Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 37

Essanduuko ey’Endagaano Ekolebwa

37 (A)Awo Bezaaleeri n’akola Essanduuko mu muti gwa akasiya; ng’obuwanvu bwayo mita emu ne desimoolo emu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu, n’obugulumivu nabwo sentimita nkaaga mu musanvu. (B)N’agibikkako zaabu omuka ennyo kungulu ne munda, era n’agyetoolooza omuge ogwa zaabu. N’agiweeseza empeta nnya eza zaabu, n’azisiba ku magulu gaayo ana, ng’empeta ebbiri ziri ku ludda lwayo olumu n’endala ebbiri ku ludda lwayo olulala. N’abajja emisituliro mu muti ogwa akasiya, n’agibikkako zaabu, n’agisonseka mu mpeta ziri okusituzanga essanduuko.

(C)N’akolerako ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira nga kya zaabu omuka ennyo; obuwanvu bwakyo bwali mita emu ne desimoolo emu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu. (D)N’akolerako ne bakerubi babiri mu zaabu omuweese ku njuyi ebbiri ez’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira. Kerubi omu yamuteeka ku ludda lumu olw’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, ne kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga bakerubi bombi beekutte wamu n’ekisaanikirako, ye ntebe ey’okusaasira. (E)Ebiwaawaatiro bya bakerubi yabikola nga bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikirizza ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira. Bakerubi ne batunulagana nga boolekedde ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira.

Emmeeza Ekolebwa

10 (F)N’akola n’emmeeza mu muti gwa akasiya, obuwanvu bwayo sentimita kyenda, n’obugazi sentimita amakumi ana mu ttaano, n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu. 11 (G)N’agibikkako zaabu omuka ennyo, era n’agyetoolooza omuge ogwa zaabu. 12 N’agikolerako olukugiro oluweza sentimita musanvu ne desimoolo ttaano obugazi, n’omuge ogwa zaabu okwebungulula olukugiro olwo. 13 N’aweesa empeta nnya eza zaabu, n’azisiba mu nsonda ennya awali amagulu gaayo ana. 14 (H)Empeta ezo yazissa kumpi n’olukugiro ziyisibwemu emisituliro gy’emmeeza. 15 N’akola emisituliro gy’emmeeza mu muti gwa akasiya, n’agibikkako zaabu. 16 N’akola mu zaabu omuka, ebikozesebwa eby’okubeeranga ku mmeeza: essowaani zaako, n’ebijiiko byako, n’ebibya eby’okufukanga ebiweebwayo eby’okunywa.

Ekikondo ky’Ettaala

17 (I)Yakola ekikondo ky’ettaala nga kya zaabu omuka. Yakiweesezaako entobo yaakyo n’enduli, n’ebikopo ebifaanana ng’ebimuli, amatabi n’emitunsi n’ebimuli byako; byonna yabiweesa mu kyuma kya zaabu kimu bulambalamba. 18 Kwaliko amatabi mukaaga agafaanana ng’omutuula emisubbaawa; amatabi asatu nga gali ku ludda lumu n’amalala asatu nga gali ku ludda olulala. 19 Ku ttabi erimu kwaliko ebikopo bisatu nga bikoleddwa ng’ebimuli by’alumondi n’emitunsi n’ebimuli, ate bisatu ne bibeera ku ttabi eddala, n’ebirala bisatu ne bibeera ku buli limu ku matabi amalala okutuusa amatabi omukaaga gonna agava ku kikondo ky’ettaala lwe gaabuna. 20 Ku kikondo ky’ettaala kwennyini kwaliko ebikopo bina ebyakolebwa ng’ebimuli by’alumondi n’emitunsi gyabyo n’ebimuli byako. 21 Omutunsi ogumu gwali wansi w’amatabi abiri agava ku kikondo ky’ettaala, n’omuntunsi ogwokubiri ne gubeera wansi w’amatabi abiri agaddirira, n’omutunsi ogwokusatu ne gubeera wansi w’amatabi abiri agaddako, amatabi gonna omukaaga ne gabuna. 22 (J)Emitunsi n’amatabi gaako yabikola bumu n’ekikondo ky’ettaala mu zaabu omuweese omuka nga biri wamu.

23 (K)Ekikondo ky’ettaala n’akikolera ettaala musanvu, ne makansi ezikomola entambi, n’essowaani ez’okussaako ebisirinza, nga byonna abikoze mu zaabu omuka. 24 Ekikondo ky’ettaala ne byonna ebigenderako yabikola mu zaabu omuka eyaweza obuzito bwa kilo amakumi asatu mu nnya.

Ekyoto eky’Okwoterezangako Obubaane

25 (L)Yakola ekyoto, mu miti gy’akasiya, okwoterezangako obubaane, nga kyenkanankana sentimita amakumi ana mu ttaano buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi; n’obugulumivu bwa sentimita kyenda; n’amayembe gaakyo nga gali mu muti gumu nakyo. 26 Ekyoto yakisiigako zaabu omuka kyonna, waggulu ne mu mbiriizi ne ku mayembe, n’akolerako omuge ogwa zaabu okukyebungulula. 27 (M)Wansi w’omuge mu mbiriizi z’ekyoto zombi, yakolerako empeta bbiri eza zaabu, okuyisangamu emisituliro gyakyo nga wabaddewo gye kitwalibwa. 28 (N)Emisituliro yagikola mu muti gwa akasiya, n’agisiigako zaabu.

29 (O)N’atabula amafuta amatukuvu ag’okwawula, n’ateekateeka obubaane obulongosebbwa ennyo, ng’abutabudde bulungi ng’omukugu mu byakaloosa bwe yandikoze.

Yokaana 16

16 (A)“Ebyo mbibategeezezza muleme kwesittala. Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro, era ekiseera kijja buli anaabattanga n’alowooza nti aweereza Katonda. Ebyo balibibakola kubanga Kitange tebaamumanya, era nange tebammanyi. Kale bino mbibabuulidde nga tebinnabaawo, ekiseera bwe kirituuka ne bibaawo mulyoke mujjukire nti nabagamba. Ebyo saabibategeerezaawo ku lubereberye kubanga nnali nkyali nammwe. (B)Kaakano ŋŋenda eri eyantuma. Naye tewali n’omu ku mmwe ambuuza nti, ‘Ogenda wa?’ Naye kubanga mbategeezezza ebyo emitima gyammwe gijjudde ennaku. (C)Naye mbategeereza ddala nti ekisinga obulungi gye muli Nze kwe kugenda. Kubanga bwe sigenda Omubeezi tagenda kujja, kyokka bwe ŋŋenda, ndimutuma gye muli. Ye bw’alijja, alirumiriza ensi olw’ekibi, n’olw’obutuukirivu n’olw’omusango, (D)kubanga tebanzikkiriza, 10 (E)olw’obutuukirivu kubanga ŋŋenda eri Kitange era temukyandaba, 11 (F)n’olw’omusango, kubanga omufuzi w’ensi eno asaliddwa omusango.

12 (G)“Nkyalina bingi eby’okubategeeza naye kaakano temusobola kubitegeera. 13 (H)Naye Omwoyo ow’amazima, bw’alijja alibaluŋŋamya mu mazima gonna, kubanga, taliyogera ku bubwe, wabula anaabategeezanga ebyo by’awulira. Anaababuuliranga ebigenda okubaawo. 14 Oyo agenda kungulumiza, kubanga agenda kubategeeza bye nnaamubuuliranga. 15 (I)Byonna Kitange by’alina byange, kyenvudde ŋŋamba nti Mwoyo Mutukuvu anaabategeezanga bye nnaamubuuliranga. 16 (J)Mu bbanga ttono munaaba temukyandaba, ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba!”

17 (K)Abamu ku bayigirizwa be ne beebuzaganya nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Mu bbanga ttono temuliddayo kundaba, ate mu bbanga ttono munandaba,’ era nti, ‘Kubanga ŋŋenda eri Kitange?’ ” 18 Ne beeyongera okwebuuza nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Ebbanga ttono?’ Tetutegeera ky’agamba.”

19 Yesu bwe yamanya nga baagala okumubuuza n’abagamba nti, “Mwebuuzaganya ku kye ŋŋambye nti mu bbanga ttono munaaba temukyandaba ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba? 20 (L)Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, naye ensi yo erisanyuka. Mmwe mulinakuwala naye okunakuwala kwammwe kulifuuka essanyu eritagambika bwe mulindabako nate. 21 (M)Omukazi ng’azaala aba mu bulumi buyitirivu, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bw’amala okuzaalibwa olwo omukazi aba takyajjukira bulumi buli olw’essanyu ery’okuzaala omuntu mu nsi. 22 (N)Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndiddamu okubalaba ne musanyuka, era essanyu lyammwe tewali n’omu aliribaggyako. 23 (O)Mu kiseera ekyo nga temukyansaba kintu na kimu, mmwe bennyini munaasabanga Kitange mu linnya lyange. 24 (P)Kino mubadde temukikola, naye kaakano mukitandike. Musabe mu linnya lyange, mujja kuweebwa ekyo kye musaba, essanyu lyammwe liryoke lituukirire. 25 (Q)Ebyo mbibabuulidde mu ngero. Naye ekiseera kijja kutuuka nneme kwogera nammwe mu ngero, wabula mbabuulire lwatu ebifa ku Kitange. 26 (R)Mu kiseera ekyo mulisaba mu linnya lyange, so si Nze okubasabira eri Kitange. 27 (S)Kitange abaagala nnyo kubanga nammwe munjagala nnyo era mukkiriza nti nava eri Katonda. 28 (T)Nava eri Kitange ne nzija mu nsi era nzija kuva mu nsi nzireyo eri Kitange.”

29 (U)Awo abayigirizwa be ne bamugamba nti, “Kaakano oyogera lwatu, so si mu ngero. 30 Kaakano tutegedde ng’omanyi byonna, era nga tewali kyetaagisa kukubuuza. Kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.”

31 Yesu n’abaddamu nti, “Kaakano mukkirizza? 32 (V)Laba, ekiseera kijja, era kituuse mwenna lwe munaasaasaana buli omu n’addayo ku bibye, ne mundeka nzekka. Kyokka sijja kuba nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange.

33 (W)“Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube n’emirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi.”

Engero 13

Ensibuko y’Obugagga Obungi

13 (A)Omwana omugezi assaayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawe,
    naye omunyoomi tafaayo ku kunenyezebwa.

(B)Omuntu asanyuka olw’ebirungi ebiva mu bibala bya kamwa ke,
    naye atali mwesigwa yeegomba kuleeta ntalo.

(C)Oyo eyeegendereza by’ayogera akuuma obulamu bwe,
    naye oyo amala googera, alizikirira.

Omuntu omugayaavu yeegomba kyokka n’atabaako ky’afuna,
    naye omunyiikivu byayagala byonna abifuna.

Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba,
    naye omukozi w’ebibi yeereetera kunyoomebwa.

(D)Obutuukirivu bukuuma omuntu omwesimbu,
    naye okukola ebibi kuzikiriza omwonoonyi.

(E)Omuntu omu ayinza okwefuula omugagga ate nga taliiko ky’alina,
    ate omulala ne yeefuula okuba omwavu so nga mugagga nnyo.

Obugagga bw’omuntu buyinza okumununula,
    naye omwavu talina ky’atya.

(F)Ekitangaala ky’abatuukirivu kyaka nnyo,
    naye ettaala y’abakozi b’ebibi ezikira.

10 Amalala gazaala buzaazi nnyombo,
    naye amagezi gasangibwa mu abo abakkiriza okulabulwa.

11 (G)Ensimbi enkumpanye ziggwaawo,
    naye ezijja empolampola zeeyongera obungi.

12 Essuubi erirwawo okutuukirira lirwaza omutima,
    naye ekyegombebwa bwe kituukirira kiba muti gwa bulamu.

13 (H)Omuntu anyooma ebiragiro aligwa mu mitawaana,
    naye oyo awuliriza ebimulagirwa aliweebwa empeera.

14 (I)Okuyigiriza kw’omuntu alina amagezi nsulo ya bulamu,
    era kuggya omuntu mu mitego gy’okufa.

15 Okutegeera okulungi kuleeta okuganja,
    naye ekkubo ly’abateesigibwa liba zzibu.

16 (J)Omuntu omwegendereza akola amaze kulowooza,
    naye omusirusiru alaga obutamanya bwe.

17 (K)Omubaka omubi yeesuula mu mitawaana,
    naye omubaka omwesigwa aleeta kuwonyezebwa.

18 (L)Anyooma okukangavvulwa yeereetako obwavu n’obuswavu,
    naye oyo assaayo omwoyo ku kunenyezebwa aweebwa ekitiibwa.

19 Ekyegombebwa bwe kituukirira kisanyusa omutima,
    naye okulekayo okukola ebibi kya muzizo eri abasirusiru.

20 (M)Oyo atambula n’abantu abagezi ageziwala,
    naye oyo atambula n’abasirusiru alaba ennaku.

21 (N)Emitawaana gigoberera aboonoonyi,
    naye okukulaakulana y’empeera y’abatuukirivu.

22 (O)Omuntu omulungi alekera bazzukulu be ebyobusika,
    naye obugagga bw’omwonoonyi buterekerwa omutuukirivu.

23 Ennimiro z’abaavu ziyinza okuvaamu emmere nnyingi,
    naye obutali bwenkanya ne bugyera yonna.

24 (P)Atakozesa kaggo akyawa omwana we,
    naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula.

25 (Q)Omutuukirivu alya emmere ye n’akkuta,
    naye abakozi b’ebibi basigala nga bayala.

Abaefeso 6

Abazadde n’abaana baabwe

(A)Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: (B)Bw’onoobanga obulungi, era n’owangaala ku nsi. (C)Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.

Abaddu ne bakama baabwe

(D)Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu mubiri nga mubatya era nga mubawa ekitiibwa ng’omutima gwammwe mumalirivu, nga bwe mwamalirira mu Kristo. Ekyo temukikola lwa kulabibwa, abantu balyoke babasiime, wabula mukolenga ng’abaddu ba Kristo nga mukola n’omutima gwammwe gwonna, nga Katonda bw’ayagala. (E)Muweerezenga n’omutima omulungi ng’abakolera Mukama waffe so si ng’abakolera abantu, (F)nga mumanyi ng’ekirungi kyonna omuntu ky’akola, oba muddu oba wa ddembe, Mukama alimusasula empeera ennungi. (G)Era nammwe bakama b’abaddu, muyisenga bulungi abaddu bammwe nga temubatiisatiisa, nga mumanyi nti Mukama waabwe, ye Mukama wammwe, ali mu ggulu era ye tasosola mu bantu.

Ebyokulwanyisa bya Katonda

10 (H)Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge. 11 (I)Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani. 12 (J)Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu. 13 Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu. 14 (K)Muyimirire nga muli banywevu, ng’amazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng’obutuukirivu kye ky’omu kifuba, 15 (L)nga mwambadde n’engatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri ey’emirembe. 16 (M)Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obulasibwa omubi. 17 (N)Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, n’ekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala eky’Omwoyo, 18 (O)nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda.

19 (P)Era nange munsabirenga bwe nnaabanga njogera mpeebwe eby’okwogera, era mbyogerenga n’obuvumu nga ntegeeza abantu ekyama ky’Enjiri. 20 Ndi mubaka wa Njiri ali mu njegere. Munsabire ndyoke ngibuulire abantu n’obuvumu nga bwe kinsaanira.

21 (Q)Tukiko, owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe, alibategeeza byonna mulyoke mutegeere ebinfaako ne bye nkola. 22 (R)Mmutumye gye muli, mulyoke mumanye nga bwe tuli era abagumye emitima gyammwe.

23 (S)Emirembe n’okwagala awamu n’okukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga n’abooluganda.

24 Ekisa kya Katonda kibeerenga n’abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo n’okwagala okutaggwaawo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.