M’Cheyne Bible Reading Plan
Sodomu ne Ggomola
19 (A)Bamalayika ababiri ne batuuka mu Sodomu akawungeezi; Lutti yali atudde mu mulyango gwa Sodomu. Lutti bwe yabalaba n’agolokoka okubasisinkana, n’avuunama, 2 (B)n’agamba nti, “Bakama bange mukyame mu nnyumba y’omuddu wammwe munaabe ku bigere, mbegayiridde n’okusula musule. Munaazuukuka mangu ku makya ne mukwata ekkubo lyammwe.”
Ne bagamba nti, “Nedda tunaasula mu luguudo.”
3 (C)Naye n’abawaliriza nnyo; awo ne bakyama ne bajja gy’ali ne bayingira mu nnyumba ye, n’abategekera ekijjulo n’emigaati egitali mizimbulukuse ne balya. 4 Naye nga tebannaba kugenda kwebaka, abasajja ab’omu kibuga, abasajja ba Sodomu, abakulu n’abato, abantu bonna ne beetooloola ennyumba; 5 (D)ne bayita Lutti nga bagamba nti, “Abasajja abazze gy’oli ekiro kino bali ludda wa? Batufulumize twebake nabo.”
6 (E)Lutti n’afuluma gye bali, n’aggalawo oluggi, 7 n’abagamba nti, “Baganda bange mbasaba temukola kibi kifaanana bwe kityo. 8 (F)Laba, nnina bawala bange embeerera babiri, ka mbabafulumize, mubakole kye mwagala; naye temubaako kye mukola basajja bano, bagenyi bange era nze mbalabirira.” 9 (G)Naye ne bamugamba nti, “Tuviire! Omusajja omugwira ono, ate kati y’atulagira eky’okukola! Nedda, tujja kukukolako n’okusinga abagenyi bo.” Awo ne banyigiriza nnyo Lutti, era kaabula kata bamenye n’oluggi.
10 Naye abasajja ababiri abaali mu nnyumba ne bagolola emikono gyabwe ne bakwata Lutti ne bamuyingiza mu nnyumba ne baggalawo oluggi. 11 (H)Ne baziba amaaso g’abasajja abaali ebweru ku luggi lw’ennyumba, abato n’abakulu, ne bakoowa nga bawammanta oluggi.
12 (I)Awo abasajja bali ababiri ne babuuza Lutti nti, “Olina abantu bo abalala wano, batabani bo, oba bakoddomi bo, oba bawala bo, oba omuntu omulala yenna mu kibuga? Bafulumye mu kifo kino; 13 (J)kubanga tuli kumpi okukizikiriza. Kubanga okukaaba olw’abantu baamu eri Mukama kuyitiridde, era Mukama atutumye okukizikiriza.”
14 (K)Awo Lutti n’afuluma n’ategeeza bakoddomi be abaali ab’okuwasa bawala be ng’agamba nti, “Musituke, muve mu kifo kino, kubanga Mukama ali kumpi kukizikiriza.” Naye yafaanana ng’abalaata eri bakoddomi be. Lutti n’ab’ennyumba ye ne badduka.
15 (L)Naye obudde bwe bwali bunaatera okukya, bamalayika ne balagira Lutti nga bagamba nti, “Golokoka, otwale mukazi wo ne bawala bo ababiri abali wano muleme okuzikirira ng’ekibuga kibonerezebwa.”
16 Naye bwe yali akyekunya, abasajja ne bamukwata omukono, n’emikono gya mukazi we, n’emikono gy’abawala be bombi, Mukama ng’abakwatirwa ekisa, ne babafulumya ne babateeka ebweru w’ekibuga. 17 (M)Bwe baabafulumya ne babagamba nti, “Mudduke muwonye obulamu bwammwe, temutunula mabega wadde okuyimirira mu kiwonvu; muddukire ku nsozi, muleme okuzikirizibwa.”
18 Awo Lutti n’abagamba nti, “Nedda bakama bange; 19 Laba, omuddu wammwe alabye ekisa mu maaso gammwe, era mundaze ekisa kingi nga muwonya obulamu bwange; naye siyinza kuddukira ku nsozi akabi tekalwa kunzingiza ne nfa. 20 Laba, ekibuga kiri ekitono ekiri okumpi, kirungi okuddukira omwo. Leka nzirukire eyo. Era n’obulamu bwange bujja kuwona!” 21 N’amuddamu nti, “Laba, era nnyongedde okukukwatirwa ekisa, sijja kumalawo kibuga ky’oyogeddeko. 22 Yanguwa tolwa, ddukira eyo; kubanga siriiko kye nnaakola nga tonnatuuka eyo.” Erinnya ly’ekibuga kyeryava liba Zowaali.
23 Lutti we yatuukira mu Zowaali enjuba yali evuddeyo, Sodomu ne Ggomola ne bizikirizibwa. 24 (N)Awo Mukama n’atonnyesa ku Sodomu ne Ggomola omuliro n’obuganga okuva mu ggulu; 25 (O)n’azikiriza ebibuga ebyo, n’ekiwonvu kyonna n’abantu bonna abaali mu bibuga, ne buli kintu ekyalimu. 26 (P)Naye mukazi wa Lutti bwe yatunula emabega, n’afuuka empagi ey’omunnyo. 27 (Q)Awo ku makya ennyo Ibulayimu n’agenda mu kifo mwe yayimiririra mu maaso ga Mukama; 28 (R)n’atunula wansi okwolekera Sodomu ne Ggomola n’okwolekera ekitundu kyonna eky’olusenyi, n’alaba, era laba, ekitundu kyonna nga kijjudde omukka.
29 (S)Bwe kityo bwe kyali Katonda bwe yazikiriza ebibuga eby’omu kiwonvu. Katonda n’ajjukira Ibulayimu n’afulumya Lutti ebweru n’amuggya wakati mu kuzikirizibwa, bwe yazikiriza ebibuga Lutti mwe yabeeranga.
Ekibi kya Bawala ba Lutti
30 (T)Awo Lutti n’ava mu Zowaali, n’abeera mu nsozi wamu ne bawala be, kubanga yatya okubeera mu Zowaali. Ye ne bawala be ne babeera mu mpuku. 31 Olunaku lumu omuwala omukulu n’agamba muto we nti, “Kitaffe akaddiye era tewali na musajja ku nsi ajja kutwagala ng’empisa y’ensi bw’eri. 32 Jjangu tunywese kitaffe omwenge, tulyoke twebake naye, tusobole okufuna ezzadde nga liva mu kitaffe.”
33 Ne batamiiza kitaabwe ekiro ekyo, omukulu n’agenda ne yeebaka ne kitaawe, Lutti n’atamanya bwe yeebaka yadde bwe yagolokoka.
34 Ku lunaku olwaddirira, omuwala omukulu n’agamba omuto nti, “Laba, ekiro neebase ne kitange; Leka tumunywese omwenge ekiro kino, oyingire gy’ali weebake naye, tulyoke tusobole okukuuma ezzadde mu kitaffe.” 35 Awo ne batamiiza kitaabwe ekiro ekyo, omuwala omuto n’asituka ne yeebaka naye, Lutti n’atamanya bwe yeebase ne bw’agolokose.
36 Bwe batyo bawala ba Lutti bombi buli omu n’aba olubuto nga lwa kitaabwe. 37 (U)Omuwala omukulu n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Mowaabu, ye jjajja w’Abamowaabu abaliwo kaakano. 38 (V)Omuto naye n’azaala omwana mulenzi n’amutuuma Benami, ye yavaamu Abamoni abaliwo ne kaakano.
Omukulu mu Bwakabaka obw’Omu Ggulu
18 Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu?”
2 Yesu n’ayita omwana omuto n’amussa mu makkati gaabwe. 3 (A)N’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. 4 (B)Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.
5 (C)“Na buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange ng’asembeza Nze. 6 (D)Naye alyesittaza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”
7 (E)“Ensi zigisanze! Kubanga ejjudde ebibi bingi. Okukemebwa okukola ebibi tekulema kubaawo, naye zimusanze oyo akuleeta. 8 (F)Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde oba ng’olemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ng’olina emikono ebiri n’ebigere bibiri. 9 (G)Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ng’olina eriiso limu okusinga okusuulibwa mu muliro gwa ggeyeena ng’olina amaaso go gombi.”
Olugero lw’Endiga Eyabula
10 (H)“Mwekuume obutanyoomanga n’omu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 11 Kubanga Omwana w’Omuntu yajja okulokola ekyabula[a].
12 “Mulowooza kiki ekituufu? Omuntu bw’aba n’endiga ze ekikumi, emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku lusozi n’agenda anoonya eri emu ebuze? 13 Ddala ddala mbagamba nti, bw’agiraba agisanyukira nnyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. 14 Kale bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tasiima kulaba ng’omu ku bato bano ng’azikirira.”
Owooluganda Okusonyiwa Muganda we
15 (I)“Muganda wo bw’akusobyanga ogendanga gy’ali n’omutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bw’akkirizanga n’akwetondera olwo ng’oggyeemu omuntu mu muganda wo. 16 (J)Naye bw’agaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bw’abantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo. 17 (K)Naye bw’agaananga okubawuliriza ng’ensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza w’omusolo.
18 (L)“Ddala ddala mbagamba nti byonna bye mulisiba ku nsi, ne mu ggulu birisibwa ne bye mulisumulula ku nsi, ne mu ggulu bigenda kusumululwa.
19 (M)“Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera. 20 Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”
Olugero lw’Omuddu Atasonyiwa
21 (N)Awo Peetero n’ajja n’abuuza Yesu nti, “Mukama wange, muganda wange bw’ansobyanga musonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?”
22 (O)Yesu n’amuddamu nti, “Sikugamba nti emirundi musanvu naye emirundi nsanvu emirundi musanvu.”
23 (P)Awo Yesu n’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa nga kabaka eyayagala okubala ebitabo bye eby’ensimbi, n’abaddu be. 24 Bwe yatandika okubikebera ne bamuleetera gw’abanja ettalanta[b] omutwalo gumu. 25 (Q)Naye olw’okuba ng’omusajja teyalina nsimbi za kusasula bbanja eryo, mukama we kyeyava alagira batunde omusajja oyo ne mukazi we n’abaana be n’ebintu bye byonna ebbanja liggwe.
26 (R)“Naye omuddu oyo n’agwa wansi mu maaso ga mukama we, n’amwegayirira nti, ‘Ngumiikiriza, nzija kukusasula ebbanja lyonna.’
27 “Mukama we n’asaasira omuddu oyo n’amusonyiwa ebbanja lyonna!
28 “Omuddu oyo bwe yafuluma n’asanga munne gwe yali abanja eddinaali[c] kikumi, n’amugwa mu bulago nga bw’amugamba nti, ‘Ssasula kye nkubanja.’
29 “Naye munne n’agwa wansi, n’amwegayirira ng’agamba nti, ‘Ngumiikiriza, nnaakusasula.’
30 “Naye amubanja n’agaana okumuwuliriza, n’amuteeka mu kkomera akuumirwe omwo okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna. 31 Awo baddu banne bwe baakiraba ne banakuwala nnyo, ne bagenda bategeeza mukama we ebigambo bye balabye.
32 “Awo mukama we n’atumya omuddu gwe yali asonyiye n’amugamba nti, ‘Oli muddu mubi nnyo. Nakusonyiye ebbanja eryo lyonna, kubanga wanneegayiridde, 33 naye ggwe kyali tekikugwanira kusaasira muddu munno nga nange bwe nakusaasidde?’ 34 Mukama we kyeyava asunguwala nnyo, n’amukwasa abaserikale bamusse mu kkomera okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna.
35 (S)“Kale ne Kitange ali mu ggulu bw’atyo bw’alibakola singa mmwe abooluganda temusonyiwa okuva mu mitima gyammwe.”
8 1 (A)abantu bonna nga bassa kimu ne bakuŋŋaanira mu kifo ekigazi ekyali mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi. Ne bagamba Ezera omuwandiisi, okuleeta Ekitabo ky’Amateeka ga Musa, Mukama ge yalagira Isirayiri.
2 (B)Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu, Ezera kabona n’aleeta Ekitabo ky’Amateeka mu maaso g’ekibiina ekyalimu abasajja n’abakazi n’abalala abaali basobola okutegeera. 3 (C)N’akisomera mu kifo ekigazi mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi mu ddoboozi ery’omwanguka, okuva ku makya okutuusa essaawa mukaaga ez’omu tuntu, mu maaso g’abasajja n’abakazi n’abalala abasobola okutegeera. Abantu bonna ne batega amatu okuwulira ebyava mu Kitabo ky’Amateeka.
4 (D)Ezera omuwandiisi n’ayimirira ku kituuti eky’embaawo kye baazimbira omukolo ogwo. Mattisiya, ne Sema, ne Anaya, ne Uliya, ne Kirukiya ne Maaseya be baamuliraana ku mukono gwe ogwa ddyo, ate Pedaya, ne Misayeri, ne Malukiya, ne Kasimu, ne Kasubaddana, ne Zekkaliya ne Mesullamu be baamuliraana ku mukono gwe ogwa kkono.
5 (E)Awo Ezera n’abikkula ekitabo, abantu bonna nga bamutunuulidde kubanga ekifo we yali ayimiridde kyali waggulu w’abantu bonna, era bwe yali ng’ayanjuluza ekitabo, abantu bonna ne bayimirira. 6 (F)Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu; abantu bonna ne bayimusa emikono gyabwe ne baddamu nti, “Amiina! Amiina!” Ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka ne basinza Mukama.
7 (G)Yesuwa, ne Baani, ne Serebiya, ne Yamini, ne Akkubu, ne Sabbesayi, ne Kodiya, ne Masseya, ne Kerita, ne Azaliya, ne Yozabadi, ne Kanani ne Peraya, Abaleevi ne bannyonnyola abantu Amateeka, abantu nga bayimiridde mu bifo byabwe. 8 Ne basoma mu Kitabo ky’Amateeka ga Katonda, nga bataputa, era nga bannyonnyola amakulu, abantu bategeere ebyasomebwa.
9 (H)Naye Nekkemiya owessaza, ne Ezera kabona era omuwandiisi, n’Abaleevi abaali bayigiriza abantu, ne bagamba abantu bonna nti, “Olunaku lwa leero lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba.”
10 (I)Nekkemiya n’abagamba nti, “Mugende mulye ebyassava, munywe n’ebiwoomerera, muweerezeeko n’abo abatalina kye bateeseteese. Leero lunaku lutukuvu eri Mukama, temunakuwala, kubanga essanyu eriva eri Mukama ge maanyi gammwe.”
11 Awo Abaleevi ne bakkakkanya abantu bonna, nga boogera nti, “Mubeere bakkakkamu kubanga leero lunaku lutukuvu. Temunakuwala.”
12 (J)Oluvannyuma abantu bonna ne beddirayo ewaabwe ne balya ne banywa ne baweerezaako ne bannaabwe abatalina kyakulya, era ne basanyuka nnyo, kubanga baategeera amakulu g’ebigambo ebyabategeezebwa.
13 Ku lunaku olwokubiri olw’omwezi ogwo, abakulu b’ennyumba awamu ne bakabona n’Abaleevi, ne bakuŋŋaanira eri Ezera omuwandiisi okusoma n’okutegeera ebigambo by’Amateeka. 14 Ne basanga mu byawandiikibwa mu Mateeka, Mukama ge yalagira Musa, nga Abayisirayiri baali bateekwa okusulanga mu weema mu biseera eby’embaga ey’omwezi ogw’omusanvu, 15 era nga kibagwanidde okubunyisa amawulire ago n’okulangirira mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi, nga boogera nti, “Mugende mu nsozi mukuŋŋaanye amatabi ag’emizeeyituuni n’ago ag’emizeeyituuni egy’omu nsiko, n’ag’emikadasi,[a] n’ag’enkindu, n’ag’emiti emirala egirina ebikoola ebingi okuzimba weema nga bwe kyawandiikibwa.”
16 (K)Awo abantu ne bagenda ne bagaleeta ne beezimbira weema, abamu ku busolya bwabwe, ne mu mpya zaabwe, ne mu luggya lw’ennyumba ya Katonda, ne mu kibangirizi okuliraana Omulyango gw’Amazzi, ne mu kibangirizi okuliraana Omulyango gwa Efulayimu. 17 (L)Awo ekibiina kyonna ekyakomawo okuva mu buwaŋŋanguse, ne beezimbira weema ne babeera omwo; kubanga okuva mu biro bya Yesuwa[b] mutabani wa Nuuni okutuusa ku lunaku olwo, Abayisirayiri baali tebakwatanga kiseera ekyo bwe batyo. Ne basanyuka nnyo nnyini.
18 (M)Buli lunaku, Ezera n’asomanga mu Kitabo ky’Amateeka ga Katonda okuva ku lunaku olwasooka okutuusa ku lunaku olwasembayo. Ne bakwata embaga okumala ennaku musanvu, ne ku lunaku olw’omunaana, ne bakola olukuŋŋaana, ng’ekiragiro bwe kiri.
Pawulo mu Kkolinso
18 (A)Oluvannyuma lw’ebyo, Pawulo n’asitula okuva mu Asene n’alaga mu Kkolinso. 2 (B)Eyo gye yasisinkana omusajja Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalibwa mu Ponto, nga yaakava mu ltaliya ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulawudiyo yali awadde ekiragiro okugoba Abayudaaya bonna mu Ruumi. 3 (C)Olw’okuba nga baali bakola omulimu gwe gumu ogw’okukola weema, n’abeeranga nabo, era n’akolanga nabo. 4 (D)Buli lwa Ssabbiiti Pawulo yabeeranga mu kkuŋŋaaniro ng’amatiza Abayudaaya n’Abayonaani.
5 (E)Era Siira ne Timoseewo bwe baatuuka nga bava mu Makedoniya, Pawulo n’awaayo ekiseera kye kyonna mu kubuulira Ekigambo n’okukakasa Abayudaaya nti Yesu ye Kristo. 6 (F)Naye Abayudaaya bwe baatandika okumuwakanya, era n’okuvvoola erinnya lya Yesu, n’akunkumula ebyambalo bye, n’abagamba nti, “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze ndi mulongoofu. Okuva kaakano nnaagendanga eri Abaamawanga.”
7 Awo Pawulo n’ava eyo n’alaga mu nnyumba ya Tito Yusito, eyasinzanga Katonda, ng’amaka ge galiraanye n’ekkuŋŋaaniro. 8 (G)Kulisupo, eyali omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’ennyumba ye yonna, ne bakkiriza Mukama waffe, n’abalala bangi ku Bakkolinso abaawulira ne bakkiriza era ne babatizibwa.
9 Awo ekiro kimu Mukama n’ayogera ne Pawulo mu kwolesebwa, n’amugamba nti, “Totya! Weeyongere okubuulira, so tosirika! 10 (H)Kubanga ndi wamu naawe, tewali ayinza kukulumba n’akukola kabi. Era mu kibuga muno mulimu abantu bange bangi.” 11 Bw’atyo Pawulo n’abeerayo ebbanga lya mwaka mulamba n’ekitundu ng’ayigiriza ekigambo kya Katonda.
12 (I)Naye Galiyo bwe yalya obwagavana bwa Akaya, Abayudaaya ne beegatta wamu ne balumba Pawulo, ne bamukwata ne bamutwala mu mbuga z’amateeka ewa gavana okumusalira omusango. 13 Ne bamuwawaabira nti, “Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri etakkirizibwa mu mateeka.” 14 Naye Pawulo bwe yali ng’atandika okuwoza, Galiyo n’akyukira Abayudaaya abaawaaba n’abagamba nti, “Muwulire, mmwe Abayudaaya. Singa omusango guno gubadde gumenya mateeka, nandibadde nteekwa okubawuliriza. 15 (J)Naye ensonga zammwe nga bwe zifa ku nkozesa y’ebigambo n’amannya, era nga zikwata ku mateeka gammwe, kirungi mmwe muzeemalire. Nze saagala kusala musango gw’ebyo.” 16 Bw’atyo n’abagoba mu mbuga z’amateeka. 17 (K)Awo bonna ne bakyukira Sossene, eyali omukulembeze omuggya ow’ekkuŋŋaaniro, ne bamukwata, ne bamukubira awo mu maaso g’embuga z’amateeka. Kyokka Galiyo teyabafaako.
Pulisikira ne Akula
18 (L)Pawulo n’amala mu kibuga omwo ennaku eziwerako, oluvannyuma n’asiibula abooluganda n’asaabala ku nnyanja n’agenda e Siriya, ng’atutte Pulisikira ne Akula. Naye yali tannasaabala, enviiri ze ne bazisalirako e Kenkereya olw’obweyamo bwe yali akoze. 19 (M)Bwe baatuuka mu Efeso, banne n’abaleka awo n’agenda n’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya mu kkuŋŋaaniro. 20 Ne bamusaba abeere nabo ennaku eziwerako, naye n’atakkiriza. 21 (N)N’abagamba nti, “Nsaana okugenda ndyoke nsobole okubaawo ku mbaga ejja mu Yerusaalemi.” Kyokka n’abasuubiza nti agenda kukomawo mu Efeso nga Katonda amukkirizza. Bw’atyo n’asaabala ku nnyanja okuva mu Efeso. 22 (O)Pawulo bwe yagoba mu Kayisaliya, n’akyalira Ekkanisa n’oluvannyuma n’aserengeta mu Antiyokiya.
23 (P)Eyo n’amalayo ekiseera, n’asitula n’atambula n’ayitaayita mu bibuga ebiri mu bitundu bya Ggalatiya ne Fulugiya, ng’akyalira abayigirizwa bonna ng’abanyweza mu kukkiriza.
Apolo mu Efeso ne mu Kkolinso
24 (Q)Waaliwo Omuyudaaya erinnya lye Apolo, nga yazaalibwa mu Alegezanderiya eky’omu Misiri, n’atuuka mu Efeso. Yali musajja muyigirize nnyo, era ng’amanyi nnyo Ebyawandiikibwa. 25 (R)Yali ayigirizibbwa Ekkubo lya Mukama, nga w’amaanyi mu mwoyo, era yayogeranga n’ayigiriza bulungi byonna ebifa ku Yesu, wabula ng’amanyi kubatizibwa kwa Yokaana kwokka. 26 N’atandika okubuulira n’obuvumu mu kkuŋŋaaniro. Awo Pulisikira ne Akula bwe baamuwulira, ne bamuyita mu maka gaabwe ne bamunnyonnyola bingi eby’Ekkubo lya Katonda.
27 (S)Awo Apolo n’ayagala okuwunguka agende mu Akaya mu Buyonaani, n’abooluganda ne bamuwagira nnyo mu kirowoozo ekyo. Ne bawandiikira bannaabwe abakkiriza mu Buyonaani bamwanirize n’essanyu. Era bwe yatuuka mu Buyonaani, Katonda n’amukozesa nnyo mu kunyweza Ekkanisa, 28 (T)kubanga yasambajja n’amaanyi mangi ensonga Abayudaaya ze baaleetanga nga bawakanya Enjiri mu bantu, n’asinziiranga mu Byawandiikibwa okulaga nti ddala Yesu ye Kristo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.