Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Ebyomumirembe 36

36 Awo abantu b’ensi eyo ne balonda Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya, n’asikira kitaawe mu Yerusaalemi.

Yekoyakaazi Kabaka wa Yuda

Yekoyakaazi yali wa myaka amakumi abiri mu esatu bwe yalya obwakabaka, n’afugira mu Yerusaalemi emyezi esatu. Kabaka w’e Misiri yamugoba ku ntebe ey’obwakabaka mu Yerusaalemi, n’asalira Yuda obusuulu obwa ttani ssatu n’obutundu buna obwa ffeeza ne kilo amakumi asatu mu nnya eza zaabu. (A)Kabaka w’e Misiri n’afuula Eriyakimu muganda wa Yekoyakaazi okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi, n’akyusa n’erinnya lye, n’amutuuma Yekoyakimu, naye n’atwala Yekoyakaazi muganda we nga musibe e Misiri.

Yekoyakimu Kabaka wa Yuda

(B)Yekoyakimu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we. (C)Awo lumu Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’amulumba, n’amusiba mu masamba, n’amutwala e Babulooni. (D)Nebukadduneeza n’atwala n’ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama e Babulooni, n’abiteeka mu ssabo lye. Ebyafaayo ebirala ebyabaawo ku mulembe gwa Yekoyakimu, eby’ekivve bye yakola, ne byonna bye yavunaanibwa, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda. Yekoyakini mutabani we n’amusikira.

Yekoyakini Kabaka wa Yuda

(E)Yekoyakini yali wa myaka munaana bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyezi esatu n’ennaku kkumi mu Yerusaalemi. N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama. 10 (F)Awo omwaka bwe gwali nga gunaatera okuggwaako, kabaka Nebukadduneeza n’amutumya, n’aleetebwa e Babulooni n’ebintu byonna eby’omuwendo okuva mu yeekaalu ya Mukama. Nebukadduneeza n’afuula Zeddekiya kitaawe omuto okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi.

11 (G)Zeddekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. 12 (H)N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we, n’ateetoowaza mu maaso ga nnabbi Yeremiya, eyayogeranga ekigambo kya Mukama. 13 (I)N’ajeemera ne kabaka Nebukadduneeza eyamulayiza mu maaso ga Katonda. N’akakanyaza ensingo ye n’omutima gwe, n’atakyuka kudda eri Mukama Katonda wa Isirayiri. 14 (J)Ate ne bakabona abakulu bonna n’abantu, ne bataba beesigwa ne bagoberera eby’obukaafiiri eby’amawanga amalala, ne bagwagwawaza yeekaalu ya Mukama, gye yali atukuzizza mu Yerusaalemi.

Okugwa kwa Yerusaalemi

15 (K)Awo Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’ayogera nabo ng’ayita mu babaka be, ng’asaasira abantu be n’ekifo mu abeera. 16 (L)Naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda, ne banyoomanga n’ebigambo bye, ne basekereranga bannabbi be, okutuusa obusungu bwa Katonda bwe bwabuubuukira ku bantu be awatali kubasaasira. 17 (M)Kyeyava aweereza kabaka w’Abakaludaaya okubalumba, n’atta n’ekitala abavubuka baabwe mu nnyumba awasinzizibwa, n’atalekaawo muvubuka n’omu newaakubadde abawala abato, newaakubadde abasajja abakulu wadde abakadde ennyo. Bonna Katonda yabawaayo mu mukono gwa Nebukadduneeza. 18 (N)Ne yeetikka ebintu ebinene n’ebitono byonna okuva mu yeekaalu ya Katonda, n’eby’obugagga eby’omu yeekaalu ya Mukama, n’amawanika ga kabaka n’abakungu be. 19 (O)Ne bookya yeekaalu ya Katonda ne bamenyaamenya ne bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya n’embiri zonna, ne bazikiriza n’ebintu eby’omuwendo byonna.

20 (P)N’abo abaawona ekitala, n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni, ne babeera baddu be n’aba batabani be okutuusa ku kufuga kw’obwakabaka bw’Obuperusi. 21 (Q)Ensi n’ekuuma ssabbiiti zaayo, ekiseera kyonna kye yamala mu kubonaabona kwayo okutuusa emyaka ensanvu bwe gyagwako, ng’ekyo kituukiriza ekigambo Mukama kye yayogera mu Yeremiya.

22 (R)Mu mwaka ogw’olubereberye ogwa Kuulo kabaka wa Buperusi, Mukama n’akoma ku mutima gwa Kuulo kabaka wa Buperusi ng’ekigambo Mukama kye yayogerera mu Yeremiya bwe kyali, okulangirira mu bwakabaka bwe bwonna, n’okuwandiika nti,

23 (S)“Bw’atyo bw’ayogera Kuulo kabaka wa Buperusi nti,

“ ‘Mukama Katonda w’eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw’omu nsi, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda. Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe ow’oku bantu be, Mukama Katonda abeere naye, ayambuke.’ ”

Okubikkulirwa 22

Omugga ogw’Obulamu

22 (A)Awo malayika n’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu agamasamasa ng’endabirwamu, nga gukulukuta okuva mu ntebe ey’obwakabaka eya Katonda, n’ey’Omwana gw’Endiga, (B)nga gukulukutira wakati mu luguudo olunene. Ku mbalama zombi ez’omugga kwaliko emiti egy’obulamu, gumu ku buli ludda, egibala ebibala ekkumi n’ebibiri era nga buli mwezi kubeerako ebibala eby’engeri endala; n’amakoola gaagwo nga gakozesebwa ng’eddagala okuwonya amawanga. (C)Mu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe ey’obwakabaka eya Katonda n’ey’Omwana gw’Endiga ziribeera eyo, n’abaddu be balimuweereza, (D)era banaalabanga amaaso ge, n’erinnya lye liriwandiikibwa mu byenyi byabwe. (E)Teribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe. (F)Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Ebigambo bino bituufu, bya mazima. Era Katonda w’emyoyo gya bannabbi, atumye malayika we okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.”

Okujja kwa Yesu

(G)“Era laba, nzija mangu. Alina omukisa oyo akwata ebigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino.”

(H)Nze Yokaana nalaba era ne mpulira ebintu ebyo. Era bwe nabiraba ne mbiwulira ne ngwa wansi okusinza malayika oyo eyabindaga; (I)kyokka ye n’aŋŋamba nti, “Tokola kintu ekyo kubanga nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, awamu n’abo bonna abakwata ebigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Ssinza Katonda.”

10 (J)Awo n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’owandiise eby’obunnabbi tobikuuma nga bya kyama kubanga biri kumpi okutuukirira. 11 (K)Era ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era n’omugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, n’abatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu.

12 (L)“Laba, nzija mangu nsasule buli omu ng’ebikolwa bye bwe biri. 13 (M)Nze Alufa era nze Omega, Owoolubereberye era Asembayo, Entandikwa era Enkomerero.

14 (N)“Balina omukisa abo abayoza ebyambalo byabwe, baliweebwa obuyinza okuyingira mu miryango gy’ekibuga ne balya ne ku bibala ebiva ku muti ogw’obulamu. 15 (O)Ebweru w’ekibuga y’ebeera embwa, n’abalogo, n’abenzi, n’abassi, n’abasinza bakatonda abalala n’abo bonna abaagala era abakola eby’obulimba.

16 (P)“Nze Yesu, ow’omu kikolo era ow’omu lulyo lwa Dawudi, ntumye malayika wange gye muli okubuulira Ekkanisa ebigambo bino. Nze Mmunyeenye eyaka ey’Enkya.”

17 (Q)Omwoyo n’Omugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi ag’obulamu ag’obuwa.

18 (R)Ntegeeza buli omu awulira ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. 19 (S)Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.

20 (T)Oyo ayogedde ebintu bino agamba nti, “Weewaawo nzija mangu!”

Amiina! Jjangu Mukama waffe Yesu!

21 (U)Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga ne bonna. Amiina.

Malaki 4

Olunaku lwa Mukama

(A)“Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi, n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola ebibi baliba bisasiro: ku lunaku lwennyini balyokerwa ddala,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obutabalekerawo mulandira newaakubadde ettabi. (B)Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kiraalo. (C)Era mulirinnya ku babi, kubanga baliba vvu wansi w’ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndibalokolerako,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

(D)“Mujjukire okugonderanga amateeka ga Musa omuddu wange, ebiragiro n’amateeka bye namukwasa ku Kolebu olwa Isirayiri yenna.

(E)“Laba, ndibatumira nnabbi Eriya, olunaku lwa Mukama olukulu olw’entiisa nga terunnatuuka, (F)era alikomyawo omutima gwa bazadde eri abaana baabwe, n’omutima gw’abaana eri bazadde baabwe; nneme okukolimira ensi.”

Yokaana 21

Yesu Alabikira Abayigirizwa be musanvu

21 (A)Ebyo bwe byaggwa, Yesu n’alabikira nate abayigirizwa be, ku nnyanja ey’e Tiberiya.[a] Yabalabikira bw’ati: (B)Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow’e Kaana eky’e Ggaliraaya, ne batabani ba Zebbedaayo, n’abayigirizwa abalala babiri, bonna baali wamu. (C)Simooni Peetero n’abagamba nti, “ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti, “Ka tugende ffenna.” Ne bagenda ne basaabala mu lyato. Naye ekiro ekyo kyonna ne batakwasaayo kintu.

(D)Bwe bwali bukya, Yesu n’ayimirira ku lubalama, naye abayigirizwa ne batamutegeera.

Yesu n’ababuuza nti, “Abaana, mukwasizzaayo?”

Ne baddamu nti, “Nedda.”

(E)Yesu n’abagamba nti, “Kale musuule akatimba ku luuyi olwa ddyo olw’eryato, mujja ku kukwasa.” Awo ne basuula, naye ne batasobola kukannyulula olw’ebyennyanja ebingi bye baakwasa!

(F)Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga ennyo n’agamba Peetero nti, “Oyo Mukama waffe!” Simooni Peetero bwe yakiwulira ne yeesiba olugoye kubanga yali mu kakutu, ne yeesuula mu mazzi. Abayigirizwa abalala bo ne bajjira mu lyato nga basika akatimba akaalimu ebyennyanja. Tebaali wala n’olukalu, baali nga mita kyenda. (G)Awo bwe baatuuka ne basanga omuliro ogw’amanda nga gwaka, nga kuliko ekyennyanja n’omugaati.

10 Yesu n’abagamba nti, “Muleete ku byennyanja bye muva okukwasa kaakano.”

11 Awo Simooni Peetero n’agenda n’awalula akatimba n’akatuusa ku lukalu, nga kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Newaakubadde nga byali bingi bwe bityo naye akatimba tekaakutuka. 12 Yesu n’abagamba nti, “Mujje mulye ekyenkya.” Naye ku bayigirizwa tewaali n’omu yategana ku mubuuza nti, “Ggwe ani?” Kubanga bonna baamanya nti ye Mukama waffe. 13 (H)Yesu n’atoola omugaati n’abagabira era n’ebyennyanja n’akola bw’atyo. 14 (I)Guno gwe mulundi ogwokusatu Yesu gwe yalabikira abayigirizwa be, ng’amaze okuzuukira.

Yesu Azzaamu Peetero Amaanyi

15 (J)Bwe baamala okulya, Yesu n’agamba Peetero nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala okusinga bano?”

Peetero n’addamu nti, “Ddala, omanyi nga nkwagala nnyo.”

Yesu n’amugamba nti, “Kale liisanga abaana b’endiga zange.”

16 (K)Yesu n’amubuuza omulundi ogwokubiri nti, “Simooni omwana wa Yokaana, ddala onjagala?”

Peetero n’addamu nti, “Ddala, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu n’amugamba nti, “Kale lundanga endiga zange.”

17 (L)Yesu n’abuuza Peetero omulundi ogwokusatu nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala?”

Peetero n’anakuwala kubanga Yesu yamubuuza omulundi ogwokusatu nti, “Onjagala?” Peetero n’amuddamu nti, “Mukama wange ggwe omanyi buli kimu, omanyi nga nkwagala.”

Yesu n’amugamba nti, “Kale liisanga endiga zange. 18 Bwe wali ng’okyali muvubuka wasobolanga okukola buli kye wayagalanga era ng’ogenda buli gye weetaaganga naye bw’olikaddiwa oligolola emikono gyo, omuntu omulala n’akusiba n’akutwala gy’otoyagala.” 19 (M)Ekyo Yesu yakyogera ng’alaga enfa Peetero gy’alifaamu okuweesa Katonda ekitiibwa. Awo n’amugamba nti, “Ngoberera.”

20 (N)Peetero bwe yakyuka, n’alaba omuyigirizwa oli Yesu gwe yayagalanga ennyo nga naye agoberera. Oyo ye muyigiriza eyagalamira okumpi n’ekifuba kya Yesu nga balya ekyekiro eky’enkomerero, amale abuuze Yesu nti, “Mukama waffe ani agenda okukulyamu olukwe?” 21 Peetero bwe yamulaba kwe kubuuza Yesu nti, “Mukama wange, ate ono aliba atya?”

22 (O)Yesu n’amugamba nti, “Bwe njagala abeerawo okutuusa lwe ndikomawo, ofaayo ki? Ggwe goberera Nze.” 23 (P)Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu booluganda nti omuyigirizwa oyo talifa. Naye Yesu teyagamba nti omuyigirizwa oyo talifa, wabula yagamba bugambi nti, “Bwe njagala abeerawo okutuusa lwe ndikomawo, ofaayo ki?”

24 (Q)Oyo ye muyigirizwa akakasa bino era ye yabiwandiika. Era tumanyi nga by’ategeeza bya mazima.

Ebifundikira

25 (R)Waliwo n’ebintu ebirala bingi Yesu bye yakola ebitaawandiikibwa. Era singa nabyo byawandiikibwa kinnakimu, ndowooza nga n’ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.