Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

New Testament in a Year

Read the New Testament from start to finish, from Matthew to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Makko 9:1-29

Okufuusibwa kwa Yesu

(A)Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Abamu ku bantu abali wano tebalifa okuggyako nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n’amaanyi.”

(B)Bwe waayitawo ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana n’abakulembera ne bagenda ku ntikko y’olusozi oluwanvu ne babeera eyo bokka. Amangwago n’afuusibwa nga balaba, (C)ebyambalo bye ne byeruka nnyo, nga tewali muntu ku nsi asobola kubyoza kubituusa awo! Awo Eriya ne Musa ne babalabikira ne batandika okwogera ne Yesu!

(D)Peetero n’agamba Yesu nti, “Labbi, kirungi tubeere wano, tubazimbire ensiisira ssatu, emu nga yiyo, n’endala nga ya Musa, n’endala nga ya Eriya.” Yayogera atyo olw’okutya okungi okwabajjira.

(E)Awo ne walabika ekire, ne kibasaanikira ne muvaamu eddoboozi ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa. Mumuwulirirenga.”

Amangwago okugenda okukyusa amaaso gaabwe nga tewali muntu mulala okuggyako Yesu eyaliwo yekka nabo.

(F)Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira ekyo kye balabye obutakyogerangako okutuusa ng’Omwana w’Omuntu amaze okuzuukira mu bafu. 10 Bwe batyo nabo ne bakikuuma nga kya kyama, naye ne beebuuzaganya ku by’okufa n’okuzuukira kwe.

11 Awo ne bamubuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Eriya asaanira asooke okujja.”

12 (G)Yesu n’abagamba nti, “Weewaawo Eriya y’ateekwa okusooka okujja alongoose ebintu byonna. Lwaki kyawandiikibwa ku Mwana w’Omuntu nti ateekwa okubonaabona ennyo n’okunyoomebwa? 13 (H)Naye mbagamba nti, Ddala ddala Eriya yajja! Naye yayisibwa bubi nnyo, nga bwe baayagala, nga bwe kyawandiikibwa ku ye.”

Yesu Awonya Omulenzi Eyaliko Dayimooni

14 Yesu n’abayigirizwa bali abasatu bwe bakka eri bannaabwe okuva ku lusozi, ne basanga ekibiina kinene nga kyetoolodde bannaabwe, abannyonnyozi b’amateeka nga bawakana nabo. 15 Amangwago ekibiina kyonna bwe kyamulaba, ne badduka ne bagenda gy’ali ne bamwaniriza.

16 Yesu n’ababuuza nti, “Kiki kye muwakana nabo?” 17 Omu ku basajja abaali mu kibiina ne yeesowolayo n’agamba nti, “Omuyigiriza, naleese wano omwana wange omuwonye. Tayinza kwogera aliko omwoyo omubi. 18 Era buli lwe gumulumba gumusuula wansi, n’abimba ejjovu ku mimwa n’aluma amannyo, olwo yenna n’akakanyala. Nsabye abayigirizwa bo bagumugobeko, naye ne balemwa.”

19 Yesu n’agamba nti, “Mmwe, omulembe ogutakkiriza ndituusa ddi okubeera nammwe? Mbagumiikirize kutuusa ddi? Mumundeetere wano.”

20 (I)Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba ne gusikambula omulenzi, ne gumusuula wansi, nga bwe yeevulungula nga bw’abimba n’ejjovu ku mimwa.

21 Yesu n’abuuza kitaawe w’omwana nti, “Kino kimaze bbanga ki?” Kitaawe n’addamu nti, “Okuviira ddala mu buto. 22 Oluusi gumusuula mu muliro oluusi mu mazzi nga gwagala okumutta. Obanga olina ky’osobola okutukolera, tusaasire.”

23 (J)Yesu n’amuddamu nti, “Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza.”

24 Amangwago Kitaawe w’omwana n’ayogerera waggulu nti, “Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!”

25 (K)Yesu bwe yalaba ng’ekibiina kyeyongera obunene, n’aboggolera dayimooni nti, “Ggwe omwoyo omubi ogutayogera era omuggavu gw’amatu nkulagira muveeko, era tomuddiranga.”

26 Awo omwoyo ne guwowoggana nnyo, ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako n’aba ng’afudde, bangi ne balowooza nti afudde. 27 Naye Yesu n’amukwata ku mukono n’amuyimiriza.

28 (L)Awo Yesu bwe yayingira mu nnyumba abayigirizwa be, ne bamubuuza mu kyama nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kumugoba?”

29 N’addamu nti, “Ogw’engeri eno teguyinza kugenda awatali kusaba.”[a]

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.