Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

New Testament in a Year

Read the New Testament from start to finish, from Matthew to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Lukka 24:1-35

Okuzuukira kwa Mukama Waffe

24 (A)Awo ku lunaku Lwassande[a], lwe lusooka mu wiiki, mu makya ennyo, abakazi ne baddira ebyakaloosa n’amafuta, bye baali bategese, ne bagenda ku ntaana. Ne basanga ejjinja eryali liggadde omulyango oguyingira mu ntaana, nga liyiringisibbwa okudda wabbali. (B)Bwe batyo ne bayingira mu ntaana, naye omulambo gwa Mukama waffe Yesu tebaagusangamu. (C)Ne bayimirira awo nga babuliddwa eky’okukola. Amangwago, abasajja babiri ne balabika mu maaso gaabwe nga bambadde engoye ezimasamasa ng’okumyansa kw’eraddu. Abakazi ne batya nnyo, ne bakutama ne batunula wansi, abasajja ne babagamba nti, “Lwaki omuntu omulamu mumunoonyeza mu ntaana? (D)Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti, (E)‘Omwana w’Omuntu, ateekwa okuweebwayo mu mikono gy’abantu ababi, bamukomerere ku musaalaba, naye nga ku lunaku olwokusatu alizuukira.’ ” (F)Ne bajjukira ebigambo bye ebyo.

Awo ne bayanguwa mangu ne bagenda, ne bategeeza abayigirizwa ekkumi n’omu n’abalala bonna, ebintu ebyo byonna. Bano be bakazi abaalaga ku ntaana, era ne bategeeza abayigirizwa ebintu ebyo: 10 (G)Maliyamu Magudaleene, ne Jowaana, ne Maliyamu nnyina Yakobo, n’abalala. Ne bategeeza abatume ebintu ebyo. 11 (H)Naye bye baababuulira nga biwulikika ng’ebitaliimu makulu, era tebaabikkiriza. 12 (I)Kyokka Peetero n’adduka n’alaga ku ntaana, n’akutama n’alingiza n’alaba ng’engoye za linena Yesu mwe yali azingiddwa ziri wabbali zokka nga njereere, n’addayo eka nga yeewuunya.

Ku Luguudo lw’e Emawu

13 (J)Ku lunaku olwo lwennyini abasajja babiri, abamu ku abo abaagobereranga Yesu, baali batambula nga bagenda mu kabuga akayitibwa Emawu, akaali kilomita nga kkumi na bbiri okuva e Yerusaalemi. 14 Baali bagenda boogera ku kufa kwa Yesu. 15 (K)Amangwago Yesu yennyini n’abeegattako n’atambula nabo. 16 (L)Kyokka tebaamutegeera, kubanga ekyo Katonda yali akibakisizza.

17 Yesu n’abagamba nti, “Biki bye munyumyako nga bwe mutambula mu kkubo?”

Ne bayimirira ng’amaaso gaabwe gajjudde ennaku. 18 (M)Omu ku bo, erinnya lye Kulyoppa n’amuddamu nti, “Oli mugenyi mu Yerusaalemi atamanyi bya kitalo ebyaliwo mu wiiki eyise?”

19 (N)Yesu n’ababuuza nti, “Biki ebyo?” Ne baddamu nti, “Ebyagwa ku Yesu Omunnazaaleesi eyali omusajja Nnabbi ow’amaanyi mu bye yakolanga ne bye yayogeranga eyakola ebyamagero ebyewuunyisa, era yali Muyigiriza wa kitalo, mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu bonna. 20 (O)Naye bakabona abakulu n’abakulembeze baffe baamukwata ne bamuwaayo n’asalirwa omusango ogw’okufa, ne bamukomerera ku musaalaba. 21 (P)Twali tusuubira nti, Ye Kristo anaalokola Isirayiri. 22 (Q)Ebyo nga bikyali awo, nga wayiseewo ennaku ssatu bukyanga bino bibaawo abamu ku bakazi b’ewaffe baatwewuunyisizza. Olwa leero baakedde ku ntaana, 23 naye omulambo gwe tebaagusanzeemu. Bwe baakomyewo baatugambye nti bayolesebbwa ba bamalayika abaabagambye nti mulamu! 24 (R)Abamu ku bannaffe abasajja nabo ne bagendayo mangu, nabo ne basanga ng’omulambo gwa Yesu teguliimu mu ntaana, ng’abakazi bwe baagambye.”

25 Yesu n’abagamba nti, “Nga muli bantu basirusiru! Mmwe ab’emitima eminafu egirwawo okukkiriza bannabbi bye baategeeza! 26 (S)Tekyagwanira Kristo okubonaabona mu bintu byonna n’oluvannyuma alyoke ayingire mu kitiibwa kye?” 27 (T)N’atandikira ku Musa n’ayitaayita mu bannabbi bonna ng’agenda abannyonnyola Ebyawandiikibwa bye bimwogerako.

28 Bwe baasemberera akabuga we baali bagenda, Yesu n’aba nga eyeeyongerayo, 29 naye ne bamuwaliriza asule ewaabwe kubanga n’obudde bwali buwungedde. N’akkiriza, asigale.

30 (U)Awo bwe yali ng’alya nabo n’addira omugaati, ne yeebaza n’agumenyamu, n’abawa. 31 (V)Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera! Ate n’ababulako mu kaseera ako! 32 (W)Ne batandika okwewuunaganya nga bagamba nti, “Emitima gyaffe tegyabuguumiridde bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo ng’atunnyonnyola Ebyawandiikibwa?”

33 Awo ne basituka mangu ne baddayo mu Yerusaalemi, ne basanga abayigirizwa ekkumi n’omu ne bannaabwe abalala nga bakuŋŋaanye, 34 (X)nga bagamba nti, “Ddala Mukama waffe azuukidde! Alabikidde Peetero!” 35 (Y)Ne bannyonnyola, nga Yesu bwe yabalabikira nga bali mu kkubo batambula, era nga bwe yategeerekeka gye bali ng’amaze okumenya omugaati.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.