M’Cheyne Bible Reading Plan
Okulokolebwa Kwa Yerusaalemi Kutegeezebwa
19 (A)Kabaka Keezeekiya olwawulira ebyo byonna, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayambala ebibukutu, n’alaga mu yeekaalu ya Mukama. 2 (B)N’atuma Eriyakimu eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona ab’oku ntikko, nga bonna bambadde ebibukutu, okugenda eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi. 3 Ne bamugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Keezeekiya nti Leero lunaku lwa buyinike, era lwa kunenyezebwa, era lwa kuswazibwa, ng’abaana bwe batuuka okuzaalibwa, naye ne wataba maanyi ga ku bazaala. 4 (C)Kiyinzika okuba nga Mukama Katonda wo yawulidde obubaka bwonna obwa Labusake, mukama we kabaka w’e Bwasuli bwe yaweereza ng’anyooma Katonda omulamu, era nti amunenye olw’ebigambo byonna Mukama Katonda wo by’awulidde. Noolwekyo ssabira ekitundu ekikyasigaddewo.”
5 Awo abakungu ba Kabaka Keezeekiya bwe baatuuka eri Isaaya, 6 (D)Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde, abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa. 7 (E)Wuliriza! Nzija kumuteekamu omwoyo, awulire olugambo ku bikwata ku nsi ye addeyo mu nsi ye, era gye ndimuzikiririza n’ekitala.’ ”
8 (F)Labusake bwe yawulira nti kabaka w’e Bwasuli avudde mu Lakisi, n’avaayo, n’asanga kabaka ng’alwana ne Libuna.
9 Awo Sennakeribu n’afuna obubaka obukwata ku Tiraka kabaka w’e Esiyopya nti, “Laba amaliridde okulwana naawe,” era n’addamu n’atuma ababaka eri Keezeekiya ng’agamba nti, 10 (G)“Bwe muti bwe munagamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nti, ‘Tokkiriza Katonda wo gwe weesiga kukulimbalimba ng’akusuubiza nti Yerusaalemi teriweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’ 11 Ekyamazima wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye bakoze amawanga gonna, nga bagasaanyizaawo ddala. Olowooza nti olirokolebwa? 12 (H)Bakatonda baamawanga ag’e Gozani, n’e Kalani, n’e Lezefu, n’abantu ba Adeni abaali mu Terasali, abasaanyizibwawo bajjajjange, babalokola? 13 (I)Kabaka w’e Kamasi, kabaka w’e Alupadi, kabaka w’ekibuga kya Sefavayimu, oba kabaka w’e Kena oba kabaka w’e Yiva, bali ludda wa?”
Okusaba kwa Keezeekiya
14 Keezeekiya n’afuna ebbaluwa eyaleetebwa ababaka, n’agisoma. N’ayambuka n’agenda mu yeekaalu ya Mukama, n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama. 15 (J)Keezeekiya n’asaba eri Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu ku bakerubi, ggwe wekka, ggwe Katonda ow’obwakabaka bwonna obw’ensi, era ggwe wakola eggulu n’ensi. 16 (K)Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire; ozibule amaaso go Ayi Mukama, olabe; owulire ebigambo bya Sennakeribu, byayogedde ng’avvoola Katonda omulamu.
17 “Kya mazima, Ayi Mukama, nti bakabaka b’e Bwasuli baazikiriza amawanga n’ensi zaabwe, 18 (L)ne basuula bakatonda baabwe mu muliro. Naye abo tebaali Katonda, baali mirimu gy’emikono gy’abantu, nga mbaawo n’amayinja, era kyebaava bazikirizibwa. 19 (M)Kaakano, Ayi Mukama, Katonda waffe, tukwegayiridde, otulokole mu mukono gwe, amawanga gonna ku nsi gamanye nga ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wekka.”
Isaaya Ayogera Ebyobunnabbi ku kugwa kwa Sennakeribu
20 (N)Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’aweereza Keezeekiya obubaka nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mpulidde okusaba kwo ku bikwata ku Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli. 21 (O)Kino kye kigambo Mukama ky’ayogedde ku bimukwatako:
“ ‘Omuwala wa Sayuuni embeerera akunyooma
era akusekerera.
Omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyeza omutwe gwe
nga bw’odduka.
22 (P)Ani gw’ovumye era n’ovvoola?
Ani gw’okandulidde eddoboozi lyo,
era ani gw’oyimusirizza amaaso go n’amalala?
Obikoze Omutukuvu wa Isirayiri!
23 (Q)Ojereze Mukama
ng’oyita mu babaka bo.
Era ogambye nti,
“Nninye ku ntikko z’ensozi
n’amagaali gange amangi,
ku ntikko ezisingirayo ddala obuwanvu eza Lebanooni.
Ntemye emivule egisingirayo ddala obuwanvu
n’emiberosi gyayo egisingirayo ddala obulungi.
Ntuuse ne mu bifo ebisingirayo ddala okuba ebikusike
ne mu bibira ebisingirayo ddala okuba ebirungi.
24 Nsimye enzizi mu bannamawanga,
n’enywa amazzi gaamu.
Nkazizza emigga egy’e Misiri gyonna,
nga ngirinnyirira n’ebisinziiro by’ebigere byange.”
25 (R)“ ‘Tewawulira nga nakisalawo dda?
Mu biro eby’edda nakiteekateeka,
era kaakano nkituukirizza,
olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe
okuba ng’entuumo y’amayinja.
26 (S)Ababituulamu tebakyalina buyinza,
batekemuse era baswazibbwa.
Bafaanana ng’ebimera eby’omu nnimiro,
ng’omuddo omubisi,
ng’omuddo ogusibuse mu busolya bw’ennyumba,
ne gutugibwa nga tegunnakula.
27 (T)“ ‘Naye mmanyi obutuuliro bwo
era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo
n’obuswandi bw’ondaga.
28 (U)Kubanga ondaze obuswandi bwo,
n’obujoozi bwo
ne mbuwulira mu matu gange,
kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo
n’olukoba lwange mu mumwa gwo,
era oliddirayo mu kkubo lye wajjiramu.’
29 (V)“Era kano ke kanaaba akabonero ko, ggwe Keezeekiya.
“Omwaka guno olirya ekyo ekimera kyokka,
ne mu mwaka ogwokubiri ekiriva mw’ekyo.
Naye mu mwaka ogwokusatu siga era okungule;
era simba ennimiro ez’emizabbibu, olye ku bibala bya kwo.
30 (W)Ekitundu ekisigaddewo eky’ennyumba ya Isirayiri
kyekiriva kiddamu ne kisimba emizi wansi, ne kibala ebibala waggulu.
31 (X)Mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo,
ne mu Lusozi Sayuuni ne muva abo abaliwona.
Obuggya bwa Mukama ow’Eggye bulikituukiriza.
32 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku kabaka w’e Bwasuli, nti,
“ ‘Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino,
wadde okulasayo akasaale.
Talikisemberera n’engabo
newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.
33 (Y)Ekkubo lye yakwata ng’ajja, omwo mw’aliddira,
naye taliyingira mu kibuga kino,
bw’ayogera Mukama.
34 (Z)Ndirwanirira ekibuga kino nkirokole,
ku lwange, ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ”
35 (AA)Ekiro ekyo malayika wa Mukama n’agenda mu nkambi ey’Abasuuli n’atta abasajja emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Ku makya abantu bwe baagolokoka, laba nga bonna mirambo. 36 (AB)Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ava mu nkambi, n’addayo ewuwe, n’agenda n’abeera e Nineeve.
37 (AC)Awo bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya katonda we Nisuloki Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta n’ekitala, ne baddukira mu nsi y’e Alalati. Esaladoni mutabani we n’amusikira.
Omwana mukulu okusinga bamalayika
1 (A)Edda, Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe mu ngeri nnyingi ez’enjawulo ng’ayita mu bannabbi; 2 (B)naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogera naffe ng’ayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi n’ebintu byonna ebirimu. 3 (C)Amasamasa n’ekitiibwa kya Katonda, era ky’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era abeezaawo buli kintu olw’ekigambo kye eky’amaanyi. Bwe yamala okukola ekikolwa eky’okututukuza okuva mu bibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu. 4 (D)Bw’atyo n’asinga bamalayika, nga kyeragira ku linnya lye okuba ery’ekitiibwa okusinga amannya gaabwe.
5 (E)Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti,
“Ggwe oli Mwana wange,
Leero nkuzadde?”
Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gy’ali
naye anaabeeranga Mwana wange gye ndi?”
6 (F)Era nate bw’aleeta Omwana we omubereberye mu nsi, agamba nti,
“Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”
7 (G)Era ayogera ku bamalayika nti,
“Afuula bamalayika be ng’empewo,
n’afuula n’abaweereza be ng’ennimi z’omuliro.”
8 Naye ku Mwana ayogera nti,
“Entebe yo ey’Obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe n’emirembe;
obutuukirivu, gwe muggo ogw’obwakabaka bwo.
9 (H)Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu.
Katonda, era Katonda wo kyeyava akufukako
amafuta ag’omuzeeyituuni agaleeta essanyu okusinga banno.”
10 Ayongera n’agamba nti,
“Mukama ku lubereberye wassaawo omusingi gw’ensi,
era n’eggulu mirimu gwa mukono gwo.
11 (I)Ebyo biriggwaawo, naye ggwe olibeerera emirembe gyonna,
era byonna birikaddiwa ng’ekyambalo bwe kikaddiwa.
12 (J)Era olibizingako ng’ekooti bwe zingibwako,
era birikyusibwa ng’ekyambalo bwe kikyusibwa.
Naye ggwe oba bumu,
so n’emyaka gyo tegirikoma.”
13 (K)Ani ku bamalayika gwe yali agambye nti,
“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo,
ne bafuuka entebe y’ebigere byo”?
14 (L)Bamalayika bonna, myoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.
12 (A)Efulayimu alya mpewo;
agoba empewo ez’ebuvanjuba olunaku lwonna,
era bongera ku bulimba ne ku ttemu.
Bakola endagaano n’Obwasuli,
n’aweereza n’amafuta e Misiri.
2 (B)Mukama alina ensonga ne Yuda,
era alibonereza Yakobo ng’engeri ze bwe ziri.
Amusasule ng’ebikolwa bye bwe biri.
3 (C)Bwe yali mu lubuto lwa nnyina yakwata muganda we ku kisinziiro,
ne mu bukulu bwe n’ameggana ne Katonda.
4 (D)Yameggana ne malayika n’amuwangula,
n’akaaba n’amwegayirira.
Yamusisinkana e Beseri,
n’ayogera naye.
5 (E)Mukama Katonda ow’Eggye,
Mukama ly’erinnya lye erijjukirwa.
6 (F)Naye oteekwa okudda eri Katonda wo;
kuuma okwagala n’obwenkanya,
olindirirenga Katonda wo ennaku zonna.
7 (G)Omusuubuzi akozesa ebipimo eby’obulimba,
era anyumirwa okukumpanya.
8 (H)Efulayimu yeewaana ng’ayogera nti,
“Ndi mugagga nnyo, nfunye ebintu bingi.
Mu bugagga bwange bwonna, tebayinza kundabamu kibi
wadde okwonoona kwonna.”
9 (I)Nze Mukama Katonda wo,
eyakuggya mu Misiri;
ndikuzzaayo n’obeera mu weema nate,
nga mu nnaku ez’embaga ezaalagirwa.
10 (J)Nayogera eri bannabbi,
ne mbawa okwolesebwa kungi,
ne mbagerera engero nga mpita mu bo.
11 (K)Gireyaadi butali butuukirivu
era n’abantu baamu butaliimu.
Mu Gireyaadi basalirayo ente ennume ne baziwaayo nga ssaddaaka,
era ebyoto byabwe binaaba ng’entuumo ey’amayinja mu nnimiro ennime.
12 (L)Yakobo yaddukira mu nsi ya Alamu;[a]
Isirayiri yaweereza okufuna omukazi,
era okumufuna yalundanga ndiga.
13 (M)Mukama yakozesa nnabbi okuggya Isirayiri mu Misiri,
era n’akozesa nnabbi okumukuuma.
14 (N)Naye Efulayimu amusoomoozezza era amusunguwazizza,
Mukama we kyaliva amutekako omusango olw’omusaayi gwe yayiwa,
n’amusasula olw’obunyoomi bwe.
135 (A)Mutendereze Mukama.
Mutendereze erinnya lya Mukama.
Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
2 (B)mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama,
mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.
3 (C)Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi;
mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
4 (D)Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe;
ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba eky’omuwendo.
5 (E)Mmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa,
era nga Mukama oyo y’asinga bakatonda bonna.
6 (F)Mukama kyonna ky’asiima ky’akola,
mu ggulu ne ku nsi;
mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
7 (G)Alagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero y’ensi;
atonnyesa enkuba erimu okumyansa,
n’asumulula empewo okuva mu mawanika ge.
8 (H)Ye yakuba ababereberye ab’e Misiri;
ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo.
9 (I)Ye yaweereza obubonero n’ebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri,
eri Falaawo n’abaweereza be bonna.
10 (J)Ye yakuba amawanga amangi,
n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
11 (K)Sikoni kabaka w’Abamoli,
ne Ogi kabaka w’e Basani
ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
12 (L)Ensi yaabwe n’agiwaayo ng’obusika,
okuba obusika bw’abantu be Isirayiri.
13 (M)Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera,
era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
14 (N)Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango,
era alisaasira abaweereza be.
15 Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza,
ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
16 birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba;
17 birina amatu naye tebiwulira;
so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18 Ababikola balibifaanana;
na buli abyesiga alibifaanana.
19 Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama;
mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
20 Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama;
mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
21 (O)Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe;
yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi.
Mutendereze Mukama.
136 (P)Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 (Q)Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
3 Mwebaze Mukama w’abafuzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
4 (R)Oyo yekka akola ebyamagero ebikulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
5 (S)Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
6 (T)Oyo eyabamba ensi ku mazzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
7 (U)Oyo eyakola ebyaka ebinene,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
8 (V)Enjuba yagikola okufuganga emisana,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
9 Omwezi n’emmunyeenye yabikola okufuganga ekiro,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
10 (W)Oyo eyatta ababereberye b’Abamisiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
11 (X)N’aggya Isirayiri mu Misiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
12 (Y)Yabaggyamu n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
13 (Z)Oyo eyayawulamu amazzi g’Ennyanja Emyufu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
14 (AA)N’ayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
15 (AB)Naye n’asaanyaawo Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emyufu;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
16 (AC)Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
17 (AD)Ye yafufuggaza bakabaka abaatiikirivu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
18 (AE)N’atta bakabaka ab’amaanyi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
19 (AF)Ye yatta ne Sikoni, kabaka w’Abamoli,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
20 Era ye yatta ne Ogi kabaka wa Basani,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
21 (AG)N’awaayo ensi yaabwe okuba obutaka,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
22 Okuba obutaka bwa Isirayiri omuddu we,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
23 (AH)Oyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
24 (AI)N’atuwonya abalabe baffe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
25 (AJ)Oyo awa abantu n’ebiramu byonna ekyokulya,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
26 Kale mwebaze Katonda w’eggulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.