Add parallel Print Page Options

13 (A)Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera;
    mu kamwa ke ne muvaamu omuzira n’okumyansa kw’eggulu.

Read full chapter

11 (A)Bwe baali badduka Abayisirayiri nga bavuunuka Besukolooni, Mukama n’abasuulako amayinja amanene ag’omuzira okutuukira ddala mu Azeka; abaafa omuzira ne baba bangi okusinga n’abattibwa Abayisirayiri.

Read full chapter

47 (A)Yazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira,
    era ne gukuba n’emisukomooli gyabwe.

Read full chapter

32 (A)Yafuula enkuba okuba amayinja g’omuzira;
    eggulu ne libwatuka mu nsi yaabwe yonna.

Read full chapter

30 Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa,
    alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira.

Read full chapter

22 (A)Ndibabonereza ne kawumpuli n’okuyiwa omusaayi, era nditonnyesa amatondo ag’enkuba amanene nga mulimu omuzira n’omuliro ku ye, n’eggye lye ne ku mawanga amangi agaamwegattako.

Read full chapter

(A)Malayika ow’olubereberye n’afuuwa ekkondeere lye, omuzira n’omuliro nga byetabudde n’omusaayi ne bisuulibwa wansi ku nsi. Ekitundu ekyokusatu eky’ensi ne kiggya omuliro, bwe kityo n’ekitundu kimu kya kusatu eky’emiti ne kiggya omuliro, n’omuddo gwonna ne guggya.

Read full chapter

21 (A)N’omuzira ogw’amaanyi ne gugwa okuva mu ggulu, buli mpeke ng’obuzito bwayo buwera nga kilo amakumi ataano malamba ne gukuba abantu. Abantu ne bakolimira Katonda olw’ekibonyoobonyo ekyo eky’okukubibwa omuzira ogw’amaanyi era omuzito bwe gutyo.

Read full chapter