Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 51-52

Ekibonerezo kya Babulooni

51 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Laba, ndiyimusa omwoyo gw’omuzikiriza
    alumbe Babulooni n’abantu ba Lebukamaayi.
(A)Ndituma abagwira e Babulooni
    bamuwewe era bazikirize ensi ye;
balimulumba ku buli luuyi
    ku lunaku olw’okuzikirira kwe.
(B)Omulasi talikuba busaale bwe,
    taliyambala wadde ebyambalo bye ebyokulwanyisa.
Temusonyiwa batabani be;
    muzikiririze ddala amaggye ge.
(C)Baligwa nga battiddwa e Babulooni,
    nga batuusiddwako ebiwundu eby’amaanyi mu nguudo ze.
(D)Kubanga Yuda ne Isirayiri tebinnalekebwa
    Katonda waabwe, oyo Mukama Katonda ow’Eggye,
wadde ng’ensi yaabwe esingiddwa omusango
    mu maaso g’Omutukuvu wa Isirayiri.

(E)“Mudduke Babulooni.
    Mudduke okuwonya obulamu bwammwe.
    Temusaanawo olw’ebibi bye.
Kiseera kya Mukama okwesasuza;
    alimusasula ekyo ekimusaanira.
(F)Babulooni yali kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama;
    yatamiiza ensi yonna.
Amawanga gaanywa wayini we,
    kyegavudde galaluka.
(G)Babulooni kirigwa mangu ago ne kimenyekamenyeka.
    Mukikungubagire.
Munoonye eddagala olw’obulumi bw’akyo
    oboolyawo anaawonyezebwa.

(H)“ ‘Twandiwonyezza Babulooni,
    naye tayinza kuwonyezeka.
Leka tumuleke buli muntu adde mu nsi ye,
    kubanga omusango gwe gutuuse mu bwengula,
    gusituse gulinnye okutuuka ku bire.’

10 (I)“ ‘Mukama atulwaniridde,
    mujje tukitegeeze mu Sayuuni
    ekyo Mukama Katonda waffe ky’akoze.’ 

11 (J)“Muwagale obusaale,
    mukwate engabo!
Mukama ayungudde bakabaka ab’e Bumeedi,
    kubanga ekigendererwa kye kuzikiriza Babulooni.
Mukama aliwalana eggwanga,
    aliwalana eggwanga olwa yeekaalu ye.
12 Muyimuse bendera mwolekere bbugwe wa Babulooni!
    Mwongereko abakuumi,
muteekeko abaserikale,
    mutegeke okulumba mbagirawo!
Mukama alituukiriza ekigendererwa bye,
    ensala ye okwolekera abantu ba Babulooni.
13 (K)Gwe abeera okumpi n’amazzi amangi,
    omugagga mu bintu eby’omuwendo,
enkomerero yo etuuse,
    ekiseera kyo eky’okuzikirizibwa kituuse.
14 (L)Mukama Katonda ow’Eggye yeerayiridde ku lulwe;
    ddala ndikujjuza abasajja, ng’ebibinja by’enzige,
    era balireekaana nga bakuwangudde.

15 (M)“Ensi yagikola n’amaanyi ge;
    yagiteekawo n’amagezi ge,
    n’ayanjuluza eggulu n’okutegeera kwe.
16 (N)Bw’abwatuka, amazzi ag’omu ggulu gawuluguma;
    ayimusa ebire okuva ku nkomerero y’ensi.
Amyansisa eggulu mu nkuba
    era n’aggya empewo mu mawanika ge.

17 (O)“Buli muntu talina magezi wadde okutegeera;
    Buli muweesi aswadde olw’ebifaananyi bya bakatonda by’akoze n’emikono gye.
Ebifaananyi bye bya bulimba;
    tebirina mukka.
18 (P)Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa
    ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.
19 Oyo omugabo gwa Yakobo tali nga bano,
    kubanga yakola ebintu byonna,
nga mwotwalidde n’eggwanga ly’omugabo gwe,
    n’erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.

20 (Q)“Muli mbazzi yange,
    ekyokulwanyisa kyange eky’olutalo,
mmwe be nkozesa okubetenta amawanga,
    mmwe be nkozesa okuzikiriza obwakabaka,
21 (R)era ggwe gwe ndikozesa okubetenta embalaasi n’omwebagazi,
    ggwe gwe ndikozesa okubetenta ekigaali n’omuvuzi waakyo,
22 (S)era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusajja n’omukazi,
    era ggwe ndikozesa okubetenta omukadde n’omuvubuka,
    era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omuvubuka n’omuwala omuto.
23 (T)Ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusumba n’ekisibo kye,
    ggwe gwe ndikozesa okubetenta omulimi n’ente ennume,
    ggwe gwe ndikozesa okubetenta bagavana n’abakungu.

24 (U)“Ndisasula Babulooni ne bonna ababeeramu nga mulaba olw’ebibi byonna bye baakola mu Sayuuni,” bw’ayogera Mukama.

25 (V)“Mbalinako ensonga, ggwe olusozi oluzikiriza,
    mmwe abazikiriza ensi yonna,”
    bw’ayogera Mukama.
“Ndikugolererako omukono gwange,
    nkusuule ku mayinja g’ensozi,
    nkufuule olusozi olutakyayaka.
26 (W)Tewali jjinja lirikuggibwako kukola jjinja lya ku nsonda,
    wadde ejjinja lyonna okukola omusingi,
    kubanga olibeera matongo emirembe gyonna,”
    bw’ayogera Mukama.

27 (X)“Yimusa bendera mu ggwanga!
    Fuuwa omulere mu mawanga!
Tegeka amawanga okumulwanyisa;
    koowoola obwakabaka buno bumulumbe:
    obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi.
Londa omuduumizi amulumba,
    weereza embalaasi eziri ng’ekibinja ky’enzige.
28 (Y)Teekateeka amawanga okumulwanyisa;
    bakabaka Abameedi,
bagavana baabwe era n’abakungu baabwe bonna,
    n’amawanga ge bafuga.
29 (Z)Ensi ekankana ne yeenyola olw’obulumi,
    kubanga ebigendererwa bya Mukama eri Babulooni tebikyuka,
okuzikiriza ensi ya Babulooni
    waleme kubaawo agibeeramu.
30 (AA)Abalwanyi ba Babulooni balekedde awo okulwana;
    basigadde mu bigo byabwe.
Baweddemu amaanyi;
    bafuuse nga bakazi.
Ebifo bye mw’abeera byokeddwa omuliro;
    emitayimbwa gy’oku nzigi ze gimenyeddwa.
31 (AB)Matalisi omu agoberera omulala,
    omubaka omu n’agoberera munne,
okulangirira eri kabaka w’e Babulooni nti
    ekibuga kye kyonna kiwambiddwa,
32 (AC)entindo z’emigga baziwambye,
    ensenyi ziyidde omuliro,
    n’abaserikale batidde.”

33 (AD)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,

“Muwala wa Babulooni ali ng’egguuliro,
    mu kiseera w’analinnyiririrwa;
    ebiseera eby’okumukungula binaatera okutuuka.”
34 (AE)“Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atukubyekubye,
    atutabudde,
    tufuuse ekikompe ekyereere.
Atumize ng’omusota
    n’olubuto lwe n’alujjuza ebyassava byaffe ebiwooma,
    ffe n’atusesema.
35 (AF)Leka okubonaabona okututuuseeko kubeere ku Babulooni,”
    bwe boogera abatuula mu Sayuuni.
“Leka omusaayi gubeere ku abo ababeera mu Babulooni,”
    bwayogera Yerusaalemi.

36 (AG)Mukama kyava ayogera nti,

“Laba ndikulwanirira era ndikuwolerera eggwanga;
Ndikaliza ennyanja ye
    n’ensulo ze.
37 (AH)Babulooni kirifuuka bifunvu,
    mpuku ya bibe,
ekintu ekyenyinyalwa n’okusekererwa,
    ekifo omutali abeeramu.
38 Abantu baakyo bonna bawuluguma ng’empologoma ento,
    bavuumira wamu ng’abaana b’empologoma.
39 (AI)Naye nga bakyabuguumirira,
    ndibategekera ekijjulo,
    mbatamiize
balyoke balekaane nga baseka,
    olwo beebake emirembe gyonna nga tebazuukuse,”
    bw’ayogera Mukama.
40 “Ndibaserengesa
    ng’abaana b’endiga, battibwe,
    ng’endiga n’embuzi.

41 (AJ)“Sesaki nga kiriwambibwa,
    okujaguza kw’ensi yonna kugwewo.
Babulooni kifuuse matongo eri amawanga!
42 (AK)Ennyanja eribuutikira Babulooni;
    amayengo gaayo agawuluguma galigisaanikira.
43 (AL)Ebibuga bye birisigala matongo,
    ensi enkalu ey’eddungu,
ensi eteriimu muntu,
    eteyitamu muntu yenna.
44 (AM)Ndibonereza Beri mu Babulooni,
    mmusesemye bye yali amize.
Amawanga nga tegakyesomba kugenda gyali.
    Ne bbugwe wa Babulooni aligwa.

45 (AN)“Mukiveemu, abantu bange!
    Mudduke muwonye obulamu bwammwe!
    Mudduke muwone obusungu bwa Mukama obubuubuuka.
46 (AO)Temutya wadde okuggwaamu amaanyi
    ng’eŋŋambo ziyitiŋŋana mu nsi;
olugambo olumu lujja omwaka guno, olulala omwaka ogujja,
    eŋŋambo z’entalo mu ggwanga,
    era ez’omufuzi ng’alwana ne mufuzi munne.
47 (AP)Kubanga ekiseera kijja
    lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda ba Babulooni abaakolebwa n’emikono;
ensi eyo yonna eritabanguka,
    n’emirambo gy’abantu baayo abattiddwa gyonna gibeere omwo.
48 (AQ)Eggulu n’ensi ne byonna ebibirimu
    birireekana olw’essanyu olwa Babulooni,
abalimuzikiriza balimulumba
    okuva mu bukiikakkono,”
    bw’ayogera Mukama.

49 (AR)“Babulooni kirigwa olw’Abayisirayiri abaafa,
    nga bonna abaafa mu nsi yonna
    bwe baweddewo olwa Babulooni.
50 (AS)Mmwe abawonye ekitala,
    mwanguwe okugenda!
Mujjukire Mukama nga muli mu nsi ey’ewala,
    mulowooze ku Yerusaalemi.”
51 (AT)“Tuweddemu amaanyi
    kubanga tuvumiddwa
    era tukwatiddwa ensonyi,
kubanga abagwira bayingidde
    mu bifo ebitukuvu eby’ennyumba ya Mukama.”

52 (AU)“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
    “lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda be, be yakola n’emikono,
era mu nsi ye yonna,
    abaliko ebisago balisinda.
53 (AV)Newaakubadde nga Babulooni atuuka ku bire
    era ne yeenyweza n’ebigo bye eby’amaanyi,
    ndimusindikira abazikiriza,”
    bw’ayogera Mukama.

54 (AW)“Eddoboozi ly’okukaaba liva mu Babulooni,
    eddoboozi ery’okuzikirira okunene
    okuva mu nsi y’Abakaludaaya.
55 (AX)Mukama alizikiriza Babulooni,
    alizikiza oluyoogaano lwakyo olunene.
Amayengo g’abalabe galijja ng’amazzi amangi;
    okuwuluguma kw’amaloboozi kuliwulirwa.
56 (AY)Omuzikiriza alirumba Babulooni;
    abalwanyi be baliwambibwa,
    n’emitego gyabwe girimenyebwa.
Kubanga Mukama Katonda asasula,
    alisasula mu bujjuvu.
57 (AZ)Nditamiiza abakungu be n’abasajja be abajjudde amagezi,
    ne bagavana, ab’ebitongole awamu n’abalwanyi;
balyebaka emirembe gyonna era tebalizuukuka,”
    bw’ayogera Kabaka ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye.

58 (BA)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Bbugwe wa Babulooni omunene alisendebwa
    era n’emiryango gye emiwanvu gyokebwe;
abantu beetawanyiza bwerere nga bafuba,
    okutawaana kw’eggwanga kuliba nku za muliro.”

59 (BB)Buno bwe bubaka Yeremiya bwe yawa omukungu Seraya mutabani wa Neriya, mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni ne Zeddekiya kabaka wa Yuda, nga Zeddekiya afuga mu mwaka gwe ogwokuna. Seraya ye yali omu ku bakungu abakulu. 60 (BC)Yeremiya yali awandiise mu muzingo ebikangabwa byonna ebyali bigenda okutuuka ku Babulooni, byonna ebyali biwandiikiddwa ebyali bikwata ku Babulooni. 61 Yagamba Seraya nti, “Bw’otuuka mu Babulooni, laba ng’osoma mu ddoboozi ery’omwanguka ebigambo bino byonna. 62 (BD)Olwo ogambe nti, ‘Ayi Mukama, ogambye nti olizikiriza ekifo kino, nti tewali nsolo oba muntu alikibeeramu; kibeere matongo emirembe gyonna.’ 63 Bw’omalanga okusoma omuzingo guno gusibeeko ejjinja ogukanyuge mu mugga Fulaati. 64 (BE)Olyoke ogambe nti, ‘Bw’ati Babulooni bwalisaanawo aleme kubbulukuka olw’akabi ke ndimuleetako. N’abantu be balizikirira.’ ”

Ebigambo bya Yeremiya bikoma awo.

Okugwa kwa Yerusaalemi

52 (BF)Zeddekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu egy’obukulu we yafuukira kabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. Nnyina yayitibwanga Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. (BG)Zeddekiya n’akola eby’omuzizo mu maaso ga Mukama, nga Yekoyakimu bwe yali akoze. (BH)Abalabe ba Yerusaalemi ne Yuda ne babalumba kubanga Mukama yali abanyiigidde. Ku nkomerero n’abagobamu mu nsi. Ebyo byonna ne bituuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, Mukama n’okubagoba n’abagoba mu maaso ge, ne Zeddekiya n’ajeemera kabaka w’e Babulooni.

(BI)Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Zeddekiya, ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’eggye lye lyonna, n’alumba Yerusaalemi, ekibuga ekyo n’akizingiza n’akizimbako ebifunvu okukyetooloola. Ekibuga ne bakizimbako ebifunvu okutuusa mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa kabaka Zeddekiya.

(BJ)Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna enjala n’eba nnyingi nnyo mu kibuga nga tewaali kyakulya. Bbugwe w’ekibuga yamenyebwa Abakaludaaya. Eggye lyonna erya Yerusaalemi ne lidduka okuva mu kibuga kiro nga bayita mu mulyango oguli wakati w’ebisenge ebibiri ebiri okumpi n’ennimiro lwa kabaka, newaakubadde ng’Abakaludaaya baali beetoolodde ekibuga. Badduka ne bagenda mu Alaba. Eggye ly’Abakaludaaya ne ligoba kabaka Zeddekiya ne bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko, Abaserikale be bonna ne bamuvaako ne basaasaana. (BK)N’akwatibwa.

Zeddekiya n’atwalibwa eri kabaka w’e Babulooni e Libuna mu nsi ey’e Kamasi; n’amusalira omusango ne gumusinga. 10 (BL)Awo kabaka w’e Babulooni n’atta batabani ba Zeddekiya nga kitaabwe alaba; n’atta n’abakungu bonna aba Yuda. 11 (BM)N’alyoka aggyamu Zeddekiya amaaso n’amusiba mu masamba ag’ebikomo n’amutwala e Babulooni, gye yamuteeka mu kkomera okutuusa lwe yafa.

12 (BN)Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwokutaano, mu mwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye erikuuma kabaka, eyaweerezanga kabaka w’e Babulooni, yajja e Yerusaalemi. 13 (BO)Nebukadduneeza n’ayokya yeekaalu ya Mukama n’olubiri lwa kabaka, n’ennyumba zonna eza Yerusaalemi. Buli kizimbe kyonna eky’omugaso n’akyokya. 14 (BP)Eggye lya Babulooni lyonna eryali liduumirwa omuduumizi w’abakuumi bakabaka ne limenyera ddala ebisenge bya Yerusaalemi. 15 Nebuzaladaani omuduumizi w’abakuumi n’atwala abamu ku baavu ennyo n’abo abaasigala mu kibuga, awamu n’abaweesi n’abaali beewaddeyo, mu buwaŋŋanguse eri kabaka w’e Babulooni. 16 (BQ)Naye Nebuzaladaani n’asigazaayo abamu ku baavu ennyo mu ggwanga okulabiriranga emizabbibu n’okulimanga.

17 (BR)Abakaludaaya ne bamenya empagi ez’ebikomo, n’ebikondo ebyali biseetulwa, n’Ennyanja ey’ekikomo, ebyali mu nnyumba ya Mukama ne batwala ekikomo kyonna e Babulooni. 18 (BS)Ne batwala n’entamu, n’ebisena, n’ebisalako ebisirinza, n’ebibya, n’ebijiiko, n’ebintu byonna eby’ekikomo ebyakozesebwanga mu kuweereza mu Yeekaalu. 19 (BT)Omuduumizi w’abakuumi ba kabaka n’atwala ebensani n’ebibya by’obubaane, n’ebijiiko, n’ebikondo bye ttaala, n’ebibya, n’entamu ebikozesebwa mu kiweebwayo ekyokunywa, byonna ebyali byakolebwa mu zaabu ne ffeeza.

20 (BU)Ekikomo okuva ku mpagi ebbiri, n’Ennyanja, n’ennume ekkumi n’ebbiri ez’ebikomo wansi waayo, n’ebikondo kabaka Sulemaani bye yali akoledde yeekaalu ya Mukama, byali bizito nnyo ebitapimika. 21 (BV)Buli emu ku mpagi yali obuwanvu mita munaana ne desimoolo emu; n’obwetoolovu mita ttaano ne desimoolo nnya; n’omubiri gwayo gwali nga sentimita musanvu nga yamuwuluka. 22 (BW)Yaliko n’omutwe gw’ekikomo, n’omutwe gumu ng’obuwanvu bwayo nga mita bbiri ne desimoolo ssatu, omutwe nga guliko ebitimbe n’amakomamawanga enjuuyi zonna, byonna nga bya bikomo; empagi eyookubiri nayo yaliko ebifaanana ebyo n’amakomamawanga. 23 (BX)Mu buli mbiriizi za buli mpagi kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga era gonna awamu okwetooloola empagi gaali amakomamawanga kikumi.

24 (BY)Omuduumizi w’abakuumi n’atwala Seraaya kabona asinga obukulu ne Sefaniya kabona owookubiri n’abaggazi abasatu nga basibe. 25 Abo abaali bakyali mu kibuga, n’atwalako omukungu akulira eggye, n’abawi b’amagezi omusanvu. N’atwala n’omuwandiisi eyali omukungu omukulu avunaanyizibwa okuwandiika abayingira mu magye ne basajja be nkaaga abaasangibwa mu kibuga. 26 (BZ)Nebuzaladaani omuduumizi n’abatwala bonna n’abaleeta eri kabaka w’e Babulooni e Libuna. 27 (CA)Kabaka n’abattira eyo e Libuna, mu Kamasi.

Bw’atyo Yuda n’awaŋŋangusibwa, okuva mu nsi ya boobwe.

28 (CB)Buno bwe bungi bw’abantu Nebukadduneeza be yatwala mu buwaŋŋanguse:

mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwe:

Abayudaaya enkumi ssatu mu amakumi abiri mu basatu;

29 mu mwaka ogw’omunaana ogwa Nebukadduneeza,

n’atwala lunaana mu asatu mu babiri okuva e Yerusaalemi;

30 mu mwaka gwe ogw’amakumi abiri mu esatu,

Abayudaaya lusanvu mu ana mu bataano be baatwalibwa Nebuzaladaani omuduumizi w’abakuumi wa kabaka.

Bonna awamu ne baba abantu enkumi nnya mu lukaaga.

Yekoyakini Asumululwa

31 Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omusanvu ogw’okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, mu mwaka Evirumerodaki lwe yafuuka kabaka w’e Babulooni, n’ata Yekoyakini kabaka wa Yuda, n’amuggya mu kkomera ku lunaku olw’amakumi abiri mu etaano olw’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri. 32 N’ayogera naye n’ekisa n’amuwa entebe ey’ekitiibwa eya waggulu okusinga eza bakabaka abalala abaali naye e Babulooni. 33 (CC)Yekoyakini n’akyusa okuva mu ngoye ez’ekkomera era obulamu bwe obusembayo n’aliranga ku mmeeza ya kabaka. 34 (CD)Era kabaka w’e Babulooni yawanga Yekoyakini ensako eya buli lunaku, obulamu bwe bwonna okutuusa lwe yafa.

Abaebbulaniya 9

Okusinza ku nsi ne mu ggulu

(A)Endagaano ey’olubereberye, yalina amateeka agaalagirwa ag’okusinzanga Katonda, era waaliwo n’eweema entukuvu ey’oku nsi. (B)Mu weema eno mwalimu ebisenge bibiri. Mu kisenge ekisooka nga mwe muli ekikondo ekya zaabu eky’ettaala, n’emmeeza okwabeeranga emigaati emyawule, ekisenge kino kyayitibwanga Ekifo Ekitukuvu. (C)Era waaliwo olutimbe olwokubiri ng’emabega waalwo we wali ekifo ekiyitibwa Awatukuvu w’Awatukuvu. (D)Mu kifo ekyo mwalimu ekyoterezo ky’obubaane ekya zaabu, n’essanduuko ey’endagaano, eyabikkibwako zaabu ku buli ludda. Mu ssanduuko nga mulimu ekibya ekya zaabu ekyalimu emmaanu, n’omuggo gwa Alooni nga gutojjedde, n’ebipande eby’amayinja eby’Amateeka Ekkumi eby’endagaano. (E)Ku kisaanikira ky’essanduuko nga kuliko bakerubbi ab’ekitiibwa nga basiikirizza entebe ey’okusaasira; ebintu ebyo tetuyinza kubyogerako kaakano kinnakimu.

(F)Ebintu byonna nga bimaze okutegekebwa bwe bityo, bakabona baayingiranga mu kisenge ekisooka buli lunaku ne bakola emirimu gyabwe egy’okuweereza. (G)Naye Kabona Asinga Obukulu yekka ye yayingiranga mu kisenge eky’omunda omulundi gumu buli mwaka. Yagendangayo n’omusaayi, gwe yawangayo ku lulwe n’olw’ebibi by’abantu bye baakolanga mu butanwa. (H)Mu bino byonna, Mwoyo Mutukuvu atutegeeza bulungi nti, Ekkubo erituuka mu bifo ebitukuvu lyali terinnamanyika, ng’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’olubereberye ekyaliwo, n’enkola ey’edda ng’ekyaliwo. (I)Amakulu geekyo mu kiseera kya leero, ge gano: ebirabo ne Ssaddaaka ebyaweebwangayo tebiyinza kutukuza mutima gw’oyo asinza. 10 (J)Bikoma ku byakulya na byakunywa na ku bulombolombo obw’okunaaba, n’ebiragiro abantu bye baalina okukwata n’okugondera okutuusa ku biro eby’okuzza ebintu obuggya.

Omusaayi gwa Kristo

11 (K)Kristo yajja nga Kabona Asinga Obukulu ow’ebintu ebirungi ebyali bigenda okujja. Yayingira mu weema esinga obukulu n’okutuukirira, etaakolebwa na mikono gya bantu, etali ya mu nsi muno. 12 (L)Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogw’ente ennume, naye yayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu omulundi gumu gwokka n’omusaayi gwe; bw’atyo ye yennyini n’atufunira obulokozi obutaggwaawo. 13 (M)Obanga omusaayi gw’embuzi, n’ente ennume, n’evvu ly’ente enduusi, bimansirwa ku abo abalina ebibi, ne bibatukuza mu mubiri; 14 (N)omusaayi gwa Kristo ataliiko kamogo, eyeewaayo ye yennyini eri Katonda olw’Omwoyo ataggwaawo, tegulisinga nnyo okutukuza emyoyo gyaffe okuva mu bikolwa ebifu tulyoke tuweereze Katonda omulamu?

15 (O)Noolwekyo Kristo ye mutabaganya mu ndagaano empya, okufa bwe kwabaawo olw’okununulibwa okuva mu byonoono eby’omu ndagaano eyasooka, abo abaayitibwa ab’obusika obutaggwaawo balyoke baweebwe ekisuubizo.

16 Kubanga ekiraamo kiteekebwa mu nkola ng’eyakikola amaze kufa. 17 Kubanga kikola ng’eyakikola afudde, kubanga tekiba na makulu eyakikola bw’aba ng’akyali mulamu. 18 (P)Era n’endagaano ey’olubereberye teyakolebwa awatali musaayi. 19 (Q)Kubanga Musa bwe yamala okuwa abantu bonna Amateeka, n’atwala omusaayi gwa zisseddume n’ogw’embuzi, n’amazzi, n’addira obutabi obw’akawoowo obwa ezobu, n’ebyoya by’endiga ebiriko omusaayi, n’amansira ku kitabo kyennyini era ne ku bantu. 20 (R)N’ayogera nti, “Guno gwe musaayi gw’endagaano Katonda gye yabalagira okukwata.” 21 Era bw’atyo n’amansira ne ku weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne ku byonna ebyakozesebwanga mu kusinza. 22 (S)Era mu mateeka buli kintu kitukuzibwa na musaayi, era awatali kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.

23 (T)Ebifaananyi by’ebintu eby’omu ggulu kyebiva byetaaga okutukuzibwa ne ssaddaaka, naye ebintu eby’omu ggulu byennyini biteekwa kutukuzibwa na ssaddaaka ezisinga ezo. 24 (U)Kubanga Kristo teyayingira mu kifo kya Watukuvu w’Awatukuvu ekyakolebwa n’emikono gy’abantu, naye yayingira mu ggulu mwennyini gy’ali kaakano mu maaso ga Katonda ku lwaffe. 25 (V)Kristo teyayingira mu ggulu kwewangayo mirundi mingi, nga Kabona Asinga Obukulu bw’ayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu buli mwaka n’omusaayi ogutali gugwe, 26 (W)kubanga kyali kimugwanira okubonaabonanga emirundi mingi okuva ku kutondebwa kw’ensi. Naye kaakano yajja omulundi gumu ku nkomerero y’omulembe, ne yeewaayo yennyini ng’ekiweebwayo. 27 (X)Ng’abantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu n’oluvannyuma okulamulwa ne kutuuka, 28 (Y)era ne Kristo bw’atyo yaweebwayo omulundi gumu ne yeetikka ebibi by’abantu bonna. Alirabika nate omulundi ogwokubiri, si kuddamu kwetikka bibi byaffe, wabula okuleeta obulokozi eri abo abamulindirira.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.