Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 35-36

Katonda Azza Obuggya Endagaano ne Yakobo

35 (A)Katonda n’agamba Yakobo nti, “Golokoka oyambuke e Beseri, obeere eyo, ozimbire Katonda ekyoto, eyakulabikira bwe wadduka muganda wo Esawu.”

(B)Awo Yakobo n’agamba ab’omu nnyumba ye ne bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali nammwe, mwetukuze mukyuse ebyambalo byammwe, (C)tulyoke twambuke tugende e Beseri ndyoke nzimbire Katonda ekyoto, Katonda eyanziramu mu nnaku ez’okunakuwala kwange, era abadde nange buli gye ŋŋenze. (D)Awo ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina, n’empeta ezaali ku matu gaabwe;[a] Yakobo n’abiziika wansi w’omuvule ogwali okumpi ne Sekemu.” (E)Bwe baali batambula, entiisa ya Katonda n’egwa ku bibuga ebyali bibeetoolodde, ne batagoberera baana ba Yakobo.

(F)Yakobo n’ajja e Luzi, ye Beseri, ekiri mu nsi ya Kanani, ye n’abantu bonna abaali naye. (G)N’azimba eyo ekyoto, n’akituuma Erubeeseeri. Kubanga eyo Katonda gye yamweragira bwe yadduka muganda we.

(H)Debola omujjanjabi wa Lebbeeka n’afa n’aziikibwa wansi w’omuvule, wansi wa Beseri kyekyava kiyitibwa Alooninakusi. (I)Yakobo bwe yava mu Padanalaamu Katonda n’amulabikira, n’amuwa omukisa. 10 (J)Katonda n’amugamba nti, “Erinnya lyo ggwe Yakobo; tokyaddayo kuyitibwa Yakobo, erinnya lyo linaabanga Isirayiri.” Bwe kityo erinnya lye ne liba Isirayiri. 11 (K)Katonda n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna: zaala oyale, eggwanga n’enkuyanja y’amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka balisibuka mu ggwe. 12 (L)Ensi gye nawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, era ndigiwa n’ezzadde lyo eririddawo.” 13 (M)Awo Katonda n’alinnya okuva waali mu kifo we yayogerera naye.

14 (N)Yakobo n’asimba empagi mu kifo Katonda mwe yayogerera naye, empagi ey’ejjinja; n’agiyiwako ekiweebwayo ekyokunywa, n’ayiwako n’amafuta. 15 (O)Yakobo ekifo Katonda we yayogerera naye n’akiyita Beseri.

16 Bwe baava e Beseri, era nga bakyali walako okuva Efulasi, Laakeeri n’alumwa, n’alumwa ddala nnyo. 17 (P)Bwe yali ng’alumwa bw’atyo omuzaalisa n’amugamba nti, “Totya kubanga kaakano onoofuna omwana omulala owoobulenzi.” 18 Omwoyo bwe gwali gumuggwaamu ng’afa, n’amutuuma Benoni, naye kitaawe n’amuyita Benyamini.

19 (Q)Awo Laakeeri n’afa n’aziikibwa ku kkubo erigenda Efulasi (ye Besirekemu). 20 (R)Yakobo n’asimba empagi ku malaalo ge, y’empagi y’amalaalo ga Laakeeri, ekyaliwo n’okutuusa kaakano.

21 Isirayiri ne yeeyongera okutambula, n’akuba eweema ye, emabega w’omunaala gwa Ederi. 22 (S)Isirayiri bwe yali ng’ali mu nsi omwo Lewubeeni n’agenda ne yeebaka ne Biira omuweereza wa kitaawe, Isirayiri n’akiwulira.

Batabani ba Yakobo baali kkumi n’ababiri.

23 (T)Batabani ba Leeya baali:

Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye,

ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali ne Zebbulooni.

24 (U)Batabani ba Laakeeri ye:

Yusufu ne Benyamini.

25 (V)Batabani ba Biira, omuweereza wa Laakeeri be ba:

Ddaani ne Nafutaali.

26 (W)Batabani ba Zirupa omuweereza wa Leeya be ba:

Gaadi ne Aseri.

Bano be batabani ba Yakobo abaamuzaalirwa mu Padanalaamu.

Okufa kwa Isaaka

27 (X)Awo Yakobo n’ajja eri kitaawe Isaaka e Mamule, oba Kiriyasaluba, ye Kebbulooni, Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga. 28 (Y)Isaaka yawangaala emyaka kikumi mu kinaana. 29 (Z)Isaaka n’afa ng’akaddiye nnyo n’agenda abantu be gye bagenda, ng’amaze ennaku nnyingi, batabani be Esawu ne Yakobo ne bamuziika.

Ezadde lya Esawu

36 (AA)Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, ye Edomu.

(AB)Esawu yawasa abakazi ng’abaggya mu Bakanani: Yawasa Ada muwala wa Eroni Omukiiti, ne Okolibama muwala wa Ana mutabani wa Zibyoni Omukiivi, ne Basimansi muwala wa Isimayiri muganda wa Nebayoosi.

(AC)Ada n’azaalira Esawu Erifaazi, ne Basimansi n’azaala Leweri; ne Okolibama n’azaala Yewusi, ne Yalamu ne Koola; abo be batabani ba Esawu abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani.

(AD)Awo Esawu n’atwala bakazi be, ne batabani be, ne bawala be n’abantu be bonna, n’ente ze, awamu n’ebintu bye byonna bye yafuna mu nsi ya Kanani; n’agenda mu nsi ey’ewala ku ya muganda we Yakobo. (AE)Kubanga obugagga bwabwe bwali bungi nnyo nga tebukyabasobozesa kubeera wamu n’ensi mwe baali ng’ebafundiridde olw’obungi bw’ebisolo byabwe. (AF)Olwo ye Esawu, era ye Edomu, n’abeera mu nsi ey’ensozi za Seyiri.

Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, kitaawe w’Abaedomu abaamuzaalirwa ng’ali mu nsi y’ensozi za Seyiri.

10 Batabani be baali:

Erifaazi eyamuzaalirwa Ada, ne Leweri eyamuzaalirwa Basimansi.

11 (AG)Batabani ba Erifaazi baali

Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Gatamu ne Kenazi.

12 (AH)Timuna yali mukazi wa Erifaazi, mutabani wa Esawu era yamuzaalira Ameleki. Abo be batabani ba Ada mukazi wa Esawu.

13 Bano be batabani ba Leweri:

Nakasi, ne Zeera, ne Saama ne Mizza. Abo be bazzukulu ba Esawu ne mukazi we Basemasi.

14 N’abaana ba Okolibama muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, baali

Yewusi, ne Yalamu ne Koola, be yazaalira bba Esawu.

15 (AI)Bano be bakulu b’enda ya Esawu:

Enda ya Erifaazi omubereberye wa Esawu:

Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Kenazi, 16 (AJ)ne Koola, ne Gatamu ne Amaleki abaali mu nsi ya Edomu be batabani ba Ada.

17 (AK)Enda ya Leweri mutabani wa Esawu:

Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza nabo baali mu nsi ya Edomu, era baava mu Basimansi, mukazi wa Esawu.

18 Abaazaalibwa Okolibama mukazi wa Esawu, muwala wa Ana:

Yewusi, ne Yalamu ne Koola.

19 (AL)Abo bonna be baava mu Esawu, ye Edomu, era be bakulu b’enda zaabwe.

20 (AM)Batabani ba Seyiri Omukooli abaabeeranga mu Edomu be ba

Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, 21 ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Abo be baava mu Bakooli, be baana ba Seyiri abaali mu nsi ya Edomu.

22 Batabani ba Lotani baali

Kooli, ne Kemamu, era Lotani yalina mwannyina nga ye Timuna.

23 Batabani ba Sobali be ba

Aluvani, ne Manakasi, ne Eberi, ne Sefo ne Onamu.

24 Aba Zibyoni, be ba

Aya ne Ana; ono ye Ana eyavumbula ensulo z’amazzi agookya, ezaali mu ddungu; bwe yali ng’alunda endogoyi za kitaawe Zibyoni.

25 Abaana ba Ana be ba

Disoni ne Okolibama omuwala.

26 Bo batabani ba Disoni be ba

Kemudaani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.

27 Aba Ezeri be ba

Birani, ne Zaavani ne Akani.

28 Ate aba Disani be ba

Uzi ne Alani.

29 Bano be bakulu b’enda za Bakooli:

Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, 30 ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.

Bano be bakulu b’enda za Bakooli ng’ebika byabwe bwe byali, mu nsi ya Seyiri.

Bakabaka ba Edomu

31 (AN)Bakabaka abafuga ensi ya Edomu, nga tewannaba na kabaka afuga Isirayiri be bano:

32 Bera mutabani wa Byori yafuga Edomu ng’asinziira mu kibuga kye Dinukaba.

33 (AO)Bera bwe yafa Yobabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’afuga mu kifo kye.

34 (AP)Yobabu bwe yafa Kusamu Omutemani n’afuga mu kifo kye.

35 (AQ)Ne Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani, mu nsi ya Mowaabu n’afuga mu kifo kye; ng’afugira mu kibuga ky’e Avisi.

36 Ate Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.

37 Samula bwe yafa Sawuli ow’e Lekobosi, ku mugga Fulaati n’afuga mu kifo kye.

38 Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.

39 Ate Balukanani mutabani wa Akubooli bwe yafa, Kadali n’afuga mu kifo kye, ng’ali mu kibuga kye Pawu; mukazi we yayitibwanga Meketaberu muwala wa Mezakabu ne Matirida.

40 Bano be bakulu b’enda zaabo abaava mu Esawu, nga bwe baali mu bifo byabwe:

Timuna, ne Aluva, ne Yesesi,

41 ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni,

42 ne Kenazi, ne Temani, ne Mibuza,

43 ne Magidiyeri, ne Iramu.

Abo be bakulu b’enda ya Edomu, ye Esawu kitaawe wa Edomu, okusinziira mu bifo mwe baali mu nsi y’obutaka bwabwe.

Makko 6

Nnabbi Tabulwa Kitiibwa Okuggyako Ewaabwe

(A)Yesu n’ava mu kitundu ekyo n’abayigirizwa be n’addayo mu kibuga ky’ewaabwe.[a] (B)Olunaku lwa Ssabbiiti bwe lwatuuka n’agenda mu kkuŋŋaaniro okuyigiriza, abantu bangi abaaliwo ne beewuunya nnyo bwe baawulira bw’ayigiriza, ne bawuniikirira ne beebuuza nti, “Bino byonna yabiyigira wa era magezi ga ngeri ki ono ge yaweebwa n’eby’amagero ebyenkanidde wano by’akola?” (C)Ne beebuuza nti, “Ono si ye mwana w’omubazzi? Maliyamu si ye nnyina, ne baganda be si be ba Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetubeera nabo kuno?” Ekyo ne kibatawanya mu mutima.

(D)Yesu n’abagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa buli wantu okuggyako mu nsi y’ewaabwe ne mu bantu be ne mu maka ge waabwe.” (E)Naye teyakolerayo byamagero bingi okuggyako abalwadde abatonotono be yakwatako n’abawonya. (F)N’awuniikirira nnyo okulaba nga tebamukkirizza. Awo n’agenda ng’ayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo.

Yesu Atuma Ekkumi n’Ababiri

(G)Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’abatuma babiri babiri era n’abawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu.

N’abakuutira obutatwala kantu konna okuggyako omuggo ogw’okutambuza gwokka nti, “Temutwala mmere wadde akagugu newaakubadde ensimbi mu lukoba. Mwambale engatto naye temutwala kkanzu yakubiri.” 10 N’abagamba nti, “Era buli nnyumba gye munaayingirangamu musulanga omwo okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo. 11 (H)Era bwe mutuukanga mu kifo ne batabaaniriza yadde okubawuliriza, bwe mubanga muvaayo mukunkumuliranga mu kifo omwo enfuufu ey’omu bigere byammwe, okuba akabonero gye bali.”

12 (I)Awo abayigirizwa ne bagenda nga babuulira buli muntu nti, “Mwenenye.” 13 (J)Ne bagoba baddayimooni bangi ku bantu, ne basiiga abalwadde amafuta ne babawonya.

14 (K)Awo Kabaka Kerode n’awulira ettutumu lya Yesu, kubanga yali ayogerwako wonna olw’ebyamagero bye yakolanga. Naye Kerode n’alowooza nti Yokaana Omubatiza y’azuukidde, kubanga abantu baayogeranga nti, “Tewali muntu mulala ayinza kukola byamagero nga bino.”

15 (L)Naye abalala ne balowooza nti, “Eriya.”

N’abalala ne bagamba nti, “Nnabbi ng’omu ku bannabbi ab’edda.”

16 Kerode bwe yabiwulira ye n’agamba nti, “Oyo Yokaana, omusajja gwe natemako omutwe, y’azuukide mu bafu.”

17 (M)Kubanga Kerode yennyini ye yatuma abaserikale be ne bakwata Yokaana Omubatiza ne bamuggalira mu kkomera, olwa Kerudiya muka muganda we Firipo, Kerode gwe yali awasizza. 18 (N)Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okutwala Kerudiya muka muganda wo Firipo.” 19 Kerudiya n’ayagala okutta Yokaana yeesasuze, naye nga tayinza. 20 (O)Kubanga Kerode yatyanga Yokaana Omubatiza, ng’amuwa ekitiibwa ng’omuntu wa Katonda ow’amazima era omutukuvu, era ng’amukuuma. Era Kerode bwe yayogeranga ne Yokaana ng’emmeeme ye tetereera, so nga yali ayagala nnyo okuwuliriza by’amugamba.

21 (P)Naye olwali olwo, Kabaka Kerode n’afumba embaga ku lunaku lw’amazaalibwa ge, n’ayita abakungu be n’abakulu b’abaserikale n’abaami bonna abatutumufu mu Ggaliraaya. 22 Awo muwala wa Kerudiya yennyini n’ajja n’azina nnyo, n’asanyusa Kerode n’abagenyi be yali atudde nabo ku mbaga.

Awo Kabaka Kerode n’agamba omuwala nti, “Nsaba kyonna ky’oyagala nange nnaakikuwa.” 23 (Q)Era n’ayongera okumulayirira nti, “Kyonna kyonna ky’ononsaba yadde ekitundu ky’obwakabaka bwange nnaakikuwa!”

24 Awo omuwala n’afuluma ne yeebuuza ku nnyina. Nnyina n’amugamba nti, “Saba omutwe gwa Yokaana Omubatiza!”

25 Omuwala n’addayo mangu eri kabaka n’amusaba nti, “Njagala ompe kaakano, ku ssowaani, omutwe gwa Yokaana Omubatiza!”

26 Kino ne kinakuwaza nnyo kabaka, n’anyiikaala nnyo, kyokka olwokubanga yali amaze okulayira n’okweyama ng’abagenyi be bawulira, n’atya okumenya obweyamo bwe. 27 Bw’atyo n’ayita omuserikale we, n’amulagira agende aleete omutwe gwa Yokaana. Omuserikale n’agenda mu kkomera, n’atemako Yokaana omutwe, 28 n’aguleeteera ku lutiba, n’aguwa omuwala n’omuwala n’agutwalira nnyina. 29 Abayigirizwa ba Yokaana bwe baategeera ne bajja ne baggyawo omulambo gwe, ne bagutwala ne baguziika.

Okukomawo kw’Abatume gye baagenda Okubuulira

30 (R)Awo abatume ne bakomawo awali Yesu ne bamunnyonnyola byonna bye baakola ne bye baayigiriza. 31 (S)N’abagamba nti, “Mujje tugende mu kifo eteri bantu tuwummuleko.” Kubanga baali babuliddwa n’akaseera ak’okuliiramu ku mmere olw’abantu abangi abajjanga gye bali; bano baabanga baakavaawo ate ng’abalala bajja.

32 (T)Bwe batyo ne balinnya mu lyato ne bagenda mu kifo ekiwolerevu eteri bantu.

Yesu Aliisa Abantu Enkumi Ettaano

33 Naye abantu bangi abaava mu bibuga bingi ne babalaba nga bagenda ne bategeera gye baali bagenda ne badduka okwetooloola ku lukalu ne babeesookayo. 34 (U)Yesu bwe yava mu lyato n’alaba ekibiina ky’abantu bangi abaali bakuŋŋaanye n’abasaasira nga bali ng’endiga ezitalina musumba. Awo n’atandika okubayigiriza ebintu bingi.

35 Awo obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ne bajja awali Yesu ne bamugamba nti, “Ekifo kino kya ddungu ate n’obudde buwungedde. 36 Abantu basiibule bagende beegulire emmere mu byalo ne mu bibuga ebiriraanye wano.”

37 (V)Naye Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe mubawe ekyokulya.” Ne bamubuuza nti, “Tugende tubagulire emmere nga ya dinaali ebikumi bibiri, tugibawe balye?”

38 (W)Yesu n’ababuuza nti, “Mulina emigaati emeka? Mugende mulabe.” Bwe baamala okwetegereza ne bamugamba nti, “Waliwo emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri.”

39 Awo Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi ku muddo mu bibinja. 40 Awo ne batuula mu bibinja, eby’abantu ataano ataano, awalala kikumi kikumi. 41 (X)Yesu n’atoola emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’ayimusa amaaso ge eri eggulu ne yeebaza Katonda. N’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja ebibiri, n’abiwa abayigirizwa be ne bagabula abantu bonna ne babuna. 42 Bonna ne balya ne bakkuta. 43 Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bw’emigaati n’obw’ebyennyanja ebisero kkumi na bibiri. 44 Abasajja abaalya emigaati baali enkumi ttaano.

Yesu Atambulira ku Mazzi

45 (Y)Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale mu lyato bawunguke bagende emitala w’ennyanja e Besusayida abasange eyo, ng’amaze okusiibula ebibiina by’abantu. 46 (Z)Bwe yamala okubasiibula n’alinnya ku lusozi okusaba.

47 Awo obudde bwe bwawungeera, Yesu ng’asigadde yekka ku lukalu, 48 n’abalengera nga bategana n’eryato kubanga waaliwo omuyaga mungi n’amayengo amagulumivu ebyabafuluma mu maaso gye baali balaga. Awo obudde bwali bunaatera okukya nga ku ssaawa mwenda ez’ekiro, n’ajja gye bali ng’atambulira ku mazzi, n’aba ng’ayagala okubayitako. 49 (AA)Naye bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne baleekaana nnyo, bonna, nga batidde, kubanga baalowooza nti muzimu, 50 (AB)kubanga bonna baamulaba ne batya.

Naye n’ayanguwa okwogera nabo, n’abagamba nti, “Mugume omwoyo. Ye Nze, temutya.” 51 (AC)Awo n’alinnya mu lyato, omuyaga ne gulekeraawo okukunta! Abayigirizwa be ne bawuniikirira nnyo. 52 (AD)Tebategeera kyamagero eky’emigaati kubanga emitima gyabwe gyali mikakanyavu.

Yesu Awonya Abalwadde e Genesaleeti

53 (AE)Awo eryato lyabwe bwe lyagoba ku lubalama lw’ennyanja Genesaleeti, 54 ne bavaamu. Abantu bwe balaba Yesu, amangwago ne bamutegeererawo. 55 Ne babuna mu bitundu ebyali biriraanyeewo nga bamuleetera abalwadde nga basituliddwa ku butanda. 56 (AF)Wonna wonna gye yagendanga, mu byalo, mu bibuga, mu butale ne ku nguudo ne baleeta abalwadde ne bamwegayirira waakiri bakwateko bukwasi ku lukugiro lw’ekyambalo kye. Era bonna abaakikwatako ne bawona.

Yobu 2

Obulamu bwa Yobu Bukwatibwako

(A)Ku lunaku olulala bamalayika ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama Katonda, ne Setaani naye n’ajjiramu. Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?” Setaani n’amuddamu nti, “Nva kutalaaga ensi yonna.”

(B)Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Olowoozezza ku muddu wange Yobu? Talina kyakunenyezebwa, mwesimbu, atya Katonda era eyeewala ekibi bw’atyo talina amufaanana. Anywezezza obutuukirivu bwe newaakubadde nga wansokasoka mmuzikirize awatali nsonga.”

Setaani n’amuddamu nti, “Eddiba olw’eddiba, omuntu kyaliva awaayo byonna by’alina olw’okuwonya obulamu bwe; (C)naye golola omukono gwo okwate ku magumba ge n’omubiri gwe olabe oba taakwegaane.”

(D)Mukama Katonda n’amugamba nti, “Weewaawo, ali mu mukono gwo, kyokka mulekere obulamu bwe.”

(E)Awo Setaani n’ava awali Mukama Katonda, n’alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku mutwe, okutuukira ddala ku bigere. (F)Yobu n’atandika okweyaguzanga oluggyo ng’eno bw’atudde mu vvu.

Kyokka mukyala we n’amugamba nti, “Okyagugubidde ku butuukirivu bwo? Weegaane Katonda ofe!”

10 (G)Naye ye n’amuddamu nti, “Oyogera ng’omu ku bakazi abatategeera bwe bandyogedde! Tunaafunanga birungi byereere mu mukono gwa Katonda?”

Mu bino byonna Yobu teyayonoona na kamwa ke.

Mikwano gya Yobu Abasatu

11 (H)Awo mikwano gya Yobu abasatu; Erifaazi[a] Omutemani, Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi bwe baawulira emitawaana egyali gituuse ku mukwano gwabwe, ne bajja buli omu okuva ewuwe ne basisinkana nga bwe baali bateesezza, bagende bamusaasire bamuzzeemu amaanyi. 12 (I)Tebaamutegeererawo nga bakyali wala, olw’embeera gye yalimu; ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakuba ebiwoobe ne bayuza ebyambalo byabwe ne bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe. 13 (J)Awo ne batuula naye we yali atudde okumala ennaku musanvu emisana n’ekiro nga tewali anyega, olw’obulumi obungi Yobu bwe yalimu.

Abaruumi 6

Okuba Abalamu mu Kristo

(A)Kale tunaagamba tutya? Tweyongere okwonoona, olwo ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere? (B)Kikafuuwe, kubanga ffe abaafa eri ekibi tuyinza tutya okweyongera okukikola? (C)Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye? (D)Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya.

(E)Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi eky’okufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe. (F)Tumanyi kino nti omuntu waffe ow’edda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gw’ekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi. Omuntu bw’afa aba takyafugibwa kibi.

Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye (G)Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga. 10 (H)Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda.

11 (I)Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu. 12 Noolwekyo ekibi kiremenga okufuga omubiri gwammwe ogufa, nga mugondera okwegomba kwagwo. 13 (J)Temuwangayo bitundu byammwe eby’omubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ng’abantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe eby’omubiri gwammwe bikozesebwe eby’obutuukirivu eri Katonda. 14 (K)Temukkiriza kibi kwongera kubafuga, kubanga temukyafugibwa mateeka, wabula ekisa kya Katonda.

Baddu ba butuukirivu

15 Kale tukole tutya? Kale tukole ekibi kubanga tetufugibwa mateeka wabula ekisa kya Katonda? Kikafuuwe. 16 (L)Temumanyi nga muba baddu b’oyo gwe muwulira? Muyinza okuba abaddu b’ekibi ne kibaleetera okufa, oba muyinza okuba abaddu abawulira Katonda n’abawa obutuukirivu. 17 (M)Kyokka Katonda yeebazibwe kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye bwe mwagondera okuyigiriza kwe mwayigirizibwa n’omutima gwammwe gwonna, ne mukugondera. 18 (N)Noolwekyo mwasumululwa okuva mu kibi, ne mufuuka baddu ba butuukirivu abasanyusa Katonda.

19 (O)Njogera nga nkozesa olulimi olwa bulijjo kubanga mukyali banafu. Nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’ebirowoozo eby’obugwagwa, ne mweyongeranga okukola ebitali bya butuukirivu, bwe mutyo muweeyo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’obutuukirivu, nga mweweerayo ddala eri Katonda, mube batukuvu. 20 (P)Bwe mwali abaddu b’ekibi, temwafugibwanga butuukirivu. 21 (Q)Kale mwagasibwa ki mu kukola ebintu ebyo, ebibaleetera ensonyi? Enkomerero yaabyo kufa. 22 (R)Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, n’enkomerero bwe bulamu obutaggwaawo. 23 (S)Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.