Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ebyabaleevi 23-24

23 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (A)“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Zino ze mbaga zange ze nnonze, nga ze mbaga za Mukama Katonda ezirondeddwa ze munaakubirangako enkuŋŋaana entukuvu.

Ssabbiiti

(B)“Mu nnaku omukaaga munaakolerangamu emirimu gyammwe, naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ey’okuwummula; lunaabeeranga olunaku olw’okukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu n’akatono yonna gye munaabeeranga, kubanga ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda.

Okuyitako n’Emigaati Egitali Mizimbulukuse

“Zino ze mbaga Mukama Katonda ze yeerondera okunaakubirwanga enkuŋŋaana entukuvu ze munaalangiriranga mu ntuuko zaazo: (C)Embaga ya Mukama Katonda ey’Okuyitako eneetandikanga ng’obudde buwungeera ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye. Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo, Embaga ya Mukama Katonda ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse kw’eneetandikiranga; munaamalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egifumbiddwa nga temuli kizimbulukusa. (D)Ku lunaku olusooka olw’embaga eyo ey’Okuyitako munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo. Munaamalanga ennaku musanvu nga buli lunaku muleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama. Ku lunaku olw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo.”

Embaga ey’Ebibala Ebibereberye

Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 10 (E)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Bwe mutuukanga mu nsi gye nzija okubawa ne mukungula ebibala byamu, muleetanga eri kabona ekinywa eky’ebibala byammwe eby’olubereberye; 11 (F)naye anaawuubawuubanga ekinywa ekyo awali Mukama Katonda kiryoke kikkirizibwe ku lwammwe. Kabona anaakiwuubawuubanga ku lunaku oluddirira Ssabbiiti. 12 Ku lunaku olwo lwe munaawuubirawuubirangako ekinywa, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda eky’omwana gw’endiga omulume, ogwakamala omwaka gumu ogw’obukulu era nga teguliiko kamogo. 13 (G)N’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekigenderako kinaabanga kigero kya desimoolo bbiri eza efa[a], eky’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni, nga kye kiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda, ne muvaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama Katonda; n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako kinaabanga ekitundu kimu kya kuna ekya lita emu ey’envinnyo. 14 (H)Era temuulyenga ku mugaati n’akatono oba ku mmere ey’empeke ensiike oba eyaakakungulwa, okutuusa ku lunaku olwo lwennyini lwe munaaleeterangako ekiweebwayo kino eri Katonda wammwe. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ery’emirembe gyonna egigenda okujja, mu bifo byonna gye munaabeeranga.

Embaga eya Pentekoote

15 “Okuva ku lunaku oluddirira Ssabbiiti, nga lwe lunaku kwe mwaleetera ekiweebwayo eky’ekinywa ekiwuubibwawuubibwa mubalanga ewiiki enzijuvu musanvu. 16 (I)Munaabalanga ennaku amakumi ataano okutuuka ku Ssabbiiti ey’omusanvu, ne mulyoka muwaayo eri Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke empya eyaakakungulwa. 17 (J)Nga muva mu buli kitundu gye mubeera, munaaleetanga emigaati, ebiri ebiri nga gikoleddwa mu kigero ekya desimoolo bbiri eza efa ez’obuwunga obulungi, nga bufumbiddwa n’ekizimbulukusa; nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa eky’ebibala ebibereberye. 18 Era awamu n’emigaati egyo munaaleeterangako abaana b’endiga musanvu ab’omwaka gumu abataliiko kamogo; munaaleetanga n’ente eya seddume ento emu, n’endiga ennume ento bbiri. Binaabeeranga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, awamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo eky’ebyokunywa; nga kye kiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, ne muvaamu evvumbe erisanyusa Mukama. 19 Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi, era n’endiga ento ennume ez’omwaka ogumu bbiri nga kye kiweebwayo olw’emirembe. 20 Kabona anaawubawuubanga ebiweebwayo ebyo awamu n’emigaati egikoleddwa mu bibala ebibereberye n’endiga zombi ento, nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa. Kinaabanga kiweebwayo eri Mukama Katonda ekitukuvu, era kabona y’anaakitwalanga. 21 (K)Ku lunaku olwo onoolangiriranga olukuŋŋaana olutukuvu; era temujjanga kukolerako mirimu gyammwe egya bulijjo. Eryo linaabeeranga etteeka ery’emirembe gyonna mu mmwe buli yonna gye munaabeeranga.

22 (L)“Bwe munaakungulanga emmere mu ttaka lyammwe temugimalirangamu ddala okutuuka ku mbibiro z’ennimiro yammwe, wadde okukuŋŋaanyanga eneebanga ekunkumuse wansi nga mumaze okukungula. Eyo mugirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe.”

Embaga ey’Amakondeere

23 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 24 (M)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti olunaku olw’olubereberye mu mwezi ogw’omusanvu lunaabanga lwa kuwummula, munaakwatirangako olukuŋŋaana olutukuvu olunaalangirirwanga n’okufuuwa amakondeere ag’omwanguka. 25 (N)Temukolerangako mirimu gyonna egya bulijjo, naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda.”

Olunaku olw’Okutangiririrwa

26 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 27 (O)“Olunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno ogw’omusanvu lwe lunaabanga Olunaku olw’Okutangiririrwa. Munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, muneefiirizanga ne mwerumya, era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda. 28 Olunaku olwo temulukolerangako mulimu na gumu, kubanga lwe Lunaku olw’Okutangiririrwa, lwe munaatangiririrwanga awali Mukama Katonda. 29 (P)Omuntu yenna anaagaananga okwefiiriza ku lunaku olwo kinaamugwaniranga okuwaŋŋangusibwa n’aggyibwa mu banne. 30 (Q)Era buli muntu anaakolanga omulimu ku lunaku olwo ndimuggya mu banne ne mmuzikiriza. 31 Temulukolerangako mulimu n’akatono. Eryo linaabeeranga etteeka ery’enkalakkalira, ery’emirembe gyonna egigenda okujja mu bifo byonna gye munaabeeranga. 32 Lunaabeeranga lwa Ssabbiiti na kuwummulirako gye muli, era muneefiirizanga. Munaakuumanga Ssabbiiti yammwe okuva ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi akawungeezi okutuusa ku kawungeezi akaddirira.”

Embaga ey’Ensiisira

33 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 34 (R)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano Embaga ya Mukama ey’Ensiisira kw’eneetandikiranga, era eneemalanga ennaku musanvu. 35 Ku lunaku olw’olubereberye munaakubirangako olukuŋŋaana olutukuvu; temuulukolerengako mirimu egya bulijjo. 36 (S)Munaaleetanga ebiweebwayo eri Mukama ebyokye mu muliro okumalira ddala ennaku musanvu, ne ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu ne muwaayo eri Mukama Katonda ekiweebwayo ekyokye n’omuliro. Olwo lwe lukuŋŋaana olukulu oluggalawo, temulukolerangako mirimu egya bulijjo.

37 (T)“Ezo ze mbaga Mukama ze yalagira, ze munaalangiriranga nti mbaga ntukuvu okunaaleeterwanga ebiweebwayo eri Mukama Katonda ebyokeddwa mu muliro, ebiweebwayo ebyokye, ebiweebwayo eby’empeke, ssaddaaka n’ebiweebwayo ebinywebwa ebineetaagibwanga buli lunaku. 38 (U)Ebiweebwayo bino byeyongera ku biri eby’oku Ssabbiiti za Mukama Katonda, era ne byeyongera ku birabo byammwe ne ku ebyo byonna bye munaabanga mweyamye, ne ku biweebwayo ebirala byonna bye munaabanga muleetedde Mukama Katonda nga mweyagalidde.

39 (V)“Kale nno okutandikira ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu, nga mumaze okukungula n’okuyingiza ebibala ebivudde mu ttaka lyammwe, munaakoleranga Mukama Katonda ekijaguzo okumala ennaku musanvu; olunaku olw’olubereberye lunaabanga lwa kuwummula era n’olunaku olw’omunaana nalwo nga lwa kuwummula. 40 (W)Ku lunaku olw’olubereberye munaanoganga ku miti ebibala ebisingira ddala obulungi ne muddira n’amatabi g’enkindu, n’amatabi ag’emiti agaziyidde n’ebikoola ebigimu, n’emiti egy’oku migga, ne mulyoka musanyukira awali Mukama Katonda wammwe okumala ennaku musanvu. 41 Mukolanga bwe mutyo ng’ekyo kye kijaguzo eri Mukama Katonda, okumala ennaku musanvu buli mwaka. Lino ly’etteeka ery’enkalakkalira erinaakwatibwanga n’ab’omu mirembe egigenda okujja; mujaguzenga mu mwezi ogw’omusanvu. 42 (X)Munaasulanga mu busiisira okumala ennaku musanvu. Abo bonna abazaaliranwa ab’omu Isirayiri banaasulanga mu busiisira, 43 (Y)bwe batyo ab’omu zzadde lyammwe balyoke bamanye nga bwe nasuzanga abaana ba Isirayiri mu busiisira bwe nnali nga mbaggya mu nsi y’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.”

44 Bw’atyo Musa n’alangirira mu baana ba Isirayiri embaga za Mukama ennonde.

Amafuta ag’Omuzeeyituuni n’Emigaati egy’Okulaga

24 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Lagira abaana ba Isirayiri bakuleetere amafuta ag’omuzeeyituuni aga zeyituuni amalungi amaka ag’okukozesa mu ttaala ziryoke zaakenga buli kiseera awatali kusalako. Wabweru w’Eggigi ery’Endagaano mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, Alooni w’anaalabiririranga ettabaaza ezo nga zaakira awali Mukama Katonda okuva akawungeezi okutuusa mu makya awatali kusalako. Eryo linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe egigenda okujja. (Z)Alooni anaalabiriranga ettaala ez’oku kikondo ekya zaabu omuka awali Mukama Katonda nga zaaka awatali kusalako.

(AA)“Ojja kuddiranga obuwunga bw’eŋŋaano obulungi ofumbe emigaati kkumi n’ebiri ng’okozesa desimoolo bbiri eza efa[b]. (AB)Onoogitegekanga mu nnyiriri bbiri nga mu buli lunyiriri mulimu emigaati mukaaga. Onoogiteekanga ku mmeeza eya zaabu omuka awali Mukama. (AC)Era ku buli lunyiriri onooteekangako obubaane obuka nga bugendera wamu n’emigaati nga kye kijjukizo eky’ekiweebwayo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro. (AD)Emigaati egyo ginaategekebwanga awali Mukama buli Ssabbiiti awatali kwosa, ng’ekyo kikolebwa ku lw’abaana ba Isirayiri nga ye ndagaano ey’emirembe n’emirembe. (AE)Emigaati egyo ginaabanga gya Alooni ne batabani be, era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu, kubanga giva ku kiweebwayo ekitukuvu ennyo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro nga kye kiragiro eky’enkalakkalira.”

Avvoola wa Kuttibwanga

10 Awo mutabani w’omukazi Omuyisirayiri naye nga kitaawe Mumisiri n’afuluma n’abeera mu baana ba Isirayiri, naye ne wasitukawo olutalo wakati w’omusajja oyo n’Omuyisirayiri, nga bali mu lusiisira[c]. 11 (AF)Mutabani w’omukazi Omuyisirayiri n’avvoola Erinnya lya Mukama, era n’akolima. Ne bamuleeta eri Musa. Nnyina ye yali Seromisi, muwala wa Dibuli ow’omu kika kya Ddaani. 12 (AG)Ne bamuggalira mu kkomera okutuusa Mukama Katonda lw’anaabategeeza ekinaakolebwa.

13 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 14 (AH)“Eyavvodde mumufulumye ebweru w’olusiisira. Abo bonna abaamuwulidde ng’avvoola bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe; oluvannyuma ekibiina kyonna kiryoke kimukube amayinja. 15 (AI)Tegeeza abaana ba Isirayiri nti omuntu yenna anaakolimiranga Katonda we anaabanga n’obuvunaanyizibwa olw’ekibi ekyo. 16 (AJ)Oyo yenna anavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga. Ekibiina kyonna kinaamukubanga amayinja. Ne bw’anaabanga omugwira oba Omuyisirayiri, bw’anavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga.

17 (AK)“Anattanga omuntu naye anattibwanga. 18 (AL)Omuntu yenna anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, ensolo ku nsolo. 19 Omuntu bw’anaaleetanga akamogo ku munne n’amulumya, ekyo ky’akoze ku munne naye kye kinaamukolwangako: 20 (AM)obuvune olw’obuvune, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo; nga bw’anaabanga alumizza munne, naye bw’atyo bw’anaalumizibwanga. 21 (AN)Omuntu anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, n’oyo anattanga omuntu naye waakuttibwanga. 22 (AO)Etteeka lye limu lye linaafuganga omugwira era n’Omuyisirayiri. Nze Mukama Katonda wammwe.”

23 Bw’atyo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri, ne bafulumya eyavvoola ebweru w’olusiisira ne bamukuba amayinja n’afa. Abaana ba Isirayiri baakola nga Mukama bwe yalagira Musa.

Makko 1:1-22

Yokaana Omubatiza Alongoosa Ekkubo

(A)Entandikwa y’Enjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.

(B)Kyawandiikibwa mu kitabo kya nnabbi Isaaya nti,

“Laba ntuma omubaka wange akukulembere,
    ateeketeeke ekkubo lyo;
(C)eddoboozi ly’oyo ayogelera waggulu mu ddungu nti,
‘Muteeketeeke ekkubo lya Mukama,
    mutereeze amakubo ge.’ ”

(D)Yokaana yajja ng’abatiriza mu ddungu, ng’abuulira okubatiza okw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi. Ensi yonna ey’e Buyudaaya n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi, ne bagendanga gy’ali, n’ababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe. (E)Yokaana yayambalanga ekyambalo eky’obwoya bw’eŋŋamira, ne yeesibanga olukoba olw’eddiba mu kiwato kye, era yalyanga nzige na mubisi gwa njuki. (F)Yabuuliranga ng’agamba nti, “Waliwo omuntu omukulu era ansinga amaanyi ajja okujja, gwe sisaanira na kusumulula bukoba bwa ngatto ze. (G)Nze mbabatiza na mazzi, naye ye alibabatiza na Mwoyo Mutukuvu.”

Okubatizibwa kwa Yesu n’Okukemebwa kwe

(H)Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n’ava e Nazaaleesi mu Ggaliraaya n’ajja, Yokaana n’amubatiza mu mugga Yoludaani. 10 (I)Awo Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, n’alaba eggulu nga libikkuse, ne Mwoyo ng’ali ng’ejjiba ng’amukkako. 11 (J)Eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa, ggwe, gwe nsanyukira ennyo.” 12 Amangwago Mwoyo n’amutwala mu ddungu. 13 (K)N’amalayo ennaku amakumi ana ng’ali n’ensolo ez’omu nsiko, ng’akemebwa Setaani, kyokka nga bamalayika bamuweereza.

Yesu Ayita Abayigirizwa Abaasooka

14 (L)Oluvannyuma nga Yokaana Omubatiza amaze okusibwa mu kkomera, Yesu n’ajja mu Ggaliraaya okubuulira Enjiri ya Katonda, 15 (M)ng’agamba nti, “Ekiseera kituukiridde, n’obwakabaka bwa Katonda busembedde! Mwenenye mukkirize Enjiri.” 16 Awo Yesu yali ng’ayita ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya, n’alaba Simooni ne muganda we Andereya nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja; kubanga baali bavubi. 17 Yesu n’abagamba nti, “Mujje mungoberere nange ndibafuula abavubi b’abantu!” 18 Amangwago ne baleka obutimba bwabwe ne bamugoberera. 19 Bwe yeeyongerayo katono, n’alaba Yakobo ne Yokaana batabani ba Zebbedaayo, nga bali mu lyato baddaabiriza obutimba bwabwe. 20 Amangwago n’abayita ne baleka kitaabwe Zebbedaayo mu lyato n’abapakasi, ne bagoberera Yesu.

Yesu Awonya Omusajja eyaliko Dayimooni

21 (N)Awo ne bayingira mu Kaperunawumu. Amangwago n’ayingira mu kuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, n’abayigiriza. 22 (O)Ne beewuunya okuyigiriza kwe, kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka bwe baakolanga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.