Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

New Testament in a Year

Read the New Testament from start to finish, from Matthew to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yokaana 8:28-59

28 (A)Awo Yesu n’abagamba nti, “Bwe mulimala okuwanika Omwana w’Omuntu ne mulyoka mutegeera nti nze wuuyo, era siriiko kye nkola ku bwange, naye njogera ebyo Kitange bye yanjigiriza. 29 (B)Era oyo eyantuma ali nange, tandekanga bw’omu, kubanga bulijjo nkola by’ayagala.” 30 (C)Yesu bwe yayogera ebigambo ebyo bangi ne bamukkiriza.

Abaana ba Ibulayimu

31 (D)Awo Yesu n’agamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala. 32 (E)Era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.” 33 (F)Ne bamuddamu nti, “Ffe tuli bazzukulu ba Ibulayimu, tetubangako baddu ba muntu n’omu. Oyinza otya okugamba nti, ‘Mulifuuka ba ddembe?’ ”

34 (G)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti buli akola ekibi aba muddu wa kibi. 35 (H)Omuddu taba wa lubeerera mu maka, naye omwana ye, aba waamu ennaku zonna. 36 Kale, Omwana bw’alibafuula ab’eddembe, mulibeerera ddala ba ddembe. 37 (I)Weewaawo ntegeera nga muli bazzukulu ba Ibulayimu, naye ate abamu ku mmwe musala amagezi okunzita, kubanga ekigambo kyange temukikkiriza. 38 (J)Nze mbategeeza ebyo Kitange bye yandaga, nammwe mukola ebyo kitammwe bye yababuulira.” 39 (K)Ne bamuddamu nti, “Kitaffe ye Ibulayimu.” Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde baana ba Ibulayimu mwandikoze ebyo Ibulayimu bye yakola. 40 (L)Naye kaakano, Nze ababuulidde ebyo byennyini bye nawulira okuva eri Katonda musala amagezi okunzita. Ekifaanana ng’ekyo Ibulayimu teyakikola. 41 (M)Mukola emirimu gya kitammwe.”

Ne bamuddamu nti, “Ffe tetwazaalibwa mu bwenzi, Kitaffe gwe tulina ali omu, ye Katonda.”

42 (N)Yesu n’abagamba nti, “Singa Katonda ye Kitammwe mwandinjagadde, kubanga nava gy’ali okujja gye muli, sajja ku bwange wabula ye yantuma. 43 Lwaki temutegeera bye njogera? Kubanga temwagala kuwulira bigambo byange. 44 (O)Kubanga Setaani ye kitammwe era nammwe mwagala okukola ebyo kitammwe by’ayagala. Okuva ku lubereberye mutemu era tanywerera mu mazima, era mu ye temuli mazima. Bw’ayogera eby’obulimba ayogera ebiva mu bibye, kubanga mulimba era kitaawe w’abalimba. 45 (P)Naye kubanga njogera mazima kyemuva mutanzikiriza. 46 Ani mu mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima, kiki ekibagaana okunzikiriza? 47 (Q)Buli muntu wa Katonda awulira ebigambo bya Katonda. Naye mmwe temuwulira kubanga temuli ba Katonda.”

48 (R)Awo Abayudaaya ne baddamu Yesu nti, “Tetuli batuufu okugamba nti oli Musamaliya, era oliko dayimooni?”

49 Yesu n’abaddamu nti, “Nze siriiko dayimooni, naye nzisaamu Kitange ekitiibwa naye mmwe temunzisaamu kitiibwa. 50 (S)Naye Nze sinoonya kussibwamu kitiibwa, waliwo omu ye akisaanira era y’alamula. 51 (T)Ddala ddala mbagamba nti, Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.”

52 Awo Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Kaakano tutegeeredde ddala nti oliko dayimooni. Ibulayimu yafa era ne bannabbi baafa, ate ggwe ogamba nti, ‘Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.’ 53 (U)Ggwe mukulu okukira jjajjaffe Ibulayimu eyafa? Bannabbi nabo baafa. Ggwe weeyita ani?”

54 (V)Yesu n’addamu nti, “Singa Nze neegulumiza okwegulumiza kwange tekubaamu nsa, angulumiza ye Kitange mmwe gwe muyita Katonda wammwe, 55 (W)mmwe temumumanyi. Nze mmumanyi. Bwe ŋŋamba nti simumanyi mba mulimba nga mmwe bwe muli. Nze mmumanyi era n’ekigambo kye nkikuuma. 56 (X)Kitammwe Ibulayimu yasanyuka okulaba olunaku lwange. Yamanya nti nzija era ne kimusanyusa.”

57 Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tonnaweza na myaka amakumi ataano egy’obukulu n’ogamba nti walaba Ibulayimu?”

58 (Y)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu yali tannabaawo, Nze nga wendi.” 59 (Z)Awo ne bakwata amayinja okumukuba, kyokka Yesu ne yeekweka n’afuluma mu Yeekaalu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.