Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 25

Ebiweebwayo mu Weema Entukuvu

25 Mukama n’ayogera ne Musa nti, (A)“Gamba abaana ba Isirayiri bandeetere ekiweebwayo. Buli muntu aleete ekiweebwayo ng’okuteesa kw’omutima gwe bwe kuli, okimunzijireko.

“Bino bye biweebwayo bye banaakukwasa:

“zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo;

n’olugoye olwa bbululu, n’olwa kakobe, n’olumyufu, n’olugoye olwa linena erangiddwa mu wuzi ennungi;

n’obwoya bw’embuzi,

n’amaliba g’endiga ennume amakunye amannyike mu langi emyufu, n’ekika ky’eddiba ekirala ekiwangaazi;

n’embaawo z’omuti gwa akasiya;

(B)n’amafuta g’ettaala;

n’ebyakaloosa eby’okukozesa mu mafuta ag’okwawula, ne mu bubaane obw’okunyookeza;

(C)n’amayinja aga onuku n’amayinja amalala ag’omuwendo, ag’okutona ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, era ne ku kyomukifuba.

(D)“Bankolere ekifo ekitukuvu ndyoke mbeerenga wakati mu bo. (E)Mukole Eweema ya Mukama eyo entukuvu n’ebigibeeramu byonna nga bwe nnaabalagirira.

Essanduuko

10 (F)“Bakole essanduuko mu muti gwa akasiya, obuwanvu mita emu ne sentimita kkumi na ssatu, obugazi sentimita nkaaga mu musanvu n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu. 11 Ogiteekeko zaabu omuka ennyo munda ne kungulu, era ogyetoolooze omuge ogwa zaabu. 12 Ogiweeseze empeta nnya eza zaabu ozisibe ku magulu gaayo ana, ng’empeta ebbiri ziri ku ludda olumu, n’endala ebbiri ku ludda lwayo olulala. 13 Obajje emisituliro mu muti ogwa akasiya, ogibikkeko zaabu. 14 Ogisonseke mu mpeta eziri ku ssanduuko, okusituzanga essanduuko. 15 (G)Emisituliro egyo ginaalekebwanga mu mpeta ze ssanduuko, si zaakuggyangamu. 16 (H)Mu ssanduuko omwo mw’onossa Amateeka ge nnaakuwa.

17 (I)“Okolereko ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, nga kya zaabu omuka ennyo; obuwanvu bwakyo sentimita nkaaga mu musanvu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu. 18 Era okolereko ebifaananyi bya bakerubi babiri mu zaabu empeese, ku njuyi ebbiri ez’ekisaanikira. 19 Oteeke ekifaananyi kya kerubi omu ku ludda lumu olw’ekisaanikira, n’ekifaananyi kya kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga ebifaananyi bya bakerubi byombi byekutte wamu n’ekisaanikira. 20 (J)Ebiwaawaatiro bya bakerubi bibe bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikiriza ekisaanikira. Bakerubi batunulagane nga boolekedde ekisaanikira. 21 (K)Ekisaanikira onookissa kungulu ku Ssanduuko; ekiwandiiko eky’Endagaano ey’Amateeka kye nnaakuwa, okisse munda mu Ssanduuko. 22 (L)Awo waggulu w’ekisaanikira, mu bakerubi bombi abali ku Ssanduuko ey’Endagaano, we nzija okukusisinkana ndyoke nkuwe ebiragiro byange byonna bye nkoledde abaana ba Isirayiri.

Emmeeza

23 (M)“Okole emmeeza mu muti gwa akasiya, obuwanvu bwayo sentimita kyenda, obugazi sentimita amakumi ana mu ttaano, n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu. 24 Ogibikkeko zaabu omuka ennyo; era ogyetoolooze ne zaabu omuge gwonna. 25 Era ogyetoolooze olukugiro oluweza sentimita musanvu ne desimoolo ttaano obugazi, n’omuge ogwa zaabu okwetooloola olukugiro olwo. 26 Ogikolere empeta nnya eza zaabu, ozisibe mu nsonda ennya awali amagulu ana. 27 Empeta zijja kubeera waggulu okumpi n’omuge, emisituliro gy’emmeeza mwe ginaayisibwa. 28 Okole emisituliro mu muti gwa akasiya, ogibikkeko zaabu, egyo emmeeza kw’eneesitulirwanga. 29 (N)Era ogikolere essowaani eza zaabu, n’ebijiiko ebya zaabu, n’ensuwa eza zaabu, n’ebibya ebya zaabu eby’okufukanga ebiweebwayo. 30 (O)Era ku mmeeza eno onossaako Emigaati egy’Okulaga, egy’okubeeranga mu maaso gange bulijjo.

Ekikondo ky’Ettaala

31 (P)“Okole ekikondo ky’ettaala nga kya zaabu omuka. Ekikondo kyonna na bino ebikiriko: entobo yaakyo n’enduli, ebikopo ebifaanana ng’ebimuli, amatabi n’emitunsi n’ebimuli byako, byonna byakuweesebwa mu kyuma kya zaabu kimu bulambalamba. 32 Kunaabako amatabi mukaaga omutuula emisubbaawa: amatabi asatu nga gali ku ludda lumu, n’amalala asatu nga gali ku ludda olulala. 33 Ku matabi gonna omukaaga agava ku kikondo ky’ettaala, kubeeko ku buli ttabi, ebikopo bisatu ebikole ng’ebimuli by’alumondi; mu buli kikopo nga mulimu omutunsi n’ekimuli. 34 Ku kikondo ky’ettaala kyennnyini kubeeko ebikopo bina ebifaanana ebimuli by’alumondi nga mulimu emitunsi n’ebimuli. 35 Omutunsi gumu gujja kuba wansi w’amatabi abiri agava ku kikondo, n’omutunsi ogwokubiri gubeere wansi w’amatabi abiri amalala, n’omutunsi ogwokusatu gubeere wansi w’amatabi abiri amalala; amatabi gonna omukaaga ne gaggwaayo. 36 Emitunsi n’amatabi biweesebwe mu kyuma kya zaabu omwereere, nga kiri bulambalamba n’ekikondo ky’ettaala.

37 (Q)“Era ekikondo kikolere ettaala musanvu; ettaala zino nga zaakira mu maaso gaakyo. 38 Makansi ezikomola entambi, n’essowaani ez’okussaako ebisirinza, byonna bikolebwe mu zaabu mwereere. 39 Ojja kwetaaga zaabu omwereere aweza obuzito bwa kilo asatu mu nnya, okukola ekikondo ky’ettaala ne byonna ebigenderako. 40 (R)Weegendereze, byonna obikole ng’ogoberera ekifaananyi kye nkulaze wano ku lusozi.”

Yokaana 4

Yesu n’Omukazi Omusamaliya

(A)Awo Yesu bwe yamanya nti Abafalisaayo bategedde nti abantu bangi bafuuse bayigirizwa be, era ng’abatiza bangi okusinga Yokaana, newaakubadde nga Yesu yennyini teyabatiza wabula abayigirizwa be, be baabatizanga, (B)n’ava e Buyudaaya n’addayo e Ggaliraaya.

Kyali kimugwanira okuyita mu Samaliya. (C)Awo n’atuuka mu kibuga ky’e Samaliya ekiyitibwa Sukali, nga kiri kumpi n’ekibanja Yakobo kye yawa mutabani we Yusufu. Awo we waali oluzzi lwa Yakobo. Yesu yali akooye olw’olugendo lwe yatambula, n’atuula awo ku luzzi. Obudde bwali ng’essaawa mukaaga ez’omu ttuntu.

Awo omukazi Omusamaliya bwe yajja okukima amazzi, Yesu n’amugamba nti, “Mpa ku mazzi nnyweko.” (D)Mu kiseera ekyo abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugulayo ku mmere. (E)Awo omukazi Omusamaliya n’amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamaliya amazzi okunywa?” Kubanga Abayudaaya nga tebakolagana na Basamaliya. 10 (F)Yesu n’amuddamu nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, n’oyo akugamba nti mpa nnywe ku mazzi bw’ali ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”

11 Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, tolina kalobo, n’oluzzi luwanvu nnyo. 12 (G)Ate n’ekirala, ggwe oli mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno ate nga yanywangamu ye n’abaana be n’ensolo ze?”

13 Yesu n’amuddamu nti, “Buli muntu yenna anywa ku mazzi gano ennyonta eriddamu okumuluma. 14 (H)Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”

15 (I)Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, mpa ku mazzi ago, ennyonta eremenga kunnuma era nneme kujjanga wano kukima mazzi.”

16 Yesu n’amugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo.”

17 Omukazi n’amuddamu nti, “Sirina baze!”

Yesu n’amugamba nti, “Oyogedde kituufu nti tolina balo. 18 Kubanga walina babalo bataano, naye oyo gw’olina kaakano si balo. Ekyo oyogedde mazima.”

19 (J)Omukazi n’agamba Yesu nti, “Ssebo, ndaba ng’oli nnabbi. 20 (K)Ku lusozi luno bajjajjaffe kwe baasinzizanga. Naye mmwe mugamba nti, Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.”

21 (L)Yesu n’amugamba nti, “Mukazi wattu nzikiriza, kubanga ekiseera kijja kye mutalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi. 22 (M)Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya. 23 (N)Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era n’abo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima. 24 (O)Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.” 25 (P)Omukazi n’amugamba nti, “Weewaawo, mmanyi nti Masiya, gwe bayita Kristo, ajja. Ye bw’alijja, alitutegeeza ebintu byonna.” 26 (Q)Yesu n’amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”

27 (R)Awo mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bakomawo. Ne beewuunya okulaba ng’ayogera n’omukazi. Kyokka ne watabaawo amubuuza nsonga emwogezezza naye wadde bye babadde boogerako. 28 Awo omukazi n’aleka awo ensuwa ye n’agenda mu kibuga n’ategeeza abantu nti, 29 (S)“Mujje mulabe omuntu antegeezezza buli kye nnali nkoze. Ayinza okuba nga ye Kristo?” 30 Ne bava mu kibuga ne bajja eri Yesu.

31 (T)Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali beegayirira Yesu alye ku mmere, nga bagamba nti, “Labbi lya ku mmere.” 32 (U)N’abaddamu nti, “Nze nnina ekyokulya mmwe kye mutamanyi.”

33 Awo abayigirizwa ne beebuuzaganya nti, “Waliwo omuntu amuleetedde ekyokulya?” 34 (V)Yesu n’abaddamu nti, “Ekyokulya kyange kwe kukola eyantuma by’ayagala, era n’okutuukiriza omulimu gwe. 35 (W)Mmwe temugamba nti, ‘Ekyasigaddeyo emyezi ena amakungula gatuuke?’ Kale muyimuse amaaso gammwe, mutunuulire ennimiro! Amakungula gatuuse. 36 (X)Akungula asasulwa empeera ye era n’akuŋŋaanyiza ebibala mu bulamu obutaggwaawo, olwo asiga n’akungula balyoke basanyukire wamu. 37 (Y)Bwe kityo ekigambo nti, ‘Omu asiga omulala n’akungula,’ kyekiva kiba eky’amazima. 38 Mbatumye mmwe okukungula kye mutaasiga. Abalala be baasiga naye mmwe mugobolodde.”

Abasamaliya bangi bakkiriza

39 (Z)Abasamaliya bangi ab’omu kibuga abaamukkiririzaamu olw’ebyo omukazi bye yabategeeza, ng’abagamba nti, “Antegeezezza buli kye nnali nkoze!” 40 Awo Abasamaliya bwe bajja eri Yesu ne bamwegayirira yeeyongere okubeera nabo, n’abeera nabo ennaku bbiri. 41 Bangi ne bakkiriza olw’ebyo bye yabategeeza. 42 (AA)Awo ne bagamba omukazi nti, “Tumukkiriza si lwa bigambo byo byokka, naye naffe twewuliridde ebigambo bye. Ddala tutegedde nga ye Mulokozi w’ensi.”

Yesu Awonya Mutabani w’Omukungu

43 (AB)Ennaku ezo ebbiri bwe zaggwaako, Yesu n’ava e Samaliya n’alaga e Ggaliraaya. 44 (AC)Ye yennyini yagamba nti, “Nnabbi taweebwa kitiibwa mu nsi gy’asibuka.” 45 (AD)Awo Abagaliraaya ne bamwaniriza n’essanyu lingi nnyo, kubanga baali bamaze okulaba eby’amagero bye yakolera mu Yerusaalemi bwe baali ku Mbaga ey’Okuyitako.

46 (AE)Yesu n’akomawo mu Kaana eky’e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi wayini. Waaliyo omukungu wa gavumenti ow’e Kaperunawumu eyalina mutabani we nga mulwadde. 47 (AF)Omukungu bwe yawulira nga Yesu avudde e Buyudaaya azze e Ggaliraaya, n’agenda gy’ali n’amusaba agende amuwonyeze mutabani we eyali okumpi n’okufa.

48 (AG)Yesu n’amugamba nti, “Temusobola kunzikiriza nga temulabye ku bubonero na byamagero?”

49 Omukungu n’amugamba nti, “Mukama wange, nkusaba oserengete ojje ng’omwana wange tannafa!”

50 Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda mutabani wo awonye!” Omusajja n’akkiriza Yesu ky’amugambye n’agenda.

51 Naye bwe yali ng’akyali mu kkubo abaddu be ne bamusisinkana ne bamutegeeza nti mutabani we awonye. 52 N’ababuuza ekiseera omulenzi we yassuukidde. Ne bamuddamu nti, “Jjo olw’eggulo essaawa nga musanvu omusujja ne gumuwonako!”

53 (AH)Awo Kitaawe w’omulenzi n’ajjukira nga ky’ekiseera ekyo Yesu we yamugambira nti, “Mutabani wo awonye.” Awo omukungu oyo n’ab’enju ye bonna ne bakkiriza.

54 (AI)Kino kye kyamagero ekyokubiri Yesu kye yakola ng’akomyewo e Ggaliraaya ng’avudde e Buyudaaya.

Engero 1

(A)Engero za Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri.

Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba n’amagezi n’okuyiga,
    era n’okutegeera ebigambo eby’obulabufu; eby’obulamu eby’amagezi n’empisa.
Sulemaani yayagala abantu okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi,
    okukolanga ebituufu, n’okubeera abenkanya n’okugobereranga ensonga;
(B)okuyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu,
    n’abavubuka okufuna okumanya n’okutegeera.
(C)N’abantu ab’amagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyiga
    n’abategeevu beeyongere okubangulwa.
(D)Era engero zino zaawandiikibwa okutegeera engero,
    enjogera n’ebikokyo.

(E)Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
    naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.

Amagezi eri Abavubuka

(F)Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,
    era tolekanga kukuutira kwa maama wo;
(G)bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa,
    n’emikuufu mu bulago bwo.

10 (H)Mwana wange abakozi b’ebibi bwe bakusendasendanga,
    tokkirizanga.
11 (I)Bwe bakugambanga nti, “Tugende ffenna twesanyuse,
    tunyage, tubbe n’okutta;
    tokkirizanga;
12 (J)ng’entaana bw’emira abantu, naffe tubamire tutyo nga bakyali balamu,
    era nga balamba, ng’abagenda mu bunnya obuwanvu;
13 nga twefunira eby’obugagga bye tutakoleredde,
    ne tujjuza amayumba gaffe obugagga obubbe;
14 ng’ababi batuyita tubeegatteko,
    tugabane kyenkanyi ebibbe n’ebinyage.”
15 (K)Mwana wange totambuliranga wamu nabo,
    era ekigere kyo kiziyize okukwatanga ekkubo lyabwe:
16 (L)Kubanga ebigere byabwe bidduka bunnambiro okukola ebibi,
    era kibanguyira okuyiwa omusaayi.
17 Nga kuba kumala biseera okutega omutego,
    ng’ekinyonyi ky’oyagala okukwata kikulaba,
18 naye abantu ng’abo baba beetega bokka,
    baba beetega omutego ogunaabakwasa bo bennyini.
19 (M)Bwe lityo bwe libeera ekkubo lya buli muntu anoonya okugaggawalira mu bukyamu.
    Obugagga obw’engeri eyo busaanyaawo obulamu bw’abo ababufuna.

Okulabula Eri Abanyooma Amagezi

20 (N)Amagezi galeekaanira waggulu mu nguudo;
    gayimusa amaloboozi gaago, mu bifo ebigazi eby’omu bibuga.
21 Ne galeekaanira waggulu, mu kifo enguudo ennene we zisisinkanira,
    era gasinzira mu miryango gy’ekibuga ne googera:

22 (O)Mulituusa ddi mmwe ab’amagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga by’amagezi,
    nammwe ab’amalala okunyoomanga eby’amagezi n’abasirusiru okukyawanga okumanya?
23 Kale singa muwuliriza okunenya kwange,
    laba, ndifuka omutima gwange
    n’ebirowoozo byange mu mmwe.
24 (P)Kubanga na bayita ne mugaana okuwuliriza,
    ne ngolola omukono ne wataba n’omu afaayo,
25 era ne mutafaayo ku magezi ge nabawa,
    era ne mugaana okubuulirira kwange kwonna,
26 (Q)kale nange ndibasekerera nga muli mu nnaku,
    era mbakudaalire ng’entiisa ebagwiridde.
27 Entiisa bw’eribajjira ng’omuyaga omungi,
    ennaku n’okubonaabona, okulumwa n’obubalagaze,
28 (R)kale balinkoowoola, naye siriyitaba;
    balinnoonya obutaweera naye ne batandaba.
29 (S)Kubanga baakyawa okuyigirizibwa, n’okumanya,
    era ne bamalirira obutatya Mukama.
30 (T)Ne bagaana okuwuliriza amagezi gange;
    ne banyooma okunenya kwange kwonna.
31 (U)Kyebaliva balya ebibala eby’ekkubo lyabwe ebbi,
    era ne bajjula ebibala eby’enkwe zaabwe.
32 (V)Obusirusiru bulitta ab’amagezi amatono
    n’obutafaayo bulizikiriza abasirusiru,
33 (W)naye buli ampuliriza anaabeeranga mirembe,
    ng’agumye nga talina kutya kwonna.

2 Abakkolinso 13

Okulabula Okusembayo

13 (A)Omulundi guno gwe nzija gye muli gwe gwokusatu. Buli kigambo kirikakasibwa abajulirwa babiri oba basatu nga boogedde. (B)Nabalabula era mbalabula nga bwe nabalabula bwe nnali eyo omulundi ogwokubiri, era ne kaakano nga ssiriiyo, abo abaayonoona edda n’abalala bonna, nti bwe ndikomawo ssirisaasira, (C)nga bwe munoonya okukakasa oba nga njogerera mu Kristo, atali munafu gye muli, wabula ow’amaanyi mu mmwe. (D)Kubanga newaakubadde nga yakomererwa mu bunafu, kyokka mulamu mu maanyi ga Katonda. Naffe tuli banafu mu mibiri gyaffe nga tuli mu ye, naye tuliba balamu mu ye olw’amaanyi ga Katonda olw’omulimu gwe tukola mu mmwe.

(E)Mwekebere mulabe obanga muli mu kukkiriza; oba temumanyi nga Yesu Kristo ali mu mmwe? Mpozi nga temukakasibbwa. Naye nsuubira nga mumanyi nti tetuli abataakakasibwa. Kaakano tubasabira eri Katonda obutakola kibi na kimu, si lwa kwagala kulabika nga tusiimibwa, wabula mmwe mukole ebirungi, ffe ne bwe tunaasigala nga tetusiimibbwa. Kubanga tetuyinza kuwakanya mazima, wabula tugawagira buwagizi. (F)Ffe kitusanyusa bwe tuba abanafu, mmwe ne muba ab’amaanyi. Tubasabira mmwe okuzzibwa obuggya. 10 (G)Mbawandiikira kubanga siri nammwe, bwe ndijja nneme kubakambuwalira, okusinziira ku buyinza Mukama bwe yampa okubazimba, so si okubazikiriza.

Okusiibula n’omukisa

11 (H)Ebisigadde abooluganda, mujaguze, muzibwemu amaanyi, mulowooze bumu, mubeere n’emirembe, Katonda ow’okwagala n’emirembe anaabeeranga nammwe.

12 (I)Mulamusagane n’okulamusa okutukuvu.

13 (J)Abatukuvu bonna babalamusizza.

14 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n’okwagala kwa Katonda, n’okussekimu okwa Mwoyo Mutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.