New Testament in a Year
26 (A)“Abasajja abooluganda mmwe bazzukulu ba Ibulayimu, nammwe abatya Katonda, obubaka buno obw’obulokozi, bwaffe ffenna wamu. 27 (B)Ababeera mu Yerusaalemi n’abakulembeze baabwe ne batamumanya oyo newaakubadde ebigambo bya bannabbi, ebyasomebwanga buli Ssabbiiti. Baamusalira omusango, ne batuukiriza ebigambo bino. 28 (C)Tebaalina nsonga emussa, naye era ne basaba Piraato amutte. 29 (D)Bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako, n’awanulwayo ku musaalaba n’agalamizibwa mu ntaana. 30 (E)Naye Katonda n’amuzuukiza mu bafu. 31 (F)Era abo be yajja nabo e Yerusaalemi ng’ava e Ggaliraaya n’abalabikiranga okumala ennaku nnyingi. Era be bajulirwa be eri abantu.
32 “Ne kaakano tubategeeza nti, Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe 33 yakituukiriza mu ffe ne mu baana baffe, bwe yazuukiza Yesu mu bafu. Nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti,
“ ‘Mwana wange,
leero nfuuse Kitaawo.’
34 (G)Kubanga Katonda yasuubiza okumuzuukiza abeere mulamu nate, era nga takyaddayo kuvunda. Ekyawandiikibwa nga bwe kyogera nti:
“ ‘Ndikuwa emikisa egy’olubeerera era emitukuvu gye nasuubiza Dawudi.’
35 (H)Ne mu kyawandiikibwa ekirala agamba nti,
“ ‘Toliganya Mutukuvu wo kuvunda.’
36 (I)“Kino kyali tekyogera ku Dawudi, kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza omulembe gwe nga Katonda bwe yayagala, n’afa, n’aziikibwa, era omubiri gwe ne guvunda. 37 Noolwekyo, oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda.
38 (J)“Abooluganda, mumpulirize! Mu muntu ono Yesu okusonyiyibwa ebibi mwe kubuuliddwa. Kino nga tekiyinzika mu mateeka ga Musa. 39 (K)Buli amukkiriza n’amwesiga aggyibwako omusango gw’ekibi, n’aweebwa obutuukirivu. 40 Mwegendereze, ebigambo bya bannabbi bireme kutuukirira ku mmwe, bwe baagamba nti:
41 (L)“ ‘Mulabe, mmwe abanyoomi,
musamaalirire era muzikirire!
Kubanga nnina omulimu gwe nkola mu kiseera,
gwe mutagenda kukkiriza newaakubadde omuntu
ne bw’aligubannyonnyola atya temuligukkiriza.’ ”
42 (M)Awo Pawulo ne Balunabba bwe baali bafuluma mu kkuŋŋaaniro, abantu ne babasaba bakomewo ku Ssabbiiti eddirira bongere okubabuulira ku bigambo ebyo. 43 (N)Abayudaaya bangi awamu n’abatya Katonda abaaliwo mu kusinza okwo mu kkuŋŋaaniro, ne babagoberera. Pawulo ne Balunabba ne banyumya nabo nga bwe batambula mu kkubo, nga babasendasenda banywerere mu kukkiriza ne mu kisa kya Katonda.
44 Ku Ssabbiiti eyaddirira kumpi buli muntu eyali mu kibuga n’ajja okuwulira ekigambo kya Katonda. 45 (O)Naye Abayudaaya bwe baalaba ebibiina ebinene nga bizze, ne bakwatibwa obuggya, ne batandika okuwakanya n’okujolonga byonna Pawulo bye yayogeranga. 46 (P)Awo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula n’obuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga. 47 (Q)Kubanga bw’atyo Mukama bwe yatulagira bwe yagamba nti,
“ ‘Mbafudde omusana okwakira Abaamawanga,
olw’obulokozi okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ ”
48 Abaamawanga bwe baawulira ebyo ne bajjula essanyu; era bangi ne bakkiriza, abo Katonda be yalonda okuwa obulamu obutaggwaawo.
49 Awo ekigambo kya Katonda ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna. 50 (R)Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakazi abaasinzanga Katonda ab’ebitiibwa, n’abakulembeze mu kibuga, ne batandika akeegugungo mu kibiina ky’abantu nga koolekedde Pawulo ne Balunabba, okutuusa lwe baabagoba mu kitundu kyabwe. 51 (S)Abatume ne babakunkumulira enfuufu ey’omu bigere byabwe, ne babaviira ne balaga mu Ikoniya. 52 Abayigirizwa ne bajjula essanyu ne Mwoyo Mutukuvu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.