Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Read the New Testament in 24 Weeks

A reading plan that walks through the entire New Testament in 24 weeks of daily readings.
Duration: 168 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Peetero 3:8-5:14

Okubonyaabonyezebwa olw’Okukola Ebituufu

(A)Eky’enkomerero, mwenna mubenga n’emmeeme emu, buli omu alumirirwenga munne, era mwagalanenga ng’abooluganda ddala, mubenga ba kisa era beetoowaze. (B)Temuwooleranga ggwanga. Abavumye, mmwe temumuvumanga. Wabula mumusabirenga mukisa, kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke muweebwe omukisa. 10 Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti,

“Ayagala okufuna obulamu n’okubeera mu ddembe,
    aziyizenga olulimi lwe okwogera ekibi,
n’emimwa gye
    okwogera ebyobukuusa.
11 Era yeewalenga okukola ebibi, akolenga ebirungi.
    Anoonyenga emirembe era atambulirenga mu gyo.
12 (C)Kubanga abatuukirivu Mukama abatunuulira n’ekisa,
    n’amatu ge gawuliriza bye basaba.
Kyokka aboonoonyi abatunuuliza bukambwe.”

13 (D)Bwe munaafubanga okukola ekituufu, ani anaabakolanga akabi? 14 (E)Naye era ne bwe munaabonyaabonyezebwanga olw’obutuukirivu, mulina omukisa. “Temutya bye batya; temutekemuka.” 15 (F)Mutyenga Mukama waffe Kristo mu mitima gyammwe. Era bulijjo mubenga beetegefu okuddamu buli ababuuza okunnyonnyola essuubi lyammwe, 16 (G)era muddengamu n’obuwombeefu, awamu n’eggonjebwa. Mubenga ba mutima mulungi, abo ababavuma era ababoogerako ekibi olw’empisa zammwe ennungi olw’okuba nga muli ba Kristo, balyoke baswale. 17 (H)Okubonyaabonyezebwanga olw’okukola obulungi, bwe kuba nga kwe kusiima kwa Katonda, kusinga okubonyaabonyezebwa olw’okukola ekibi. 18 (I)Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olw’ebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lw’abatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka n’abeera mulamu mu mwoyo. 19 (J)Era omwoyo gwe, gwe gwagenda okubuulira Enjiri emyoyo egyali mu kkomera. 20 (K)Egyo gy’emyoyo egy’abo edda abaagaana okuwulira Katonda ng’akyabagumiikiriza, mu kiseera Nuuwa kye yazimbiramu eryato, abantu abatono, omunaana gwokka, mwe baawonyezebwa amazzi. 21 (L)Amazzi ago gaali kabonero ak’okubatizibwa mulyoke mulokolebwe kaakano. Kubanga okubatizibwa tekitegeeza kunaazibwako kko lya mubiri, wabula kitegeeza kwewaayo eri Katonda nga tumaliridde okukola by’ayagala, ng’atuwadde omutima omulongoofu olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo, 22 (M)eyalinnya mu ggulu era atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’afuga bamalayika n’aboobuyinza, n’abaamaanyi ab’omu ggulu.

Obulamu Obuggya

Kale nga Kristo bwe yabonyaabonyezebwa mu mubiri, nammwe mumalirire okubonaabona nga ye. Kubanga abonaabona mu mubiri aba takyafugibwa kibi. (N)Okuva kaakano nga muli mu nsi muno, mugoberere ebyo Katonda by’ayagala, so si kugoberera kwegomba kwammwe okw’omubiri. (O)Mu biseera ebyayita mwemaliranga mu kukola ebyo Abaamawanga bye beegombanga. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obw’omwenge, ne mu kusinza bakatonda abalala. (P)Kaakano abo abatakkiriza Katonda beewuunya era babavuma bwe balaba nga temukyabeegattako mu ebyo bye bakola. (Q)Abantu abo baliwoza mu maaso ga Katonda. Kubanga yeeteeseteese okulamula abalamu n’abafu ng’asinziira ku ebyo bye baakola. (R)Enjiri kyeyava ebuulirwa, n’abafu balyoke basalirwe omusango ng’abantu abalala bonna, kyokka babe balamu mu mwoyo nga Katonda bw’ali.

Okukozesa Obulungi Ebirabo Katonda by’atuwa

(S)Enkomerero ya byonna eneetera okutuuka. Noolwekyo mwetegeke era mwegenderezenga, era bulijjo musabenga Katonda. (T)N’ekisingira ddala obukulu mwagalanenga ddala mu mazima, kubanga okwagalana kubikka ebibi bingi. (U)Musembezeganenga awatali kwemulugunya. 10 (V)Buli omu asaanidde okukozesa n’obwesigwa buli kirabo Katonda kye yamuwa olw’okugasa banne nabo balyoke bafune emikisa gya Katonda emingi gy’agaba. 11 (W)Ayogera, ayogerenga ng’atumiddwa Katonda; ayamba, akikolenga n’amaanyi gonna Katonda g’amuwadde; mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n’obuyinza emirembe n’emirembe. Amiina.

Okubonyaabonyezebwa olw’Okuba Omukristaayo

12 (X)Abaagalwa, temwewuunya obulumi obw’amaanyi bwe bubatuukako ng’abatuukiddwako ekintu ekitali kya bulijjo. 13 (Y)Kyokka musanyuke kubanga mugabanye ku kubonaabona kwa Kristo, mulyoke mujjule essanyu, ng’ekitiibwa kye kirabise. 14 (Z)Mulina omukisa bwe muvumibwa olw’erinnya lya Kristo kubanga Omwoyo ow’ekitiibwa owa Katonda ali ku mmwe. 15 Mu mmwe temusaana kubaamu mutemu, oba mubbi, oba omukozi w’ebibi, wadde eyeeyingiza mu by’abalala. Kubanga buli abonyaabonyezebwa olw’ebyo taliiko ky’agasibwa. 16 (AA)Naye bw’abonyaabonyezebwa olw’okuba Omukristaayo aleme kukwatibwa nsonyi, wabula yeebazenga Katonda olw’okuba owa Kristo. 17 (AB)Kubanga ekiseera kituuse Katonda okulamula ng’atandikira mu nnyumba ya Katonda. Obanga okulamula kutandikidde ku ffe, kale kiriba kitya ku abo abajeemera Enjiri ya Katonda?

18 (AC)“Era obanga kizibu omutuukirivu okulokolebwa,
    kale aboonoonyi n’abatatya Katonda balikolebwa batya?”

19 Noolwekyo abo ababonaabona olw’okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala, basaanidde okuwaayo obulamu bwabwe eri Katonda waabwe omwesigwa, bakole obulungi.

Katonda Talemererwa

(AD)Noolwekyo mbulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe, omujulirwa w’okubonaabona kwa Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulirwa. (AE)Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, mukiriisenga nga mukirabirira n’okwagala so si na kwemulugunya, nga mukolerera amagoba ag’obukuusa wabula olw’okujjumbira Katonda. (AF)Be mukulembera temubakambuwaliranga wabula mubakulemberenga nga mubalaga ekyokulabirako ekirungi. (AG)Era Omusumba Omukulu bw’alikomawo, muliweebwa engule ey’ekitiibwa ekitaliggwaawo.

(AH)Mmwe abavubuka, mugonderenga abakulu. Muweerezeganenga mwekka na mwekka n’obuwombeefu kubanga

“Katonda akyawa ab’amalala
    naye abawombeefu abawa omukisa.”

(AI)Noolwekyo mwewombeeke wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi, naye alibagulumiza ng’obudde butuuse. (AJ)Mumutwalirenga byonna bye mweraliikirira kubanga abalumirwa era afaayo ku buli ekibatuukako.

(AK)Mutunulenga, mwekuume omulabe wammwe Setaani, atambulatambula ng’empologoma enjala gy’eruma egenda ng’ewuluguma ng’enoonya gw’eneerya. (AL)Mumwaŋŋange ng’abalumbye, nga mwesiga Mukama, era mujjukire nti ebibonoobono ebiri ng’ebyo bituuka ne ku bakkiriza abalala mu nsi yonna.

10 (AM)Bwe mulibonaabonera akaseera, Katonda waffe atukwatirwa ekisa ng’ayita mu Kristo, alibawa ekitiibwa kye ekitaliggwaawo. Alibakomyawo, alibazzaamu amaanyi, alibawanirira era alibanyweza. 11 (AN)Ekitiibwa n’amaanyi bibeerenga gy’ali emirembe n’emirembe. Amiina.

12 (AO)Ebbaluwa eno nzija kugikwasa Sirwano[a], gwe mmanyi nga waaluganda mwesigwa ddala, agibaleetere. Nsuubira nga mbazizzaamu amaanyi mu bbaluwa eno, era nga mbalaze engeri Katonda gy’agabamu ekisa kye ekingi. Ebyo bye mbategeezezza bibayambe okunywerera mu kwagala kwe.

13 (AP)Balonde bannammwe mu kkanisa y’e Babulooni, babalamusizza. Ne mutabani wange Makko naye abalamusizza.

14 Mulamusagane n’okwagala okw’Ekikristaayo.

Emirembe gibeerenga mu mmwe mwenna abali mu Kristo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.