Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Samwiri 28

Sawulo n’Omulabi w’e Endoli

28 (A)Mu biro ebyo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya amaggye gaabwe okulwana ne Isirayiri. Akisi n’agamba Dawudi nti, “Kimanye nga ggwe ne basajja bo munaneegattako, tugende mu lutalo.” Dawudi n’ayogera nti, “Olwo nno ojja kwerabirako omuweereza wo kyayinza okukola.” Akisi n’addamu nti, “Weewaawo, nzija kukufuula omukuumi wange ow’oku lusegere ennaku zonna ez’obulamu bwange.”

(B)Mu biro ebyo Samwiri yali amaze okufa, nga ne Isirayiri yenna bamukungubagidde, era nga yaggwa n’okuziikibwa mu kibuga ky’e Laama. Era Sawulo yali agobye abafumu n’abalogo okuva mu nsi.

(C)Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana, ne basiisira e Sunemu, ate Sawulo ye n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna ne basiisira e Girubowa. Awo Sawulo bwe yalaba eggye ery’Abafirisuuti, n’atya, emmeeme n’emutyemuka. (D)Ne yeebuuza ku Mukama, naye Mukama n’atamwanukula mu birooto, newaakubadde mu kwolesebwa kwa Katonda eri bakabona oba okuyita mu bannabbi. (E)Awo Sawulo n’agamba abaweereza be nti, “Munnoonyezeeyo omukazi omufumu, ŋŋende mmwebuuzeeko.”

Ne bamugamba nti, “Waliwo ali Endoli.”

(F)Awo Sawulo n’ayambala engoye ezitali za bwakabaka ne yeebuzaabuza n’alaga ew’omukazi, ye n’abasajja abalala babiri. N’ayogera nti, “Ndagula, ombuulize omwoyo era onyimusize gwe nnaayogera erinnya.”

(G)Naye omukazi n’amugamba nti, “Omanyi bulungi Sawulo kye yakola, bwe yazikiriza era n’agoba abafumu n’abalogo mu nsi. Kale lwaki oteeka obulamu bwange mu katego n’oyagala okunzisa?”

10 Sawulo n’amulayirira eri Mukama ng’agamba nti, “Amazima ddala, nga Mukama bw’ali omulamu, tolibonerezebwa olwa kino.”

11 Awo omukazi n’amubuuza nti, “Ani gwe mba nkuyimusiza?” N’addamu nti, “Nyimusiza Samwiri.”

12 Omukazi bwe yalaba Samwiri, n’ayogerera waggulu, n’agamba Sawulo nti, “Lwaki onimbye? Ggwe Sawulo!”

13 Awo kabaka n’amugamba nti, “Totya. Kiki ky’olaba?” Omukazi n’addamu nti, “Ndaba omwoyo nga guyimuka okuva mu ttaka.” 14 (H)Sawulo n’amubuuza nti, “Gufaanana ani?” N’addamu nti, “Omusajja omukadde nga yeebisseeko omunagiro y’avaayo.” Awo Sawulo n’ategeera nga ye Samwiri, n’avuunama amaaso ge, ne yeeyala ku ttaka.

15 (I)Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Lwaki ontawanyizza n’onnyimusa?”

Sawulo n’addamu nti, “Nnina ennaku nnyingi nnyo, kubanga Abafirisuuti bannwanyisa, ate Katonda anvuddeko. Takyanziramu ng’ayita mu bannabbi newaakubadde mu birooto. Kyenvudde nkukoowoola ombuulire eky’okukola.”

16 Samwiri n’amubuuza nti, “Ombuuliza ki, Mukama ng’amaze okukuvaako n’okufuuka omulabe wo? 17 (J)Mukama atuukirizza kye yayogera ng’ayita mu nze. Mukama akuggyeeko obwakabaka bwo, n’abuwa omu ku baliraanwa bo, Dawudi. 18 (K)Kubanga tewagondera Mukama newaakubadde okutuukiriza bye yakulagira okukola Amaleki ng’amusunguwalidde, Mukama kyavudde akukola kino leero. 19 (L)Mukama alikuwaayo gwe n’Abayisirayiri eri Abafirisuuti, era enkya ggwe ne batabani bo munaaba nange eno gye ndi. Era Mukama anaawaayo eggye lya Isirayiri mu mukono gw’Abafirisuuti.”

20 Awo Sawulo n’agwira ddala wansi ekigwo kya bugazi, ng’ajjudde okutya olw’ebigambo Samwiri bye yayogera. N’ataba na maanyi kubanga yali talina ky’alidde olunaku olwo lwonna n’ekiro ekyakeesa olunaku olwo.

21 (M)Awo omukazi n’asembera okumpi ne Sawulo, n’alaba ng’atidde, n’amugamba nti, “Laba, omuweereza wo akugondedde, ne mpaayo obulamu bwange, ne nkola kye wansabye. 22 Kaakano nkwegayiridde owulirize omuweereza wo, okkirize nkuwe ku mmere olyeko ofune amaanyi okukwata olugendo lwo.”

23 (N)N’agaana n’ayogera nti, “Sijja kulya.”

Naye abasajja be ne bayamba omukazi mu kukubiriza Sawulo okulya, n’abawuliriza. N’ayimuka mu ttaka n’atuula ku kitanda.

24 Omukazi yalinawo ennyana ensava, n’agiteekateeka mu bwangu. N’ateekateeka n’eŋŋaano, n’akanda obuwunga, n’afumba emigaati egitali mizimbulukuse. 25 N’alyoka abiteeka mu maaso ga Sawulo ne basajja be, ne balya. N’oluvannyuma ekiro ekyo ne bagolokoka ne beetambulira.

1 Abakkolinso 9

Ebigwanira omutume ne by’ateekwa okukola

(A)Ssiri wa ddembe? Ssiri mutume? Ssaalaba Yesu Mukama waffe? Si mmwe bibala by’omulimu gwange mu Mukama waffe? (B)Obanga ssiri mutume eri abalala, naye ndi mutume eri mmwe, kubanga mmwe kabonero k’obutume bwange mu Mukama waffe.

Ekyo ky’eky’okuwoza kyange eri abo abambulirizaako. (C)Sirina buyinza kulya na kunywa? (D)Singa nnewasiza omukazi, siyinza kutambula naye mu ŋŋendo zange ng’abatume abalala ne Keefa[a], ne baganda ba Mukama waffe bwe bakola? (E)Oba Balunabba nange, ffe ffekka ffe tusaana okwekolera?

(F)Muserikale ki ali mu magye nga yeesasula empeera? Muntu ki eyalima ennimiro y’emizabbibu naye n’aziyizibwa okulya ku bibala byayo? Oba ani alunda ekisibo n’atanywa ku mata gaamu? Ebyo mbyogera ku bwange ng’omuntu, etteeka nalyo si bwe ligamba? (G)Kubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa nti, “Tosibanga mumwa gwa nte ewuula eŋŋaano,” Mulowooza Katonda afa ku bya nte zokka, 10 (H)oba kino akyogera ku lwaffe? Kubanga kino kyawandiikibwa ku lwaffe, oyo alima mu kusuubira alime, n’oyo awuula asuubire okufuna ku bibala. 11 (I)Obanga ffe twabasigamu eby’omwoyo, tekiriba kya kitalo bwe tulikungula ebyammwe eby’omubiri? 12 (J)Kale obanga abalala balina obuyinza ku mmwe, ffe tetusaanidde nnyo n’okusingawo? Kyokka ffe tetwabakaka kubituwa.

Naye tugumiikiriza byonna, tuleme okuziyiza Enjiri ya Kristo. 13 (K)Temumanyi ng’abo abakola mu Yeekaalu baliisibwa bya Yeekaalu, era nga n’abo abaweereza ku kyoto bagabana bya ku kyoto? 14 (L)Mu ngeri y’emu Mukama waffe yalonda abo ababuulira Enjiri baliisibwenga olw’Enjiri.

15 (M)Kyokka nze siriiko na kimu ku ebyo kye nkozesezzaako. Era ssawandiika bino ndyoke binkolerwe kubanga waakiri nze okufa okusinga okwenyumiriza kwange bwe kutaabeemu nsa. 16 (N)Kubanga bwe mbuulira Enjiri sisobola kwenyumiriza, kubanga mpalirizibwa okugibuulira. Era ziba zinsanze bwe sigibuulira. 17 (O)Kubanga bwe mbuulira Enjiri olw’okweyagalira, mbeera n’empeera, naye ne bwe mba nga ssaagala, nkikola lwa kubanga nakwasibwa omulimu ogwo. 18 (P)Kale empeera yange y’eruwa? Empeera yange kwe kubuulira Enjiri nga sisasulwa era nga sibasaba nsasulwe olw’omulimu ogwo nga bwe nsaanidde.

19 (Q)Kubanga newaakubadde nga ndi wa ddembe eri abantu bonna, nfuuka omuddu wa bonna olw’okweyagalira, ndyoke ndeete bangi eri Kristo. 20 (R)Eri Abayudaaya nafuuka ng’Omuyudaaya ndyoke nsobole okubaleeta eri Kristo. N’eri abo abafugibwa amateeka nafuuka ng’afugibwa amateeka, newaakubadde nze nga ssifugibwa mateeka, ndyoke mbaleete eri Kristo. 21 (S)Eri abo abatalina mateeka ga Katonda, nafuuka ng’atafugibwa mateeka, newaakubadde nga ssaaleka mateeka ga Katanda, naye nga ndi mu mateeka ga Kristo, n’abo abatalina mateeka ndyoke mbaleete eri Kristo. 22 (T)Mu banafu nafuuka ng’omunafu ndyoke mbaleete eri Kristo. Eri abantu bonna nfuuse byonna, mu ngeri yonna ndyoke mbeeko beentusa ku kulokolebwa. 23 Byonna mbikola olw’enjiri, era nange ndyoke nfunire wamu nabo ebiva mu Njiri eyo.

24 (U)Temumanyi nga mu mpaka ez’okudduka abo bonna abazeetabamu badduka, naye awangula ekirabo abeera omu? Kale nammwe muddukenga bwe mutyo nga mufubirira okuwangula ekirabo. 25 (V)Buli muzanyi eyeetaba mu mpaka ateekwa okufuna okutendekebwa okw’amaanyi nga yeefuga mu bintu byonna. Ekyo bakikola balyoke bawangule engule eyonooneka. Naye ffe tulifuna engule eteyonooneka. 26 Noolwekyo nziruka nga nnina kye ŋŋenderera. Sirwana ng’omukubi w’ebikonde amala gawujja n’akuba ebbanga. 27 (W)Naye mbonereza omubiri gwange ne ngufuula omuddu wange, si kulwa nga mbuulira abalala Enjiri, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.

Ezeekyeri 7

Enkomerero Etuuse

Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti, (A)“Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensi ya Isirayiri nti:

“ ‘Enkomerero! Enkomerero etuuse
    ku nsonda ennya ez’ensi.
Enkomerero ebatuuseeko
    era ndibasumulurira obusungu bwange,
ne mbasalira omusango ng’engeri zammwe bwe ziri
    era ndibabonereza ng’ebikolwa byammwe eby’ekkive byonna bwe biri.
(B)Siribatunuulira na liiso lya kisa
    newaakubadde okubasonyiwa;
naye ndibasasula ng’engeri zammwe,
    n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe.

Mulyoke mumanye nga nze Mukama.’

(C)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti:

“ ‘Okuzikirizibwa okutali kumu
    laba kujja.
Enkomerero etuuse,
    enkomerero etuuse!
Ebagolokokeddeko
    era ejja.
(D)Akabi kabajjidde,
    mmwe abatuuze.
Ekiseera kituuse era olunaku luli kumpi,
    olunaku olw’okutya so si olw’okujaguliriza ku nsozi.
(E)Nnaatera okubalaga obusungu bwange,
    n’ekiruyi kyange.
Ndibasalira omusango ng’enneeyisa yammwe bw’eri,
    ne mbasasula ng’ebikolwa byammwe byonna eby’ekkive bwe biri.
Siribatunuulira na liiso lya kisa
    newaakubadde okubasonyiwa.
Ndibabonereza ng’engeri zammwe bwe ziri
    n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe.

Mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda, era mbonereza.

10 (F)“ ‘Olunaku luuluno
    lutuuse.
Akabi kabajjidde,
    obutali bwenkanya bumeze,
    n’amalala gamulisizza.
11 (G)Obusungu bweyongedde
    ne bufuuka omuggo okubonereza obutali butuukirivu;
tewaliba n’omu alisigalawo;
    tewaliba n’omu ku kibiina
newaakubadde ku byobugagga byabwe,
    newaakubadde eky’omuwendo.
12 (H)Ekiseera kituuse,
    n’olunaku lutuuse.
Agula aleme okusanyukirira,
    n’oyo atunda aleme okunakuwala,
    kubanga obusungu bubuubuukidde ku kibiina kyonna.
13 (I)Atunda taliddizibwa
    kintu kye yatunda,
    bombi bwe banaaba nga bakyali balamu.
Kubanga okubonerezebwa kuli ku kibiina kyonna
    so tekukyajulukuka.
Era olw’ebibi byabwe tewaliba n’omu
    aliwonya obulamu bwe.

14 “ ‘Ne bwe balifuuwa ekkondeere
    ne bateekateeka buli kimu,
tewaliba n’omu aligenda mu lutalo,
    kubanga obusungu bwange bubuubuukidde ku kibiina kyonna.
15 (J)Ebweru waliyo ekitala
    ne munda waliyo kawumpuli n’enjala.
Abali ku ttale
    balifa kitala,
abali mu kibuga
    balimalibwawo kawumpuli n’enjala.
16 (K)N’abo abaliwonawo
    baliddukira mu nsozi,
nga bakaaba nga bukaamukuukulu
    obw’omu biwonvu,
    buli omu olw’ebibi bye.
17 (L)Emikono gyonna giriremala,
    n’amaviivi gonna galiba ng’amazzi.
18 (M)Balyambala ebibukutu,
    ne bakwatibwa ensisi;
baliswala,
    n’emitwe gyabwe girimwebwa.

19 (N)“ ‘Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo,
    ne zaabu yaabwe eriba ekitali kirongoofu;
effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe
    tebiriyinza kubalokola
    ku lunaku lwa Mukama olw’obusungu bwe.
Era tebalikkuta
    newaakubadde okukkusibwa.
    Ebyo bye byabaleetera okugwa mu kibi.
20 (O)Ebintu byabwe eby’omuwendo byabaleetera amalala,
    era ekyavaamu kwe kukola bakatonda abalala ab’emizizo
n’ebintu ebirala eby’ekivve,
    era kyendiva mbifuula ebitali birongoofu gye bali.
21 (P)Ndibiwaayo byonna eri bannamawanga
    n’eri abakozi b’ebibi ab’omu nsi okuba omunyago
    era balibyonoona.
22 (Q)Ndikyusa amaaso gange ne si batunuulira,
    era balyonoona ekifo kyange eky’omuwendo;
n’abanyazi balikiyingiramu
    ne bakyonoona.

23 (R)“ ‘Muteeketeeke enjegere
    kubanga ensi ejjudde omusango ogw’okuyiwa omusaayi,
    n’ekibuga kijjudde effujjo.
24 (S)Ndireeta eggwanga erisingirayo ddala okuba ebbi,
    ne batwala ennyumba zaabwe,
era ndikomya amalala gaabwe
    n’ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa.
25 (T)Entiisa bw’erijja,
    balinoonya emirembe naye tebaligifuna.
26 (U)Akabi kalyeyongera ku kabi,
    ne ŋŋambo ne zeeyongera;
balinoonya okwolesebwa okuva eri nnabbi,
    naye okuyigirizibwa kwa kabona kulibula
    n’okubuulirira kw’abakadde kulyerabirwa.
27 (V)Kabaka alikaaba,
    n’omulangira alijjula obuyinike,
    n’emikono gy’abantu mu ggwanga girikankana olw’entiisa.
Ndibakolako ng’enneeyisa yaabwe bw’eri,
    era ndibasalira omusango ng’ensala yaabwe bw’eri.

Balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda.’ ”

Zabbuli 45

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba “olw’Amalanga.” Zabbuli ya Batabani ba Koola.

45 Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi
    nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka.
    Olulimi lwange kkalaamu y’omuwandiisi omukugu.

(A)Ggw’osinga abaana b’abantu obulungi;
    n’akamwa ko nga kafukiddwako amafuta ag’ekisa.
    Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna.

(B)Weesibe ekitala kyo, Ayi ggwe ow’amaanyi,
    yambala ekitiibwa kyo n’obukulu bwo!
(C)Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo eky’obuwanguzi,
    ng’olwanirira amazima, obuwombeefu, n’obutuukirivu.
    Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa.
Obusaale bwo obwogi bufumite emitima gy’abalabe ba kabaka;
    afuge amawanga.
(D)Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera;
    n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.
(E)Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi;
    noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza
    n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.
(F)Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya.
    Ebivuga eby’enkoba bikusanyusiza
    mu mbiri zo ez’amasanga.
(G)Mu bakyala bo mulimu abambejja;
    namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zaabu ya Ofiri.

10 (H)Muwala, wuliriza bye nkugamba:
    “Weerabire ab’ewammwe n’ab’omu nnyumba ya kitaawo.
11 (I)Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa n’oyitirira;
    nga bw’ali mukama wo, muwenga ekitiibwa.”
12 (J)Muwala w’e Ttuulo[a] alijja n’ekirabo,
    abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.
13 (K)Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye,
    ng’ayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu.
14 (L)Aleetebwa mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’emidalizo emingi.
    Emperekeze ze zimuwerekerako;
    bonna ne bajja gy’oli.
15 Baleetebwa nga bajjudde essanyu n’okweyagala,
    ne bayingira mu lubiri lwa kabaka.

16 Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe,
    olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo.
17 (M)Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna.
    Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe n’emirembe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.