M’Cheyne Bible Reading Plan
25 (A)Awo Zeddekiya nga yakafugira emyaka mwenda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’eggye lye lyonna ne balumba Yerusaalemi ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi; ne basiisira ebweru waakyo, ne bakizimbako ebigo okukyetooloola. 2 Awo ekibuga ne kizingizibwa okumala emyaka ebiri nga Zeddekiya y’akyali kabaka. 3 (B)Ku lunaku olw’omwenda mu mwezi ogwokuna enjala n’eba nnyingi nnyo mu kibuga, abantu ab’omu nsi ne babulwako n’emmere ey’okulya. 4 (C)Awo kabaka n’eggye lye lyonna abaali mu kibuga ne bawagula mu bbugwe ekituli, ekiro, ne badduka nga bayita mu mulyango ogwaliraananga ennimiro ya kabaka ne bayita ne ku Bakaludaaya abaali bazingizza ekibuga enjuuyi zonna. 5 (D)Naye eggye ly’Abakaludaaya ne bagoberera kabaka, okutuusa lwe bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko n’eggye lye lyonna ne lisaasaana okumwabulira. 6 (E)Ne bawamba kabaka, ne bamuleeta eri kabaka w’e Babulooni e Libula gye yasalirwa omusango. 7 (F)Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuteeka mu masamba, n’atwalibwa e Babulooni.
Yerusaalemi ne Yeekaalu bisaanyizibwawo
8 Awo ku lunaku olw’omusanvu mu mwezi ogwokutaano mu mwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obwakabaka bwa Nebukadduneeza, kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye lya kabaka ery’oku ntikko, ate nga mwami wa kabaka w’e Babulooni n’ajja mu Yerusaalemi. 9 (G)N’ayokya yeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwa kabaka, n’ennyumba zonna na buli kizimbe ekikulu era nga kya muwendo mu Yerusaalemi. 10 (H)Awo eggye lyonna ery’Abakaludaaya nga bakulemberwa omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko, ne bamenya bbugwe wa Yerusaalemi. 11 (I)Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala abantu bonna abaali basigaddewo mu kibuga, mu buwaŋŋanguse nga basibe, n’abaali baasenga kabaka w’e Babulooni, n’abalala bonna abaali mu kibuga. 12 (J)Wabula yalekamu abaali basemberayo ddala obwavu mu nsi eyo, okulabiriranga emizabbibu n’okulimanga.
13 Abakaludaaya ne bamenyaamenya empagi ez’ebikomo n’ebyuma ebyawaniriranga ennyanja ey’ekikomo, n’ennyanja ey’ekikomo, ebyali mu yeekaalu ya Mukama, n’ebikomo byamu ne babitwala e Babulooni. 14 (K)Era baatwala n’entamu, n’ebisena, n’ebisalako ebisirinza, n’ebijiiko n’ebintu byonna eby’ekikomo ebyakozesebwanga mu yeekaalu. 15 Omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala n’ebyoterezo wamu n’ebibya ebyali ebya zaabu n’ebyali ebya ffeeza.
16 Ekikomo ekyava mu mpagi ebbiri, ne mu nnyanja, ne mu byuma ebyawaniriranga ennyanja ey’ekikomo, Sulemaani bye yakolera yeekaalu ya Mukama, obuzito bwakyo nga tebumanyiddwa. 17 (L)Buli mpagi obugulumivu yali mita munaana ne desimoolo emu ne ku mutwe gwayo nga kuliko ekikomo ng’obugulumivu bwakyo mita emu ne desimoolo ssatu, nga kitoneddwatoneddwa n’ebifaananyi n’amakomamawanga ag’ekikomo okukyetooloola. N’empagi eyookubiri yali ekoleddwa mu ngeri y’emu.
18 (M)Omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala nga basibe: Seraya kabona Asinga obukulu, n’omumyuka we Zeffaniya, n’abaggazi abasatu. 19 Era yatwala n’omukungu eyaduumiranga abasajja abalwanyi, n’abakungu abalala bataano abatuulanga ku lukiiko lwa kabaka; era n’atwala n’omuwandiisi omukulu eyavunaanyizibwanga okuyingizanga abantu mu magye mu nsi ya Yuda, n’abasajja abannansi nkaaga abaasangibwa mu kibuga. 20 Abo bonna Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’abatwalira kabaka w’e Babulooni e Libula. 21 (N)Kabaka w’e Babulooni n’abattira eyo e Libula, mu nsi y’e Kamasi.
Bw’atyo Yuda n’atwalibwa mu buwaŋŋanguse nga musibe, okuva mu nsi ye.
22 (O)Awo Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alonda Gedaliya mutabani wa Akikamu, muzzukulu wa Safani okuba omukulembeze w’abo abaali basigaddewo mu Yuda. 23 Awo abakungu ab’eggye n’abasajja abalala bwe baawulira nga kabaka w’e Babulooni alonze Gedaliya okuba omukulembeze, ne bagenda eri Gedaliya e Mizupa. Abasajja abakungu abo baali Isimayiri mutabani wa Nesaniya, ne Yokanaani mutabani wa Kaleya, ne Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa, ne Yaazaniya mutabani w’Omumaakasi. 24 Gedaliya n’abalayirira bo n’abasajja baabwe n’abagamba nti, “Temutya bakungu Bakaludaaya, naye mutereere mu nsi muweereze kabaka w’e Babulooni kale ebintu byonna binaabagendera bulungi.”
25 Naye mu mwezi ogw’omusanvu, Isimayiri mutabani wa Nesaniya, muzzukulu wa Erisaama ow’olulyo olulangira n’ajja n’abasajja kkumi, n’alumba Gedaliya era n’amutta, awamu n’Abayudaaya; n’Abakaludaaya abaali awamu naye e Mizupa nabo n’abatta. 26 (P)Awo abantu bonna okuviira ddala ku wawansi okutuukira ddala ku w’eddaala erya waggulu, n’abamaggye abakulu bonna, ne baddukira e Misiri, nga batidde Abakaludaaya.
Yekoyakini Ateebwa
27 Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda nga yakamala emyaka amakumi asatu mu musanvu mu buwaŋŋanguse mu busibe, nga Evirumerodaki kyajje afuuke kabaka w’e Babulooni, Evirumerodaki n’ata Yekoyakini kabaka wa Yuda okuva mu kkomera ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri. 28 (Q)N’ayogera naye ebigambo ebyekisa, n’amuwa n’ekitiibwa ekya waggulu okusinga ne bakabaka abalala abaali awamu naye mu buwaŋŋanguse mu busibe e Babulooni. 29 (R)Awo Yekoyakini n’aggyamu ebyambalo bye eby’ekkomera n’aliiranga wamu ne kabaka w’e Babulooni ku mmeeza ya kabaka ennaku zonna ez’obulamu bwe. 30 (S)Kabaka n’awanga Yekoyakini omugabo ogwa buli lunaku ennaku zonna ez’obulamu bwe.
Kabona Merukizeddeeki
7 (A)Merukizeddeeki yali kabaka w’e Ssaalemi, era yali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo. Ibulayimu bwe yali ng’ava mu lutalo mwe yattira bakabaka, Merukizeddeeki n’amusisinkana, n’amusabira omukisa. 2 Ne Ibulayimu n’awa Merukizeddeeki ekitundu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. Okusooka erinnya Merukizeddeeki litegeeza nti Kabaka ow’Obutuukirivu. Ate era litegeeza kabaka w’e Ssaalemi ekitegeeza nti ye kabaka ow’emirembe. 3 (B)Merukizeddeeki taliiko kitaawe oba nnyina. Ennaku ze teziriiko ntandikwa wadde enkomerero, era n’obulamu bwe tebukoma. Asigala kabona emirembe gyonna, ng’Omwana wa Katonda.
4 (C)Kale mulabe Merukizeddeeki oyo nga bwe yali omukulu! Ibulayimu jjajjaffe yamuwa ekimu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. 5 (D)N’abo abazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, balagirwa okusoloozanga ekimu eky’ekkumi ng’etteeka bwe ligamba, newaakubadde nga baava mu ntumbwe za Ibulayimu, kwe kugamba nti nabo baganda baabwe. 6 (E)Naye oyo ataabalibwa mu kika kyabwe, yafuna ekimu eky’ekkumi okuva eri Ibulayimu, Merukizeddeeki n’asabira omukisa oyo eyalina ebyasuubizibwa. 7 Tewali kubuusabuusa omukulu y’asabira omuto omukisa. 8 (F)Mu ngeri emu, ekimu eky’ekkumi kiweebwa eri abantu abafa, naye mu ngeri endala, kiweebwa eri oyo akakasibwa nga mulamu. 9 Noolwekyo ka tugambe nti okuyita mu Ibulayimu, ne Leevi aweebwa ekimu eky’ekkumi, naye yawaayo ekimu eky’ekkumi. 10 Yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeddeeki bwe yamusisinkana.
11 (G)Kale singa okutuukirira kwaliwo lwa bwakabona obw’Ekileevi, kubanga abantu baaweebwa amateeka nga gasinzira ku bwo, kiki ekyetaaza kabona omulala okuva mu lubu lwa Merukizeddeeki, mu kifo ky’okuva mu lubu lwa Alooni? 12 Kubanga bwe wabaawo okukyusibwa mu bwakababona, era kiba kyetaagisa n’okukyusa mu mateeka. 13 (H)Oyo ayogerwako ebigambo ebyo wa kika kirala omutaavanga muntu eyali aweerezaako ku Kyoto. 14 (I)Kubanga kimanyiddwa nga Mukama waffe yava mu Yuda ekika Musa ky’ataayogerako bigambo bya bwakabona. 15 Era kitegeerekeka nga wazeewo Kabona omulala mu kifaananyi kya Merukizeddeeki, 16 atassibwawo ng’amateeka ag’ebiragiro eby’omubiri bwe gali, wabula ng’amaanyi bwe gali ag’obulamu obutaggwaawo. 17 (J)Kubanga Kristo ayogerwako nti,
“Oli kabona okutuusa emirembe gyonna
ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”
18 (K)Ekiragiro ekyasooka kijjululwa olw’obunafu n’olw’obutagasa bwakyo, 19 (L)kubanga amateeka tegaliiko kye gatuukiriza, wabula essubi erisinga obulungi, mwe tuyita okusemberera Katonda.
20 Era kino tekyakolebwa watali kirayiro. Waliwo abaafuulibwa bakabona awatali kirayiro, 21 (M)naye ye yafuulibwa kabona mu kirayiro, ng’ayita mu oyo amwogerako nti,
“Mukama yalayira
era tagenda kwejjusa:
‘Oli kabona emirembe gyonna.’ ”
22 (N)Yesu kyeyava afuuka omuyima w’endagaano esinga obulungi.
23 Bangi abaafuulibwa bakabona kubanga baafanga ne basikirwa. 24 (O)Naye olwokubanga Yesu abeerera emirembe gyonna, alina obwakabona obutakyukakyuka. 25 (P)Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolereza.
26 (Q)Noolwekyo Kabona Asinga Obukulu afaanana bw’atyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko musango, wadde ebbala, eyayawulibwa okuva ku abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okusinga eggulu, 27 (R)ataliiko kye yeetaaga ekya buli lunaku, nga bakabona abakulu abalala, okusooka okuwangayo ssaddaaka olw’ebibi bye ye, n’oluvannyuma olw’ebyo eby’abantu abalala. Ekyo yakikola omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini. 28 (S)Amateeka gaalondanga abantu okuba Bakabona Abasinga Obukulu n’obunafu bwabwe, naye ekigambo eky’ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kironda Omwana eyatuukirira okutuusa emirembe gyonna.
1 (A)Bino bye bigambo Amosi eyali omu ku balunzi b’endiga mu bitundu by’e Tekowa bye yabikkulirwa, musisi amale ajje nga wakayitawo emyaka ebiri, mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, era nga gy’emirembe gya kabaka Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi nga y’afuga Isirayiri.
2 (B)Amosi yagamba nti,
“Mukama awuluguma ng’asinziira mu Sayuuni,
era eddoboozi lye liwulirwa nga libwatukira mu Yerusaalemi;
omuddo mu malundiro gulikala
n’entikko y’olusozi Kalumeeri erisigala njereere.”
Okulamulwa kwa Baliraanwa ba Isirayiri
3 (C)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Ddamasiko ebisatu,
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga baabonereza nnyo abantu b’e Gireyaadi
nga babasalaasala n’ebyuma.
4 (D)Ndiweereza omuliro mu lubiri lwa kabaka Kazayeeri
era njokye n’ebigo bya kabaka Benikadadi.
5 (E)Era ndimenya enzigi z’ekibuga Ddamasiko
era ndizikiriza kabaka ali mu Kiwonvu ky’e Aveni,
oyo akwata omuggo ogw’obwakabaka mu Besiadeni.
Abantu b’e Busuuli balitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Kiri,”
bw’ayogera Mukama.
6 (F)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Gaza ebisatu,
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yatwala eggwanga ddamba mu busibe
n’alitunda eri Edomu.
7 Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Gaza
ogulyokya ebigo byakyo.
8 (G)Ndizikiriza atuula mu Asudodi,
n’oyo akwata omuggo gw’obwakabaka ndimumalawo okuva mu Asukulooni.
Ndibonereza Ekuloni
okutuusa lwe ndimalirawo ddala Abafirisuuti,”
bw’ayogera Mukama.
9 (H)Mukama bw’ati bw’ayogera nti,
“Olw’ebyonoono bya Ttuulo ebisatu,
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yatunda eggwanga ddamba erya Edomu mu busibe
n’amenya endagaano ey’obwaseruganda eyali ekoleddwa,
10 (I)kyenaava mpeereza omuliro ku bbugwe wa Ttuulo,
ogunaayokya ebigo byakyo.”
11 (J)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Edomu ebisatu,
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yayigganya muganda we n’ekitala
awatali kusaasira,
obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma
era ne batabusalako.
12 (K)Ndiweereza omuliro ku Temani
oguliyokya ebigo bya Bozula.”
13 (L)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Amoni ebisatu
weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Mu ntalo ez’okugaziya ensi ye,
yabaaga abakazi abaali embuto ab’e Giriyaadi.
14 (M)Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Labba,
era gulyokya ebigo byakyo.
Walibaawo n’oluyoogaano olunene ku lunaku olw’olutalo
mu mpewo ey’amaanyi, kibuyaga ng’akunta.
15 Kabaka waakyo alitwalibwa mu buwaŋŋanguse,
ye n’abakungu be bonna,”
bw’ayogera Mukama.
Zabbuli ya Dawudi.
144 (A)Atenderezebwe Mukama, olwazi lwange,
atendeka emikono gyange okulwana,
era ateekerateekera engalo zange olutalo.
2 (B)Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange,
ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange.
Ye ngabo yange mwe neekweka.
Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.
3 (C)Ayi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako,
oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?
4 (D)Omuntu ali nga mukka.
Ennaku ze ziri ng’ekisiikirize ekiyita obuyisi.
5 (E)Yawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama, okke!
Kwata ku nsozi zinyooke omukka!
6 (F)Myansa abalabe basaasaane,
era lasa obusaale bwo obazikirize.
7 (G)Ogolole omukono gwo ng’osinziira waggulu ennyo,
omponye,
onzigye mu mazzi amangi,
era onzigye mu mikono gya bannamawanga;
8 (H)ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
abalayira nti kya mazima, so nga bulimba bwereere.
9 (I)Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya;
nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
10 (J)ggwe awa bakabaka obuwanguzi;
amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.
11 (K)Ndokola, omponye onzigye
mu mukono gwa bannamawanga bano
ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.
12 (L)Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,
babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,
ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda
okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
13 Amawanika gaffe gajjule ebibala
ebya buli ngeri.
Endiga zaffe zizaale
enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.
14 Ente zaffe ziwalule ebizito.
Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa.
Waleme kubaawo kukaaba
n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.
15 (M)Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye!
Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.