Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 18

Yesero Akyalira Musa

18 (A)Yesero, kabona w’e Midiyaani, era kitaawe wa mukyala wa Musa, n’awulira byonna Katonda bye yakolera Musa n’abantu be, Abayisirayiri; era nga Mukama yaggya Isirayiri mu Misiri. (B)Ye yalabiriranga Zipola, mukyala wa Musa; kubanga Musa yali amuzzizza ewaabwe ng’amumulekedde, (C)ne batabani be babiri. Mutabani we omu yamutuuma Gerusomu, kubanga Musa yagamba nti, “Mbadde mugwira mu nsi etali yange;” (D)n’erinnya ly’omulala lyali Eryeza, kubanga yagamba nti, “Katonda wa kitange ye yali omubeezi wange, era n’amponya ekitala kya Falaawo.”

(E)Yesero, mukoddomi wa Musa, n’ajja ne batabani ba Musa ne mukyala we eri Musa mu ddungu, we yali asiisidde okuliraana olusozi lwa Katonda. Yesero yali amutumidde nti, “Nze Yesero mukoddomi wo, nzija okukulabako. Ndi ne mukyala wo ne batabani be bombi.” (F)Awo Musa n’afuluma n’agenda okwaniriza mukoddomi we; n’akutamako ng’amulamusa, n’amugwa mu kifuba. Ne balamusaganya, n’oluvannyuma ne bayingira mu weema. (G)Musa n’anyumiza mukoddomi we ebyo byonna Mukama bye yakola Falaawo n’Abamisiri ng’abalanga Isirayiri; n’ebizibu ebyabatuukako mu lugendo lwabe, ne Mukama nga bwe yabibawonya.

Yesero n’asanyuka nnyo okuwulira ebirungi ebyo byonna Mukama bye yakolera Isirayiri, ng’abanunula ku Bamisiri. 10 (H)Yesero n’agamba nti, “Mukama atenderezebwe eyabanunula mu mikono gy’Abamisiri ne mu mukono gwa Falaawo, n’aggya abantu be mu mikono gy’Abamisiri. 11 (I)Kaakano ntegedde nga Mukama mukulu wa kitiibwa okukira bakatonda bonna, kubanga yanunula abantu be mu mikono gyabo abaali babeeragirako.” 12 (J)Awo Yesero, mukoddomi wa Musa, n’awaayo eri Katonda ekiweebwayo ekyokye ne ssaddaaka endala; Alooni n’abakulembeze ba Isirayiri bonna ne balya ne mukoddomi wa Musa emmere mu maaso ga Katonda.

Okulonda Abalamuzi

13 Awo bwe bwakya enkya, Musa n’atuula ku ntebe ye okulamula abantu. Abantu ne bamwetooloola okuva enkya okutuusa akawungeezi. 14 Mukoddomi we bwe yalaba Musa bye yali akolera abantu, n’amugamba nti, “Kiki kino ky’okola? Lwaki olamula bw’omu, abantu bano bonna ne bayimirira okukwetooloola okuva ku nkya okutuusa akawungeezi?” 15 (K)Musa n’addamu mukoddomi we nti, “Kubanga abantu bajja gye ndi bategeere Katonda by’ayagala. 16 (L)Buli lwe babeera n’obutakkiriziganya, bajja gye ndi, ne mbasalirawo, era ne mbategeeza amateeka ga Katonda n’ebiragiro bye.”

17 Mukoddomi wa Musa n’amugamba nti, “Ky’okola si kirungi. 18 (M)Ggwe, n’abantu bano bonna abajja gy’oli, mujja kukoowa nnyo. Kubanga omulimu guno munene nnyo; tosobola kugukola bw’omu. 19 (N)Nkusaba ompulirize nkusalire ku magezi, ne Katonda ng’ali naawe. Osaana obeere omubaka w’abantu ewa Katonda, era omutuusengako ensonga zaabwe. 20 (O)Bayigirize amateeka n’ebiragiro, era obalage nga bwe basaana okweyisanga, awamu n’emirimu gye basaanidde okukola. 21 (P)Londayo abasajja abalina ebisaanyizo, ng’obaggya mu bantu bonna, abasajja abatya Katonda, ab’amazima era abatalya nguzi; obawe obukulembeze, ng’abamu bavunaanyizibwa abantu enkumi, n’abalala abantu ebikumi, n’abamu ebibiina eby’ataano n’abalala eby’ekkumi kkumi. 22 (Q)Bawe obuyinza okulamulanga abantu ebbanga lyonna, naye ng’emisango emizibu bagikuleetera, emisango emyangu bo bagisalenga. Ekyo kinaawewulanga ku buzito bw’omugugu gwo, kubanga banaabanga bagukukwatirako. 23 Singa okola bw’otyo, nga ne Katonda bw’akulagidde, ojja kusobola okugumira emirimu egyo, era n’abantu bano bonna balyoke baddeyo ewaabwe nga basanyuse.”

24 Musa bw’atyo n’awuliriza amagezi gonna mukoddomi we ge yamuwa, n’akolera ku ebyo byonna bye yamubuulirira. 25 (R)Musa n’alonda mu Isirayiri yonna abasajja abasobola, n’abafuula abakulembeze b’abantu; nga bavunaanyizibwa enkumi, n’abalala ebikumi, n’abamu amakumi ataano ataano, n’abalala kkumi kkumi. 26 (S)Ne balamula abantu ebbanga lyonna. Emisango emizibu nga bagireetera Musa, naye emyangu nga bagisala.

27 (T)Awo Musa n’asiibula mukoddomi we, mukoddomi we n’akwata ekkubo ne yeddirayo mu nsi y’ewaabwe.

Lukka 21

Okugaba kwa Nnamwandu

21 (A)Awo Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba abantu abagagga nga bateeka ebirabo byabwe mu ggwanika mu Yeekaalu. N’alaba nnamwandu omwavu ng’awaayo busente bubiri. N’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu agabye okusinga bali abagagga bonna. (B)Kubanga bagabye kitono nga bakiggya ku bugagga bwe bafisizzaawo, naye nnamwandu mu bwavu bwe awaddeyo kyonna ky’alina.”

Okuzikirizibwa kwa Yeekaalu

Ne wabaawo aboogera ku bulungi bw’amayinja agaweebwayo eri Katonda okuzimba Yeekaalu. (C)Naye Yesu n’agamba nti, “Ekiseera kijja ebirungi bino byonna bye mutunuulira lwe biribetentulwa ne watasigalawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, eritalisuulibwa wansi.”

Ne bamubuuza nti, “Omuyigiriza, ebyo biribaawo ddi? Ye walibaawo akabonero akaliraga nti biri kumpi okubaawo?”

(D)Yesu n’addamu nti, “Mwekuume muleme kulimbibwalimbibwa. Kubanga bangi balikozesa erinnya lyange, nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo.’ Naye temubakkirizanga. Naye bwe muwuliranga entalo n’obwegugungo, temutyanga. Kubanga entalo ziteekwa okusooka okujja, naye enkomerero terituuka mangwago.”

10 (E)N’ayongera n’abagamba nti, “Amawanga galirwanagana, n’obwakabaka ne bulwanagana ne bunaabwo. 11 (F)Wagenda kubeerawo musisi ow’amaanyi ennyo, n’enjala ennyingi mu bitundu eby’enjawulo, ne kawumpuli. Walibaawo n’ebyentiisa ate n’obubonero okuva mu ggulu.

12 “Naye bino byonna nga tebinnabaawo balibayigganya, balibakwata. Balibawaayo mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso ga bakabaka ne bagavana, ku lw’erinnya lyange, ne musibibwa ne mu makomera. 13 (G)Kiribaviiramu okufuna omukisa okuba abajulirwa bange. 14 (H)Naye temweraliikiriranga gye muliggya ebigambo eby’okuwoza, 15 (I)Kubanga ŋŋenda kubawa ebigambo n’amagezi ebiriremesa n’abalabe bammwe okubaako n’eky’okuddamu! 16 (J)Muliweebwayo bakadde bammwe, ne baganda bammwe ne mikwano gyammwe, balibawaayo mukwatibwe, era abamu ku mmwe muttibwe. 17 (K)Abantu bonna balibakyawa nga babalanga erinnya lyange. 18 (L)Naye n’oluviiri olumu bwe luti olw’oku mitwe gyammwe terulizikirira. 19 (M)Kubanga bwe muligumiikiriza muliwonya obulamu bwammwe.”

Okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi

20 (N)“Bwe mulabanga nga Yerusaalemi kyetooloddwa amaggye, nga mutegeera nga Okuzikirizibwa kw’ekibuga ekyo kutuuse. 21 (O)Abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi, abaliba mu Yerusaalemi bakivangamu ne badduka, n’abo abalibeera mu nnimiro tebakomangawo mu kibuga. 22 (P)Kubanga ebyo bye biriba ebiseera Katonda mwaliwolera eggwanga, n’ebigambo ebiri mu Byawandiikibwa birituukirizibwa. 23 Nga ziribasanga abakazi abaliba embuto n’abayonsa! Kubanga eggwanga liribonaabona, n’abantu baalyo balisunguwalirwa. 24 (Q)Abamu balittibwa n’ekitala ky’omulabe, abalala balikwatibwa ne bawaŋŋangusibwa mu mawanga gonna amalala ag’oku nsi. Yerusaalemi kiriwangulwa bannaggwanga ne bakirinnyirira okutuusa ekiseera kyabwe eky’obuwanguzi lwe kirikoma mu kiseera Katonda ky’aliba ateesezza.”

Okujja kw’Omwana w’Omuntu

25 (R)“Walibaawo obubonero ku njuba, ne ku mwezi, ne ku mmunyeenye. Wano ku nsi amawanga galibeera mu kunyolwa, olw’ab’amawanga, ng’abantu basamaaliridde olw’ennyanja eziyira n’amayengo ageesiikuula. 26 (S)Abantu baliggwaamu amaanyi ne bazirika nga batidde nnyo olw’ebirijja ku nsi; kubanga amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa. 27 (T)Mu kiseera ekyo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira mu kire n’obuyinza n’ekitiibwa kingi. 28 (U)Kale ebintu ebyo bwe bitandikanga muyimiriranga butereevu ne muyimusa amaaso gammwe waggulu! Kubanga okulokolebwa kwammwe nga kusembedde.”

Eky’okuyiga ku muti omutiini

29 Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Mutunuulire omuti omutiini n’emiti emirala gyonna. 30 Bwe mulaba nga gitandise okutojjera, mumanya ng’ebiseera eby’ebbugumu bituuse. 31 (V)Mu ngeri y’emu bwe muliraba ebintu nga bibaawo, nga mumanya nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi okutuuka.

32 (W)“Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde. 33 (X)Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo.

34 (Y)“Mwekuume muleme okwemalira mu binyumu n’okutamiira, n’okweraliikirira eby’obulamu, okujja kwange okw’amangu kuleme kubakwasa nga temugenderedde ng’abagudde mu mutego. 35 Kubanga olunaku olwo lulituuka ku buli muntu mu nsi yonna. 36 (Z)Mutunule nga musaba Katonda buli kiseera, abawe amaanyi okubasobozesa okuwona ebintu ebyo byonna, Omwana w’Omuntu bw’alijja mulyoke musobole okuyimirira mu maaso ge.”

37 (AA)Buli lunaku Yesu yayigirizanga mu Yeekaalu, bwe bwawungeeranga n’ava mu kibuga n’asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni. 38 (AB)Mu makya abantu bonna ne bajjanga mu Yeekaalu okumuwuliriza.

Yobu 36

36 Eriku ne yeeyongera okwogera nti,

“Yongera okuŋŋumiikirizaako katono nkulage,
    nkyalina bye nnina okwogera ebifa ku Katonda.
(A)Amagezi ge nnina gava wala,
    era mmanyi nga Omutonzi wange alamula mu bwenkanya.
(B)Eky’amazima ebigambo byange si bikyamu,
    oyo akakasa by’amanyi y’ayogera naawe.

(C)“Laba, Katonda wa buyinza, tanyooma bantu;
    w’amaanyi, anywerera ku bigendererwa bye.
(D)Talamya bakozi ba bibi,
    era awa ababonyaabonyezebwa ebibasaanira.
(E)Taggya maaso ge ku batuukirivu,
    abatuuza ku ntebe ey’obwakabaka
    n’abagulumiza emirembe n’emirembe.
(F)Naye abantu bwe baba basibiddwa enjegere
    nga banywezeddwa n’emiguwa egy’okulumwa
(G)n’abategeeza ensobi zaabwe, n’okwonoona kwabwe,
    nti, beewaggudde,
10 (H)aggula amatu gaabwe bawulirize okunenyezebwa
    n’abalagira beenenye ekibi kyabwe.
11 (I)Bwe bamugondera ne bamuweereza,
    ennaku zaabwe zonna balizimala mu kwesiima,
    era n’emyaka gyabwe mu kusanyuka.
12 (J)Naye bwe batamugondera,
    baalizikirizibwa n’ekitala,
    bafe nga tebalina magezi.

13 (K)“Ab’emitima egitatya Katonda baba n’obukyayi.
    Ne bw’abasiba, tebamukaabirira abasumulule.
14 (L)Bafiira mu buvubuka bwabwe
    era obulamu bwabwe buzikiririra mu basajja abenzi.
15 Anunula anyigirizibwa mu kubonaabona kwe,
    n’aggula okutu kwe mu kujoogebwa kwe.

16 (M)“Akusendasenda okukuggya mu kamwa k’okubonaabona,
    akuteeke mu kifo ekigazi ekitaliimu kuziyizibwa,
    omanye emirembe gy’emeeza yo ejjudde emmere ennungi.
17 (N)Naye kaakano weetisse omugugu ogw’okusalirwa omusango abakozi b’ebibi gwe basaanira;
    okusalirwa omusango n’obwenkanya byakunyweza.
18 (O)Weegendereze oleme kukkiriza kusendebwasendebwa;
    obunene bw’enguzi buleme okukukyamya.
19 Obugagga bwo
    oba okufuba kwo kwonna
    binaakuyamba okukuggya mu buyinike?
20 (P)Teweegomba budde bwa kiro
    olyoke owalule abantu okuva mu bifo byabwe.
21 (Q)Weegendereze oleme kukola bitali bya butuukirivu,
    by’osinga okwagala okukira okubonyaabonyezebwa.

22 (R)“Laba Katonda yagulumira mu maanyi ge;
    ani ayigiriza nga ye?
23 (S)Ani eyali amukubidde amakubo,
    oba okumugamba nti, ‘Ky’okoze si kituufu?’
24 (T)Jjukira ng’oteekwa okugulumizanga emirimu gye,
    abantu gye bayimba mu nnyimba.
25 Abantu bonna baagiraba,
    omuntu agirengerera wala.
26 (U)Laba, Katonda agulumizibwe! Assukiridde okutegeera kwaffe;
    obungi bw’emyaka gye tebunoonyezeka.

27 (V)“Kubanga akuŋŋaanya amatondo g’amazzi,
    agafuuka enkuba etonnya mu bugga;
28 (W)ebire bivaamu amazzi gaabyo,
    enkuba n’ekuba abantu.
29 (X)Ani ayinza okutegeera engeri gy’asaasaanyamu ebire,
    okubwatuka okuva ku kituuti kye?
30 Laba, asaasaanya okumyansa kw’eggulu,
    era n’abikka obuziba bw’ennyanja.
31 (Y)Eyo y’engeri gy’afugamu amawanga,
    n’agawa emmere mu bungi.
32 (Z)Emikono gye agijjuza eraddu,
    n’agiragira ekube ebifo bye yeerondeddemu.
33 Okubwatuka kwayo kulangirira kibuyaga ajja,
    n’ente ne zirangirira okujja kwayo.”

2 Abakkolinso 6

(A)Ffe ng’abakolera awamu ne Katonda, tubeegayirira, ekisa kya Katonda kye mufunye, kireme kufa bwereere. (B)Kubanga agamba nti,

“Nakuwulira mu biro ebituufu,
    era ne nkuyamba ku lunaku olw’obulokozi.”

Laba kaakano kye kiseera ekituufu, era laba kaakano lwe lunaku olw’obulokozi.

Ebizibu bya Pawulo

(C)Tetuleeta kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okunenyezebwa, naye mu buli kintu tweyoleka nga tuli baweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi okw’okubonaabona, mu bizibu byonna ebya buli ngeri, ne mu kunyolwa, (D)ne mu kukubibwa ne mu kusibibwa mu kkomera, ne mu busasamalo, ne mu kutakabana, ne mu kutunula, ne mu kusiiba, (E)ne mu bulongoofu, ne mu kumanya, ne mu bugumiikiriza, ne mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kwagala okutaliimu bukuusa, (F)ne mu kigambo eky’amazima, ne mu maanyi ga Katonda olw’ebyokulwanyisa eby’obutuukirivu ebiri mu mukono ogwa ddyo n’ogwa kkono, (G)wakati mu kitiibwa n’okunyoomebwa, wakati mu kutufeebya, ne wakati mu kututenda, nga tuyitibwa abalimba ate nga tuli ba mazima. (H)Ensi etusussa amaaso nga b’etemanyi, naye ate nga tumanyiddwa ng’abaafa, naye laba nga tuli balamu, nga tubonerezebwa naye ate nga tetuttibwa, 10 (I)nga tunakuwala naye ate nga tusanyuka bulijjo, nga tuli ng’abaavu naye nga tugaggawaza bangi, nga tuli ng’abatalina kintu naye ate nga tulina byonna.

11 (J)Twogedde lwatu gye muli Abakkolinso, n’omutima gwaffe gugaziye. 12 Musiriikiridde bingi naye ffe tubategeezezza byonna. 13 (K)Kaakano njogera nammwe nga bwe nandyogedde n’abaana, temutwekwekerera.

14 (L)Temwegattanga wamu n’abatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati w’obutuukirivu n’obujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza? 15 (M)Kristo atabagana atya ne Beriyali? Oba mugabo ki omukkiriza gw’alina n’atali mukkiriza? 16 (N)Yeekaalu ya Katonda ne bakatonda abalala bibeera bitya obumu? Kubanga ffenna tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu. Nga Katonda bwe yagamba nti,

“Nnaabeeranga mu bo
    era natambuliranga mu bo,
nnaabeeranga Katonda waabwe,
    nabo banaabeeranga bantu bange.”
17 (O)Noolwekyo “muve wakati mu bo,
    mubeeyawuleko,
    bw’ayogera Mukama.
Temukwata ku bitali birongoofu,
    nange nnaabaaniriza.”
18 (P)Era “nnaabeeranga Kitammwe,
    nammwe ne mubeeranga batabani bange ne bawala bange,”
    bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.