M’Cheyne Bible Reading Plan
Seba Ajeemera Dawudi
20 (A)Waaliwo omusajja omujeemu erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, Omubenyamini. Yafuuwa ekkondeere n’ayogerera n’eddoboozi ery’omwanguka nti,
“Tetulina mugabo mu Dawudi,
so tetulina busika mu mutabani wa Yese!
Buli muntu adde mu weema ye, ggwe Isirayiri!”
2 Awo abantu ba Isirayiri bonna ne balekulira Dawudi ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli. Naye abantu ba Yuda bo ne basigala ne kabaka waabwe, okuva ku Yoludaani okutuuka e Yerusaalemi. 3 (B)Dawudi bwe yadda mu lubiri lwe e Yerusaalemi, n’addira abakyala be ekkumi be yali alese okulabirira olubiri n’abasibira mu kkomera. N’abagabirira mu byokulya kwabwe, naye n’atebaka nabo. Ne baggalirwa eyo okutuusa lwe baafa, nga bali nga bannamwandu.
4 (C)Awo kabaka n’agamba Amasa nti, “Nkuŋŋaanyiza abasajja ba Yuda mu nnaku ssatu, naawe obeerewo.” 5 Naye Amasa bwe yagenda okukola ky’alagiddwa, n’atwala ekiseera kiwanvu okusinga kabaka kye yali amuwadde. 6 (D)Dawudi n’agamba Abisaayi nti, “Seba mutabani wa Bikuli alitukola akabi okusinga Abusaalomu bwe yakola. Noolwekyo twala abasajja ba mukama wo omugoberere aleme okuddukira mu bibuga ebiriko bbugwe, n’atusimatuka.” 7 (E)Awo abasajja ba Yowaabu, n’Abakeresi, n’Abaperesi, n’abaserikale abazira bonna, ne bava mu Yerusaalemi ne bagenda okunoonya Seba mutabani wa Bikuli nga baduumirwa Abisaayi.
8 (F)Bwe baatuuka ku lwazi olunene mu Gibyoni, Amasa n’ajja okubasisinkana. Yowaabu yali yeesibye ebyambalo bye eby’olutalo, ne mu kiwato nga yeesibye olukoba olwaliko ekitala ekyali mu kiraato kyakyo. Bwe yasituka, ne kisowoka mu kiraato kyakyo ne kigwa wansi.
9 Yowaabu n’alamusa Amasa ng’ayogera nti, “Mirembe, muganda wange?” Yowaabu n’akwata Amasa ekirevu n’omukono gwe ogwa ddyo, n’aba nga agenda okumunywegera. 10 (G)Naye Amasa n’atassaayo mwoyo okwekuuma ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu; Yowaabu n’akimufumita mu lubuto, n’ayiwa ebyenda bye wansi. N’atamufumita lwakubiri, Amasa bw’atyo n’afa. Awo Yowaabu ne muganda we Abisaayi ne beeyongera okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.
11 Omu ku basajja ba Yowaabu n’ayimirira okumpi n’omulambo gwa Amasa n’ayogera nti, “Buli ayagala Yowaabu, era buli ali ku luuyi lwa Dawudi, agoberere Yowaabu.” 12 (H)Omulambo gwa Amasa ne gubeera mu musaayi gwe nga gukulukunyirizibwa omwo wakati mu luguudo. Ne wabaawo omusajja eyalaba nga buli eyatuukanga awali omulambo gwa Amasa ng’ayimirira; omusajja oyo n’agusitula n’aguggya mu luguudo n’agutwala ebbali mu nsiko, n’agusuulako olugoye. 13 Awo omulambo gwa Amasa bwe gwaggyibwa mu kkubo abantu bonna ne beeyongerayo ne Yowaabu okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.
14 (I)Seba n’ayita mu bika byonna ebya Isirayiri ng’abakunga okutuuka mu Aberi eky’e Besumaaka, n’ayita ne mu kitundu kyonna eky’Ababeri ne bakuŋŋaanira gy’ali ne bamugoberera. 15 (J)Eggye lyonna eryali ne Yowaabu, ne bazingiza Seba mu Aberi eky’e Besumaaka. Ne bakola ebifunvu okutuuka ku kibuga n’okwolekera ekigo. Bwe baali nga bakyamenya bbugwe, 16 (K)ne wavaayo omukazi ow’amagezi mu kibuga, n’akoowoola ng’ayogera nti, “Muwulirize. Muwulirize! Mugambe Yowaabu ajje wano, mbeeko kye mmugamba.” 17 Yowaabu n’agenda okumpi ne we yali, omukazi n’amubuuza nti, “Ggwe Yowaabu?”
N’addamu nti, “Nze nzuuyo.”
N’amugamba nti, “Wuliriza omuweereza wo by’anaayogera.”
N’addamu nti, “Mpuliriza.”
18 N’ayongera n’ayogera nti, “Edda baayogeranga nti, ‘Bw’oba ng’olina ky’obuuza genda mu Aberi,’ era ekyo kye ky’amalanga ensonga. 19 (L)Ffe bantu abaagazi b’emirembe era abeesigwa mu Isirayiri. Mwagala okuzikiriza ekibuga, nnyina w’abaana mu Isirayiri. Lwaki oyagala okumira obusika bwa Mukama?”
20 Yowaabu n’addamu nti, “Kikafuuwe, nze okumira ekibuga kino newaakubadde okukizikiriza. 21 (M)Si bwe kiri. Waliwo omusajja erinnya lye ye Seba, mutabani wa Bikuli, ow’omu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, agolodde omukono gwe eri kabaka Dawudi. Bwe munaamuwaayo oyo omu yekka, nange nzija kulekayo okubalumba.”
22 (N)Omukazi n’agamba Yowaabu nti, “Omutwe gwe gunaakasukibwa gy’oli ku bbugwe.” Awo omukazi n’agenda n’ekiteeso kye eri abantu bonna, ne basalako omutwe gwa Seba mutabani wa Bikuli, ne bagusuulira Yowaabu. Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, abasajja be ne bava ku kibuga ne basaasaana, bonna ne baddayo ewaabwe. Yowaabu ye n’addayo eri kabaka mu Yerusaalemi.
23 (O)Yowaabu yali muduumizi wa ggye lya Isirayiri,
ne Benaya mutabani wa Yekoyaada nga y’akulira Abakeresi, n’Abaperesi.
24 (P)Adolaamu ye yakuliranga abapakasi,
Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza.
25 (Q)Seva ye yali omuwandiisi,
Zadooki ne Abiyasaali nga be bakabona,
26 ne Ira Omuyayiri nga ye kabona wa Dawudi.
Okulabula Okusembayo
13 (A)Omulundi guno gwe nzija gye muli gwe gwokusatu. Buli kigambo kirikakasibwa abajulirwa babiri oba basatu nga boogedde. 2 (B)Nabalabula era mbalabula nga bwe nabalabula bwe nnali eyo omulundi ogwokubiri, era ne kaakano nga ssiriiyo, abo abaayonoona edda n’abalala bonna, nti bwe ndikomawo ssirisaasira, 3 (C)nga bwe munoonya okukakasa oba nga njogerera mu Kristo, atali munafu gye muli, wabula ow’amaanyi mu mmwe. 4 (D)Kubanga newaakubadde nga yakomererwa mu bunafu, kyokka mulamu mu maanyi ga Katonda. Naffe tuli banafu mu mibiri gyaffe nga tuli mu ye, naye tuliba balamu mu ye olw’amaanyi ga Katonda olw’omulimu gwe tukola mu mmwe.
5 (E)Mwekebere mulabe obanga muli mu kukkiriza; oba temumanyi nga Yesu Kristo ali mu mmwe? Mpozi nga temukakasibbwa. 6 Naye nsuubira nga mumanyi nti tetuli abataakakasibwa. 7 Kaakano tubasabira eri Katonda obutakola kibi na kimu, si lwa kwagala kulabika nga tusiimibwa, wabula mmwe mukole ebirungi, ffe ne bwe tunaasigala nga tetusiimibbwa. 8 Kubanga tetuyinza kuwakanya mazima, wabula tugawagira buwagizi. 9 (F)Ffe kitusanyusa bwe tuba abanafu, mmwe ne muba ab’amaanyi. Tubasabira mmwe okuzzibwa obuggya. 10 (G)Mbawandiikira kubanga siri nammwe, bwe ndijja nneme kubakambuwalira, okusinziira ku buyinza Mukama bwe yampa okubazimba, so si okubazikiriza.
Okusiibula n’omukisa
11 (H)Ebisigadde abooluganda, mujaguze, muzibwemu amaanyi, mulowooze bumu, mubeere n’emirembe, Katonda ow’okwagala n’emirembe anaabeeranga nammwe.
12 (I)Mulamusagane n’okulamusa okutukuvu.
13 (J)Abatukuvu bonna babalamusizza.
14 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n’okwagala kwa Katonda, n’okussekimu okwa Mwoyo Mutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.
Okukungubagira Ttuulo
27 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 “Kaakano, ggwe omwana w’omuntu tandika okukungubagira Ttuulo. 3 (A)Oyogere eri Ttuulo, ekiri awayingirirwa mu nnyanja, omusuubuzi ow’amawanga ag’oku ttale ery’ennyanja, nti bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ggwe Ttuulo oyogera nti,
“Natuukirira mu bulungi.”
4 Amatwale go gakoma mu nnyanja wakati,
era n’abaakuzimba baakola omulimu ogw’ettendo.
5 (B)Baakola embaawo zo zonna
mu miberosi gya Seniri,
ne baddira emivule egy’e Lebanooni
ne bakolamu omulongooti.
6 (C)Ne bakola enkasi zo okuva mu myera egya Basani,
n’emmanga zo, bazikola mu nzo,
ez’oku bizinga ebya Kittimu,
nga bazaaliiridde n’amasanga.
7 (D)Ettanga lyo lyali lya linena aliko omudalizo eryava mu Misiri,
era lyakozesebwanga ebendera;
n’engoye zo zaali za bbululu n’ez’effulungu
ezaaba ku ttale erya Erisa ekyali ku mabbali g’ennyanja.
8 (E)Abasajja b’e Sidoni ne Aluwadi be baakubanga enkasi,
n’abasajja bo abamanyirivu, ggwe Ttuulo, be baali abalunnyanja.
9 (F)Abasajja abazira ab’e Gebali n’abagezigezi baaberanga mu ggwe,
era ng’omulimu gwabwe kunyweza emiguwa gy’ebyombo;
ebyombo byonna eby’oku nnyanja n’abagoba baabyo bajjanga okusuubula naawe;
nga bagula ebyamaguzi byo.
10 (G)“ ‘Abantu ab’e Buperusi, ne Luudi ne Puuti[a],
baali mu ggye lyo,
era be baawanikanga engabo n’enkuufiira ku bisenge byo
ne bakuwa ekitiibwa.
11 Abasajja ba Aluwadi n’eggye lyabwe
be baakuumanga bbugwe wo enjuuyi zonna;
abasajja b’e Gagammada baabanga mu mirongooti gyo
nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo,
era be baakulabisanga obulungi.
12 (H)“ ‘Talusiisi yakolanga naawe obusuubuzi obw’obugagga obw’engeri zonna bwe walina, baawanyisanga effeeza, n’ebyuma, n’amabaati n’amasasi bafune ebyamaguzi byo.
13 (I)“ ‘Buyonaani, Tubali, ne Meseki be baakusuubulangako, nga muwanyisaganya abaddu n’ebintu eby’ebikomo bafune ebintu byammwe.
14 (J)“ ‘Ab’omu Togaluma baawanyisaganya embalaasi ez’emirimu egya bulijjo, n’embalaasi ez’entalo, n’ennyumbu bafune ebyamaguzi byo.
15 (K)“ ‘Abasajja ab’e Dedani baasuubulanga naawe, era n’abatuuze ab’oku lubalama lw’ennyanja baali katale ko, nga bakusasula n’amasanga n’emitoogo.
16 (L)“ ‘Edomu baakolanga naawe eby’obusuubuzi olw’obungi bw’ebintu byo; era baawanyisanga naawe amayinja aga nnawandagala, n’engoye ez’effulungu, n’emirimu egy’eddalizo, ne linena omulungi ne kolali n’amayinja amatwakaavu bafune ebyamaguzi byo.
17 (M)“ ‘Yuda ne Isirayiri baakolanga naawe eby’obusuubuzi nga bawaanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi n’ebyakaloosa, n’omubisi gw’enjuki, n’amafuta n’envumbo, bafune ebyamaguzi byo.
18 (N)“ ‘Olw’obugagga bwo obungi, n’ebintu byo ebingi, Ddamasiko baasuubulanga naawe wayini ow’e Keruboni, n’ebyoya by’endiga ebyeru eby’e Zakari. 19 Aba Ddaani ne Yovani (Buyonaani) abaavanga e Wuzari baawanyisanga naawe ekyuma ekiyisiddwa mu muliro n’embawo eza kasiya ne kalamo, ne bagula ebyamaguzi byo.
20 “ ‘Dedani yakusuubulangako bulangiti ezakozesebwanga ne mu kwebagala embalaasi.
21 (O)“ ‘Buwalabu n’abalangira bonna ab’e Kedali baakusuubulangako era ne bakugulako abaana b’endiga, n’endiga ennume n’embuzi.
22 (P)“ ‘Abasuubuzi ab’e Seeba ne Laama baakolagananga naawe, nga bakusuubulako ebyakaloosa ebisinga byonna obulungi, n’amayinja gonna ag’omuwendo omungi ne zaabu, bafune ebyamaguzi byammwe.
23 (Q)“ ‘Kalani, ne Kaane ne Adeni n’abasuubuzi ab’e Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe. 24 Mu katale ko baasubulirangamu engoye ennungi, engoye eza bbululu, n’engoye ez’eddalizo, n’ebiwempe ebineekaneeka ebiriko emiguwa emiruke egyalukibwa obulungi.
25 “ ‘Ebyombo eby’e Talusiisi
bye byatambuzanga ebyamaguzi byo.
Era wajjula n’oba n’ebintu bingi
wakati mu nnyanja.
26 (R)Abakubi b’enkasi bakutwala
awali amayengo amangi.
Naye omuyaga ogw’Ebuvanjuba gulikumenyeramenyera
wakati mu nnyanja.
27 (S)Obugagga bwo n’ebyamaguzi byo n’ebikozesebwa byo,
n’abalunnyanja bo,
n’abagoba bo,
n’abasuubuzi bo n’abaserikale bo bonna
na buli muntu ali ku kyombo balibbira
wakati mu nnyanja ku lunaku kw’oligwiira ku kabenje.
28 (T)Eddoboozi ly’okukaaba kw’abalunnyanja bo,
kulikankanya ebyalo ebiri ku lubalama lw’ennyanja.
29 Abakubi b’enkasi bonna
balyabulira ebyombo byabwe;
n’abagoba n’abalunnyanja bonna
baliyimirira ku lubalama lw’ennyanja.
30 (U)Baliyimusa amaloboozi gaabwe
ne bakukaabira nnyo;
era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe
ne beevulunga mu vvu.
31 (V)Balikumwera emitwe gyabwe,
era Balyambala ebibukutu.
Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde
nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike.
32 (W)Balikukungubagira nga bwe bakuba ebiwoobe
nga boogera nti,
Ani eyali asirisibbwa nga Ttuulo
eyeetooloddwa ennyanja?
33 (X)Bwe waweerezanga ebyamaguzi byo ku nnyanja,
amawanga mangi gamalibwanga;
era ne bakabaka b’ensi
baagaggawazibwa eby’obugagga bwo ebingi n’ebyamaguzi byo.
34 (Y)Kaakano ennyanja ekumazeewo,
mu buziba bw’amazzi;
ebyamaguzi byo n’ab’omu kyombo kyo
bonna babbidde naawe.
35 (Z)Abantu bonna ab’oku lubalama lw’ennyanja
bafunye ensisi,
era ne bakabaka baabwe bajjudde entiisa
tebafaananika mu maaso olw’entiisa.
36 (AA)Abasuubuzi ab’omu mawanga bakufuuyira empa;
otuuse ku nkomerero embi,
so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.
75 (A)Tukwebaza, Ayi Katonda.
Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.
Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.
2 Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera
era nsala omusango gwa bwenkanya.
3 (B)Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,
naye nze nywezezza empagi zaayo.”
4 (C)Nalabula ab’amalala bagaleke,
n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
5 Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu
n’okwogera nga muduula.
6 Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu
era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
7 (D)wabula biva eri Katonda;
era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
8 (E)Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi
ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.
9 (F)Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama;
nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.
10 (G)Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi,
naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.
76 Katonda amanyiddwa mu Yuda;
erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
2 (H)Eweema ye eri mu Yerusaalemi;
era abeera mu Sayuuni.
3 (I)Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza;
n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.
4 Owa ekitangaala,
oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
5 (J)Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa,
beebaka ne batasobola kugolokoka,
ne watabaawo n’omu asobola
okuyimusa omukono gwe.
6 (K)Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo,
abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.
7 (L)Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.
Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
8 (M)Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu,
ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
9 (N)bw’ogolokoka okusala omusango,
okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10 (O)Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa,
n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
11 (P)Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga;
bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo,
kubanga asaanidde okutiibwa.
12 Mukama akkakkanya abalangira,
ne bakabaka b’ensi bamutya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.