New Testament in a Year
Okukkiriza kw’Omuserikale Omuruumi
7 (A)Awo Yesu bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo ebyo byonna n’ayingira mu Kaperunawumu. 2 Mu kiseera ekyo, omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, yalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo, yali mulwadde nnyo ng’ali kumpi n’okufa. 3 Omukulu w’ekitongole oyo bwe yawulira ebifa ku Yesu, n’atuma abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya eri Yesu bamusabe ajje awonye omuddu we. 4 Bwe baatuuka eri Yesu ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti, “Omusajja ono asaanira okuyambibwa nga bw’akusabye, 5 kubanga ayagala nnyo eggwanga lyaffe, era ye yatuzimbira ne kkuŋŋaaniro lyaffe!” 6 Bw’atyo Yesu n’agenda nabo.
Naye Yesu bwe yali akyali mu kkubo nga tannatuuka ku nnyumba, omukulu w’ekitongole n’atuma mikwano gye eri Yesu ng’agamba nti, “Mukama wange, teweeteganya bw’otyo, kubanga nze sisaanira kukusembeza mu nju yange. 7 (B)Era kyenavudde nnema okujja gy’oli nze nzennyini. Naye yogera bwogezi ekigambo, omuweereza wange anaawona! 8 Kubanga nange nnina abakulu abantwala, ate waliwo n’abali wansi wange be nninako obuyinza. Bwe ŋŋamba ono nti, ‘Genda,’ agenda, n’omulala nti, ‘Jjangu,’ ajja; n’omuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.”
9 Yesu bwe yawulira ebigambo ebyo n’amwewuunya nnyo, n’akyukira ekibiina ky’abantu abaali bamugoberera n’agamba nti, “Mbagamba nti sirabanga kukkiriza kunene nga kuno, wadde mu Isirayiri.” 10 Awo omukulu w’ekitongole be yatuma eri Yesu bwe baddayo mu nnyumba ye, baasanga omuddu awonye.
Yesu Azuukiza Mutabani wa Nnamwandu
11 Awo ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda n’abayigirizwa be n’ekibiina kinene ne kimugoberera mu kibuga ekiyitibwa Nayini. 12 Bwe yali asemberera omulyango gw’ekibuga, laba, abantu ne bafuluma mu kibuga nga beettisse omulambo gw’omuvubuka eyali mutabani w’omukazi nnamwandu, ate nga ye mwana we yekka. Ekibiina ky’abantu abaali bava mu kibuga baali bangi nnyo. 13 (C)Awo Mukama waffe bwe yalaba nnamwandu n’amusaasira, n’amugamba nti, “Tokaaba.”
14 (D)N’asemberera essanduuko, abaali bagisitudde ne bayimirira, Yesu n’ayogera nti, “Omuvubuka, nkulagira nti ggolokoka!” 15 Eyali afudde n’atuula era n’atandika okwogera. Yesu n’amuddiza nnyina.
16 (E)Buli omu n’ajjula entiisa, ne batendereza Katonda nga bagamba nti, “Nnabbi ow’amaanyi atulabikidde, era Katonda akyalidde abantu be.” 17 (F)Ebigambo ebyo ne bibuna Buyudaaya yonna n’okwetooloola emiriraano gyayo.
Yesu ne Yokaana Omubatiza
18 (G)Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza ne bategeeza Yokaana ebintu ebyo byonna. Yokaana n’ayita abayigirizwa be babiri, 19 n’abatuma eri Mukama waffe okumubuuza nti, “Ggwe wuuyo gwe tusuubira okujja, oba tulindirireyo omulala?”
20 Abayigirizwa ba Yokaana bwe baatuuka eri Yesu, ne bamutegeeza nti, “Yokaana Omubatiza atutumye okukubuuza nti, Ggwe wuuyo ajja oba tulindirirayo omulala?”
21 (H)Mu kiseera ekyo Yesu n’awonya endwadde nnyingi eza buli ngeri: n’abalema, n’abaaliko emyoyo emibi, n’azibula n’abazibe b’amaaso. 22 (I)Abaatumibwa n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumutegeeze byonna bye muwulidde ne bye mulabye. Abazibe b’amaaso bazibulwa amaaso ne balaba, n’abalema batambula, n’abagenge[a] balongoosebwa, n’abaggavu b’amatu gagguka ne bawulira, n’abafu bazuukizibwa, era n’abaavu babuulirwa Enjiri. 23 Era alina omukisa oyo atanneesittalako.”
24 Awo ababaka ba Yokaana bwe baagenda, Yesu n’abuulira ekibiina ebikwata ku Yokaana. N’ababuuza nti, “Bwe mwagenda mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo? 25 Naye mwagenderera kulaba ki? Omusajja ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambadde engoye ezinekaaneka, nga babeera mu bulamu bwa kikungu era babeera mu mbiri. 26 (J)Naye mwagenderera kulaba ki? Nnabbi? Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi. 27 (K)Y’oyo ebyawandiikibwa gwe byogerako nti,
“ ‘Laba, ntuma omubaka wange okukukulembera,
y’alikuteekerateekera ekkubo lyo mu maaso go.’ ”
28 (L)“Mbagamba nti, mu bantu bonna abaali bazaaliddwa abakazi, tewali mukulu wa kitiibwa kukira Yokaana, naye ate oyo asembayo mu bwakabaka bwa Katonda asinga Yokaana ekitiibwa.”
29 (M)Abantu bonna, awamu n’abasolooza b’omusolo, bwe baawulira ebigambo bya Yesu ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga baali babatiziddwa mu kubatizibwa kwa Yokaana. 30 (N)Naye Abafalisaayo n’abayigiriza b’amateeka ne bagaana ebyo Katonda bye yabategekera, kubanga tebaabatizibwa Yokaana.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.