New Testament in a Year
22 (A)“Abasajja Abayisirayiri, muwulirize ebigambo bino! Yesu Omunnazaaleesi omuntu Katonda gwe yakakasa gye muli n’ebyamagero eby’ekitalo, Katonda bye yamukozesanga ng’ali mu mmwe, nga mwenna bwe mumanyi. 23 (B)Naye ng’enteekateeka ya Katonda bwe yali, omuntu oyo yaweebwayo mu mikono gy’abantu abatagoberera mateeka, ne mumutta nga mumukomeredde ku musaalaba. 24 (C)Kyokka Katonda yamuzuukiza ng’asaanyizaawo obulumi bw’okufa, kubanga okufa tekwayinza kumunyweza. 25 (D)Kubanga Dawudi amwogerako nti,
“ ‘Nalaba nga Mukama ali nange bulijjo,
kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
nneme okusagaasagana.
26 Noolwekyo omutima gwange kyeguvudde gusanyuka, n’olulimi lwange ne lukutendereza.
Era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi.
27 (E)Kubanga tolireka mwoyo gwange kuzikirira
so toliganya mutukuvu wo kuvunda.
28 Wandaga amakubo g’obulamu,
era olinzijuza essanyu nga ndi mu maaso go.’
29 (F)“Abasajja abooluganda, nnyinza okwogera n’obuvumu gye muli ku bifa ku jjajjaffe Dawudi nga yafa n’aziikibwa, era n’amalaalo ge weegali ne kaakano. 30 (G)Naye Dawudi yali nnabbi, n’amanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bibala eby’omu ntumbwe ze mwe muliva alituula ku ntebe ey’obwakabaka bwe, 31 (H)bwe yakiraba olubereberye nayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa magombe so nga n’omubiri gwe tegwavunda. 32 (I)Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, era ffe ffenna tuli bajulirwa. 33 (J)Awo bwe yagulumizibwa n’alaga ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n’aweebwa Mwoyo Mutukuvu eyamusuubizibwa Kitaffe, n’alyoka atuwa kino nammwe kye mwerabiddeko era kye mwewuliriddeko. 34 Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye agamba nti,
“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti,
“Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
35 (K)okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.” ’
36 (L)“Noolwekyo ennyumba yonna eya Isirayiri, bamanyire ddala nti oyo Yesu gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo!”
37 (M)Awo bwe baawuulira ebigambo ebyo, emitima ne gibaluma, ne bagamba Peetero n’abatume abalala, nti, “Abooluganda, kiki kye tusaanidde okukola?”
38 (N)Peetero n’abagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu. 39 (O)Kubanga ekisuubizo kiri eri mmwe n’eri abaana bammwe, n’eri bonna abali mu nsi ezeewala abalikoowoola Mukama Katonda waffe.”
40 (P)Awo Peetero n’abategeeza mu bigambo ebirala bingi n’ababuulira ng’agamba nti mulokolebwe okuva mu mulembe guno ogwakyama. 41 Awo abo abakkiriza ebigambo bye ne babatizibwa ku lunaku olwo ne beeyongerako ng’enkumi ssatu.
Obulamu bw’Abakkiriza
42 (Q)Ne banyiikiranga okuyigirizibwa kw’abatume ne mu kussekimu, ne mu kumenya omugaati era ne mu kusaba. 43 (R)Buli muntu n’ajjula okutya era ebyamagero bingi n’obubonero bungi ne bikolebwanga abatume. 44 (S)Abakkiriza ne bakuŋŋaananga bulijjo mu kifo kimu, ne baba nga bassa kimu mu byonna. 45 (T)Eby’obugagga byabwe n’ebintu bye baalina ne babitunda ne bagabira buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwabanga. 46 (U)Ne banyiikiranga okukuŋŋaananga mu Yeekaalu buli lunaku, era ne bakuŋŋaananga ne mu maka gaabwe nju ku nju okumenya omugaati, ne baliiranga wamu emmere yaabwe n’essanyu lingi n’omutima ogutalina bukuusa, 47 (V)nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Mukama n’abongerangako bulijjo abaalokolebwanga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.