
15 (I)Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,
ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
16 (J)Nnaasanyukiranga amateeka go,
era siigeerabirenga.
ג Gimero
17 (K)Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,
ngobererenga ekigambo kyo.
18 Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba
eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
19 (L)Nze ndi muyise ku nsi;
tonkisa bye walagira.
20 (M)Bulijjo emmeeme yange
eyaayaanira amateeka go.
21 (N)Onenya ab’amalala, abaakolimirwa,
abaleka amateeka go.
22 (O)Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;
kubanga bye walagira mbigondera.
23 Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;
naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
24 Amateeka go lye ssanyu lyange,
era ge gannuŋŋamya.
ד Daleeti
25 (P)Nzigweddemu amaanyi, ndi wansi mu nfuufu;
nkusaba onzizeemu endasi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
26 (Q)Nakutegeeza bye nteesezza okukola, n’onnyanukula;
onjigirize amateeka go.
27 (R)Njigiriza amateeka go bye gagamba,
nange nnaafumiitirizanga ku byamagero byo.
28 (S)Emmeeme empweddemu ensa olw’okunakuwala;
onzizeemu amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
29 Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu;
olw’ekisa kyo njigiriza amateeka go.
30 Nonzeewo okubeera omwesigwa;
ntambulire mu ebyo bye walagira.
31 (T)Nnyweredde ku biragiro byo, Ayi Mukama,
tondeka kuswazibwa.
32 Bw’onoosumulula omutima gwange,
nnaatambuliranga mu makubo go ng’ebiragiro byo bwe biri.
ה Eh
33 (U)Njigiriza, Ayi Mukama, okugonderanga ebiragiro byo;
ndyoke mbinywezenga ennaku zonna ez’obulamu bwange.
34 Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go
era ngakwate n’omutima gwange gwonna.
35 Ntambuliza mu mateeka go,
kubanga mwe nsanyukira.
36 (V)Okyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira;
so si eri eby’okufuna ebitaliimu.
37 (W)Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu;
obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.
38 (X)Tuukiriza kye wasuubiza omuddu wo,
kubanga ekyo kye wasuubiza abo abakutya.
39 Nziggyako okunyoomebwa kuno kwe ntya,
kubanga ebiragiro byo birungi.
40 (Y)Laba, njayaanira ebiragiro byo;
onkomyewo mu butuukirivu bwo.
ו Waawu
41 Okwagala kwo okutaggwaawo kujje gye ndi, Ayi Mukama;
ompe obulokozi bwo nga bwe wasuubiza;
42 (Z)ndyoke mbeere n’eky’okwanukula abo abambonyaabonya;
kubanga neesiga kigambo kyo.
43 Toganya kigambo ekitali kya mazima okuva mu kamwa kange;
kubanga essuubi lyange liri mu ebyo bye walagira.
44 Nnaagonderanga amateeka go ennaku zonna,
emirembe n’emirembe.
45 Era nnaatambulanga n’emirembe,
kubanga ngoberedde ebyo bye walagira.
46 (AA)Era nnaayogeranga ku biragiro by’omu maaso ga bakabaka,
nga sikwatibwa nsonyi.
47 Kubanga nsanyukira amateeka go,
era ngaagala.
48 Nzisaamu nnyo ekitiibwa ebiragiro byo era mbyagala.
Nnaafumiitirizanga ku mateeka go.
ז Zayini
49 Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo,
kubanga gwe wampa essuubi.
50 (AB)Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi
kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.
51 (AC)Ab’amalala banduulira obutamala,
naye nze siva ku mateeka go.
52 (AD)Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama,
biwummuza omutima gwange.
53 (AE)Nkyawa nnyo abakola ebibi,
abaleka amateeka go.
54 Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba
buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.
55 (AF)Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama,
ne neekuuma amateeka go.
56 Olw’okukugonderanga
nfunye emikisa gyo mingi.
ח Esi
57 (AG)Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama;
nasuubiza okukugonderanga.
58 (AH)Nkwegayirira n’omutima gwange gwonna,
ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.
59 (AI)Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte,
ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.
60 Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go,
so seekunya.
61 (AJ)Newaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye,
naye seerabirenga mateeka go.
62 (AK)Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza,
olw’ebiragiro byo ebituukirivu.
63 (AL)Ntambula n’abo abakutya,
abo bonna abakwata amateeka go.
64 (AM)Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo;
onjigirize amateeka go.
ט Teesi
65 Okoze bulungi omuddu wo, Ayi Mukama,
ng’ekigambo kyo bwe kiri.
66 Njigiriza okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi, era ompe okumanya;
kubanga nzikiririza mu mateeka go.
67 (AN)Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo,
naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.
68 (AO)Ayi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi;
onjigirize amateeka go.
69 (AP)Ab’amalala banjogeddeko nnyo eby’obulimba,
naye nze nkwata ebyo bye walagira, n’omutima gwange gwonna.
70 (AQ)Omutima gwabwe gugezze ne gusavuwala;
naye nze nsanyukira amateeka go.
71 Okubonerezebwa kwangasa,
ndyoke njige amateeka go.
72 (AR)Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi
okusinga enkumi n’enkumi eza ffeeza ne zaabu.
י Yoodi
73 (AS)Emikono gyo gye gyankola ne gimmumba,
mpa okutegeera ndyoke njige amateeka go.
74 (AT)Abo abakutya banandabanga ne basanyuka,
kubanga essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
75 (AU)Mmanyi, Ayi Mukama, ng’amateeka go matukuvu,
era wali mutuufu okumbonereza.
76 Kale okwagala kwo okutaggwaawo kumbeere kumpi kunsanyuse,
nga bwe wansuubiza, nze omuddu wo.
77 (AV)Kkiriza okusaasira kwo kuntuukeko ndyoke mbeere mulamu;
kubanga mu mateeka go mwe nsanyukira.
78 (AW)Ab’amalala baswazibwe, kubanga bampisizza bubi nga siriiko kye nkoze.
Naye nze nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
79 Abo abakutya bajje gye ndi,
abategeera amateeka go.
80 Mbeera, omutima gwange guleme kubaako kya kunenyezebwa mu mateeka go,
nneme kuswazibwa!
כ Kaafu
81 (AX)Emmeeme yange erumwa nnyo ennyonta ng’eyaayaanira obulokozi bwo,
essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
82 (AY)Ntunuulidde ebbanga ddene n’amaaso gange ne ganfuuyirira nga nninda okutuukirira kw’ekisuubizo kyo;
ne neebuuza nti, “Olinsanyusa ddi?”
83 Newaakubadde nga nfuuse ng’ensawo ey’eddiba, eya wayini eri mu mukka[a],
naye seerabira bye walagira.
84 (AZ)Ayi Mukama, nze omuddu wo nnaalindirira kutuusa ddi
nga tonnabonereza abo abanjigganya?
85 (BA)Abantu ab’amalala abatatya Katonda bansimidde ebinnya mu kkubo;
be bo abatagondera mateeka go.
86 (BB)Amateeka go gonna geesigibwa;
abo abatakwagala banjigganyiza bwereere; nkusaba onnyambe!
87 (BC)Baali kumpi okunzikiririza ddala ku nsi kuno;
naye nze sivudde ku ebyo bye walagira.
88 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo ndekera obulamu bwange,
ndyoke nkuume ebyo bye walagira ebiva mu kamwa ko.
20 (A)Buli omu abeerenga mu kuyitibwa Katonda kwe yamuyitiramu. 21 Oba nga wayitibwa ng’oli muddu ekyo kireme okuba ekikulu; naye bw’oba ng’ofunye omukisa okufuuka ow’eddembe, gukozese. 22 (B)Kubanga eyayitibwa Mukama nga muddu, Mukama yamufuula wa ddembe, n’oyo eyali ow’eddembe yafuuka muddu wa Kristo. 23 (C)Mwagulibwa na muwendo noolwekyo temufuukanga baddu ba bantu. 24 (D)Kale abooluganda, buli kifo kyonna omuntu yenna ky’alimu, mwe yayitirwa abeere mu ekyo.
Abatali bafumbo ne bannamwandu
25 (E)Naye ku ky’abatafumbirwanga wadde okuwasa, sirina kiragiro kiva eri Mukama wabula Mukama mu kusaasira kwe yampa amagezi agayinza okwesigibwa kwe nnaasinziira okubawa ekirowoozo kyange. 26 (F)Kino nkirowooza nga kirungi, olw’embeera eya kaakano, nga kirungi omuntu okusigala nga bw’ali. 27 Obanga oli mufumbo tosaanye kwawukana na munno. Naye obanga wayawukana n’omukazi, tonoonya wa kuwasa. 28 Kyokka omusajja bw’awasa aba tayonoonye, era n’embeerera bw’afumbirwa naye aba tayonoonye. Wabula abafumbo, obufumbo bujja kubaleetera emitawaana gye nandiyagadde mwewale.
29 (G)Naye kino kye mbategeeza abooluganda nti ekiseera kiyimpawadde. Noolwekyo abo abalina abakazi babe ng’abatabalina. 30 N’abo abakaaba babe ng’abatakaaba, n’abo abasanyuka babe ng’abatasanyuka. N’abo abagula ebintu babe ng’abatalina kintu kye bayita kyabwe. 31 (H)Era n’abo abakozesa eby’oku nsi kuno bireme okubamalamu ennyo, kubanga ensi eya kaakano eggwaawo.
32 (I)Naye kye mbagaliza mmwe bwe buteraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeemalira ku bya Mukama, engeri gy’asanyusa Mukama. 33 Naye omufumbo yeeraliikirira bya nsi, nga bw’anaasanyusa mukazi we; 34 (J)aba yeesazeemu, ng’atta aga n’aga. N’omukazi atali mufumbo n’embeerera bafaayo ku bintu bya Mukama, babeerenga batukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, engeri gy’anaasanyusaamu bba. 35 (K)Bino mbyogera olw’okubagasa, so si kubaziyiza kuwasa na kufumbirwa. Kubanga njagala musobole okuweereza Mukama nga tewali birala bibaziyiza okweweerayo ddala.
36 (L)Omusajja bw’alowooza nti aba teyeeyisizza bulungi eri omuwala oyo gw’ayogereza bw’atamuwasa, bwe bafumbiriganwa, aba tayonoonye. 37 Naye oyo asobola okwefuga ng’alina omutima omunywevu, n’asalawo awatali kuwalirizibwa nti omuwala tajja kumuwasa, aba asazeewo bulungi. 38 (M)Kale oyo awasa omuwala gw’ayogereza aba akoze bulungi, naye oyo atamuwasa y’aba asinze okukola obulungi.
39 (N)Omukazi omufumbo abeera kitundu kya bba, bba bw’aba akyali mulamu. Naye bba bw’afa olwo ayinza okufumbirwa omusajja omulala gw’ayagala, kyokka omusajja oyo ateekwa kuba mu Mukama waffe yekka. 40 (O)Naye nze ndowooza nti alina omukisa oyo singa taddayo kufumbirwa. Era ndowooza nga nange nnina Omwoyo wa Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.