Add parallel Print Page Options

(A)Noolwekyo, abooluganda, mwerondemu abasajja musanvu, abasiimibwa abantu, ng’abantu b’amagezi, era abajjudde Mwoyo Mutukuvu, tubakwase omulimu ogwo.

Read full chapter

19 (A)Obeeranga n’obwenkanya, era tobanga na kyekubiira ng’osala emisango. Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g’omugezi era ebuzaabuza ebigambo by’abatuukirivu.

Read full chapter

(A)Bw’awola tasaba magoba;
    so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.

Oyo akola ebyo
    aliba munywevu emirembe gyonna.

Read full chapter

(A)atawola lwa magoba
    newaakubadde okutwala ensimbi ezisukkamu mu ezo ze yawola.
Yeewala okukola ekibi,
    era asala emisango egy’ensonga.

Read full chapter

13 (A)Kale nno, mwerondemu, mu buli kika kyammwe, ab’amagezi, abategeevu era abalina obumanyirivu nga bassibwamu ekitiibwa, nange nnaabakuza ne mbafuula abakulembeze bammwe.’

Read full chapter

15 (A)“Bwe ntyo ne nzirira abakulu b’ebika byammwe, nga basajja ba magezi, abalina obumanyirivu, era abassibwamu ekitiibwa, ne mbalonda okubeeranga abakulembeze bammwe; okubanga abafuzi b’enkumi, n’abalala ab’ebikumi, n’abalala ab’amakumi ataano, n’abalala ab’ekkumi, mu bika byammwe byonna.

Read full chapter

(A)N’alonda abalamuzi mu nsi, ne mu buli kibuga kya Yuda ekiriko Bbugwe. (B)N’abategeeza nti, “Mufumiitirize nnyo ku bye mukola, kubanga temulamula ku bw’abantu wabula ku bwa Mukama, abeera nammwe buli bwe musala omusango. (C)Noolwekyo entiisa ya Mukama ebeere mu mmwe, musale omusango nga mugwekanyizza bulungi, kubanga Mukama Katonda waffe takkiriziganya na butali butuukirivu, era tewali kusosola mu bantu wadde okulya enguzi.”

(D)Ate ne mu Yerusaalemi Yekosafaati yalonda abamu ku Baleevi, ne bakabona, n’emitwe gy’ennyumba za Isirayiri okulamulanga ku bwa Mukama, n’okusalangawo ensonga enzibu. N’abakuutira ng’agamba nti, “Mukole nga mutya Mukama, n’obwesigwa era n’omutima gumu. 10 (E)Bwe wanaabangawo ensonga evudde eri baganda bammwe okuva mu bibuga byabwe, ng’ekwata ku kuyiwa omusaayi, oba ku nsonga endala yonna ekwata ku kiragiro, ku mateeka oba ku biragiro, munaabalabulanga obutayonoona Mukama, obusungu bwe muleme okubatuukako mmwe ne baganda bammwe. Bwe mutyo bwe munaakolanga muleme okubaako omusango.

Read full chapter