Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 9-11

Nsotoka mu Magana ag’Abamisiri

(A)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Genda ewa Falaawo omugambe nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agambye nti, ‘Leka abantu bange bagende, bansinze. Singa ogaana okubakkiriza okugenda, n’oyongera okubakuumira wano, (B)Mukama ajja kusindika nsotoka omukambwe ennyo mu magana go agali mu malundiro, ne mu mbalaasi ne mu ndogoyi, ne mu ŋŋamira, ne mu zisseddume z’ente ne mu ndiga. (C)Naye Mukama ajja kwawulamu amagana aga Isirayiri n’aga Misiri, waleme kubaawo nsolo n’emu efa mu magana ag’abaana ba Isirayiri.’ ”

Mukama n’alonda ekiseera, n’agamba nti, “Enkya Mukama w’anaakolera ekintu kino mu nsi eno.” (D)Era enkeera Mukama n’akola ekikolwa ekyo: amagana aga Misiri gonna ne gafa, naye ne wataba nsolo n’emu ku magana ag’abaana ba Isirayiri eyafa. (E)Falaawo n’atuma abantu okwetegereza, ne basanga nga tewali wadde ensolo n’emu ey’abaana ba Isirayiri eyali efudde. Naye era omutima gwa Falaawo ne gusigala nga gukyakakanyadde, Abayisirayiri n’atabakkiriza kugenda.

Amayute n’Amabwa mu Bamisiri

Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, “Muyoole mu kyokero embatu z’omunyale, Musa agumanse waggulu mu bbanga nga ne Falaawo alaba. (F)Gujja kufuuka nfuufu mu nsi yonna ey’e Misiri, guleete amayute ku bantu ne ku nsolo aganaatulikamu amabwa mu nsi yonna ey’e Misiri.”

10 Bwe batyo ne bayoola omunyale mu kyokero, ne bagenda bayimirira mu maaso ga Falaawo. Musa n’amansa evvu waggulu mu bbanga, ne lifuuka amayute, ne gatulikamu amabwa ku bantu ne ku nsolo. 11 (G)Abalogo ne batasobola kuyimirira mu maaso ga Musa olw’amayute;[a] kubanga amayute gaakwata abalogo n’Abamisiri bonna. 12 (H)Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atawuliriza Musa ne Alooni, era nga Mukama bwe yagamba Musa.

Amayinja g’Omuzira Gagwa mu Bamisiri

13 (I)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ozuukuka mu makya nnyo, n’ogenda oyolekera Falaawo, n’omugamba nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agamba bw’ati nti, ‘Leka abantu bange bagende, bampeereze. 14 (J)Kubanga ku mulundi guno nzija kukusindikira kawumpuli ku ggwe kennyini, ne ku baweereza bo, ne ku bakungu bo, olyoke otegeere nga tewali ali nga nze mu nsi yonna. 15 (K)Kubanga nandiyinzizza okugolola omukono gwange ne nkusindikira olumbe, ggwe n’abantu bo, ne lubamalawo ku nsi. 16 (L)Naye olw’ensonga eno kyennava nkuleka n’obeera mulamu, ndyoke njolese amaanyi gange, era n’erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi yonna. 17 Kyokka okyekulumbaliza ku bantu bange n’otobakkiriza kugenda, 18 (M)noolwekyo, enkya obudde nga bwe buti, nzija kusindika kibuyaga ow’omuzira ogw’amayinja ogutagwangako mu Misiri kasookedde ensi eyo ebaawo. 19 Kale, lagira bayingize amagana go ag’ente, n’ebisolo byonna ebiri mu ddundiro, kubanga omuzira gujja kukuba buli muntu ali ebweru era ajja kufa; ne buli nsolo yonna eneebeera ebweru mu ddundiro gujja kugikuba efe.’ ”

20 (N)Abakungu ba Falaawo abaali batya ekigambo kya Mukama, ne banguwa ne bayingiza abaddu baabwe n’amagana gaabwe. 21 Naye abo abatassaayo mwoyo ku kigambo kya Mukama ne baleka abaddu baabwe n’amagana gaabwe ebweru.

22 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gugwe ku nsi yonna ey’e Misiri: gukube abantu, n’ensolo, ne buli kimera kyonna ekiri mu nnimiro mu Misiri.” 23 (O)Musa n’ayolekeza omuggo gwe eri eggulu; Mukama n’asindika okubwatuka n’omuzira; laddu ne yakira ku ttaka. Bw’atyo Mukama n’atonnyesa omuzira ku nsi y’e Misiri. 24 Omuzira ne gugwa, n’okumyansa ne kwetabika n’omuzira awatali kusalako, ne guba mungi nnyo, nga tegugwangako bwe gutyo kasookedde ensi ya Misiri efuuka ggwanga. 25 (P)Omuzira gwakuba buli kintu kyonna ekyali ebweru mu nnimiro mu nsi yonna ey’e Misiri: abantu n’ensolo; era omuzira ne gukuba buli kimera kyonna mu nnimiro, ne gusensebula emiti gyonna ku ttale. 26 (Q)Ekitundu kyokka ekitaatuukwamu muzira, kye kya Goseni, abaana ba Isirayiri gye baabeeranga.

27 (R)Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni, n’abagamba nti, “Leero luno nnyonoonye; Mukama ye mutuufu, naye nze n’abantu bange ffe bakyamu. 28 (S)Weegayirire Mukama; kubanga omuzira n’okubwatuka bitwetamizza. Nzija kubaleka mugende; siraba kyemuva mweyongera kubeera wano.”

29 (T)Musa n’addamu nti, “Olunaafuluma mu kibuga, nnaagolola emikono gyange waggulu eri Mukama ne mmusaba. Okubwatuka kunaasirika, n’omuzira gunaalekera awo okugwa; olyoke otegeere ng’ensi eno Mukama ye nannyini yo. 30 Kyokka mmanyi nga ggwe n’abakungu bo temunnatya Mukama Katonda.”

31 (U)(Obugoogwa ne sayiri byakubwa ne bizikirizibwa, kubanga sayiri yali ayengera nga n’obugoogwa bumulisizza. 32 Naye eŋŋaano n’omukyere, byo tebyayonoonebwa kubanga byali tebinnayengera.)

33 Musa n’ava mu kibuga ewa Falaawo, n’awanika emikono gye eri Mukama ng’amusaba; okubwatuka n’omuzira ne bisirika, era n’enkuba n’ekya. 34 Naye Falaawo bwe yalaba enkuba, n’omuzira, n’okubwatuka nga birekeddaawo, ate ne yeeyongera okusobya; ye n’abakungu be ne bakakanyaza emitima gyabwe. 35 (V)Omutima gwa Falaawo bwe gutyo ne gukakanyala; n’ataleka baana ba Isirayiri kugenda, era nga Mukama bwe yayogerera mu Musa.

Enzige Zirya Ebirime by’Abamisiri

10 (W)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Genda eri Falaawo, kubanga nnyongedde okukakanyaza omutima gwe, n’omutima gw’abaweereza be, ndyoke mbalage ebyamagero byange bino: (X)era naawe onyumize abaana bo, n’abaana b’abaana bo, ebintu bye nkoledde mu Misiri, n’ebyamagero bye mbalaze; nammwe mulyoke mutegeere nga nze Mukama.”

(Y)Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Mukama Katonda wa Abaebbulaniya n’agamba bw’ati nti, ‘Olituusa ddi ng’okyagaanye okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange bagende, bansinze. (Z)Singa ogaana okubakkiriza okugenda, enkya nzija kuleeta enzige mu nsi yo. (AA)Zijja kubikka ensi yonna, wabulewo n’omuntu w’ayisa eriiso okulaba ettaka. Zijja kulya ebyo omuzira bye gwalekawo, zirye ne buli muti ogukula mu nnimiro. Zinajjuza amayumba go, n’amayumba g’abakungu bo bonna, n’amayumba g’Abamisiri bonna; ekyo bakadde bo, ne bakadde ba bakadde bo nga tebakirabangako kasookedde babeera mu nsi eno n’okutuusa leero.’ ” Musa n’akyuka n’aviira Falaawo.

(AB)Abakungu ba Falaawo ne bamugamba nti, “Omusajja ono alituusa ddi ng’atufuukidde omutego? Leka abantu bagende basinze Mukama Katonda waabwe. Ggwe tolaba Misiri nga bw’eweddewo?” (AC)Musa ne Alooni ne bazzibwa awali Falaawo. N’abagamba nti, “Kale, mugende musinze Mukama Katonda wammwe. Naye abagenda be baani?” Musa n’addamu nti, “Abakulu n’abato, batabani baffe ne bawala baffe bonna tujja kugenda nabo; era tugenda n’amagana gaffe n’ebisibo byaffe, kubanga waliwo embaga gye tujja okukolera Mukama.”

10 Falaawo n’abagamba nti, “Mukama abeere nammwe, obanga mulowooza nga nzija kubaleka mugende, mmwe n’abaana bammwe! Nze ndaba nga mulina olukwe lwe muteekateeka. 11 Nedda! Abasajja bokka ka bagende basinze[b] Mukama; kubanga ekyo kye mwagala.” Ne bagobebwa awali Falaawo.

12 (AD)Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nsi ya Misiri oyite enzige, zijje ku nsi ya Misiri, zirye buli kantu konna akamera mu nnimiro, n’ebyo byonna omuzira bye gwataliza.”

13 (AE)Musa n’agolola omuggo gwe ku nsi ya Misiri; Mukama Katonda n’aleeta embuyaga ezaava ebuvanjuba, ne zikunta olunaku olwo lwonna n’ekiro kyonna. Obudde bwe bwakya embuyaga ne zireeta enzige. 14 (AF)Enzige nnyingi nnyo ne zigwa ku nsi yonna ey’e Misiri, ne zigisaanikira, okuva ku nsalo yaayo ey’oluuyi olumu okutuuka ku y’oluuyi olulala. Zaali nzige za kabi kanene, nga tewalabikanga ziri ng’ezo, era tezigenda kulabika. 15 (AG)Zaabuutikira ensi yonna, ne wabaawo ekizikiza ku nsi; ne zirya buli kimera kyonna mu nsi, n’ebibala byonna eby’emiti omuzira bye gwali gutalizza; era tewaasigalawo kintu kyonna kya kiragala ku miti n’ebimera mu nnimiro, mu nsi yonna ey’e Misiri.

16 (AH)Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni bunnambiro, n’abagamba nti, “Nnyonoonye eri Mukama Katonda wammwe ne gye muli. 17 (AI)Mbeegayiridde munsonyiwe olw’okwonoona kwange, omulundi guno gwokka; era musabe Mukama Katonda wammwe anziggyeeko olumbe luno lwokka olututta.” 18 (AJ)Musa n’ava ewa Falaawo ne yeegayirira Mukama. 19 Awo Mukama n’aleeta embuyaga ez’amaanyi ennyo nga ziva ebuvanjuba, ne zisitula enzige ne zizisuula mu Nnyanja Emyufu. Tewaasigala nzige n’emu wonna wonna mu nsi y’e Misiri. 20 (AK)Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, abaana ba Isirayiri n’atabakkiriza kugenda.

Ekizikiza Kikwata mu Bamisiri

21 (AL)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo waggulu eri eggulu, wabeewo ekizikiza ku nsi ey’e Misiri; ekizikiza ekiyinza n’okuwulikika.” 22 (AM)Musa n’agolola omukono gwe eri eggulu; ne wabaawo ekizikiza ekikwafu mu nsi yonna ey’e Misiri okumala ennaku ssatu. 23 (AN)Abantu bonna nga tewali asobola kulaba munne; era tewaali yaseguka kuva mu kifo kye w’abeera okumala ennaku ssatu. Naye bo abaana ba Isirayiri ewaabwe ng’obudde bulaba.

24 (AO)Awo Falaawo n’atumya Musa, n’amugamba nti, “Mugende musinze Mukama. Abaana bammwe nabo mugende nabo, wabula ente zammwe, n’embuzi n’endiga ze ziba zisigala.”

25 Naye Musa n’addamu nti, “Osaana otuleke tutwale ebisolo eby’okuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda waffe. 26 Ente zaffe tusaana okugenda nazo; tewali nsolo n’emu eneesigala. Kubanga kitusaanira okuzitwala nga tugenda okusinza Mukama Katonda waffe; kubanga tujja kumala kutuuka eri, ne tulyoka tumanya kye tunaakozesa mu kusinza Mukama.”

27 (AP)Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atabaleka kugenda. 28 Falaawo n’agamba Musa nti, “Nva mu maaso! Era weekuume, sikulabanga ng’okomyewo w’endi; bwe ndiddayo okukulaba tolirema kufa.”

29 (AQ)Musa n’addamu nti, “Nga bw’ogambye, nange siriddayo kukulaba.”

Okuttibwa kw’Abaana Abamisiri Ababereberye

11 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ekyaliyo ekibonoobono kimu kye nzija okuleetera Falaawo n’ensi y’e Misiri. Oluvannyuma lwakyo ajja kubaleka mugende; ate bw’anaabakkiriza okugenda, ajja kubeegoberako ddala bwegobi abasindiikirize. (AR)Kale, tegeeza abantu, buli musajja asabanga muliraanwa we, ne buli mukazi asabanga muliraanwa we, ebintu eby’omuwendo ebya ffeeza n’ebya zaabu.” (AS)Mukama n’aleetera Abamisiri okukwanagana n’abaana ba Isirayiri; ne Musa n’aweebwa nnyo ekitiibwa mu nsi y’e Misiri. Abakungu ba Falaawo n’abantu bonna ne bamugulumiza nnyo.

(AT)Awo Musa n’agamba Falaawo nti, “Mukama agambye bw’ati nti, ‘Nga wakati mu ttumbi, nzija kuyita mu Misiri yonna. (AU)Ebibereberye mu nsi y’e Misiri bijja kufa, okutandikira ku mubereberye wa Falaawo agenda okumusikira, okutuukira ddala ku mubereberye[c] w’omuwala omuzaana asa ku lubengo; era n’ebibereberye byonna eby’ebisolo. (AV)Wajja kubaawo okukungubaga okunene mu nsi yonna eya Misiri, okutabangawo era nga tewagenda kubaawo kukwenkana. (AW)Naye mu baana ba Isirayiri n’embwa teribaayo gw’eboggolera wadde ebisolo byabwe; mulyoke mutegeere nga Mukama Abamisiri n’Abayisirayiri tabayisa bumu.’ (AX)Era bano abakungu bo bonna balijja gye ndi nga babundabunda, ne banvuunamira nga banneegayirira nti, ‘Genda, ggwe n’abantu bo bonna abakugoberera.’ Oluvannyuma lw’ebyo nange ndigenda.” N’ava awali Falaawo n’obusungu bungi nnyo.

(AY)Mukama yali agambye Musa nti, “Falaawo tagenda kuwuliriza by’omugamba, bwe ntyo ndyoke nkolere ebyamagero byange bingi mu Misiri.” 10 (AZ)Musa ne Alooni baakolera ebyamagero ebyo byonna awali Falaawo; naye Mukama yakakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atakkiriza baana ba Isirayiri kuva mu nsi ye.

Matayo 15:21-39

Okukkiriza kw’Omukanani

21 (A)Yesu n’ava mu kifo ekyo, n’agenda mu kitundu omuli ebibuga Ttuulo ne Sidoni. 22 (B)Awo omukazi Omukanani eyali abeera mu bitundu ebyo, n’ajja eri Yesu n’amwegayirira nti, “Onsaasire Mukama wange, Omwana wa Dawudi! Muwala wange aliko dayimooni amubonyaabonya nnyo.”

23 Naye Yesu n’asirika n’atamuddamu kigambo na kimu. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti, “Bw’omugoba n’agenda. Ng’ayitirizza okutukaabirira.”

24 (C)Naye Yesu n’addamu omukazi nti, “Nze saatumibwa walala wonna, wabula eri endiga za Isirayiri ezaabula.”

25 (D)Naye omukazi n’asembera awali Yesu n’amusinza, n’amwegayirira ng’agamba nti, “Mukama wange, nnyamba.”

26 Yesu n’amuddamu nti, “Si kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”

27 Omukazi n’addamu nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye n’embwa nazo zirya ku bukunkumuka obugwa wansi okuva ku mmeeza ya mukama waazo.”

28 (E)Awo Yesu n’amugamba nti, “Mukazi watu, ng’okukkiriza kwo kunene! Kale kikukolerwe nga bw’oyagala.” Amangwago muwala we n’awonera mu kiseera ekyo.

Yesu Aliisa Enkumi Ennya

29 Yesu n’avaayo n’ajja emitala okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alinnya ku lusozi n’atuula eyo. 30 (F)Abantu bangi ne bajja gy’ali, ne bamuleetera, abakoozimbye, n’abatayogera n’abalala bangi ne babassa we yali n’abawonya. 31 (G)Abantu bangi ne beewuunya, nga balaba ababadde batayogera nga boogera, n’ababadde bakoozimbye nga bawonye, n’ababadde abalema nga batambula, n’ababadde abazibe b’amaaso nga balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Isirayiri.

32 (H)Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti, “Abantu bano mbasaasira, kubanga baakamala nange ennaku ssatu ate tebalina kyakulya. Ssaagala kubasiibula ne bagenda enjala, si kulwa nga bagwa ku kkubo.”

33 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Wano mu ddungu tunaggya wa emigaati emingi gye tunaaliisa abantu abangi bwe bati?”

34 Yesu n’ababuuza nti, “Mulinawo emigaati emeka?” Ne bamuddamu nti, “Tulinawo emigaati musanvu n’ebyennyanja bitono.”

35 Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi, 36 (I)n’addira emigaati omusanvu n’ebyennyanja, bwe yamala okwebaza, n’abimenyaamenyamu, n’awa abayigirizwa be ne batandika okugabula ekibiina. 37 (J)Buli muntu n’alya n’akkuta. Ne babukuŋŋaanya obutundutundu obwasigalawo ne bujjuza ebisero musanvu. 38 Abaalya baawera abasajja enkumi nnya nga totaddeeko bakazi na baana. 39 Awo Yesu n’asiibula ekibiina, n’asaabala mu lyato n’agenda mu nsalo y’e Magadani.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.