New Testament in a Year
23 Awo Yesu n’ayogera eri ebibiina n’abayigirizwa be ng’agamba nti, 2 (A)“Abawandiisi n’Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa. 3 Noolwekyo mukole era mwekuume buli kye babagamba wabula temugoberera bikolwa byabwe. Kubanga boogera naye ne batakola bye bagamba. 4 (B)Basiba emigugu emizito ne bagitikka abalala, so nga bo n’okugezaako tebagezaako kukwatako n’engalo yaabwe.
5 (C)“Buli kye bakola bakikola abantu babalabe. Bambala ku mikono gyabwe obusawo[a] omuli ennyiriri eziva mu Byawandiikibwa, ne bawanvuya amatanvuuwa ku byambalo byabwe, agajjukiza abagambala okudda eri Mukama, nga babikola okulaga ababalaba. 6 (D)Baagala nnyo ebifo eby’oku mwanjo ku mbaga, ne mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro. 7 (E)Banyumirwa nnyo okuweebwa ekitiibwa mu butale n’okuyitibwa ‘Labbi.’
8 “Temweyitanga ‘Labbi[b] ,’ kubanga Katonda yekka ye Muyigiriza wammwe, naye mmwe muli baaluganda. 9 (F)Era temuyitanga muntu yenna ku nsi ‘Kitammwe,’ kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo. 10 Era temuganyanga muntu yenna kubayita ‘bayigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu yekka, ye Kristo. 11 (G)Oyo ayagala abantu okumussaamu ekitiibwa. Asaana abeere muweereza waabwe. 12 (H)Naye buli alyegulumiza alikkakkanyizibwa, na buli alyetoowaza aligulumizibwa.
13 (I)“Zibasanze mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo. Bannanfuusi mmwe! Muziyiza abantu abalala okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, ate nammwe ne mutayingira.
14 “Bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulowoozesa abantu nti muli batuukirivu nga musaba essaala, so ng’ate mwekyusa ne mugobaganya bannamwandu mu mayumba gaabwe. 15 (J)Zibasanze bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Kubanga mutambula okwetooloola ennyanja ne ku lukalu musobole okukyusa omuntu, naye bw’akyuka, mumufuula mwana wa ggeyeena okusingawo emirundi ebiri.
16 (K)“Zibasanze mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso abagamba nti, ‘Okulayira Yeekaalu, si nsonga, naye oyo alayira zaabu ali mu Yeekaalu, asaana okukituukiriza!’ 17 (L)Mmwe abatalina magezi abazibe b’amaaso! Ku ebyo byombi kiruwa ekisingako obukulu, zaabu oba Yeekaalu efuula zaabu okuba entukuvu? 18 Ate mugamba nti, ‘Omuntu okulayira ekyoto, kirina amakulu, naye bw’alayira ebirabo ebireeteddwa ku kyoto, asaana okukituukiriza!’ 19 (M)Mmwe abazibe b’amaaso, ku byombi kiruwa ekisinga kinnaakyo obukulu, ekirabo ekiri ku kyoto oba ekyoto kyennyini ekifuula ekirabo ekyo okuba ekitukuvu? 20 Bwe mulayira ekyoto, muba mulayira ekyoto n’ebikiriko byonna, 21 (N)era bwe mulayira Yeekaalu muba mulayira Yeekaalu ne Katonda agibeeramu. 22 (O)Era bwe mulayira eggulu, muba mulayira n’entebe ya Katonda ey’obwakabaka n’oyo yennyini agituulako.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.