Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 24

Isirayiri Akkiriza Endagaano

24 (A)Awo Mukama n’alagira Musa nti, “Mwambuke eno gye ndi, ggwe ne Alooni, ne Nadabu, ne Abiku, n’abakulembeze ba Isirayiri nsanvu. Musinze nga mwesuddeko akabanga, Musa yekka y’anaansemberera; abalala tebasembera. Era abantu tebasaana kujja naye.”

(B)Musa n’ajja n’ategeeza abantu ebigambo byonna Mukama bye yamugamba awamu n’amateeka ge gonna. Abantu bonna ne baddiramu wamu ne bagamba nti, “Ebigambo ebyo byonna Mukama by’agambye tunaabikola.” (C)Bw’atyo Musa n’awandiika ebigambo byonna Mukama bye yayogera.

Awo Musa n’akeera mu makya n’azimba ekyoto awo wansi w’olusozi; n’asimbako n’empagi kkumi na bbiri ng’ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri bwe byali. N’atuma abasajja abavubuka Abayisirayiri, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ne ssaddaaka ey’emirembe ey’ente. (D)Musa n’addira ekitundu ky’omusaayi n’akissa mu mabeseni, n’ekitundu ekirala n’akimansira ku kyoto. (E)N’asitula Ekitabo ky’Endagaano, n’akisomera abantu nga bonna bawulira. Ne bagamba nti, “Ebyo byonna Mukama by’agambye tujja kubikola; era tunaamugonderanga.”

(F)Awo Musa n’addira omusaayi n’agumansira ku bantu, n’agamba nti, “Guno gwe musaayi gw’endagaano Mukama Katonda gye yabalagira okukwata.”

(G)Awo Musa ne Alooni, ne Nadabu, ne Abiku, n’abakulembeze ba Isirayiri ensanvu, ne bambuka; 10 (H)ne balaba Katonda wa Isirayiri. Wansi w’ebigere bye nga waliwo ng’omwaliiro ogw’amayinja ga safiro, agalabika obulungi ng’eggulu eritaliiko bire. 11 (I)Naye Katonda teyakola kabi konna ku bakulembeze ba Isirayiri abo; Katonda baamulaba, ne balya era ne banywa.

12 (J)Mukama n’agamba Musa nti, “Yambuka eno gye ndi ku lusozi, obeere wano olinde; nzija kukuwa ebipande eby’amayinja okuli amateeka g’empandiise ogayigirize abantu.”

13 (K)Awo Musa n’asituka n’omuweereza we Yoswa; Musa n’ayambuka ku lusozi lwa Katonda. 14 N’agamba abakulembeze b’abantu nti, “Mugira mutulindako wano nga naffe bwe tukomawo. Mbalekedde Alooni ne Kuuli; buli anaaba n’ensonga yonna agende gye bali, bajja kugimumalira.”

15 (L)Awo Musa n’alinnyalinnya olusozi, ekire ne kirubikka. 16 (M)Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku Lusozi Sinaayi. Ekire ne kibikka olusozi okumala ennaku mukaaga; ku lunaku olw’omusanvu Mukama n’ayita Musa ng’asinziira wakati mu kire. 17 (N)Abaana ba Isirayiri bwe baatunuulira ekitiibwa kya Mukama, ne kibalabikira ng’omuliro ogw’amaanyi ennyo ku ntikko y’olusozi. 18 (O)Musa n’ayingira mu kire ng’agenda alinnyalinnya olusozi. Ku lusozi yamalako ennaku amakumi ana.

Yokaana 3

Yesu ne Nikodemo

(A)Awo waaliwo omukulembeze w’Abayudaaya erinnya lye Nikodemo, Omufalisaayo, (B)n’ajja eri Yesu ekiro okwogera naye. N’amugamba nti, “Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda kubanga eby’amagero by’okola tewali ayinza kubikola okuggyako nga Katonda ali wamu naye.”

(C)Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.”

Nikodemo n’amuddamu nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw’aba nga muntu mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogwokubiri, n’azaalibwa?”

(D)Yesu kwe kumuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa amazzi n’Omwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. (E)Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, n’ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. Noolwekyo teweewuunya kubanga nkugambye nti kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogwokubiri. Empewo ekuntira gy’eyagala, n’owulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gy’eva newaakubadde gyegenda; bw’atyo bw’abeera omuntu yenna azaalibwa Omwoyo.”

(F)Nikodemo n’amubuuza nti, “Ebyo biyinza bitya okubaawo?”

10 (G)Yesu n’amuddamu nti, “Ggwe omuyigiriza wa Isirayiri, n’otomanya bintu bino? 11 (H)Ddala ddala nkugamba nti twogera kye tumanyi, ne tutegeeza kye twalaba, so temukkiriza bujulirwa bwaffe. 12 Naye obanga temukkiriza bwe mbabuulira eby’ensi, kale munaasobola mutya okukkiriza bwe nnaababuulira eby’omu ggulu? 13 (I)Kubanga tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, okuggyako eyava mu ggulu, ye Mwana w’Omuntu. 14 (J)Era nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n’Omwana w’Omuntu kimugwanira okuwanikibwa, 15 (K)buli amukkiriza alyoke afune obulamu obutaggwaawo.

16 (L)“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. 17 (M)Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye. 18 (N)Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya ly’Omwana oyo omu yekka owa Katonda. 19 (O)Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi. 20 (P)Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa. 21 Naye buli ajja eri omusana akola eby’amazima, ebikolwa bye bimanyibwe nga byakolerwa mu Katonda.”

Yesu ne Yokaana Omubatiza

22 (Q)Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’abayigirizwa be ne bajja mu nsi y’e Buyudaaya, n’abeera eyo nabo, era n’abatiza. 23 Mu kiseera ekyo ne Yokaana yali abatiriza mu Enoni okumpi ne Salimu, kubanga awo waaliwo amazzi mangi, era ng’abantu bangi bajja okubatizibwa, 24 (R)olwo nga tannateekebwa mu kkomera. 25 (S)Ne wabaawo empaka wakati w’abayigirizwa ba Yokaana n’Omuyudaaya ku nsonga ey’okutukuzibwa. 26 (T)Ne bajja eri Yokaana ne bamugamba nti, “Labbi, omuntu oli gwe wali naye emitala w’omugga Yoludaani, gwe wayogerako, laba abatiza era abantu bonna bagenda gy’ali.”

27 Yokaana n’abaddamu nti, “Omuntu tayinza kuba na kintu okuggyako nga kimuweereddwa okuva mu ggulu. 28 (U)Mmwe mwennyini mukimanyi bulungi nga bwe nabagamba nti, ‘Si nze Kristo.’ Nze natumibwa okumukulembera. 29 (V)Nannyini mugole ye awasizza, naye mukwano nnannyini mugole ayimirira ng’amuwulidde, era asanyukira nnyo eddoboozi ly’oyo awasizza. Noolwekyo essanyu lyange lituukiridde. 30 Kimugwanira ye okugulumizibwa naye nze okutoowazibwa.

31 (W)“Oyo ava mu ggulu, yafuga byonna. Ow’omu nsi, aba wa mu nsi, era ayogera bya mu nsi. 32 (X)Ye ategeeza ebyo bye yalaba ne bye yawulira, so tewali akkiriza by’ategeeza. 33 Naye oyo akkiriza by’ategeeza akakasa nti Katonda wa mazima. 34 (Y)Kubanga oyo eyatumwa Katonda ategeeza ebigambo bya Katonda, n’Omwoyo gw’agaba tagerebwa. 35 (Z)Kitaffe ayagala Omwana we era yamukwasa byonna mu mukono gwe. 36 (AA)Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”

Yobu 42

Yobu Yeenenya nga Yeeyiyeeko Enfuufu ne Vvu

42 Awo Yobu n’addamu Mukama nti,

(A)“Mmanyi ng’oyinza okukola ebintu byonna,
    era tewali kyotegeka kyonna kiyinza kuziyizibwa.
(B)Wabuuza nti, ‘Ani ono aziyiza okuteesa kwange atalina magezi?’
    Mazima ddala nayogera ebintu bye sitegeera,
    ebintu ebyassukirira okutegeera kwange.

(C)“Wulira nkwegayiridde,
    nange mbeeko kye nkubuuza,
    onziremu.
(D)Amatu gange gaali gaakuwulirako dda,
    naye kaakano amaaso gange gakulabye.
(E)Kyenvudde neenyooma
    era neenenyezza mu nfuufu ne mu vvu.”

(F)Nga Mukama amaze okwogera ebigambo bino eri Yobu, n’agamba Erifaazi Omutemani nti, “Nkunyiigidde ggwe ne mikwano gyo ababiri; kubanga temwanjogerako bituufu, ng’omuddu wange Yobu bw’akoze. (G)Noolwekyo kaakano mutwale ente ennume musanvu, n’endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, mweweereyo eyo ekiweebwayo ekyokebwa, n’omuddu wange Yobu ajja kubasabira, kubanga nzija kukkiriza okusaba kwe nneme okubakolako ng’obusirusiru bwammwe bwe buli. Kubanga temwanjogerako bituufu ng’omuddu wange bw’akoze.” Awo Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Awo Mukama n’akkiriza okusaba kwa Yobu.

10 (H)Awo Mukama n’aggyawo ennaku ya Yobu bwe yamala okusabira mikwano gye. Mukama n’awa Yobu ebintu emirundi ebiri okusinga bye yalina okusooka. 11 (I)Awo baganda be bonna ne bannyina bonna ne bajja n’abo abaali bamumanyi okusooka, ne balya naye emmere mu nnyumba ye; ne bamusaasira ne bamukulisa okubonaabona kwonna Mukama kwe yakkiriza okumutuukako. Buli omu ku bo n’amuwaayo ffeeza nga bwe yasobola, n’empeta ya zaabu.

12 Awo Mukama n’awa Yobu omukisa mu nnaku ze ezaasembayo n’okusinga entandikwa ye bwe yali: yafuna endiga omutwalo gumu mu enkumi nnya, n’eŋŋamira kakaaga, ne ziseddume z’ente lukumi, n’endogoyi enkazi lukumi. 13 Era Mukama n’amuwa n’abaana aboobulenzi musanvu, n’aboobuwala basatu. 14 Omuwala ow’olubereberye n’amutuuma Yemima, n’owokubiri n’amutuuma Keeziya, n’owookusatu n’amutuuma Keremukappuki, n’aboobulezi musanvu. 15 Awo mu nsi yonna ne wataba bakazi balungi kwenkana bawala ba Yobu. Kitaabwe n’abawa omugabo ogw’ebintu ogwenkanankana ne gwe yawa bannyinaabwe abalenzi.

16 Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’awangaala emyaka kikumi mu ana; n’alaba ku baana be ne ku bazzukulu be okutuuka ku bannakasatwe. 17 (J)N’oluvannyuma n’afa ng’akaddiyidde ddala ng’awezezza emyaka mingi.

2 Abakkolinso 12

Okwolesebwa ate n’eriggwa mu bulamu bwa Pawulo

12 (A)Kiŋŋwanidde okwenyumiriza, newaakubadde nga tekugasa. Naye ka njogere ku kwolesebwa n’okubikkulirwa kwa Mukama waffe. (B)Waliwo omusajja wa Kristo gwe mmanyi, emyaka kkumi n’ena egiyise yatwalibwa mu ggulu eryokusatu. Naye oba yatwalibwa ng’ali mu mubiri, oba nga tali mu mubiri, nange simanyi, wabula Katonda ye amanyi. Era mmanyi ng’omuntu oyo, oba mu mubiri oba ng’aggiddwa mu mubiri nange simanyi, wabula Katonda ye amanyi, (C)nga yatwalibwa mu nnimiro lwa Katonda n’awulira ebintu bingi eby’ekyewuunyo omuntu by’atakkirizibwa kwatula. Ku bw’omuntu oyo nzija kwenyumiriza naye ku bwange siryenyumiriza, okuggyako mu bunafu bwange. (D)Naye ne bwe nandiyagadde okwenyumiriza, sandibadde musirusiru kubanga nandibadde njogera mazima, naye saagala muntu yenna andowoozeeko nti ndi wa waggulu nnyo okusinga we yandintadde ng’asinziira ku ebyo by’andabamu oba by’ampulirako, (E)okusingira ddala okubikkulirwa kwe nafuna. Noolwekyo olw’obutagulumizibwa nnyo, kyenava nfumitibwa eriggwa mu mubiri, ye mubaka wa Setaani, ankube nneme okugulumizibwa ennyo.

(F)Emirundi esatu egy’enjawulo nga nsaba Mukama amponye eriggwa eryo. (G)Buli mulundi ng’aŋŋamba nti, “Ekisa kyange kikumala, kubanga amaanyi gange gatuukirira mu bunafu.” Noolwekyo kyennaavanga nneegulumiza n’essanyu lingi olw’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke galabisibwe. 10 (H)Kyenva nsanyukira mu bunafu, mu kuvumibwa, mu bizibu, mu kuyigganyizibwa, mu binzitoowerera, ku lwa Kristo, kubanga buli bwe mba omunafu, olwo nga ndi wa maanyi.

Pawulo alumirwa Abakkolinso

11 (I)Naye mwampaliriza okufuuka omusirusiru. Noolwekyo mmwe musaana okunjogerako kubanga abatume abakulu abawagulu tebalina na kimu kye bansinza, newaakubadde nga nze siri kintu. 12 (J)Eky’amazima obubonero obw’omutume bwakolerwa mu mmwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero ne mu byewuunyo, ne mu bikolwa eby’amaanyi. 13 (K)Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingira, wabula nze kennyini obutabazitoowereranga. Munsonyiwe ekyonoono ekyo.

14 (L)Laba guno mulundi gwa kusatu nga nneeteeseteese okujja gye muli, era sijja kubazitoowerera, kubanga ebyammwe si bye njagala, wabula njagala mmwe. N’ekirala, mmwe muli baana bange; abaana si be baterekera bazadde baabwe eby’obugagga, wabula abazadde be baterekera abaana baabwe. 15 (M)Naye nzija kusanyuka nnyo okwewaayo gye muli, nze ne byonna bye nnina olw’emyoyo gyammwe, newaakubadde nga nze gye nkoma okubaagala ennyo, ate mmwe okwagala kwammwe gye ndi gye kukoma okukendeera. 16 (N)Naye mukkirize nti ssabazitoowerera; naye ne ngerengetanya ne mbatega mu lukwe. 17 Mu abo be nabatumira, ani gwe nakozesa okubafunamu amagoba? 18 (O)Nakuutira Tito okujja, ne ntuma n’owooluganda omulala awamu naye; Tito yeeyabafunako amagoba? Tetwatambulira mu mwoyo gumu? Tetwatambulira mu kisinde kimu?

Okutya kwa Pawulo n’okweraliikirira

19 (P)Obw’edda mwalowooza nga mwetoowaza mu maaso ga Katonda. Naye abaagalwa ebintu byonna tubyogerera mu Kristo olw’okubazimba. 20 (Q)Kubanga kye ntya oboolyawo kwe kubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; oboolyawo nga waliwo okuyomba, n’obuggya, n’obusungu, n’okwawukana, n’okugeyaŋŋana, n’olugambo, n’okwekuluntaza, n’okutabukatabuka; 21 (R)bwe ndijja nate, Katonda wange aleme kuntoowaza mu maaso gammwe, ne nkaabira abo bonna abaayonoona edda, ne bateenenya obutali bulongoofu, n’obwenzi, n’obugwagwa bye baakola.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.