M’Cheyne Bible Reading Plan
Koseya, Kabaka eyasembayo owa Isirayiri
17 (A)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogw’obufuzi bwa Akazi kabaka wa Yuda, Koseya mutabani wa Era n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, n’afugira emyaka mwenda. 2 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, naye tebyenkana nga bassekabaka ba Isirayiri bye baakola.
3 (B)Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’amulumba, Koseya n’afuuka muddu we era n’amuwanga obusuulu. 4 Naye oluvannyuma kabaka w’e Bwasuli n’akizuula nga Koseya yali amuliddemu olukwe, kubanga yali atumye ababaka ewa So kabaka w’e Misiri, ate nga takyaweereza busuulu ewa kabaka w’e Bwasuli, nga bwe yakolanga buli mwaka. Salumaneseri kyeyava amukwata n’amuteeka mu kkomera. 5 (C)Awo kabaka w’e Bwasuli n’alumba ensi yonna, n’atuuka e Samaliya, n’akizingiriza emyaka esatu. 6 (D)Mu mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya, kabaka w’e Bwasuli n’awamba Samaliya, n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse[a] e Bwasuli, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga ogw’e Gozani, ne mu bibuga eby’Abameedi.
Isirayiri Batwalibwa mu Buwaŋŋanguse olw’Ekibi
7 (E)Bino byonna byabaawo kubanga Abayisirayiri bayonoona mu maaso ga Mukama Katonda waabwe, eyali abaggye mu Misiri okuva mu mukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Baasinzanga bakatonda abalala, 8 (F)ne bagobereranga empisa za baamawanga Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe. Era bagobereranga n’emizizo bassekabaka ba Isirayiri gye baali bataddewo. 9 (G)Abayisirayiri ne bakolanga mu nkizo ebyo ebitaali birungi mu maaso ga Mukama. Ne bazimba ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, okuviira ddala ku minaala omwabeeranga abakuumi okutuuka ku kibuga ekiriko bbugwe. 10 (H)Ne beesimbira empagi ez’amayinja n’eza Baasera, ku buli kasozi akawanvu, ne wansi wa buli muti. 11 Ne bookera obubaane ku buli kifo ekigulumivu ng’amawanga gali Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe bwe gaakolanga. Ne bakola ebintu eby’ekivve ne basunguwaza Mukama. 12 (I)Ne basinza ebifaananyi, ate nga Mukama yali abalagidde nti, “Temukolanga ekyo.” 13 (J)Mukama n’alabula Isirayiri ne Yuda ng’akozesa bannabbi n’abalabi nti, “Mukyuke muve mu bibi byammwe, mukuume amateeka gange n’ebiragiro byange, ng’etteeka bwe liri lye nalagira bajjajjammwe, lye nabaweereza nga nkozesa abaddu bange bannabbi.”
14 (K)Naye ne batawuliriza, ne baba bakakanyavu nga bajjajjaabwe bwe baali, abateesiga Mukama Katonda waabwe. 15 (L)Ne banyooma ebiragiro n’endagaano gye yali akoze ne bajjajjaabwe, n’okulabula kwe yali abawadde. Ne bagoberera bakatonda abataliimu, ate nabo ne bafuuka ebitagasa. Ne bakola ng’amawanga agaali gabeetoolodde bwe gaakolanga, newaakubadde nga Mukama yali abalabudde nti, “Temukolanga ebyo bye bakola.” Ne bakola byonna Mukama bye yali abagaanye okukola.
16 (M)Ne bava ku mateeka ga Mukama Katonda waabwe gonna, ne baweesa ebifaananyi by’ennyana bibiri, n’empagi ey’Asera, ne basinza n’eggye lyonna ery’omu ggulu era ne basinzanga ne Baali. 17 (N)Ne bawaayo abaana baabwe aboobulenzi n’aboobuwala ng’ebiweebwayo mu muliro, ne bakola eby’obufumu n’eby’obulogo, ne beetunda okukola ebibi mu maaso ga Mukama, okumusunguwaza.
18 Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isirayiri, n’abagoba mu maaso ge, n’alekawo ekika kya Yuda kyokka.[b] 19 (O)Kyokka ne Yuda ne batakuuma mateeka ga Mukama Katonda waabwe, naye ne bagoberera empisa za Isirayiri. 20 (P)Mukama kyeyava aleka ezzadde lyonna erya Isirayiri, n’ababonereza, n’abawaayo mu mikono gy’abanyazi, n’okubagoba n’abagobera ddala okuva mu maaso ge.
21 (Q)Bwe yayawula Isirayiri ku nnyumba ya Dawudi, ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka waabwe. Yerobowaamu n’aleetera Isirayiri okuviira ddala ku mukama, n’abayonoonyesa n’okusingawo. 22 Abaana ba Isirayiri ne batambulira mu bibi byonna Yerobowaamu bye yakola, ne batabirekaayo, 23 okutuusa Mukama lwe yabaggyira ddala okuva mu maaso ge, nga bwe yali abalabudde ng’ayita mu baddu be bannabbi. Awo Abayisirayiri ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse mu nsi eya Bwasuli, gye bali ne kaakano.
Abayisirayiri Babeera awamu n’Abasuuli
24 (R)Awo kabaka w’e Bwasuli n’akuŋŋaanya abantu okuva e Babulooni, Kusa, Ava, Kamasi ne Sefavayimu, n’abaleeta mu bibuga bya Samaliya, Abayisirayiri mwe baabeeranga, Samaliya ne bakitwalira ddala era ne babeera mu bibuga byakyo. 25 (S)Ku ntandikwa bwe babeeramu ne batasinza Mukama, kyeyava abasindikira empologoma[c] ne zitta abamu ku bo. 26 Kabaka w’e Bwasuli n’ategeezebwa nti, “Amawanga ge watwala n’obateeka mu bibuga bya Samaliya tebamanyi tteeka lya Katonda w’ensi eyo,[d] kyeyavudde abasindikira empologoma okubatta, kubanga tebamanyi Katonda w’ensi kye yeetaaga.”
27 Amangwago kabaka w’e Bwasuli n’alagira nti, “Mutumeyo omu ku bakabona be mwawamba okuva mu Samaliya agende abeere eyo, ayigirize abantu amateeka ga Katonda w’ensi eyo.” 28 Awo omu ku bakabona eyali awaŋŋangusibbwa okuva mu Samaliya n’agenda n’abeera e Beseri, n’abayigiriza bwe kibagwanira okusinza Mukama.
29 (T)Newaakubadde nga kabona yagendayo, buli ggwanga beekolera bakatonda baabwe, ne babateeka mu masabo Abasamaliya ge baali bazimbye ku bifo ebigulumivu mu bibuga byabwe. 30 Abasajja ab’e Babulooni ne bakola Sukkosubenosi, abasajja ab’e Kuusi ne bakola Nengali, abasajja ab’e Kamasi ne bakola Asima: 31 (U)Abavi ne bakola Nibukazi ne Talutaki, Abasefavayimu ne bookera abaana baabwe mu muliro, nga babawaayo ng’ebiweebwayo eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda ba Sefavayimu. 32 (V)Baasinzanga Mukama, naye ne balonda n’abantu ab’engeri zonna okuva mu bokka ne bokka okuba bakabona, ab’ebifo ebigulumivu, abaabaweerangayo ssaddaaka mu masabo ag’ebifo ebigulumivu. 33 Ne basinzanga Mukama, naye nga bwe baweereza ne bakatonda baabwe, ng’empisa ez’amawanga gye baali bavudde bwe zalinga.
34 (W)Ne leero bakyeyisa mu ngeri y’emu. Tebasinza Mukama so tebagoberera biragiro n’amateeka Mukama bye yalagira bazzukulu ba Yakobo, gwe yatuuma Isirayiri. 35 (X)Mukama bwe yakola endagaano n’Abayisirayiri, yabalagira nti, “Temusinzanga bakatonda balala, so temubavuunamiranga so temubaweerezanga, wadde okuwaayo ssaddaaka gye bali. 36 (Y)Mwekuumenga okugobereranga ebiragiro n’amateeka, n’etteeka, n’ekiragiro bye yabawandiikira. Temusinzanga bakatonda abalala. 37 (Z)Naye musinzanga Mukama eyabaggya mu Misiri n’amaanyi amangi n’omukono gwe, gwe yagolola. Oyo ggwe munavuunamiranga era ne muwaayo ssaddaaka eri ye. 38 (AA)Temwerabiranga endagaano gye nakola nammwe, era temusinzanga bakatonda abalala. 39 Wabula musinzanga Mukama Katonda wammwe, kubanga y’anaabalokolanga mu mukono gw’abalabe bammwe bonna.”
40 Naye ne batawuliriza, ne beeyongeranga mu mpisa zaabwe ez’edda. 41 (AB)Newaakubadde ng’amawanga ago baasinzanga Mukama, kyokka beeyongeranga okusinza bakatonda baabwe. Ne leero abaana baabwe ne bazzukulu baabwe bakola nga bajjajjaabwe bwe baakolanga.
Okuwabula abakkiriza
3 (A)Ebintu ebyo bijjukizenga abafuzi n’ab’obuyinza, babiwulirenga, era babigonderenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi. 2 (B)Bakuutire baleme kwogerebwako bubi, era beewalenga okuyomba, babenga bakkakkamu era babeerenga bawombeefu eri abantu bonna.
3 Kubanga naffe ffennyini twali basirusiru era abajeemu, nga tuwabye, era nga tufugibwa okwegomba kwaffe okubi, n’amasanyu aga buli ngeri, nga tuli ba ttima era ab’obuggya, nga tukyayibwa era nga tukyawagana. 4 (C)Naye ekisa kya Katonda Omulokozi waffe n’okwagala kwe bwe byalabika, 5 (D)n’atulokola, si lwa bikolwa eby’omu butuukirivu bye twakola, wabula olw’okusaasira kwe mu kunaazibwa okw’okuzaalibwa okw’omulundi ogwokubiri n’okufuulibwa abaggya olwa Mwoyo Mutukuvu, 6 (E)gwe yatuyiwako mu bungi ku lwa Yesu Kristo Omulokozi waffe. 7 (F)Bwe tulimala okutukuzibwa olw’ekisa kye, tulyoke tufune omugabo mu kusuubira obulamu obutaggwaawo. 8 (G)Ekigambo ekyo kyesigwa, era nkukuutira ebyo obinywezenga abakkiriza Katonda bajjukirenga okukola ebikolwa ebirungi; ebintu ebyo birungi era bigasa abantu.
9 (H)Naye weewalenga empaka ez’obusirusiru, n’okukaayana ku nkalala eziraga obuzaale bw’abantu, n’ennyombo, n’entalo ebikwata ku mateeka; kubanga tebiriiko kye bigasa era tebiriimu nsa. 10 (I)Omuntu ayawulayawula mu bantu bw’omalanga okumulabula omulundi ogusooka, era n’ogwokubiri, omwewalanga, 11 kubanga omuntu ng’oyo aba amaze okukyamizibwa mu kibi, era nga yeesalira yekka omusango.
12 (J)Bwe nkutumiranga Atema oba Tukiko, oyanguwanga okujja gye ndi mu Nikopoli, kubanga nsazeewo okubeera eyo mu biseera eby’obutiti. 13 (K)Fuba okusibirira Zeena munnamateeka ne Apolo obatume babe nga tebaliiko kye beetaaga.
14 (L)Era kubiriza abantu baffe bayige okukolanga emirimu omuva ebyetaagibwa, balemenga kubeera awo nga tebaliiko kye bagasa.
15 (M)Bonna abali nange bakulamusizza.
Olamuse abo bonna abatwagala mu kukkiriza.
Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.
10 (A)Isirayiri yali muzabbibu ogwagaagadde,
ogwabala ebibala byagwo.
Ebibala bye gye byeyongera obungi,
naye gye yeeyongera okuzimba ebyoto;
n’ensi ye gye yeeyongera okuba engagga,
gye yeeyongera okulungiya empagi ze.
2 (B)Omutima gwabwe mulimba,
era ekiseera kituuse omusango gubasinge.
Mukama alimenya ebyoto byabwe,
era alizikiriza empagi zaabwe.
3 Olwo balyogera nti, “Tetulina kabaka
kubanga tetwatya Mukama.
Naye ne bwe twandibadde ne kabaka,
yanditukoleddeyo ki?”
4 (C)Basuubiza bingi,
ne balayirira obwereere
nga bakola endagaano;
emisango kyegiva givaayo
ng’omuddo ogw’obutwa mu nnimiro ennime.
5 (D)Abatuuze b’e Samaliya bali mu ntiisa
olw’ennyana ensaanuuse ey’e Besaveni.
Abantu baayo baligikungubagira,
ne bakabona baayo abaweereza bakatonda abalala,
abaasanyukanga olw’ekitiibwa kyayo baligikungubagira,
kubanga ekitiibwa kyayo kigivuddeko.
6 (E)Erisutulibwa n’etwalibwa e Bwasuli
n’eweebwa kabaka omukulu ng’ekirabo.
Efulayimu aliswazibwa
ne Isirayiri alikwatibwa ensonyi olw’ekiteeso kye.
7 (F)Samaliya ne kabaka we balitwalibwa
ng’ekibajjo eky’omuti ku mazzi n’azikirizibwa.
8 (G)Ebifo ebigulumivu eby’obutali butuukirivu birisaanyizibwawo,
kye kibi kya Isirayiri.
Amaggwa n’amatovu galimera ku byoto byabwe,
ne gabibikka.
Olwo ne bagamba ensozi nti, “Mutubuutikire,”
n’obusozi nti, “Mutugweko.”
9 (H)Okuva mu nnaku za Gibea, wayonoona, ggwe Isirayiri
era eyo gye wagugubira.
Entalo tezakwatira abakozi b’ebibi mu Gibea?
10 (I)Bwe ndiba nga njagadde, ndibabonereza;
amawanga galikuŋŋaana okulwana nabo,
ne basibibwa mu masanga olw’ebibi byabwe eby’emirundi ebiri.
11 Efulayimu nnyana ntendeke
eyagala okuwuula;
kyendiva nteeka ekikoligo
mu nsingo ye ennungi.
Ndigoba Efulayimu
ne Yuda ateekwa okulima
ne Yakobo ateekwa okukabala.
12 (J)Musige ensigo ez’obutuukirivu,
mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwaawo;
mukabale ettaka lyammwe eritali ddime,
kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama,
okutuusa lw’alidda
n’abafukako obutuukirivu.
13 (K)Naye mwasimba obutali butuukirivu
ne mukungula ebibi,
era mulidde ebibala eby’obulimba.
Olw’okwesiga amaanyi go,
n’abalwanyi bo abangi,
14 (L)olutalo kyeluliva lubawuumira mu matu,
n’ebigo byammwe byonna ne bizikirizibwa,
nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw’olutalo,
abakyala ba nnakazadde lwe baggundwa ku ttaka n’abaana baabwe.
15 (M)Bwe kityo bwe kiribeera, ggwe Besweri
kubanga ekibi kyo kinene nnyo.
Olunaku olwo bwe lulituuka,
kabaka wa Isirayiri alizikiririzibwa ddala.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
129 (A)Isirayiri ayogere nti,
“Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
2 (B)Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;
naye tebampangudde.
3 Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye
era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
4 (C)kyokka Mukama mutuukirivu;
amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.
5 (D)Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe
era bazzibweyo emabega nga baswadde.
6 (E)Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba[a],
oguwotoka nga tegunnakula.
7 Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
8 (F)Wadde abayitawo baleme kwogera nti,
“Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.
Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”
Oluyimba nga balinnya amadaala.
130 (G)Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
2 (H)Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
3 (I)Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
ani eyandiyimiridde mu maaso go?
4 (J)Naye osonyiwa;
noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.
5 (K)Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira
era essuubi lyange liri mu kigambo kye.
6 (L)Emmeeme yange erindirira Mukama;
mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya;
okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.
7 (M)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama,
kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo;
era y’alina okununula okutuukiridde.
8 (N)Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya
mu byonoono bye byonna.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
131 (O)Ayi Mukama siri wa malala,
so n’amaaso gange tegeegulumiza.
Siruubirira bintu binsukiridde
newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
2 (P)Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza
ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.
Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.
3 (Q)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.