Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 49

Yakobo Asabira Batabani be Omukisa

49 (A)Awo Yakobo n’ayita batabani be n’abagamba nti, Mukuŋŋaane, ndyoke mbategeeze ebiribabaako mu nnaku ezijja.

(B)Mukuŋŋaane muwulire, mwe abaana ba Yakobo,
    muwulirize Isirayiri kitammwe.

(C)Lewubeeni ggwe mubereberye wange,
    amaanyi gange, ebibala ebibereberye eby’amaanyi gange,
    ekitiibwa n’obuyinza ebiyitirivu.
(D)Naye tafugika, oli ng’amayengo g’ennyanja, naye tokyali wa kitiibwa,
    kubanga walinnya ekitanda kya kitaawo,
    mu nnyumba yange, n’okyonoona.

(E)Simyoni ne Leevi baaluganda,
    ebitala byabwe byakulwanyisa bya maanyi.
(F)Ayi omwoyo gwange teweetaba mu kuteesa kwabwe.
    Ayi omwoyo gwange teweegatta nabo.
Kubanga mu busungu bwabwe batta abantu,
    olw’okwekulumbaza kwabwe baatema ente olunywa.
(G)Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi;
    n’obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima.
Ndibaawula mu Yakobo,
    ndibasaasaanya mu Isirayiri.

(H)Yuda gwe baganda bo banaakutenderezanga.
    Omukono gwo gunaatulugunyanga abalabe bo.
    Abaana ba kitaawo banaakuvuunamiranga.
(I)Yuda, mwana w’empologoma.
    Oyambuse mwana wange, ng’ovudde ku muyiggo.
Yakutama, yabwama ng’empologoma.
    Ddala ng’empologoma enkazi, ani anaakweŋŋanga?
10 (J)Era omuggo gw’omufuzi teguuvenga wakati wa bigere bya Yuda,
    okutuusa Siiro lw’alijja;
era oyo amawanga gonna
    gwe ganaawuliranga.
11 Alisiba endogoyi ku muzabbibu,
    n’omwana gw’endogoyi ku muzabbibu ogusinga obulungi,
ayoza ebyambalo bye mu nvinnyo,
    n’engoye ze mu musaayi gwe zabbibu.
12 Amaaso ge galimyuka wayini,
    n’amannyo ge galitukula okusinga amata.

13 (K)Zebbulooni alibeera ku mabbali ga nnyanja;
    anaabanga mwalo gw’amaato,
    ensalo ze ziriba ku Sidoni.

14 (L)Isakaali ndogoyi ya maanyi,
    ng’akutama wakati mu bisibo by’endiga;
15 yalaba ng’ekifo ky’okuwummuliramu kirungi;
    nga n’ensi esanyusa;
n’alyoka akkakkanya ekibegabega kye okusitula,
    n’afuuka omuddu ow’okukozesebwanga emirimu egy’obuwaze.

16 (M)Ddaani anaalamulanga mu bwenkanya abantu be
    ng’ekika ekimu ku bika bya Isirayiri.
17 (N)Ddaani anaaba musota mu kkubo,
    essalambwa ku kkubo,
eriruma ebisinziiro by’embalaasi,
    omwebagazi waayo alyoke agwe emabega waayo.

18 (O)Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama.

19 (P)Gaadi alirumbibwa ogubiina gw’abanyazi,
    naye ye, alibafubutukira emabega.

20 (Q)Aseri emmere ye eneebanga ngimu,
    era anaagemuliranga kabaka ebyokulya.

21 (R)Nafutaali mpeewo ya ddembe,
    avaamu ebigambo ebirungi.

22 (S)Yusufu lye ttabi eribala ennyo,
    ettabi eribala ennyo eriri ku mugga;
    abaana be babuna bbugwe.
23 (T)Abalasa obusaale baamulumba bubi nnyo,
    baamulasa ne bamulumya nnyo;
24 (U)naye omutego gwe ne gunywera,
    n’emikono gye ne gitasagaasagana.
Olw’omukono gwa Ayinzabyonna owa Yakobo,
    olw’Omusumba, Olwazi lwa Isirayiri,
25 (V)olwa Katonda wa kitaawo, akuyamba,
    olwa Ayinzabyonna akuwa omukisa,
omukisa oguva waggulu mu ggulu,
    omukisa ogwa wansi mu buziba,
    omukisa ogw’omu lubuto ne mu mabeere.
26 (W)Omukisa gwa kitaawo
    gusinga omukisa gwa bajjajjange,
    gusinga egyo egyaweebwa bajjajja ab’edda.
Gino gyonna gibeere ku mutwe gwa Yusufu,
    gibeere ne ku bukowekowe bw’oyo eyayawukanyizibwa ne baganda be.

27 (X)Benyamini musege ogunyaga,
    mu makya alya omuyiggo,
    mu kawungeezi n’agaba omunyago.

28 Ebyo byonna by’ebika ekkumi n’ebiriri ebya Isirayiri, era ebyo kitaabwe bye yayogera nabo ng’abasabira omukisa. Buli omu ng’amusabira omukisa ogumusaanira.

Okufa kwa Yakobo

29 (Y)Oluvannyuma n’abakuutira n’abagamba nti, “Nditwalibwa eri abantu bange gye baatwalibwa. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti, 30 (Z)mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, mu nsi ya Kanani, Ibulayimu gye yagulira mu nnimiro, okuva ku Efulooni Omukiiti. Yagigula okuba obutaka bw’okuziikangamu. 31 (AA)Awo we waaziikibwa Ibulayimu ne Saala mukazi we, era ne Isaaka ne Lebbeeka mukazi we, we baaziikwa, era awo we naziika Leeya. 32 Ennimiro n’empuku erimu byagulibwa okuva ku baana ba Kesi.”

33 (AB)Yakobo bwe yamala okukuutira batabani be, n’azaayo ebigere bye mu kitanda, n’assa omukka ogw’enkomerero n’afa n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.

Lukka 2

Okuzaalibwa kwa Yesu

(A)Awo olwatuuka mu biseera ebyo, Kayisaali Agusito n’ayisa etteeka abantu bonna beewandiisa. (B)Okubala kuno kwe kwasooka okubaawo ku mulembe gwa Kuleniyo nga ye gavana w’Obusuuli[a]. Bonna ne bagenda okwewandiisa, buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.

(C)Awo Yusufu n’ava e Nazaaleesi eky’e Ggaliraaya, n’agenda mu kibuga kya Dawudi ekiyitibwa Besirekemu eky’e Buyudaaya, kubanga yali wa mu kika kya Dawudi, yeewandiise ne Maliyamu eyali olubuto, oyo gwe yali ayogereza. Naye bwe baali bali eyo ekiseera kya Maliyamu eky’okuzaala ne kituuka. N’azaala omwana we omubereberye omulenzi, n’amubikka mu bugoye, n’amuzazika mu lutiba ente mwe ziriira, kubanga tebaafuna kifo mu nnyumba y’abagenyi.

Mu kiro ekyo waaliwo abasumba abaali mu kitundu ekyo kye kimu ku ttale nga bakuuma endiga zaabwe. (D)Awo malayika wa Mukama n’abalabikira, ne waakaayakana n’ekitiibwa kya Mukama, ne batya nnyo. 10 (E)Malayika n’abagumya nti, “Temutya, kubanga mbaleetedde amawulire amalungi ag’essanyu eringi, era nga ga bantu bonna. 11 (F)Kubanga Omulokozi, ye Kristo Mukama waffe azaaliddwa leero mu kibuga kya Dawudi. 12 (G)Ku kino kwe munaamutegeerera: Mujja kulaba omwana omuwere, ng’abikkiddwa mu ngoye, ng’azazikiddwa mu lutiba lw’ente.”

13 Amangwago eggye lya bamalayika ab’omu ggulu ne beegatta ne malayika oyo ne batendereza Katonda nga bagamba nti,

14 (H)“Ekitiibwa kibe eri Katonda Ali Waggulu ennyo.
    N’emirembe gibe mu nsi eri abantu Katonda b’asiima.”

15 Awo bamalayika bwe baamala okuddayo mu ggulu, abasumba ne bateesa nti, “Tugende e Besirekemu tulabe kino ekibaddewo, Mukama ky’atutegeezezza.”

16 Ne bayanguwa ne bagenda, ne balaba Maliyamu ne Yusufu, n’omwana omuwere ng’azazikiddwa mu lutiba lw’ente. 17 Awo abasumba ne bategeeza bye baalabye, n’ebya bategeezeddwa ebikwata ku mwana oyo. 18 Bonna abaawulira ebigambo by’abasumba ne beewuunya nnyo. 19 (I)Naye Maliyamu n’akuumanga ebigambo ebyo mu mutima gwe era ng’abirowoozaako nnyo. 20 (J)Awo abasumba ne baddayo gye balundira ebisibo byabwe, nga bagulumiza era nga batendereza Katonda, olw’ebyo byonna bye baawulira era ne bye baalaba nga bwe baali bategeezeddwa.

Yesu Atwalibwa mu Yeekaalu

21 (K)Olunaku olw’omunaana olw’okukomolerwako bwe lwatuuka, n’atuumibwa erinnya YESU, malayika lye yayogera nga Yesu tannaba kuba mu lubuto lwa nnyina.

22 (L)Awo ekiseera bwe kyatuuka Maliyamu okugenda mu Yeekaalu atukuzibwe, ng’amateeka ga Musa bwe galagira ne batwala Yesu e Yerusaalemi okumuwaayo eri Mukama. 23 (M)Kubanga mu mateeka ago, Katonda yalagira nti, “Omwana omubereberye bw’anaabanga omulenzi, anaaweebwangayo eri Mukama.” 24 (N)Era mu kiseera kye kimu bakadde ba Yesu ne bawaayo ssaddaaka amateeka nga bwe galagira okuwaayo amayiba abiri oba enjiibwa bbiri.

25 (O)Ku lunaku olwo, waaliwo omusajja erinnya lye Simyoni, eyabeeranga mu Yerusaalemi, nga mutuukirivu, ng’atya Katonda, era ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, ng’alindirira okusanyusibwa kwa Isirayiri. 26 Kubanga yali abikkuliddwa Mwoyo Mutukuvu nti tagenda kufa nga tannalaba ku Kristo, Omulokozi. 27 (P)Mwoyo Mutukuvu n’amuluŋŋamya okujja mu Yeekaalu. Maliyamu ne Yusufu bwe baaleeta Omwana Yesu okumuwaayo eri Mukama ng’amateeka bwe galagira, ne Simyoni naye yaliwo. 28 Simyoni n’ajja n’asitula Omwana mu mikono gye, n’atendereza Katonda ng’agamba nti,

29 (Q)“Mukama wange, kaakano osiibule omuweereza wo mirembe,
    ng’ekigambo kyo bwe kigamba.
30 (R)Kubanga amaaso gange galabye Obulokozi bwo,
31     bwe wateekateeka mu maaso g’abantu bonna,
32 (S)okuba Omusana ogw’okwakira amawanga.
    N’okuleetera abantu bo Abayisirayiri ekitiibwa!”

33 Kitaawe w’omwana ne nnyina ne beewuunya ebigambo ebyayogerwa ku Yesu. 34 (T)Awo Simyoni n’abasabira omukisa. N’alyoka n’agamba Maliyamu nti, “Omwana ono bangi mu Isirayiri tebagenda kumukkiriza, era alireetera bangi okugwa n’abalala ne bayimusibwa. 35 Era naawe ennaku eri ng’ekitala erikufumita omutima, n’ebirowoozo by’omu mitima gy’abantu birimanyibwa.”

36 (U)Waaliwo nnabbi omukazi, ayitibwa Ana, muwala wa Fanweri, ow’omu kika kya Aseri, era nga mukadde nnyo, eyafumbirwa nga muwala muto n’amala ne bba emyaka musanvu gyokka, bba n’afa, 37 (V)n’asigala nga nnamwandu. Mu kiseera kino yali yaakamala emyaka kinaana mu ena, era teyavanga mu Yeekaalu ng’asiiba n’okwegayiriranga Katonda emisana n’ekiro. 38 (W)Awo Ana mu kiseera ekyo yali ayimiridde okumpi ne Maliyamu ne Yusufu, naye n’atandika okutendereza Katonda ng’amwogerako eri abo bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi.

39 (X)Awo bakadde ba Yesu bwe baamala okutuukiriza byonna ng’amateeka ga Mukama bwe galagira, ne baddayo e Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya. 40 (Y)Omwana n’akula, n’aba w’amaanyi, n’ajjuzibwa amagezi n’ekisa kya Katonda kyali ku ye.

41 (Z)Bakadde ba Yesu buli mwaka bagendanga mu Yerusaalemi ku Mbaga y’Okuyitako. 42 Awo Yesu bwe yaweza emyaka kkumi n’ebiri egy’obukulu n’ayambuka e Yerusaalemi ne bakadde be ku mbaga, nga empisa yaabwe bwe yali. 43 Awo embaga ng’ewedde, ne bakyusa okuddayo ewaabwe, naye omulenzi Yesu n’asigala mu Yerusaalemi, naye bazadde be ne batakimanya. 44 Kubanga baalowooza nti ali ne bannaabwe mu kibiina ekirala, ekiro ekyo bwe bataamulaba, ne bamunoonya mu kibiina omwali baganda baabwe ne mikwano gyabwe. 45 Bwe bataamulaba kwe kuddayo e Yerusaalemi nga bamunoonya. 46 Awo nga baakamunoonyeza ennaku ssatu, ne bamusanga ng’atudde mu Yeekaalu n’abannyonnyozi b’amateeka ng’abawuliriza awamu n’okubabuuza ebibuuzo. 47 (AA)Bonna abaali bamuwuliriza ne beewuunya nnyo olw’amagezi ge n’okuddamu kwe. 48 (AB)Awo bazadde be bwe baamulaba ne beewuunya nnyo, nnyina n’amugamba nti, “Mwana waffe otukoze ki kino? Kitaawo nange tweraliikiridde nnyo nga tukunoonya!”

49 (AC)Yesu n’abaddamu nti, “Mubadde munnoonyeza ki? Temwategedde nga kiŋŋwanidde okukola ebintu bya Kitange?” 50 (AD)Naye ne batategeera bigambo ebyo bye yabagamba.

51 (AE)N’asituka n’agenda nabo e Nazaaleesi, n’abagonderanga; kyokka nnyina ebigambo ebyo byonna n’abikuuma mu mutima gwe. 52 (AF)Awo Yesu n’akula mu mubiri, mu magezi, era n’alaba ekisa mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu.

Yobu 15

Erifaazi Ayogera

15 Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,

(A)“Omuntu ow’amagezi yandizzeemu n’amagezi agataliimu,
    oba n’ajjuza olubuto lwe embuyaga ez’ebuvanjuba?
Yandiwakanye n’ebigambo ebitaliiko kye bigasa,
    oba okwogera ebigambo ebitalina kye bikola?
Naye onyooma Katonda
    n’oziyiza okwewaayo eri Katonda.
(B)Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko,
    era olonzeewo okukozesa olulimi lw’abalimba.
(C)Akamwa ko kennyini ke kakusalira omusango si nze,
    emimwa gyo gyennyini gye gikulumiriza.

(D)“Gwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa?
    Oba ggwe wazaalibwa ensozi nga tezinnabaawo?
(E)Ofaayo okuwuliriza okuteesa kwa Katonda?
    Olowooza gwe mugezi wekka?
(F)Kiki ky’omanyi kye tutamanyi?
    Kubikkulirwa ki kw’olina ffe kwe tutalina?
10 (G)Ab’envi abakaddiye bali ku ludda lwaffe,
    abasajja abakulu n’okusinga kitaawo.
11 (H)Katonda by’akugambye ebikuzzaamu amaanyi bitono nnyo tebikumala,
    ebigambo ebikubuuliddwa mu bukkakkamu?
12 (I)Lwaki omutima gwo gukubuzizza,
    amaaso go ne gatemereza
13 n’olyoka ofuka obusungu bwo eri Katonda,
    n’ofukumula ebigambo bwe bityo okuva mu kamwa ko?

14 (J)“Omuntu ye ani, alyoke abeere omutukuvu,
    oba oyo azaalibwa omukazi nti ayinza okuba omutuukirivu?
15 (K)Katonda bw’aba tassa bwesige mu batukuvu be,
    n’eggulu ne liba nga si ttukuvu mu maaso ge,
16 (L)oba oleeta otya omuntu obuntu, omugwagwa era omuvundu,
    anywa obutali butuukirivu nga amazzi!

17 “Mpuliriza nnaakunnyonnyola,
    leka nkubuulire kye ndabye:
18 (M)abasajja ab’amagezi kye bagambye
    nga tebalina kye bakwese ku kye baafuna okuva eri bakadde baabwe
19 abo bokka abaweebwa ensi
    nga tewali mugwira agiyitamu.
20 (N)Omuntu omukozi w’ebibi, aba mu kubonaabona ennaku ze zonna,
    n’anyigirizibwa emyaka gyonna egyamutegekerwa.
21 (O)Amaloboozi agatiisa gajjuza amatu ge;
    byonna bwe biba ng’ebiteredde, abanyazi ne bamulumba.
22 (P)Atya okuva mu kizikiza adde,
    ekitala kiba kimulinze okumusala.
23 (Q)Adda eno n’eri ng’anoonya ky’anaalya,
    amanyi ng’olunaku olw’ekizikiza lumutuukiridde.
24 Okweraliikirira n’obubalagaze bimubuutikira,
    bimujjula nga kabaka eyetegekedde olutalo.
25 (R)Kubanga anyeenyerezza Katonda ekikonde,
    ne yeegereegeranya ku oyo Ayinzabyonna,
26 n’agenda n’ekyejo amulumbe,
    n’engabo ennene enzito.

27 (S)“Wadde nga yenna yagejja amaaso
    ng’ajjudde amasavu mu mbiriizi,
28 (T)wakubeera mu bibuga eby’amatongo,
    ne mu bifulukwa,
    ennyumba ezigwa okufuuka ebifunfugu.
29 (U)Taddeyo kugaggawala,
    n’obugagga bwe tebulirwawo,
    n’ebintu by’alina tebirifuna mirandira mu ttaka.
30 (V)Taliwona kizikiza,
    olulimi lw’omuliro lunaakazanga amatabi ge,
    era omukka gw’omu kamwa gulimugobera wala.
31 (W)Alemenga okwerimba nga yeesiga ebitaliimu,
    kubanga talina ky’ajja kuganyulwa.
32 (X)Wa kusasulwa byonna ng’obudde tebunnatuuka,
    n’amatabi ge tegalikula.
33 (Y)Aliba ng’omuzabbibu ogugiddwako emizabbibu egitannaba kwengera,
    ng’omuzeyituuni ogukunkumula ebikoola byagwo.
34 (Z)Kubanga ekibiina ky’abatatya Katonda kinaabeeranga kigumba,
    era omuliro gunaayokyanga weema ezinaabangamu enguzi.
35 (AA)Baba embuto ez’ekibi ne bazaala obutali butuukirivu,
    embuto zaabwe zizaala obulimba.”

1 Abakkolinso 3

Okwawukana mu Kkanisa

(A)Nange abooluganda ssaasobola kwogera nammwe ng’ab’omwoyo, naye nayogera nammwe ng’ab’omubiri era ng’abaana abawere mu Kristo. (B)Nabanywesa mata so si mmere enkalubo, kubanga mwali temunnagisobola. Naye era ne kaakano temunnagisobola, (C)kubanga mukyafugibwa mubiri. Naye obanga mukyalimu obuggya n’ennyombo, temufugibwa mubiri era temutambula ng’abalina empisa z’abantu obuntu? (D)Kubanga omuntu yenna bw’agamba nti, “Nze ndi wa Pawulo,” n’omulala nti, “Nze ndi wa Apolo,” olwo temuba ng’abantu obuntu?

Kale Apolo ye ani? Ne Pawulo ye ani? Baweereza buweereza ababakkirizisa, nga Mukama bwe yawa buli omu. (E)Nze nasiga, Apolo n’afukirira, kyokka Katonda ye yakuza. Kale bwe kityo oyo asiga n’oyo afukirira si be bakulu wabula Katonda akuza. (F)Oyo asiga kaakano n’oyo afukirira bali bumu, era buli omu aliweebwa empeera ye okusinziira ku mulimu gw’aliba akoze. (G)Kubanga ffe tuli bakozi abakolera awamu ne Katonda, ate mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.

10 (H)Okusinziira ku kisa kya Katonda ekya mpeebwa, ng’omuzimbi ow’amagezi, nazimba omusingi, kaakano omulala aguzimbako. Naye buli aguzimbako yeegenderezenga bw’aguzimbako. 11 (I)Kubanga tewali n’omu ayinza kuteekawo musingi mulala okuggyako ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo. 12 Naye Omuntu bw’aguzimbisaako ezaabu, effeeza, n’amayinja ag’omuwendo n’emiti, n’essubi, oba ebisasiro; 13 (J)omulimu gwa buli omu gulirabibwa, kubanga omuliro guligwolesa ku lunaku olwo, era omuliro ogwo gwe gulyoreka omulimu gwa buli omu nga bwe guli. 14 Omuntu kye yazimba ku musingi ogwo bwe kirisigalawo, aliweebwa empeera. 15 (K)Naye omulimu gw’omuntu yenna bwe gulyokebwa omuliro, alifiirwa, kyokka ye yennyini alirokolebwa, naye ng’ayita mu muliro.

16 (L)Temumanyi nti mmwe muli yeekaalu ya Katonda era nga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe? 17 Omuntu yenna azikiriza Yeekaalu ya Katonda, Katonda alizikiriza omuntu oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu, ye mmwe.

18 (M)Omuntu yenna teyeerimbalimbanga; omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino afuukenga musirusiru alyoke abeere omugezi. 19 (N)Kubanga amagezi ag’ensi eno, bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Akwatira abagezi mu nkwe zaabwe.” 20 (O)Era kyawandiikibwa nti, “Mukama amanyi ng’ebirowoozo by’abagezi temuli nsa.” 21 (P)Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu yeenyumiririza mu bantu, kubanga byonna byammwe, 22 (Q)oba Pawulo oba Apolo oba Keefa oba nsi, oba bulamu, oba kufa, oba bintu ebya kaakano, oba ebijja, byonna byammwe, 23 (R)nammwe muli ba Kristo, ne Kristo wa Katonda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.