Read the New Testament in 24 Weeks
Omwana mukulu okusinga bamalayika
1 (A)Edda, Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe mu ngeri nnyingi ez’enjawulo ng’ayita mu bannabbi; 2 (B)naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogera naffe ng’ayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi n’ebintu byonna ebirimu. 3 (C)Amasamasa n’ekitiibwa kya Katonda, era ky’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era abeezaawo buli kintu olw’ekigambo kye eky’amaanyi. Bwe yamala okukola ekikolwa eky’okututukuza okuva mu bibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu. 4 (D)Bw’atyo n’asinga bamalayika, nga kyeragira ku linnya lye okuba ery’ekitiibwa okusinga amannya gaabwe.
5 (E)Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti,
“Ggwe oli Mwana wange,
Leero nkuzadde?”
Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gy’ali
naye anaabeeranga Mwana wange gye ndi?”
6 (F)Era nate bw’aleeta Omwana we omubereberye mu nsi, agamba nti,
“Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”
7 (G)Era ayogera ku bamalayika nti,
“Afuula bamalayika be ng’empewo,
n’afuula n’abaweereza be ng’ennimi z’omuliro.”
8 Naye ku Mwana ayogera nti,
“Entebe yo ey’Obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe n’emirembe;
obutuukirivu, gwe muggo ogw’obwakabaka bwo.
9 (H)Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu.
Katonda, era Katonda wo kyeyava akufukako
amafuta ag’omuzeeyituuni agaleeta essanyu okusinga banno.”
10 Ayongera n’agamba nti,
“Mukama ku lubereberye wassaawo omusingi gw’ensi,
era n’eggulu mirimu gwa mukono gwo.
11 (I)Ebyo biriggwaawo, naye ggwe olibeerera emirembe gyonna,
era byonna birikaddiwa ng’ekyambalo bwe kikaddiwa.
12 (J)Era olibizingako ng’ekooti bwe zingibwako,
era birikyusibwa ng’ekyambalo bwe kikyusibwa.
Naye ggwe oba bumu,
so n’emyaka gyo tegirikoma.”
13 (K)Ani ku bamalayika gwe yali agambye nti,
“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo,
ne bafuuka entebe y’ebigere byo”?
14 (L)Bamalayika bonna, myoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.
Okulabula okussaayo Omwoyo
2 Kyekivudde kitusaanira okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, si kulwa nga tuwaba ne tubivaako. 2 (M)Obanga ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyakola, na buli eyayonoona era n’ajeemera ekigambo ekyo, yaweebwa ekibonerezo ekimusaanira, 3 (N)ffe tuliwona tutya bwe tuliragajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obulokozi obwo bwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bukakasibwa abo abaabuwulira. 4 (O)Katonda yakikakasiza mu bubonero ne mu by’ekitalo ne mu byamagero abitali bimu, era ne mu birabo ebya Mwoyo Mutukuvu bye yagaba nga bwe yayagala.
5 Ensi empya gye twogerako si yakufugibwa bamalayika. 6 (P)Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti,
“Omuntu kye ki ggwe okumujjukira?
Oba Omwana w’Omuntu ye ani ggwe okumussaako omwoyo?
7 Wamussa obuteenkana nga bamalayika, okumala akaseera katono,
wamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo,
8 (Q)n’oteeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye.”
Katonda atadde buli kintu wansi we. Kyokka kaakano tetulaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we. 9 (R)Naye tulaba Yesu eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olw’ekisa kya Katonda, yabonaabona n’afa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, n’atikkirwa engule ey’ekitiibwa n’ettendo.
10 (S)Katonda oyo eyatonderwa ebintu byonna, era mu oyo Yesu Kristo ebintu byonna mwe byatonderwa, eyalondebwa okuleeta abaana abangi mu kitiibwa. Era kyasaanira Yesu okubonyaabonyezebwa, ng’omukulembeze omutuukirivu, okubaleetera obulokozi. 11 (T)Oyo atukuza era n’abo abatukuzibwa bava mu omu bonna. Noolwekyo takwatibwa nsonyi kubayita baganda be. 12 (U)Agamba nti,
“Nditegeeza baganda bange erinnya lyo,
era nnaakuyimbiranga ennyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.”
13 (V)Era awalala agamba nti,
“Nze nnaamwesiganga oyo.”
Ate ne yeeyongera n’agamba nti,
“Laba nze n’abaana Katonda be yampa.”
14 (W)Olw’okubanga abaana balina omubiri n’omusaayi, naye yalina omubiri n’omusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi ag’okufa, ye Setaani. 15 (X)Yakikola alyoke awe eddembe abo bonna abaali bamaze obulamu bwabwe bwonna mu buddu olw’entiisa y’okufa. 16 Kubanga eky’amazima kiri nti tayamba bamalayika, ayamba zzadde lya Ibulayimu. 17 (Y)Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga Kabona Asinga Obukulu asaasira era omwesigwa mu kuweereza Katonda. Ekyo yakikola alyoke atangirire ebibi by’abantu. 18 (Z)Yabonaabona, ye yennyini ng’akemebwa, alyoke ayambe abo abakemebwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.