M’Cheyne Bible Reading Plan
2 Bwe bityo eggulu n’ensi awamu ne byonna ebigirimu ne biggwa okukolwa.
2 (A)Ku lunaku olw’omusanvu Katonda yali amaze ebyo byonna bye yali akola; n’awummulira ku lunaku olwo ng’ava ku mirimu gye gyonna gye yakola. 3 (B)Bw’atyo Katonda olunaku olw’omusanvu n’aluwa omukisa n’alutukuza; kubanga ku olwo Katonda kwe yawummulira emirimu gye yakola mu kutonda.
Adamu ne Kaawa
4 Ebyo bye bifa ku ggulu n’ensi nga bwe byatondebwa, Mukama Katonda we yamalira okutonda eggulu n’ensi.
5 (C)Tewaaliwo muddo gwonna ku nsi wadde ekimera kyonna, kubanga Mukama Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu ow’okulima ettaka. 6 Naye ensulo n’eva mu ttaka n’efukirira ensi yonna. 7 (D)Mukama Katonda n’akola omuntu okuva mu nfuufu ey’oku nsi n’amufuuwa mu nnyindo omukka ogw’obulamu. Omuntu n’aba omulamu. 8 (E)Mukama Katonda yali asimbye ennimiro Adeni ku luuyi olw’ebuvanjuba, omuntu gwe yabumba n’amuteeka omwo. 9 (F)Mukama Katonda n’ameza mu ttaka buli muti ogusanyusa amaaso era omulungi okulya. N’ateeka omuti ogw’obulamu, n’omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi wakati mu nnimiro.
10 Omugga ne gusibuka mu nnimiro Adeni ne gukulukuta okulufukirira, ne gwanjaalira omwo ne guvaamu emigga ena. 11 Erinnya ly’ogusooka Pisoni, gwe gwo ogukulukuta okwetooloola ensi ya Kavira, awali zaabu; 12 ne zaabu y’ensi eyo nnungi; mulimu bideriamu n’amayinja onuku. 13 Omugga ogwokubiri ye Gikoni, gwe gukulukuta okwetooloola ensi ya Kuusi.[a] 14 (G)N’erinnya ly’ogwokusatu ye Tigiriisi ogukulukutira ku buvanjuba bwa Bwasuli. Ogwokuna ye Fulaati.
15 Mukama Katonda n’ateeka omuntu mu nnimiro Adeni agirimenga era agikuumenga. 16 Mukama Katonda n’alagira omuntu nti, “Emiti gyonna egy’omu nnimiro olyangako, 17 (H)naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi ogwo togulyangako, kubanga lw’oligulyako tolirema kufa.”
18 (I)Mukama Katonda n’ayogera nti, “Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.” 19 (J)Naye olwo Mukama Katonda yali amaze okukola ensolo zonna ez’omu nsiko n’ebinyonyi eby’omu bbanga. N’abireeta eri omuntu abituume amannya. Buli kiramu omuntu nga bwe yakiyita, lye lyabeera erinnya lyakyo. 20 Bw’atyo omuntu n’atuuma buli nsolo ey’awaka, n’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko amannya.
Adamu yali tannaba kufunirwa mubeezi. 21 Mukama Katonda n’aleetera omusajja otulo tungi nnyo ne yeebaka; bwe yali nga yeebase n’amuggyamu olubirizi lumu, n’azzaawo ennyama. 22 (K)Mukama Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera.
23 (L)Omusajja n’agamba nti,
“Lino lye ggumba ery’omu magumba gange,
ye nnyama ey’omu nnyama yange,
anaayitibwanga mukazi;
kubanga aggyibbwa mu musajja.”
24 (M)Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.
25 (N)Omusajja n’omukazi baali tebambadde, naye nga tewali akwatirwa munne nsonyi.
Okukyala kw’Abagezigezi
2 (A)Yesu bwe yazaalibwa mu kibuga Besirekemu eky’omu Buyudaaya, ku mulembe gwa Kabaka Kerode, abasajja abagezigezi, abaava ebuvanjuba ne bajja mu Yerusaalemi, nga babuuza nti, 2 (B)“Aliwa eyazaalibwa nga Kabaka w’Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli mu buvanjuba, era tuzze okumusinza.”
3 Awo Kabaka Kerode bwe yabiwulira ne bimweraliikiriza nnyo, era ne bonna abaali mu Yerusaalemi. 4 N’ayita bakabona abakulu bonna n’abawandiisi b’amateeka n’abeebuuzaako ekifo Kristo gye yali agenda okuzaalibwa. 5 (C)Ne bamuddamu nti, “Mu Besirekemu eky’omu Buyudaaya, kyawandiikibwa nnabbi nti,
6 (D)“ ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda,
toli mutono mu balangira ba Yuda,
kubanga omufuzi aliva mu ggwe,
alifuga abantu bange Isirayiri.’ ”
7 Awo Kerode n’atumya Abagezigezi kyama, n’ababuuza ebiro emmunyeenye bye yalabikiramu. 8 N’abasindika e Besirekemu ng’agamba nti, “Mugende mubuulirize ebikwata ku mwana. Bwe mumulaba, mukomeewo muntegeeze, nange ŋŋende musinze!”
9 Bwe baamala okuwulira Kabaka bye yabagamba ne bagenda. Bwe baafuluma, emmunyeenye eri gye baalaba ebuvanjuba n’eddamu okubalabikira n’okubakulembera, okutuusa lwe yayimirira waggulu Omwana w’ali. 10 Bwe baalaba emmunyeenye ng’eyimiridde, essanyu lyabwe ne libeera lingi nnyo! 11 (E)Bwe baayingira mu nnyumba[a] ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, n’obubaane n’omugavu. 12 (F)Awo bwe baalabulibwa mu kirooto baleme kuddayo wa Kerode, bwe batyo ne baddayo ewaabwe nga bayita mu kkubo eddala.
Okuddukira e Misiri
13 (G)Awo abagezigezi bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto n’amugamba nti, “Golokoka oddusize Omwana ne nnyina e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndibalagira okudda. Kubanga Kerode ajja kunoonya Omwana ng’ayagala okumutta.” 14 Ekiro ekyo n’asituka n’atwala Omwana ne nnyina e Misiri. 15 (H)Ne babeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa. Mukama kye yayogerera mu nnabbi we ne kituukirira, bwe yagamba nti:
“Nayita Omwana wange okuva mu Misiri.”
Okutta Abaana Abato
16 Kerode bwe yalaba ng’Abagezigezi banyoomye ekiragiro kye, n’asunguwala nnyo, n’atuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi ab’emyaka ebiri n’abatannagiweza, ng’asinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye. 17 Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira ng’agamba nti,
18 (I)“Eddoboozi lyawulirwa mu Laama,
okukuba emiranga n’okukungubaga okunene,
nga Laakeeri akaabira abaana be,
nga tewakyali asobola kumuwooyawooya,
kubanga bonna baweddewo.”
Okuva e Misiri Okudda e Nazaaleesi
19 (J)Kerode bwe yamala okufa malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri, 20 n’amugamba nti, “Golokoka ozzeeyo Omwana ne nnyina mu Isirayiri, kubanga abaali baagala okutta Omwana bafudde.”
21 Yusufu n’asitukiramu n’azzaayo Omwana ne nnyina mu nsi ya Isirayiri. 22 (K)Naye bwe yatuuka mu kkubo n’atya nnyo bwe yawulira nga Alukerawo[b] mutabani wa Kerode ye yali alidde obwakabaka. Mukama n’amulabulira nate mu kirooto aleme kugenda Buyudaaya, bw’atyo n’alaga e Ggaliraaya 23 (L)n’atuuka mu kibuga ky’e Nazaaleesi, ne babeera omwo. Ebigambo bya bannabbi bye baayogera biryoke bituukirire nga bagamba nti: “Aliyitibwa Munnazaaleesi.”
Olukalala olw’Abawaŋŋangusibwa Abaddayo
2 (A)Bano be bantu ab’omu ssaza, abanyagibwa Kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni ne batwalibwa e Babulooni, abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe. 2 (B)Abaabakulembera baali Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya[a], ne Seraya, ne Leeraya, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misupaali, ne Biguvaayi, ne Lekumu, ne Baana.
Omuwendo gw’abantu ba Isirayiri gwali:
3 (C)bazzukulu ba Palosi enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172),
4 bazzukulu ba Sefatiya bisatu mu nsavu mu babiri (372),
5 bazzukulu ba Ala lusanvu mu nsavu mu bataano (775),
6 bazzukulu ba Pakasumowaabu ab’olunnyiriri olwa Yesuwa ne Yowaabu enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri (2,812),
7 bazzukulu ba Eramu lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
8 bazzukulu ba Zattu lwenda mu ana mu bataano (945),
9 bazzukulu ba Zakkayi lusanvu mu nkaaga (760),
10 bazzukulu ba Bani lukaaga mu ana mu babiri (642),
11 bazzukulu ba Bebayi lukaaga mu abiri mu basatu (623),
12 bazzukulu ba Azugaadi lukumi mu bibiri mu abiri mu babiri (1,222),
13 (D)bazzukulu ba Adonikamu lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666),
14 bazzukulu ba Biguvaayi enkumi bbiri mu amakumi ataano mu mukaaga (2,056),
15 bazzukulu ba Adini ebikumi bina mu ataano mu bana (454),
16 bazzukulu ba Ateri ow’olunnyiriri lwa Keezeekiya kyenda mu munaana (98),
17 bazzukulu ba Bezayi ebikumi bisatu mu amakumi abiri mu basatu (323),
18 bazzukulu ba Yola kikumi mu kumi na babiri (112),
19 bazzukulu ba Kasumu ebikumi bibiri mu abiri mu basatu (223),
20 bazzukulu ba Gibbali kyenda mu bataano (95).
21 (E)Abazzukulu ab’e Besirekemu kikumi mu abiri mu basatu (123),
22 abazzukulu ab’e Netofa amakumi ataano mu mukaaga (56),
23 abazzukulu ab’e Anasosi kikumi abiri mu munaana (128),
24 abazzukulu ab’e Azumavesi amakumi ana mu babiri (42),
25 abazzukulu ab’e Kiriaswalimu, n’e Kefira n’e Beerosi lusanvu mu ana mu basatu (743),
26 (F)abazzukulu ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu (621),
27 abazzukulu ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri (122),
28 (G)abazzukulu ab’e Beseri n’e Ayi ebikumi bibiri mu abiri mu basatu (223),
29 abazzukulu ab’e Nebo amakumi ataano mu babiri (52),
30 abazzukulu ab’e Magubisi kikumi ataano mu mukaaga (156),
31 abazzukulu ab’e Eramu omulala lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
32 abazzukulu ab’e Kalimu ebikumi bisatu mu amakumi abiri (320),
33 abazzukulu ab’e Loodi, n’e Kadidi, n’e Ono lusanvu mu abiri mu bataano (725),
34 (H)abazzukulu ab’e Yeriko ebikumi bisatu mu amakumi ana mu bataano (345),
35 n’abazzukulu ab’e Sena enkumi ssatu mu lukaaga mu amakumi asatu (3,630).
36 (I)Bano be bakabona:
bazzukulu ba Yedaya ab’ennyumba ya Yesuwa lwenda mu nsavu mu basatu (973),
37 (J)bazzukulu ba Immeri lukumi mu amakumi ataano mu babiri (1,052),
38 (K)bazzukulu ba Pasukuli lukumi mu bibiri mu amakumi ana mu musanvu (1,247),
39 (L)bazzukulu ba Kalimu lukumi mu kumi na musanvu (1,017).
40 (M)Ne bano be Baleevi:
bazzukulu ba Yesuwa ne Kadumyeri ab’olunnyiriri olwa Kadaviya nsavu mu bana (74).
42 (O)Bano be baakuumanga[c] enzigi za yeekaalu:
bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi kikumi mu amakumi asatu mu mwenda (139).
43 (P)Abaaweerezanga mu yeekaalu be bano:
bazzukulu ba Zika, bazzukulu ba Kasufa, bazzukulu ba Tabbawoosi,
44 bazzukulu ba Kerosi, bazzukulu ba Siyaka, bazzukulu ba Padoni,
45 bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Akkubu,
46 bazzukulu ba Kagabu, bazzukulu ba Samulaayi, bazzukulu ba Kanani,
47 bazzukulu ba Gidderi, bazzukulu ba Gakali, bazzukulu ba Leyaya,
48 bazzukulu ba Lezini, bazzukulu ba Nekoda, bazzukulu ba Gazzamu,
49 bazzukulu ba Uzza, bazzukulu ba Paseya, bazzukulu ba Besayi,
50 bazzukulu ba Asuna, bazzukulu ba Meyunimu, bazzukulu ba Nefisimu,
51 bazzukulu ba Bakubuki, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Kalukuli,
52 bazzukulu ba Bazulusi, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Kalusa,
53 bazzukulu ba Balukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Tema,
54 bazzukulu ba Neziya, ne bazzukulu ba Katifa.
55 Bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani baali:
bazzukulu ba Sotayi, bazzukulu ba Kassoferesi, bazzukulu ba Peruda,
56 bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Dalukoni, bazzukulu ba Gidderi,
57 bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattiri, bazzukulu ba Pokeresukazzebayimu, ne bazzukulu ba Ami.
58 (Q)Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri (392).
59 (R)Ne bano be baava mu bibuga eby’e Terumeera, n’e Terukalusa, n’e Kerubu, n’e Yaddani, n’e Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga nti bava mu nnyumba ya Isirayiri.
60 Baali bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda n’omuwendo gwabwe gwali lukaaga mu amakumi ataano mu babiri (652).
61 (S)Ne ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya,
ne bazzukulu ba Kakkozi, ne bazzukulu ba Baluzirayi eyawasa muwala wa Baluzirayi Omugireyaadi, n’atuumibwa erinnya eryo.
62 (T)Ate waaliwo abalala abaanoonya amannya gaabwe mu abo abaabalibwa naye ne batagalaba, era ne batabalibwa mu bakabona kubanga kyagambibwa nti si balongoofu. 63 (U)Omukulembeze n’abalagira baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo, okuggyako nga waliwo kabona alina Ulimu ne Sumimu.
64 Bonna awamu baali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaga (42,360), 65 (V)okwo nga kw’otadde abaddu n’abaddu abakazi abaali kasanvu mu bisatu mu amakumi asatu mu musanvu (7,337), n’abayimbi[d] abasajja n’abakazi abaali ebikumi bibiri (200). 66 (W)Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), n’ennyumbu ebikumi bibiri mu amakumi ana mu ttaano (245), 67 n’eŋŋamira ebikumi bina mu amakumi asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).
68 (X)Awo abakulu b’ennyumba z’abajjajjaabwe bwe baatuuka ku kifo ennyumba ya Mukama we yali mu Yerusaalemi, ne bawaayo ebiweebwayo nga beeyagalidde, olw’okuddaabiriza ennyumba ya Katonda. 69 Ne bawaayo mu ggwanika ng’obusobozi bwabwe bwe bwali; ne bawaayo kilo bitaano eza zaabu (500), ne tani ssatu (3), n’ebyambalo bya bakabona kikumi (100) mu ggwanika.
70 (Y)Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abayimbi, n’abaakuumanga enzigi za yeekaalu, n’abakozi ba yeekaalu ne baddayo mu bibuga byabwe, awamu n’abamu ku bantu abalala, n’Abayisirayiri abalala bonna ne baddayo mu bibuga byabwe.
Mwoyo Mutukuvu ajja ku Pentekoote
2 (A)Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka bonna baali bakuŋŋaanidde mu kisenge kimu. 2 (B)Amangwago okuwuuma, nga kuli ng’empewo ey’amaanyi ennyo ekunta, ne kuva mu ggulu, ne kujjula mu nnyumba yonna mwe baali batudde. 3 Ku buli omu ne kutuulako ennimi ng’ez’omuliro. 4 (C)Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ez’enjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa.
5 (D)Waaliwo Abayudaaya bangi abatya Katonda abaali bazze mu Yerusaalemi nga bavudde mu buli ggwanga wansi w’eggulu. 6 Bwe baawulira okuwuuma okwo, ekibiina kinene ne kikuŋŋaana, ne beewuunya okuwulira nga buli muntu awulira olulimi lw’ewaabwe. 7 (E)Ne bawuniikirira ne beewuunya ne bagamba nti, “Bano bonna aboogera si Bagaliraaya? 8 Kale lwaki tuwulira buli muntu olulimi lw’ewaffe gye twazaalibwa? 9 (F)Tubawulira nga boogera eby’amagero bya Katonda mu nnimi ez’Abapaazi, n’Abameedi, n’Abeeramiti, n’ez’abalala abava e Mesopotamiya, ne Buyudaaya, ne Kapadokiya, mu Ponto ne mu Asiya, 10 (G)ne mu Fulugiya ne mu Panfuliya, n’abamu abava mu Misiri, n’ensi za Libiya okuliraana Kuleene, n’abagenyi Abaruumi, 11 Abayudaaya, n’abakyuka ne basoma Ekiyudaaya, n’Abakuleete n’Abawalabu.” 12 Bonna ne beewuunya nga bawuniikiridde, ne bagambagana nti, “Kino kitegeeza ki?”
13 (H)Naye abalala ne baseka busesi nga bagamba nti, “Banywedde mwenge musu!”
Okwogera kwa Peetero
14 Awo Peetero n’asituka n’abatume ekkumi n’omu, n’asitula ku ddoboozi n’ayogera eri ekibiina, n’abagamba nti, “Abasajja Abayudaaya, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemi, mutegeere bino era mumpulirize. 15 (I)Abantu bano tebatamidde nga bwe mulowooza, kubanga essaawa ziri ssatu ez’enkya! 16 Naye kino kye kyayogerwako nnabbi Yoweeri nti,
17 (J)“ ‘Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma,
bw’ayogera Katonda,
ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi;
n’abavubuka bammwe balyolesebwa,
n’abakadde baliroota ebirooto.
18 (K)Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange,
ku baweereza bange abasajja n’abakazi;
baliwa obunnabbi.
19 Era ndikola ebyamagero mu ggulu waggulu,
n’obubonero ku nsi wansi,
omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
20 (L)Enjuba erifuuka ekizikiza,
n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,
olunaku lwa Mukama olukulu era olw’ekitiibwa nga terunnatuuka.
21 (M)Na buli muntu alikoowoola erinnya lya Mukama,
alirokolebwa.’
22 (N)“Abasajja Abayisirayiri, muwulirize ebigambo bino! Yesu Omunnazaaleesi omuntu Katonda gwe yakakasa gye muli n’ebyamagero eby’ekitalo, Katonda bye yamukozesanga ng’ali mu mmwe, nga mwenna bwe mumanyi. 23 (O)Naye ng’enteekateeka ya Katonda bwe yali, omuntu oyo yaweebwayo mu mikono gy’abantu abatagoberera mateeka, ne mumutta nga mumukomeredde ku musaalaba. 24 (P)Kyokka Katonda yamuzuukiza ng’asaanyizaawo obulumi bw’okufa, kubanga okufa tekwayinza kumunyweza. 25 (Q)Kubanga Dawudi amwogerako nti,
“ ‘Nalaba nga Mukama ali nange bulijjo,
kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
nneme okusagaasagana.
26 Noolwekyo omutima gwange kyeguvudde gusanyuka, n’olulimi lwange ne lukutendereza.
Era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi.
27 (R)Kubanga tolireka mwoyo gwange kuzikirira
so toliganya mutukuvu wo kuvunda.
28 Wandaga amakubo g’obulamu,
era olinzijuza essanyu nga ndi mu maaso go.’
29 (S)“Abasajja abooluganda, nnyinza okwogera n’obuvumu gye muli ku bifa ku jjajjaffe Dawudi nga yafa n’aziikibwa, era n’amalaalo ge weegali ne kaakano. 30 (T)Naye Dawudi yali nnabbi, n’amanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bibala eby’omu ntumbwe ze mwe muliva alituula ku ntebe ey’obwakabaka bwe, 31 (U)bwe yakiraba olubereberye nayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa magombe so nga n’omubiri gwe tegwavunda. 32 (V)Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, era ffe ffenna tuli bajulirwa. 33 (W)Awo bwe yagulumizibwa n’alaga ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n’aweebwa Mwoyo Mutukuvu eyamusuubizibwa Kitaffe, n’alyoka atuwa kino nammwe kye mwerabiddeko era kye mwewuliriddeko. 34 Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye agamba nti,
“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti,
“Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
35 (X)okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.” ’
36 (Y)“Noolwekyo ennyumba yonna eya Isirayiri, bamanyire ddala nti oyo Yesu gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo!”
37 (Z)Awo bwe baawuulira ebigambo ebyo, emitima ne gibaluma, ne bagamba Peetero n’abatume abalala, nti, “Abooluganda, kiki kye tusaanidde okukola?”
38 (AA)Peetero n’abagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu. 39 (AB)Kubanga ekisuubizo kiri eri mmwe n’eri abaana bammwe, n’eri bonna abali mu nsi ezeewala abalikoowoola Mukama Katonda waffe.”
40 (AC)Awo Peetero n’abategeeza mu bigambo ebirala bingi n’ababuulira ng’agamba nti mulokolebwe okuva mu mulembe guno ogwakyama. 41 Awo abo abakkiriza ebigambo bye ne babatizibwa ku lunaku olwo ne beeyongerako ng’enkumi ssatu.
Obulamu bw’Abakkiriza
42 (AD)Ne banyiikiranga okuyigirizibwa kw’abatume ne mu kussekimu, ne mu kumenya omugaati era ne mu kusaba. 43 (AE)Buli muntu n’ajjula okutya era ebyamagero bingi n’obubonero bungi ne bikolebwanga abatume. 44 (AF)Abakkiriza ne bakuŋŋaananga bulijjo mu kifo kimu, ne baba nga bassa kimu mu byonna. 45 (AG)Eby’obugagga byabwe n’ebintu bye baalina ne babitunda ne bagabira buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwabanga. 46 (AH)Ne banyiikiranga okukuŋŋaananga mu Yeekaalu buli lunaku, era ne bakuŋŋaananga ne mu maka gaabwe nju ku nju okumenya omugaati, ne baliiranga wamu emmere yaabwe n’essanyu lingi n’omutima ogutalina bukuusa, 47 (AI)nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Mukama n’abongerangako bulijjo abaalokolebwanga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.