Old/New Testament
Katonda yeerayirira okuzikiriza Abantu
4 (A)Muwulire kino mmwe ente ez’omu Basani ezibeera ku Lusozi Samaliya,
mmwe abakazi abajooga abaavu ne munyigiriza abanaku,
era abagamba ba bbaabwe nti, “Mutuletereyo ekyokunywa.”
2 (B)Mu butukuvu bwe Mukama Katonda alayidde nti,
“Ekiseera kijja
lwe balibasika n’amalobo,
era abalisembayo ku mmwe ne basikibwa n’amalobo agavuba.
3 (C)Mulisikibwa okuva mu mayumba gammwe
ne musuulibwa ebweru nga muyisibwa mu bituli ebibotoddwa mu bbugwe,
musuulibwe ku Kalumooni,
bw’ayogera Mukama.
4 (D)Kale mmwe mugende e Beseri mukoleyo ebitasaana;
era mugende ne Girugaali mwongere okukola ebibi.
Mutwalengayo ssaddaaka zammwe buli nkya,
n’ekimu eky’ekkumi buli myaka esatu.
5 (E)Muweeyo ekiweebwayo eky’okwebaza eky’emigaati egizimbulukusibbwa,
mulangirire n’ebiweebwayo eby’ekyeyagalire;
mwe mwenyumiririza, mmwe Abayisirayiri
kubanga ekyo kye mwagala,”
bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
6 (F)“Nabaleetera enjala embuto zammwe ne ziba njereere mu buli kibuga,
ne ssibawa kyakulya mu buli kabuga,
naye era ne mugaana okudda gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
7 (G)“Ne mbamma enkuba
ng’ekyabulayo emyezi esatu amakungula gatuuke.
Ne ntonnyesa enkuba mu kibuga ekimu
ne ngiziyiza mu kirala.
Yatonnyanga mu nnimiro emu,
mu ndala n’etatonnya, ebirime ne biwotoka.
8 (H)Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne balaga mu kirala nga banoonya amazzi banyweko,
naye ne gababula;
naye era ne mutakyuka kudda gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
9 (I)“Emirundi mingi ebirime byammwe n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu na bigengewaza.
Nabileetako obulwadde.
Enzige nazo ne zirya emitiini gyammwe n’emizeeyituuni gyammwe,
naye era temwadda gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
10 (J)“Nabasindikira kawumpuli
nga gwe nasindika mu Misiri.
Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n’ekitala
awamu n’embalaasi zammwe ze mwawamba.
Okuwunya kw’olusisira lwammwe ne kuyitirira nnyo
naye era ne mugaana okudda gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
11 (K)“Nazikiriza abamu ku mmwe
nga bwe nakola Sodomu ne Ggomola,
ne muba ng’olumuli olusikiddwa mu muliro ogwaka
naye era ne mulema okudda gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
12 “Kyendiva nkukola bwe ntyo, ggwe Isirayiri,
era ndikwongerako ebibonoobono.
Noolwekyo weetegeke okusisinkana Katonda wo, ggwe Isirayiri.”
13 (L)Kubanga laba, oyo eyatonda ensozi
era ye yatonda n’embuyaga
era abikkulira omuntu ebirowoozo bye.
Yafuula enkya okubeera ekiro,
era alinnya mu bifo ebigulumivu eby’ensi.
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Okukuba Omulanga ogw’Okukungubaga n’Okwenenya mu Isirayiri
5 (M)Muwulirize mmwe abantu ba Isirayiri ekigambo kino eky’ennaku ekibakwatako.
2 (N)“Isirayiri embeerera agudde
obutayimuka nate.
Bamwabulidde
era tewali amuyimusa.”
3 (O)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Ekibuga ekiyungula abalwanyi olukumi okugenda mu lutalo
kirisigazaawo kikumi bokka,
n’ekyo ekiweereza ekikumi,
kirizza kkumi bokka!”
4 (P)Bw’ati bw’ayogera Mukama eri ennyumba ya Isirayiri nti,
“Munnoonye kale munaabanga balamu.
5 (Q)Temunnoonyeza Beseri
so temulaga Girugaali
wadde okulaga e Beeruseba.
Kubanga abantu b’e Girugaali balitwalibwa mu buwaŋŋanguse
era ne Beseri kiriggwaawo.”
6 (R)Munoonye Mukama munaabanga balamu
aleme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu;
guligyokya
nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.
7 (S)Mmwe abantu ba Isirayiri abafuula obwenkanya okuba eky’okufumwa obufumwa
mutulugunya obutuukirivu.
8 (T)Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ng’ebizungirizi
era afuula ekisiikirize okubeera enkya
era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro,
ayita amazzi g’omu nnyanja
ne gafukirira ensi ng’enkuba,
Mukama lye linnya lye.
9 (U)Okutemya n’okuzibula aleeta okuzikirira ku b’amaanyi
era n’asaanyaawo ebibuga ebiriko ebigo.
10 (V)Mukyawa abalamuzi abasalawo mu bwenkanya
era munyooma n’abo aboogera amazima.
11 (W)Olinnyirira omwavu,
n’omuwaliriza okukuwa emmere ey’empeke.
Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja,
temuligabeeramu;
era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro z’emizabbibu ennungi,
temulinywa ku wayini waamu.
12 (X)Ebibi byammwe mbimanyi,
nga bingi ate nga bisasamaza.
Munyigiriza omutuukirivu ne mulya n’enguzi,
abaavu temubasalira musango mu bwenkanya.
13 Noolwekyo oyo alina amagezi kyaliva asirika obusirisi mu biseera ng’ebyo
kubanga ennaku mbi.
14 Munoonyenga okukola obulungi, so si obubi
munaabeeranga balamu!
Bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye anaabeeranga mubeezi wammwe
nga bulijjo bwe mumuyita.
15 (Y)Mukyawe ekibi, mwagalenga ekirungi
era embuga z’amateeka zibeerengamu obwenkanya.
Oboolyawo Mukama Katonda ow’Eggye anaabakwatirwa ekisa
abantu abo abaasigalawo ku Yusufu.
16 (Z)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Walibeerawo okwaziirana mu nguudo
n’okukaaba mu buli kibangirizi eky’omu kibuga.
N’abalimi baliyitibwa, bakaabe,
n’abakungubazi bakube ebiwoobe.
17 (AA)Walibaawo okukaaba mu buli nnimiro ya mizabbibu
kubanga nzija okuyita wakati mu mmwe.”
18 (AB)Zibasanze mmwe abasuubira
olunaku lwa Mukama.
Lwaki mwesunga olunaku lwa Mukama?
Olunaku olwo luliba kizikiza so si kitangaala.
19 (AC)Olunaku olwo lulibeera ng’omusajja adduka empologoma
n’asisinkana eddubu,
bw’aba ng’ayingira mu nnyumba
ne yeekwata ku kisenge,
ate n’abojjebwa omusota.
20 (AD)Olunaku lwa Mukama, teruliba kizikiza awatali kitangaala n’akatono,
ng’ekizikiza ekikutte ennyo?
21 (AE)Nkyawa, era nnyooma embaga zammwe n’emikolo gyammwe egy’eddiini
so sisanyukira kukuŋŋaana kwammwe.
22 (AF)Weewaawo, ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke,
sijja kubikkiriza.
Ne bwe mulireeta ebiweebwayo olw’emirembe ebisinga obulungi,
siribikkiriza.
23 (AG)Muggyeewo ennyimba zammwe ez’okutendereza.
Siriwuliriza na bivuga ng’entongooli zammwe.
24 (AH)Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi,
n’obutuukirivu nga bukulukuta ng’omugga ogw’amaanyi.
25 (AI)“Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu
emyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri?
26 Muyimusizza essabo lya kabaka wammwe,
amaanyi ga bakatonda bammwe,
n’emmunyeenye ya katonda wammwe,
bye mwekolera mmwe.
27 (AJ)Kyendiva mbawaŋŋangusa okusukka Ddamasiko,”
bw’ayogera Mukama, ayitibwa Katonda Ayinzabyonna.
Mukama anenya abali mu Mirembe
6 (AK)Zibasanze abo abateefiirayo mu Sayuuni,
n’abo abawulira emirembe ku lusozi lw’e Samaliya.
Mmwe abasajja abeekitiibwa ab’ensi enkulembeze,
abantu ba Isirayiri gye beeyuna.
2 (AL)Mugende mulabe e Kalune;
muveeyo mulage mu Kamasi ekikulu,
ate era muserengete mu kibuga ky’Abafirisuuti eky’e Gaasi.
Basinga obwakabaka bwammwe obubiri?
Ensi yaabwe esinga eyammwe obunene?
3 (AM)Mulindiriza olunaku olw’ekibi,
ate ne musembeza effugabbi.
4 (AN)Mugalamira ku bitanda ebyakolebwa mu masanga
ne muwummulira mu ntebe ennyonvu
nga muvaabira ennyama y’endiga
n’ey’ennyana ensava.
5 (AO)Mwekubira ennanga nga Dawudi bwe yakolanga,
ne muyiiya n’ennyimba ku bivuga.
6 (AP)Mwekatankira wayini,
ne mwesiiga n’ebizigo ebirungi,
naye temukaabira kubonaabona kwa Yusufu.
7 Noolwekyo mmwe mulisooka okugenda mu buwaŋŋanguse.
Era embaga zammwe n’okwewummuza birikoma.
8 (AQ)Mukama Katonda ow’Eggye alayidde, Mukama Katonda Ayinzabyonna agamba nti,
“Neetamiddwa amalala ga Yakobo,
nkyawa ebigo bye,
era nzija kuwaayo ekibuga
ne byonna ebikirimu eri abalabe baakyo.”
9 (AR)Era singa ennyumba eneeba ekyalinawo abasajja ekkumi abasigaddewo, nabo balifa. 10 (AS)Era singa ow’ekika akola ku by’okuziika, anaaba afulumya amagumba n’abuuza oba waliwo omuntu yenna eyeekwese munda mu nnyumba, oba alina gwe yeekwese naye, n’addamu nti, “Nedda,” olwo omuziisi anaamusirisa ng’agamba nti, “Sirika; tetwogera ku linnya lya Mukama.”
11 (AT)Laba Mukama alagidde,
ennyumba ennene erimenyebwamenyebwa,
n’ennyumba entono erimenyebwamenyebwa.
12 (AU)Kisoboka embalaasi okuddukira ku mayinja?
Waali wabaddewo abalima ku mayinja n’enkumbi ezisikibwa ente?
Naye obwenkanya mubufudde obutwa
n’ekibala eky’obutuukirivu ne mukifuula ekikaawa.
13 (AV)Mwenyumiririza bwereere nti muli b’amaanyi olw’okuba nga mwawamba ekibuga Lodeba.
Mwogera nti, “Tetwawamba Kanayimu n’amaanyi gaffe?”
14 (AW)Mukama Katonda ow’Eggye agamba nti,
“Ndibasindikira eggwanga libalumbe, mmwe ennyumba ya Isirayiri;
liribajooga ebbanga lyonna
okuva e Lebo Kamasi okutuuka mu kiwonvu kye Alaba.”
144,000 bateekebwako Obubonero obw’Envumbo
7 (A)Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku njuyi ennya ez’ensi, nga bakutte empewo ennya ez’ensi zireme okukunta, waleme kubaawo mpewo ekunta ku nsi, wadde ku nnyanja wadde ku muti gwonna. 2 Ne ndaba malayika omulala ng’ava ebuvanjuba ng’akutte akabonero k’envumbo aka Katonda omulamu, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba bamalayika abana abaali baweereddwa obuyinza okwonoona ensi n’ennyanja nti, 3 (B)“Temukola kintu kyonna, ekinaayonoona ensi, n’ennyanja oba emiti, okutuusa nga tumaze okuteeka akabonero k’envumbo ka Katonda akakulu ku byenyi by’abaweereza ba Katonda waffe.” 4 (C)Awo ne mpulira omuwendo gw’abo abaateekebwako akabonero k’envumbo nga baali emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000) okuva mu bika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri.
5 Ab’omu kika kya Yuda omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Lewubeeni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Gaadi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
6 ab’omu kika kya Aseri omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Nafutaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Manaase omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
7 ab’omu kika kya Simyoni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Leevi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Isakaali omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
8 ab’omu kika kya Zebbulooni omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Yusufu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000),
ab’omu kika kya Benyamini omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000). Abo be baateekebwako akabonero k’envumbo.
Ekibiina ky’Abantu Obutabalika nga bambadde Ebyambalo Ebyeru
9 (D)Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina ky’abantu ekinene ennyo nga tebasoboka na kubalika, nga bava mu buli nsi na buli kika, na buli ggwanga na buli lulimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga nga bambadde ebyambalo ebyeru nga balina n’enkindu mu ngalo zaabwe. 10 (E)Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nga bagamba nti,
“Obulokozi bwa Katonda waffe
atudde ku ntebe ey’obwakabaka
era bwa Mwana gw’Endiga.”
11 (F)Awo bamalayika bonna ne bayimirira nga beetoolodde entebe ey’obwakabaka n’abakadde era n’ebiramu ebina, ne bavuunama mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ng’ebyenyi byabwe biri wansi ne basinza Katonda. 12 (G)Ne bayimba nti,
“Amiina!
Okutenderezebwa, n’ekitiibwa, n’amagezi,
n’okwebazibwa, n’ettendo,
n’obuyinza, n’amaanyi,
bibe eri Katonda waffe emirembe n’emirembe.
Amiina!”
13 Awo omu ku bakadde n’ambuuza nti, “Bano abambadde ebyambalo ebyeru obamanyi, era omanyi gye bava?”
14 (H)Ne nziramu nti. “Mukama wange, gw’omanyi.”
N’aŋŋamba nti, “Bano be baayita mu kubonaabona okunene, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga. 15 (I)Kyebavudde
“babeera wano mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda
nga bamusinza emisana n’ekiro mu Yeekaalu ye.
Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka,
anaaberanga nabo ng’abalabirira.
16 (J)Tebaliddayo kulumwa njala
wadde ennyonta,
newaakubadde omusana okubookya
wadde ekyokya ekirala kyonna;
17 (K)kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka,
y’anaabeeranga omusumba waabwe
era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu.
Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.